Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebbaluwa Okuva eri Akakiiko Akafuzi

Ebbaluwa Okuva eri Akakiiko Akafuzi

“Mwandibadde bayigiriza.” (Beb. 5:12) Kirowoozeeko! Yakuwa, Omuyigiriza asingiridde, ayagala tuyigirize abalala ebimukwatako! Nkizo ya maanyi nnyo okuyigiriza abalala amazima agakwata ku Yakuwa, ka babe ab’omu maka gaffe, ab’oluganda mu kibiina, oba abo be tusanga mu buweereza. Kyokka era, buvunaanyizibwa bwa amaanyi nnyo. Tuyinza tutya okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo?

Eky’okuddamu kiri mu bigambo omutume Pawulo bye yawandiikira Timoseewo ebigamba nti: “Nyiikiriranga okusoma mu lujjudde, okubuuliriranga, n’okuyigirizanga.” Yagattako nti: “Bw’onookola bw’otyo ojja kwerokola era olokole n’abo abakuwuliriza.” (1 Tim. 4:13, 16) Obubaka bwe tubuulira busobola okuwonyaawo obulamu bw’abantu. N’olwekyo, kikulu nnyo okweyongera okulongoosa mu ngeri gye tusomamu ne gye tuyigirizaamu. Akatabo kano kategekeddwa okutuyamba mu nsonga eyo. Ka tulabe ebimu ku bikalimu.

Ku buli ssomo kuliko ekyawandiikibwa ekirimu omusingi gwa Bayibuli oba engeri amagezi agali mu ssomo eryo gye gateekebwa mu nkola

Yakuwa ye ‘Muyigiriza Asingiridde.’ (Is. 30:20) Wadde ng’akatabo kano kajja kubayamba okulongoosa mu ngeri gye musomamu ne gye muyigirizaamu, temwerabira nti Yakuwa ye nsibuko y’obubaka bwe tubuulira, era y’asika abantu okubaleeta gy’ali. (Yok. 6:44) N’olwekyo, mumusabenga abawe omwoyo omutukuvu. Mukozese mu bujjuvu Ekigambo kya Katonda. Muyigirize mu ngeri eneereetera abalala okutendereza Yakuwa so si mmwe, era mufube okubayamba okwagala Yakuwa.

Muweereddwa enkizo ey’okuyigiriza abalala obubaka obusingawo okuba obukulu. Tuli bakakafu nti bwe ‘muneesigama ku maanyi Katonda g’agaba,’ mujja kutuuka ku buwanguzi.​—1 Pet. 4:11.

Ffe bayigiriza bannammwe,

Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa