Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 17

“Yakubaganya Nabo Ebirowoozo ku Byawandiikibwa”

“Yakubaganya Nabo Ebirowoozo ku Byawandiikibwa”

Ekisobozesa okuyigiriza obulungi; Ab’e Beroya bassaawo ekyokulabirako ekirungi

Byesigamiziddwa ku Ebikolwa 17:1-15

1, 2. Baani abali ku lugendo nga bava e Firipi okugenda e Ssessalonika, era bayinza okuba nga balowooza ku ki?

 PAWULO, SIIRA, NE TIMOSEEWO bavudde mu kibuga ky’e Firipi, era kati bagenda mu kibuga ky’e Ssessalonika ekyesudde mayiro ezisukka mu 80. Oluguudo lwe bayitamu lwazimbibwa bulungi era luyita mu kitundu eky’ensozi. Oluguudo olwo luyitamu abantu bangi nnyo, kirabika omuli abasirikale, abasuubuzi, n’abalala. Abamu ku bo batambulira ku ndogoyi ate abalala ku bigaali ebisikibwa embalaasi. Olugendo abaminsani abo lwe baliko si lwangu, naddala eri Pawulo ne Siira. Balina obulumi mu mubiri olw’ebiwundu bye baafunye oluvannyuma lw’okukubibwa emiggo mu kibuga ky’e Firipi.​—Bik. 16:22, 23.

2 Kiki ekiyamba abasajja abo obutalowooza ku lugendo oluwanvu lwe bakyabuzaayo okutambula? Ze mboozi ze bagenda banyumya. Ekimu ku bintu bye balowoozaako ye mukulu w’ekkomera e Firipi eyafuuse omugoberezi wa Kristo awamu n’ab’omu maka ge. Ekyokulabirako ky’omusajja oyo kyaleetedde Pawulo ne banne okweyongera okuba abamalirivu okubuulira ekigambo kya Katonda. Kyokka bwe baba banaatera okutuuka mu kibuga ky’e Ssessalonika ekiri ku mwalo, bayinza okuba nga beebuuza engeri Abayudaaya mu kibuga kino gye banaabayisaamu. Banaabalumba, era oboolyawo ne babakuba nga bwe kyali mu Firipi?

3. Okufumiitiriza ku ngeri Pawulo gye yafunamu obuvumu n’asobola okubuulira kiyinza kitya okutuyamba?

3 Nga wayise ekiseera, Pawulo yalaga engeri gye yali awuliramu mu bbaluwa gye yawandiikira Abakristaayo mu Ssessalonika. Yagamba nti: “Twasooka kubonaabona n’okuyisibwa obubi ennyo mu Firipi, nga bwe mumanyi, Katonda waffe yatusobozesa okuba abavumu ne tubabuulira amawulire ga Katonda amalungi mu kuziyizibwa okw’amaanyi ennyo.” (1 Bas. 2:2) Ebigambo ebyo biraga nti Pawulo ayinza okuba nga yali atidde okuyingira mu kibuga ky’e Ssessalonika, naddala bwe yalowooza ku ebyo ebyaliwo mu kibuga ky’e Firipi. Otegeera ensonga lwaki Pawulo yali awulira bw’atyo? Naawe oluusi owulira ng’ozibuwaliddwa okubuulira abalala amawulire amalungi? Pawulo yeesiga Yakuwa okumuwa amaanyi n’obuvumu bwe yali yeetaaga. Okwekenneenya ekyokulabirako kye naffe kijja kutuyamba okukola kye kimu.​—1 Kol. 4:16.

‘Yakubaganya Nabo Ebirowoozo ku Byawandiikibwa’ (Bik. 17:1-3)

4. Lwaki tuyinza okugamba nti Pawulo yamala mu Ssessalonika ebbanga erisukka mu wiiki ssatu?

4 Bayibuli eraga nti Pawulo bwe yali mu Ssessalonika yabuulira mu kkuŋŋaaniro okumala Ssabbiiti ssatu. Ekyo kitegeeza nti Pawulo yamala mu kibuga ekyo wiiki ssatu zokka? Nedda. Tetumanyi ddi Pawulo lwe yasooka okugenda mu kkuŋŋaaniro oluvannyuma lw’okutuuka mu Ssessalonika. Ate era ebbaluwa Pawulo ze yawandiika ziraga nti bwe yali mu Ssessalonika, ye ne banne balina omulimu gwe baakola okweyimirizaawo. (1 Bas. 2:9; 2 Bas. 3:7, 8) Era Pawulo bwe yali mu kibuga ekyo, emirundi ebiri yafuna obuyambi okuva eri ab’oluganda ab’omu Firipi. (Baf. 4:16) N’olwekyo kirabika Pawulo yamala mu Ssessalonika ebbanga erisukka mu wiiki ssatu.

