Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 18

“Basobole Okunoonya Katonda, . . . era Bamuzuule”

“Basobole Okunoonya Katonda, . . . era Bamuzuule”

Pawulo azimbira ku bintu byakkiriziganyako n’abamuwuliriza

Byesigamiziddwa ku Ebikolwa 17:16-34

1-3. (a) Kiki ekiviiriddeko omutume Pawulo obutaba musanyufu ng’ali mu kibuga Asene? (b) Kiki kye tuyinza okuyigira ku kyokulabirako Pawulo kye yassaawo?

 PAWULO si musanyufu n’akatono. Ali mu kibuga Asene ekya Buyonaani. Ekibuga kino kikulu nnyo mu by’enjigiriza, era Abafirosoofo abamanyifu gamba nga Socrates, Plato, ne Aristotle, baayigiririzanga mu kibuga kino. Abantu b’omu Asene bettanira nnyo eby’eddiini, era basinza bakatonda bangi. Buli wamu Pawulo w’atunula alaba bifaananyi ebisinzibwa. Biri mu yeekaalu, mu bibangirizi ebya lukale, ne ku nguudo. Pawulo amanyi engeri Yakuwa Katonda ow’amazima gy’atwalamu okusinza ebifaananyi. (Kuv. 20:4, 5) Omutume oyo omwesigwa alina endowooza y’emu Yakuwa gy’alina ku bifaananyi ebisinzibwa. Abikyayira ddala!

2 Ekyo Pawulo ky’alaba ng’ayingidde mu katale kyesisiwaza nnyo. Alaba ebifaananyi bingi ebya katonda ayitibwa Kerume nga biri ku luuyi olw’ebukiikakkono okumpi n’omulyango omunene oguyingira mu katale, era ng’omutwe n’ebitundu eby’ekyama eby’ebifaananyi ebyo bye bisinga okulabika. Akatale kajjudde ebifo we basinziza bakatonda ab’obulimba. Pawulo anaabuulira atya abantu b’omu kibuga kino abettanira ennyo okusinza ebifaananyi? Anaasobola okwefuga n’atabavumirira, n’afuna ekintu ky’akkiriziganyako nabo era n’azimbira ku ekyo? Anaasobola okubaako omuntu yenna gw’ayamba okunoonya Katonda ow’amazima n’okumuzuula?

3 Ebyo Pawulo bye yayogera eri abantu abayivu ab’omu Asene ebiri mu Ebikolwa 17:22-31, biraga nti yali mwogezi mulungi, era nti yayoleka amagezi n’okutegeera. Okwekenneenya ekyokulabirako Pawulo kye yassaawo kijja kutuyamba okumanya engeri gye tuyinza okuzimbira ku bintu bye tuba tukkiriziganyako n’abantu ababa batuwuliriza, ne tubayamba okufumiitiriza.

Ayigiriza “mu Katale” (Bik. 17:16-21)

4, 5. Kitundu ki Pawulo kye yabuuliramu ng’ali mu Asene, era bantu ba ngeri ki be yali agenda okubuulira?

4 Pawulo yagenda mu Asene ng’ali ku lugendo lwe olw’obuminsani olw’okubiri awo nga mu mwaka gwa 50 E.E. a Nga bwe yateranga okukola, bwe yali alindirira Siira ne Timoseewo bajje okuva e Beroya, yatandika “okukubaganya ebirowoozo n’Abayudaaya mu kkuŋŋaaniro.” Ate era yagenda mu “katale” gye yali asobola okusanga abantu b’omu Asene abataali Bayudaaya. (Bik. 17:17) Akatale k’omu Asene kaali ku yiika nga 12, era kaali bukiikakkono w’ekigo kya Asene ekimanyiddwa nga Acropolis. Akatale kano kaali tekatundirwamu bintu kyokka, naye era kaali kakola ng’ekibangirizi ky’ekibuga. Ekitabo ekimu kigamba nti akatale kano ye yali entabiro y’ekibuga “ey’eby’obusuubuzi, ey’eby’obufuzi, n’ey’eby’obuwangwa.” Abantu b’omu Asene baayagalanga nnyo okukuŋŋaanira mu katale ako okukubaganya ebirowoozo ku bintu ebitali bimu.

