Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 7

Ebituufu era Ebyesigika

Ebituufu era Ebyesigika

Lukka 1:3

MU BUFUNZE: Wa obukakafu obwesigika okusobola okuyamba abakuwuliriza okutegeera ensonga gy’oyogerako.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Noonyereza okuva mu nsonda ezeesigika. By’oyogera byesigamye ku Bayibuli, era gisomeemu butereevu bwe kiba kisoboka. Bw’okozesa bannassaayansi kye baazuula, ekyafulumira mu mawulire, ekyokulabirako, oba obukakafu obulala, kakasa nti ky’okozesezza kituufu.

  • By’onoonyerezza bikozese bulungi. Nnyonnyola ebyawandiikibwa mu ngeri ekwatagana n’ekiba ky’ogerwako mu nnyiriri eziriraanyeewo, mu ngeri ekwatagana n’obubaka obuli mu Bayibuli, era n’ebitabo ebikubibwa “omuddu omwesigwa.” (Mat. 24:45) Bw’okozesa by’ozudde mu kitabo ekitaakubibwa muddu mwesigwa, bikozese mu ngeri ekwatagana n’ekigendererwa ky’omuwandiisi.

  • Yamba abakuwuliriza okufumiitiriza. Ng’omaze okusoma ekyawandiikibwa oba okuwa ekyokulabirako, buuza ebibuuzo mu ngeri ey’amagezi kiyambe abakuwuliriza bo bennyini okulaba ekituufu.