Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebifaananyi n’Ennamba y’Olupapula Kwe Biri

Ebifaananyi n’Ennamba y’Olupapula Kwe Biri

Ebifaananyi n’Ennamba y’Olupapula Kwe Biri

  • Ebifaananyi ku ddiba Pawulo, Tabbiisa, Galiyo, Lukka, omukulu w’abakuumi ba yeekaalu ng’ali n’abatume, Omusaddukaayo, Pawulo nga bamutwala e Kayisaliya, Abajulirwa ba Yakuwa mu kiseera kyaffe nga babuulira nga bakozesa emmotoka okuli ekizindaalo ne gramufoomu.

  • Olupapula 1 Pawulo ng’asibiddwa ku lujegere, ng’ali ne Lukka ku kyombo ekyetissi ky’emigugu ekigenda e Rooma.

  • Olupapula 2, 3 Ow’oluganda J. E. Barr ne T. Jaracz abaali ku Kakiiko Akafuzi nga beetegereza mmaapu y’ensi yonna.

  • Olupapula 11 Yesu ng’ali n’abatume be 11 awamu n’abagoberezi be abalala ku lusozi mu Ggaliraaya, ng’abawa ekiragiro ky’okubuulira.

  • Olupapula 15 Yesu addayo mu ggulu. Abatume be bamutunuulidde.

  • Olupapula 22 Abayigirizwa boogera n’abantu abazze ku Pentekooti mu nnimi zaabwe.

  • Olupapula 40 Abatume nga bayimiridde mu maaso ga Kayaafa, era musunguwavu. Ab’Olukiiko Olukulu nga bayise abakuumi ba yeekaalu okukwata abatume.

  • Olupapula 49 Ekifaananyi ekiri wansi: Oluvannyuma lwa Ssematalo II, kkooti y’omu Bugirimaani yasingisa Abajulirwa ba Yakuwa omusango nti baali bambega ba Amerika.—Magazini Neue Berliner Illustrierte, Okitobba 3, 1950.

  • Olupapula 52 Siteefano ng’awozesebwa mu maaso g’Olukiiko Olukulu era nga waliwo Abasaddukaayo n’Abafalisaayo.

  • Olupapula 60 Peetero ng’atadde emikono ku muyigirizwa omupya; Simooni ng’akutte akasawo ka ssente.

  • Olupapula 85 Peetero ne banne nga bayingira mu nnyumba ya Koluneeriyo. Koluneeriyo nga yeesuulidde ekikubiro ku kibegaabega kye ekya kkono ekiraga nti mukulu w’ekibinja ky’abasirikale.

  • Olupapula 93 Malayika ng’afulumya Peetero okuva mu kkomero; kirabika Peetero yasibibwa mu kkomera eryali ku munaala oguyitibwa Antonia.

  • Olupapula 95 Ekifaananyi ekiri wansi: Ekibinja ky’abantu abakambwe okumpi n’ekibuga Montreal, mu ssaza ly’e Quebec, mu 1945.—Weekend Magazine, Jjulaayi 1956.

  • Olupapula 103 Pawulo ne Balunabba nga bagobebwa mu Antiyokiya eky’omu Pisidiya. Ekifaananyi era kiraga olutindo lw’ekibuga olwali olupya, kirabika olwazimbibwa ku ntandikwa y’ekyasa ekyasooka.

  • Olupapula 106 Pawulo ne Balunabba nga bagaana abantu b’omu Lusitula okubasinza. Omukolo gw’okuwaayo ssaddaaka mu lujjudde gwateekebwateekebwanga bulungi era kwabangako ebivuga.

  • Olupapula 113 Ekifaananyi ekiri waggulu: Siira ne Yuda nga bazzaamu amaanyi ab’oluganda mu Antiyokiya ekya Busuuli. (Bik. 15:30-32) Ekifaananyi ekiri wansi: Omulabirizi akyalira ebibiina ng’awa emboozi mu kibiina ekimu mu Uganda.

  • Olupapula 121 Ab’oluganda mu Yerusaalemi nga bakuŋŋaanidde mu maka agamu.

  • Olupapula 132 Pawulo ne Timoseewo nga bali ku kyombo ky’abasuubuzi ekigenda e Rooma. Balengera akanaala.

  • Olupapula 157 Pawulo ne Siira nga badduka okwekweka ekibinja ky’abantu abakambwe.

  • Olupapula 177 Galiyo ng’agoba abantu abaali bavunaana Pawulo. Ayambadde ebyambalo eby’ekitiibwa: ekyambalo ekyo ekyeru nga kiriko ekikuubo ekya kakobe n’engatto eyali eyitibwa calcei.

  • Olupapula 180 Demeteriyo ng’ayogera eri abaweesi ba ffeeza mu Efeso. Obusabo obutono obwa Atemi bwe baatundanga.

  • Olupapula 195 Pawulo ne banne nga bali ku kyombo. Ku mabbali waliwo ekibumbe ekyazimbibwa ku mwalo mu kyasa ekyasooka E.E.T.

  • Olupapula 205 Ekifaananyi ekiri wansi: Omuvubuka ng’akukusa ebitabo, mu kiseera ebitabo byaffe we byawerebwa mu Canada mu myaka gya 1940.

  • Olupapula 208 Pawulo akolera ku bulagirizi bw’abakadde. Lukka ne Timoseewo nga bakutte ssente ze baleese okuyamba ab’oluganda.

  • Olupapula 218 Mutabani wa mwannyina wa Pawulo ng’ayogera ne Kulawudiyo Lusiya, nga bali mu kifo ekimu ku munaala gwa Antonia, kirabika awaali ekkomera Pawulo we yasibibwa. Yeekaalu ya Kerode erengerwa mu ddirisa.

  • Olupapula 236 Pawulo ng’asabira abantu abakooye b’ali nabo ku kyombo.

  • Olupapula 254 Pawulo ng’asibiddwa ku lujegere n’omusirikale Omuruumi, ng’atunuulira ekibuga kya Rooma.

ABANTU ABOOGERWAKO