5 Abantu Pawulo be yali agenda okubuulira mu katale tebaali bangu. Mu bo mwalimu Abepikuliyo n’Abasutoyiiko, ab’omu masomero g’obufirosoofo agaali gaawukana mu ebyo bye gaali gayigiriza. b Abepikuliyo baali bagamba nti obulamu bwajjawo mu butanwa. Era baali bagamba nti, “Tekyetaagisa kutya Katonda; omuntu bw’aba afudde tawulira bulumi bwonna; era ebintu ebibi bisobola okugumiikirizibwa.” Ate bo Abasutoyiiko baali bassa nnyo essira ku bukulu bw’okufumiitiriza, n’ebintu okuba nga bikola amakulu. Abepikuliyo n’Abasutoyiiko baali tebakkiriza nti eriyo okuzuukira, ng’abayigirizwa ba Kristo bwe baabuuliranga. Kyeyoleka lwatu nti endowooza z’Abepikuliyo n’Abasutoyiiko zaali tezikwatagana n’ebyo Abakristaayo bye baali bakkiririzaamu, Pawulo bye yali abuulira.

6, 7. Abamu ku Bayonaani abayivu baatwala batya ebyo Pawulo bye yali ayigiriza, era leero mbeera ki efaananako n’eyo oluusi gye tusanga?

6 Abayonaani abayivu baatwala batya ebyo Pawulo bye yali ayigiriza? Abamu baagamba nti yali “ajoboja,” oba nti yali “mulonzi wa nsigo.” (Bik. 17:18) Ng’ayogera ku kigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa ‘okujoboja,’ omwekenneenya omu yagamba nti, “Mu kusooka ekigambo ekyo kyakozesebwanga okutegeeza akanyonyi akaagendanga nga kabojjerera obusigo. Oluvannyuma kyakozesebwanga okutegeeza abantu abaagendanga balondalonda emmere eyabanga esuuliddwa, oba ebintu ebirala ebyabanga bisuuliddwa mu katale. Ate era oluvannyuma ekigambo ekyo kyakozesebwanga mu ngeri ey’akabonero okutegeeza omuntu eyayogeranga ebintu ebitakwatagana bye yabanga awulidde okuva mu nsonda ezitali zimu.” Mu ngeri endala, abantu abo abayivu baali bagamba nti Pawulo yali musirusiru era nti yali ayogera ebintu bye yali awulidde obuwulizi ku balala. Kyokka nga bwe tugenda okulaba, ekyo Pawulo tekyamutiisa.

7 Bwe kityo bwe kiri ne leero. Emirundi mingi Abajulirwa ba Yakuwa bapaatiikibwako amannya olw’ebyo bye bakkiririzaamu ebyesigamiziddwa ku Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, abasomesa abamu bayigiriza nti ebintu tebyatondebwa, era nti abantu bonna abategeevu ekyo balina okukikkiriza. Abatakkiririza mu njigiriza eyo batwalibwa ng’abatalina magezi. Mu ngeri endala, abasajja abo abayivu baagala abantu balowooze nti tuli ‘balonzi ba nsigo,’ kwe kugamba, nti bye twogera tetubitegeera, bwe tulaga abantu obukakafu okuva mu Bayibuli nti ebintu byatondebwa. Naye ekyo tekitutiisa. Mu kifo ky’ekyo, tutegeeza abalala nga tetuliimu kubuusabuusa kwonna nti ebintu byonna ebiramu ebiri ku nsi waliwo eyabitonda, ng’ono ye Yakuwa Katonda.​—Kub. 4:11.