5. Mu ngeri ki Pawulo gye yafuba okutuuka ku mitima gy’abantu?

5 Oluvannyuma lw’okufuna obuvumu, Pawulo yabuulira abantu abaali mu kkuŋŋaaniro. Ng’enkola ye bwe yali, yakubaganya “nabo ebirowoozo ku Byawandiikibwa, . . . ng’annyonnyola era ng’akozesa obukakafu obuli mu buwandiike okulaga nti Kristo yalina okubonaabona n’okuzuukizibwa mu bafu, ng’agamba nti: ‘Yesu oyo gwe mbabuulira ye Kristo.’” (Bik. 17:2, 3) Weetegereze nti Pawulo teyagezaako kukyamuukiriza abo abaali bamuwuliriza, wabula yayogera nabo mu ngeri eyabaleetera okufumiitiriza. Yali akimanyi nti abo abaali mu kkuŋŋaaniro baali bamanyi Ebyawandiikibwa era nga babikkiririzaamu. Wadde kyali kityo, baali tebabitegeera bulungi. N’olwekyo Pawulo yakubaganya nabo ebirowoozo, yabannyonnyola, era n’abalaga obukakafu okuva mu Byawandiikibwa nti Yesu ow’e Nazaaleesi ye yali Masiya oba Kristo eyasuubizibwa.

6. Yesu yakozesa atya Ebyawandiikibwa, era biki ebyavaamu?

6 Pawulo yakoppa ekyokulabirako kya Yesu. Yesu bwe yabanga ayigiriza yakozesanga Ebyawandiikibwa. Ng’ekyokulabirako, yagamba abagoberezi be nti okusinziira ku Byawandiikibwa, Omwana w’omuntu alina okubonaabona, okuttibwa, n’okuzuukizibwa. (Mat. 16:21) Yesu bwe yamala okuzuukira yalabikira abayigirizwa be. Ekyo kyalaga nti bye yali yabagamba byali bituufu. Kyokka Yesu yakola ekyali kisingawo ku ekyo. Ng’eyogera ku ebyo bye yategeeza abamu ku bayigirizwa be, Bayibuli egamba nti: “N’abannyonnyola ebintu ebyali bimwogerwako mu Byawandiikibwa byonna ng’atandikira ku ebyo ebyawandiikibwa Musa ne bannabbi bonna.” Biki ebyavaamu? Abayigirizwa baagamba nti: “Emitima gyaffe tegyakwatiddwako nnyo bwe yabadde ng’ayogera naffe mu kkubo era ng’atunnyonnyola Ebyawandiikibwa?”​—Luk. 24:13, 27, 32.

7. Lwaki kikulu okukozesa Ebyawandiikibwa nga tuyigiriza?

7 Obubaka obuli mu Kigambo kya Katonda bulina amaanyi. (Beb. 4:12) N’olwekyo, Abakristaayo leero bwe baba bayigiriza bakozesa Ekigambo kya Katonda nga Yesu, Pawulo, n’abatume abalala bwe baakola. Naffe tukubaganya ebirowoozo n’abantu, tubannyonnyola amakulu g’ebyawandiikibwa, era tubawa obukakafu ku ebyo bye tuba tubabuulira nga tubalaga ekyo Bayibuli ky’egamba. Obubaka bwe tubabuulira si bwaffe. Bwe tukozesa Bayibuli nga tubuulira, tuyamba abantu okukitegeera nti bye tubabuulira si ndowooza yaffe, wabula bubaka obuva eri Katonda. Ate era kikulu naffe okukijjukiranga nti obubaka bwe tubuulira buva mu Kigambo kya Katonda; n’olwekyo bwesigika. Ekyo tekikuyamba okufuna obuvumu okubuulira abalala nga Pawulo bwe yakola?

