EKITUNDU 6 • EBIKOLWA 15:36–18:22
“Ka Tuddeyo Tukyalire ab’Oluganda”
Mulimu ki omukulu abalabirizi abakyalira ebibiina gwe bakola mu kibiina Ekikristaayo? Mikisa ki gye tufuna bwe tukkiriza obuvunaanyizibwa obutuweebwa mu kibiina? Tuyinza tutya okukubaganya ebirowoozo n’abantu nga tukozesa Bayibuli, era tuyinza tutya okutuukagana n’embeera y’abantu be tuba tubuulira? Tugenda kufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo awamu n’ebirala nga twetegereza ebyo ebyaliwo ku lugendo lwa Pawulo olw’obuminsani olw’okubiri.