8. (a) Abamu baatwala batya ebyo Pawulo bye yali abuulira? (b) Lwaki Pawulo ayinza okuba nga yatwalibwa mu Aleyopaago? (Laba obugambo obuli wansi ku lupapula luno.)

8 Abalala abaawulira Pawulo ng’abuulira mu katale baakwatibwako mu ngeri ndala. Baagamba nti: “Alabika abuulira bikwata ku bakatonda abatali ba kuno.” (Bik. 17:18) Ddala abantu b’omu Asene Pawulo yali ababuulira ebikwata ku bakatonda abapya? Ekyo kye baagamba tekyali kintu kitono, kubanga kyali kifaananako n’omusango ogwavunaanibwa Socrates ebyasa bingi emabega era n’asalirwa ekibonerezo eky’okuttibwa. N’olwekyo tekyewuunyisa nti Pawulo yatwalibwa mu Aleyopaago era n’asabibwa okunnyonnyola ebyo bye yali ayigiriza ebyali birabika ng’ebipya eri abantu b’omu Asene. c Abantu abo abaali batamanyi Byawandiikibwa Pawulo yali agenda kubannyonnyola atya obubaka bwe?

“Abasajja b’Omu Asene, Nkirabye” (Bik. 17:22, 23)

9-11. (a) Pawulo yafuba atya okuzimbira ku ekyo kye yali akkiriziganyako n’abantu abaali bamuwuliriza? (b) Leero tuyinza tutya okumukoppa nga tubuulira?

9 Kijjukire nti Pawulo yawulira bubi nnyo bwe yalaba ebifaananyi ebingi ebisinzibwa. Mu kifo ky’okuvumirira okusinza ebifaananyi, yeefuga. Mu ngeri ey’amagezi, yaleetera abaaliwo okumuwuliriza ng’ayogera ku bintu bye yali akkiriziganyako nabo. Yatandika bw’ati: “Abasajja b’omu Asene, nkirabye nti mutya nnyo bakatonda okusinga abantu abalala bonna.” (Bik. 17:22) Mu ngeri endala, Pawulo yagamba nti, ‘Nkiraba nti muli bantu abettanira ennyo eby’eddiini.’ Mu ngeri ey’amagezi, Pawulo yabasiima olw’okwettanira ennyo eby’eddiini. Yakiraba nti abamu ku abo abaali babuzaabuziddwa enjigiriza ez’obulimba, baali basobola okukkiriza obubaka bwe yali abuulira. Pawulo yali akimanyi nti naye kennyini edda yakolanga ebintu ‘mu butamanya era nga talina kukkiriza.’​—1 Tim. 1:13.

10 Ng’azimbira ku ekyo kye yali akkiriziganyako n’abantu b’omu Asene, Pawulo yagamba nti yali akirabye nti abantu b’omu Asene baali bettanira eby’eddiini, era ng’ekyo kyali kirabikira ku kyoto kye baazimbira Katonda gwe baali batamanyi. Ekitabo ekimu kigamba nti: “Yalinga mpisa ya Bayonaani n’abantu abalala okuzimbira ‘bakatonda be batamanyi’ ebyoto, nga batya nti oboolyawo wayinza okubaawo katonda gwe baabanga batasinzizza eyandibanyiigidde.” Abantu b’omu Asene bwe baazimba ekyoto ng’ekyo, baakiraga nti baali bakkiriza nti eriyo Katonda gwe baali batamanyi. Pawulo bwe yamala okwogera ku kyoto ekyo, yakyusa mu ebyo bye yali ayogera, n’ababuulira ebikwata ku Katonda ow’amazima. Yagamba nti: “Oyo gwe musinza kyokka nga temumumanyi gwe mbabuulira.” (Bik. 17:23) Ebigambo bya Pawulo byalaga nti yali tababuulira bikwata ku katonda omupya ng’abamu bwe baagamba. Yali abannyonnyola ebikwata ku Katonda gwe baali batamanyi, kwe kugamba, Katonda ow’amazima.