“Abamu ku Bo Baafuuka Bakkiriza” (Bik. 17:4-9)

8-10. (a) Abantu b’omu Ssessalonika baatwala batya amawulire amalungi? (b) Lwaki abamu ku Bayudaaya baakwatirwa Pawulo obuggya? (c) Kiki Abayudaaya abaakwatirwa Pawulo obuggya kye baakola?

8 Pawulo yali alabye obutuufu bw’ebigambo bya Yesu bino: “Omuddu tasinga mukama we. Bwe baba nga nze banjigganyizza, nammwe bajja kubayigganya; bwe baba nga bakutte ekigambo kyange, n’ekyammwe bajja kukikwata.” (Yok. 15:20) Ekyo kyennyini Pawulo kye yalaba mu Ssessalonika. Abamu ku bantu baayo baali baagala nnyo okukolera ku ebyo ebyababuulirwa, ate abalala baabiwakanya. Ng’ayogera ku abo abaawuliriza obubaka Pawulo bwe yali abuulira, Lukka yagamba nti: “Abamu ku bo [Abayudaaya] baafuuka bakkiriza [Bakristaayo] ne beegatta ku Pawulo ne Siira, n’Abayonaani bangi abaasinzanga Katonda era n’abakazi bangi ab’ebitiibwa nabo ne babeegattako.” (Bik. 17:4) Abayigirizwa abo abapya baasanyuka nnyo bwe baayambibwa okutegeera Ebyawandiikibwa.

9 Wadde ng’abamu baasanyuka nnyo okuwulira obubaka Pawulo bwe yali abuulira, abalala bwabanyiiza. Abamu ku Bayudaaya mu Ssessalonika baakwatirwa Pawulo obuggya olw’okuyamba “Abayonaani bangi” okufuuka Abakristaayo. Olw’okuba Abayudaaya abo baali bayigirizza Abayonaani Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya nga balina ekigendererwa eky’okubakyusa okubazza mu ddiini y’Ekiyudaaya, baali babatwala ng’abaabwe. Kyokka kati Pawulo yali alabika ng’ababbako Abayonaani abo, ate ng’ababba mu kkuŋŋaaniro lyabwe lyennyini! Eyo ye nsonga lwaki Abayudaaya baali basunguwavu.

“Ne . . . banoonya Pawulo ne Siira babatwale eri ekibinja ky’abantu.”​—Ebikolwa 17:5

10 Lukka atubuulira ekyaddako. Agamba nti: “Abayudaaya ne bakwatibwa obuggya, ne bakuŋŋaanya abantu ababi abaali bakireereese mu katale, ne bakola ekibinja ne basasamaza ekibuga. Ne balumba ennyumba ya Yasooni nga banoonya Pawulo ne Siira babatwale eri ekibinja ky’abantu. Bwe bataabasangayo, ne bawalaawala Yasooni awamu n’ab’oluganda abamu ne babatwala eri abafuzi b’ekibuga, nga bwe boogerera waggulu nti: ‘Abasajja bano abaleeta emitawaana buli wamu batuuse ne wano, era Yasooni abasembezza. Abasajja bano bonna bawakanya amateeka ga Kayisaali nga bagamba nti waliwo kabaka omulala, Yesu.’” (Bik. 17:5-7) Ekyo ekibinja ky’abantu abo kye kyakola kyandikutte kitya ku Pawulo ne banne?

11. Misango ki gye baasiba ku Pawulo ne banne, era abo abaabasibako emisango bayinza okuba nga baali balowooza ku kiragiro ki? (Laba obugambo obuli wansi.)

11 Abantu abasunguwavu bwe baba awamu mu kibinja baba ba mutawaana nnyo. Bakola ebintu eby’obukambwe era kiba kizibu okubakomako. Eyo ye nsonga lwaki Abayudaaya baakozesa ekibinja ky’abantu ng’abo okugezaako okugoba Pawulo ne Siira mu Ssessalonika. Oluvannyuma lw’Abayudaaya abo ‘okusasamaza ekibuga,’ baagezaako okukakasa abakulu b’ekibuga nti emisango gye baali bavunaana Pawulo ne banne gyali gya nnaggomola. Okusookera ddala baagamba nti Pawulo ne banne baali ‘baleeta emitawaana buli wamu,’ wadde nga Pawulo ne banne si be baali baviiriddeko ekibuga ky’e Ssessalonika okubaamu akajagalalo! Omusango ogw’okubiri gwe baali babavunaana gwali munene nnyo n’okusingawo. Abayudaaya baali bagamba nti Pawulo ne banne baali balangirira Kabaka omulala, ayitibwa Yesu, era ng’ekyo kyali kikontana n’ebiragiro bya kabaka wa Rooma. a

