Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 4

Okwanjula Ebyawandiikibwa

Okwanjula Ebyawandiikibwa

Matayo 22:41-45

MU BUFUNZE: Leetera abawuliriza okwesunga ekyawandiikibwa ky’ogenda okusoma.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Manya ensonga lwaki ogenda kusoma ekyawandiikibwa. Yanjula buli kyawandiikibwa mu ngeri eneeyamba abakuwuliriza okulaba ensonga gy’oyagala okuggyayo mu kyawandiikibwa ekyo.

  • Laga nti by’ogenda okusoma biva mu Bayibuli. Bw’oba oyogera eri abantu abakkiririza mu Katonda, yogera ku Bayibuli “ng’Ekigambo kya Katonda,” basobole okukiraba nti amagezi agagirimu ge gasingayo obulungi.

  • Baleetere okwesunga ekyawandiikibwa. Buuza ekibuuzo ekiddibwamu mu kyawandiikibwa ky’ogenda okusoma, nokolayo ekizibu ekyawandiikibwa ekyo kye kisobola okugonjoola, oba laga omusingi oguli mu kyawandiikibwa ekyo.