11 Tuyinza tutya okukoppa Pawulo? Bwe tuba tubuulira, tuyinza okulaba ebintu ebiraga nti omuntu gwe tubuulira yettanira eby’eddiini. Kiyinza okuba ky’ayambadde, ebintu by’aba atimbye mu nnyumba, oba ekintu ekirala. Tuyinza okugamba omuntu nti: ‘Nkiraba nti oli muntu eyettanira eby’eddiini. Njagala nnyo okukubaganya ebirowoozo n’abantu abettanira eby’eddiini.’ Bwe tussa ekitiibwa mu nzikiriza z’omuntu, tuyinza okufunayo ekintu kye tukkiriziganyako naye kwe tuyinza okuzimbira okumubuulira. Kikulu okukijjukira nti ekigendererwa kyaffe si kya kusalira bantu musango olw’ebyo bye bakkiririzaamu. Mu bakkiriza bannaffe mulimu bangi abaali bakkiririza mu njigiriza z’amadiini ez’obulimba mu butamanya.

Yogera ku kintu ky’okkiriziganyako n’abo abakuwuliriza

Katonda “Tali Wala wa Buli Omu ku Ffe” (Bik. 17:24-28)

12. Pawulo yakyusakyusa atya mu ebyo bye yali ayogera okusobola okuyamba abaali bamuwuliriza okubitegeera?

12 Pawulo yali assizzaawo omusingi gwe yandisinziddeko okubuulira abo abaali bamuwuliriza. Naye yandiguzimbiddeko atya ne basobola okusigala nga bamuwuliriza? Olw’okuba yali akimanyi nti abaali bamuwuliriza baali baayigirizibwa obufirosoofo bw’Abayonaani era nga tebamanyi Byawandiikibwa, yakyusakyusa mu ebyo bye yali ayogera okusobola okutuukagana n’embeera yaabwe. Okusookera ddala, yababuulira enjigiriza za Bayibuli nga tajuliza Byawandiikibwa butereevu. Eky’okubiri, yaleetera abaali bamuwuliriza okuwulira nti teyali wa njawulo ku bo bwe yakozesa ebigambo gamba nga, “ffe.” Ekyokusatu, yajuliza mu biwandiiko by’Abayonaani okubayamba okukiraba nti ebintu ebimu bye yali ababuulira byali byogerwako ne mu biwandiiko byabwe. Kati ka twekenneenye ebyo Pawulo bye yayogera eri abantu abo. Bintu ki ebikulu ebikwata ku Katonda Abaasene gwe baali batamanyi bye yabayamba okutegeera?

13. Pawulo yalaga nti eggulu n’ensi byajjawo bitya, era nsonga ki gye yali ayagala abaali bamuwuliriza bategeere?

13 Katonda yatonda ebintu byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi. Pawulo yagamba nti: “Katonda eyakola ensi n’ebintu byonna ebigirimu ye Mukama w’eggulu n’ensi, era tabeera mu yeekaalu zikolebwa bantu.” d (Bik. 17:24) Eggulu n’ensi tebyajjawo mu butanwa. Katonda ow’amazima ye yatonda ebintu byonna. (Zab. 146:6) Okwawukana ku Asena ne bakatonda abalala be baalina okuzimbira yeekaalu, amasabo, n’ebyoto, okusobola okufuna ekitiibwa, Mukama Afuga Byonna ow’eggulu n’ensi tabeera mu yeekaalu ezizimbibwa abantu. (1 Bassek. 8:27) Ensonga Pawulo gye yali abategeeza y’eno: Katonda ow’amazima wa kitiibwa nnyo okusinga ebifaananyi ebikolebwa abantu ebibeera mu yeekaalu ezizimbibwa abantu.​—Is. 40:18-26.

14. Pawulo yakiraga atya nti Katonda tabeerawo olw’ebyo abantu bye bamuwa?

14 Katonda tabeerawo olw’ebyo abantu bye bamuwa. Abantu abaali basinza ebifaananyi baayambazanga ebifaananyi ebyo ebyambalo eby’ebbeeyi, baabiwanga ebirabo eby’omuwendo, oba baabireeteranga eby’okulya n’ebyokunywa, nga gy’obeera nti ebifaananyi ebyo byali byetaaga ebintu ebyo! Kyokka abamu ku bafirosoofo Abayonaani abaali bawuliriza Pawulo bayinza okuba nga baali bakikkiriza nti bakatonda tebeetaaga kintu kyonna okuva eri abantu. Bwe kiba nti bwe kityo bwe kyali, bateekwa okuba nga bakkiriziganya n’ekyo Pawulo kye yagamba nti Katonda “teyeetaaga bantu kumuweereza nga gy’obeera nti alina kye yeetaaga kyonna.” Mu butuufu, tewali kintu bantu kye bayinza kuwa Mutonzi kye yeetaaga okusobola okubaawo! Mu kifo ky’ekyo, ye y’awa abantu bye beetaaga, gamba ‘ng’obulamu, omukka gwe bassa, n’ebintu ebirala byonna,’ omuli omusana, enkuba, n’ettaka eribaza emmere. (Bik. 17:25; Lub. 2:7) N’olwekyo, Katonda awa abantu ebintu bye beetaaga, tabeerawo olw’ebyo abantu bye bamuwa.

15. Pawulo yayamba atya abantu b’omu Asene okukiraba nti tekyali kituufu okwetwala nti baali ba waggulu ku bantu abataali Bayonaani, era kintu ki ekikulu kye tuyigira mu kyokulabirako kye yassaawo?

15 Katonda ye yatonda abantu. Abantu b’omu Asene baali bakitwala nti baali ba waggulu ku bantu abataali Bayonaani. Naye okwenyumiririza mu ggwanga oba mu langi kikontana n’ekyo Bayibuli ky’egamba. (Ma. 10:17) Ensonga eyo eyali eyinza okuleetawo obuzibu, Pawulo yagyogerako mu ngeri ey’amagezi. Bwe yagamba nti “[Katonda] yakola okuva mu muntu omu amawanga gonna ag’abantu,” yaleetera abo abaali bamuwuliriza okufumiitiriza. (Bik. 17:26) Awo yali ajuliza ebyo ebiri mu kitabo ky’Olubereberye ebyogera ku Adamu abantu bonna mwe baasibuka. (Lub. 1:26-28) Okuva bwe kiri nti abantu bonna baasibuka mu muntu omu, bonna benkana, ka babe ba langi ki oba ggwanga ki. Tewaliiwo wa waggulu ku munne. Kya lwatu nti abaali bawuliriza Pawulo ensonga eyo baagitegeera bulungi. Waliwo ekintu ekikulu kye tuyiga mu kyokulabirako Pawulo kye yassaawo. Wadde nga bwe tuba tubuulira tusaanidde okuba abeegendereza n’okwogera mu ngeri ey’amagezi, tetusaanidde kwewala kwogera ku nsonga ezimu eziri mu Bayibuli olw’okutya okunyiiza abalala.

16. Katonda yalina kigendererwa ki okutonda abantu?

16 Katonda ayagala abantu babe n’enkolagana ey’oku lusegere naye. Wadde ng’abafirosoofo abaali bawuliriza Pawulo baali bamaze ekiseera kiwanvu nga bawa endowooza ez’enjawulo ku nsonga lwaki abantu weebali, engeri gye baali bannyonnyolamu ensonga eyo yali tematiza. Kyokka Pawulo yayoleka bulungi ekigendererwa Katonda kye yalina mu kutonda abantu. Yagamba nti yabatonda basobole ‘okumunoonya, bamuwammante, era bamuzuule, wadde nga tali wala wa buli omu ku ffe.’ (Bik. 17:27) Katonda abantu b’omu Asene gwe baali batamanyi yali asobola okumanyibwa. Mu butuufu, tali wala w’abo abaagala okumuzuula era abaagala okumanya ebimukwatako. (Zab. 145:18) Weetegereze nti Pawulo yakozesa ebigambo, “buli omu ku ffe.” Mu kukozesa ebigambo ebyo yakyoleka nti yali omu ku abo abaali beetaaga “okunoonya” Katonda ‘n’okumuwammanta.’

17, 18. Lwaki abantu basaanidde okuwulira nti balina enkolagana ne Katonda, era kiki kye tuyigira ku ngeri Pawulo gye yatuuka ku mitima gy’abaali bamuwuliriza?

17 Abantu basaanidde okuwulira nti balina enkolagana ne Katonda. Pawulo yagamba nti ku bwa Katonda “tuli balamu, tutambula, era weetuli.” Abeekenneenya abamu bagamba nti mu kwogera ebigambo ebyo, Pawulo yali ajuliza ebigambo bya Epimenides, omuyiiya w’ebitontome ow’e Kuleete eyaliwo mu kyasa eky’omukaaga E.E.T., era “eyali assibwamu ekitiibwa mu ddiini y’Abaasene.” Pawulo yalaga ensonga endala lwaki abantu basaanidde okuwulira nti balina enkolagana ne Katonda. Yagamba nti: “Abamu ku bayiiya b’ebitontome mu mmwe . . . bagamba nti, ‘Naffe tuli baana be.’” (Bik. 17:28) Abantu basaanidde okuwulira nti balina enkolagana ne Katonda, kubanga ye yatonda omuntu abantu bonna mwe baasibuka. Okusobola okutuuka ku mitima gy’abaali bamuwuliriza, Pawulo yajuliza butereevu mu biwandiiko by’Abayonaani abaali bamuwuliriza bye baali bakkiririzaamu. e Nga tukoppa ekyokulabirako kya Pawulo, naffe ebiseera ebimu tuyinza okujuliza ebiri mu bitabo by’ebyafaayo, mu nkuluze, oba mu bitabo ebirala. Ng’ekyokulabirako, bwe tubaako ekintu ekimu ekituukirawo kye tujuliza okuva mu bitabo ebyesigika, kiyinza okuyamba omuntu atali Mujulirwa wa Yakuwa okumanya ensibuko y’emikolo n’ebintu ebimu ebikolebwa mu ddiini ez’obulimba.

18 Tukirabye nti Pawulo yafuna kye yali akkiriziganyako n’abaali bamuwuliriza, era mu ngeri ey’amagezi n’azimbira okwo n’ababuulira ebikwata ku Katonda. Kiki Pawulo kye yali ayagala abantu b’omu Asene bakole oluvannyuma lw’okubabuulira ebintu ebyo? Mu ebyo bye yaddako okwogera yababuulira kye baalina okukola.

“Abantu Yonna Gye Bali . . . Beenenye” (Bik. 17:29-31)

19, 20. (a) Mu ngeri ey’amagezi Pawulo yakiraga atya nti tekyali kya magezi kusinza bifaananyi? (b) Kiki abo abaali bawuliriza Pawulo kye baalina okukola?

19 Pawulo yali mwetegefu okukubiriza abaali bamuwuliriza okubaako kye bakolawo. Ng’ayogera nate ku bigambo ebyali mu biwandiiko by’Abayonaani bye yali ajulizza, yagamba nti: “Okuva bwe tuli abaana ba Katonda, tetusaanidde kulowooza nti Katonda alinga zzaabu, ffeeza, oba ejjinja, oba ekintu ekyole abantu kye baakola okusinziira ku magezi gaabwe.” (Bik. 17:29) Bwe kiba nti Katonda ye yatonda abantu, ddala asobola okuba ebifaananyi ebikolebwa abantu? Engeri ey’amagezi Pawulo gye yannyonnyolamu ensonga eyo yalaga nti tekiba kya magezi kusinza bifaananyi ebikolebwa abantu. (Zab. 115:4-8; Is. 44:9-20) Pawulo bwe yagamba nti “tetusaanidde,” yayamba abaali bamuwuliriza obutayisibwa bubi nnyo olw’ebyo bye yali ababuulira kubanga naye kennyini yeeteekamu.

20 Pawulo yakyoleka bulungi nti abantu abo baalina okubaako kye bakolawo. Yagamba nti: “Katonda yabuusa amaaso ebiseera eby’obutamanya obwo [obw’okulowooza nti Katonda yali asanyukira abantu abaali basinza ebifaananyi], naye kaakano agamba abantu yonna gye bali nti beenenye.” (Bik. 17:30) Abamu ku abo abaali bawuliriza Pawulo bayinza okuba nga beewuunya bwe yagamba nti baalina okwenenya. Naye ebyo bye yayogera byakyoleka bulungi nti Katonda ye yabawa obulamu, era olw’ensonga eyo baali bavunaanyizibwa gy’ali. Baalina okunoonya Katonda, okuyiga amazima agamukwatako, n’okutambuliza obulamu bwabwe ku mazima ago. Eri abantu b’omu Asene, ekyo kyali kitegeeza nti baalina okulekayo okusinza ebifaananyi kubanga ekyo tekisanyusa Katonda.

21, 22. Pawulo yakomekkereza na bigambo ki, era ebigambo ebyo birina makulu ki gye tuli leero?

21 Pawulo yakomekkereza agamba nti: “[Katonda] ataddewo olunaku lw’ajja okulamulirako ensi mu butuukirivu ng’ayitira mu muntu gw’alonze, era awadde abantu bonna obukakafu ng’amuzuukiza mu bafu.” (Bik. 17:31) Okukimanya nti eriyo Olunaku olw’Okusalirako Omusango, kyandireetedde abantu okunoonya Katonda ow’amazima n’okumuzuula! Pawulo teyayogera linnya lya Mulamuzi eyalondebwa. Wabula alina ekintu ekyewuunyisa kye yayogera ku Mulamuzi oyo. Yagamba nti Omulamuzi oyo yaliko omuntu, n’afa, era oluvannyuma Katonda n’amuzuukiza!

22 Ebyo Pawulo bye yayogera ng’akomekkereza bya makulu nnyo gye tuli leero. Tukimanyi nti Omulamuzi Katonda gwe yalonda ye Yesu Kristo eyazuukizibwa. (Yok. 5:22) Ate era tukimanyi nti Olunaku olw’Okusalirako Omusango lujja kumala emyaka lukumi era lunaatera okutuuka. (Kub. 20:4, 6) Tetutya Lunaku lwa Kusalirako Musango, kubanga tukimanyi nti mu kiseera ekyo abantu abeesigwa bajja kufuna emikisa mingi nnyo. Okuba nti Yesu Kristo yazuukizibwa, bukakafu obulaga nti ebintu ebirungi bye tusuubira okubaawo mu biseera eby’omu maaso bijja kutuukirira!

‘Abamu Baafuuka Bakkiriza’ (Bik. 17:32-34)

23. Ebyo Pawulo bye yayogera byakwata bitya ku bantu?

23 Abo abaali bawuliriza Pawulo ng’ayogera baakwatibwako mu ngeri ya njawulo. Bayibuli eraga nti “abamu” baamujerega bwe baawulira ng’ayogedde ku kuzuukira. Ate wadde ng’abalala tebaamuwakanya, baagamba nti: “Tujja kukuwuliriza n’omulundi omulala ng’oyogera ku nsonga eno.” (Bik. 17:32) Kyokka waliwo abatonotono abaasiima ebyo bye yayogera. Bayibuli egamba nti: “Abantu abamu ne bamwegattako ne bafuuka bakkiriza. Mu bano mwalimu Diyonusiyo eyali omulamuzi mu kkooti y’oku Aleyopaago, n’omukyala ayitibwa Damali, n’abalala.” (Bik. 17:34) Abantu be tubuulira leero nabo bwe batyo bwe bali. Abamu bayinza okutujerega, ate abalala wadde nga tebatuwakanya, tebakkiriza mawulire ge tubabuulira. Kyokka tusanyuka nnyo abamu bwe bawuliriza obubaka bw’Obwakabaka era ne bafuuka abaweereza ba Yakuwa.

24. Biki bye tuyigira ku ebyo Pawulo bye yayogera ng’ali mu Aleyopaago?

24 Bwe tufumiitiriza ku ngeri Pawulo gye yayogeramu n’abantu b’omu Asene, tukiraba nti kikulu okusengeka ensonga mu ngeri ey’amagezi, okuwa obukakafu obumatiza, era n’okutuukanya ebyo bye twogera n’embeera y’abo ababa batuwuliriza. Ate era tukiraba nti bwe tuba nga tubuulira abantu ababa babuzaabuziddwa enjigiriza ez’obulimba, kikulu okuba abagumiikiriza n’okwogera mu ngeri ey’amagezi. Ate era waliwo n’ekintu kino ekikulu kye tuyiga: Tetusaanidde kulekayo kwogera ku mazima agamu agali mu Bayibuli olw’okutya okunyiiza abo ababa batuwuliriza. Bwe tukoppa ekyokulabirako ekirungi omutume Pawulo kye yassaawo, tusobola okuba abayigiriza abalungi nga tukola omulimu gw’okubuuulira. Ate era ekyokulabirako kye kisobola okuyamba abalabirizi okweyongera okuba abayigiriza abalungi mu kibiina. Mu butuufu, ekyokulabirako kye kijja kutusobozesa okukola obulungi omulimu gw’okuyamba abalala “okunoonya Katonda . . . era bamuzuule.”​—Bik. 17:27.

b Laba akasanduuko “ Abepikuliyo n’Abasutoyiiko.”

c Aleyopaago yali esangibwa mu bukiikakkono bw’ekigo kya Acropolis, era yali ekozesebwa nga kkooti ey’oku ntikko ey’omu Asene. Ekigambo “Aleyopaago” kiyinza okuba nga kitegeeza kkooti eyo enkulu ey’omu Asene oba olusozi kkooti eyo kwe yali. N’olwekyo, abeekenneenya balina endowooza za njawulo ku wa Pawulo gye yatwalibwa. Abamu bagamba nti yatwalibwa ku lusozi olwo, oba okumpi nalwo. Ate abalala bagamba nti yatwalibwa mu kifo ekirala kkooti eyo we yali esobola okutuula, gamba nga mu katale.

d Ekigambo ky’Oluyonaani koʹsmos ekyavvuunulwa nga “ensi,” Abayonaani baakikozesanga okutegeeza ebitonde ebiri ku ggulu n’ebiri mu nsi. Olw’okuba Pawulo yali ayagala okuzimbira ku kintu kye yali akkiriziganyako n’abaali bamuwuliriza, kirabika ekigambo ky’Oluyonaani kye yakozesa kirina amakulu ago.

e Pawulo yajuliza ebigambo ebyali mu kitontome ekyayiiyizibwa Omusutoyiiko eyali ayitibwa Aratus. Ebigambo ebifaananako n’ebyo bisangibwa mu biwandiiko ebirala eby’Oluyonaani, omuli ebyo ebyawandiikibwa Omusutoyiiko eyali ayitibwa Cleanthes.