12. Kiki ekiraga nti emisango egyasibibwa ku Bakristaayo mu Ssessalonika gyali gisobola okubaviirako emitawaana egy’amaanyi?

12 Kijjukire nti abakulembeze b’eddiini baasiba ku Yesu omusango ng’ogwo. Baagamba Piraato nti: “Omusajja ono twamusanga ng’ajeemesa eggwanga lyaffe . . . ng’agamba nti ye kennyini ye Kristo kabaka.” (Luk. 23:2) Oboolyawo olw’okuba Piraato yali atya nti kabaka wa Rooma yali ayinza okukitwala nti yali awagira ebikolwa eby’okulya mu bwakabaka bwa Rooma olukwe, yawaayo Yesu attibwe. Mu ngeri y’emu, emisango egyasibibwa ku Bakristaayo mu Ssessalonika gyali giyinza okubaviirako okuweebwa ebibonerezo ebikakali. Ekitabo ekimu kigamba nti: “Obulamu bw’abantu abo bwali mu kabi, kubanga ‘omuntu yenna eyalowoozebwanga nti yali ayagala okulya mu kabaka wa Rooma olukwe, emirundi mingi yasalirwanga ogw’okufa.’” Biki ebyava mu bulumbaganyi obwo?

13, 14. (a) Lwaki ekibinja ky’abantu tekyasobola kulemesa mulimu gwa kubuulira? (b) Pawulo yakiraga atya nti yali mwegendereza, era tuyinza tutya okumukoppa?

13 Ekibinja ky’abantu ekyalumba abayigirizwa tekyasobola kulemesa mulimu gwa kubuulira mu Ssessalonika. Lwaki? Ekisooka, tebaasobola kuzuula Pawulo ne Siira. Ate ekirala, abafuzi b’ekibuga tebaali bakakafu nti ddala abayigirizwa baali bazzizza emisango egyali gibavunaanibwa. N’olwekyo, oluvannyuma lw’okusasuza Yasooni n’ab’oluganda abalala abaali baleeteddwa mu maaso gaabwe ssente ez’okweyimirirwa, baabata ne bagenda. (Bik. 17:8, 9) Ng’akolera ku ekyo Yesu kye yagamba nti abayigirizwa be basaanidde okuba ‘abeegendereza ng’emisota ng’ate tebaliiko kya kunenyezebwa ng’amayiba,’ Pawulo yeekweka n’atatuusibwako kabi asobole okubuulira mu bitundu ebirala. (Mat. 10:16) Kya lwatu, okuba nti Pawulo yali muvumu kyali tekitegeeza nti teyalina kuba mwegendereza. Abakristaayo bayinza batya okumukoppa?

14 Ne leero abakulembeze b’eddiini za Kristendomu emirundi mingi bakuma omuliro mu bantu okulumba Abajulirwa ba Yakuwa. Basibye ku Bajulirwa ba Yakuwa emisango gy’okujeemera gavumenti oba okulya mu gavumenti olukwe, ne kiviirako abafuzi mu nsi ezitali zimu okubayigganya. Nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, ne mu kiseera kino obuggya bwe buviirako abakulembeze b’eddiini okuyigganya Abajulirwa ba Yakuwa. Kyokka Abakristaayo ab’amazima beewala okussa obulamu bwabwe mu kabi. Bwe tuba tukola omulimu gwaffe, twewala okuwakana oba okukaayana n’abantu abakambwe era abakalambira ku ndowooza yaabwe, olw’okuba twagala okweyongera okugukola mu mirembe. Oluvannyuma embeera bw’edda mu nteeko, tuyinza okukomawo mu kitundu ekyo.

“Baalina Endowooza Ennuŋŋamu” (Bik. 17:10-15)

15. Abantu b’e Beroya baatwala batya amawulire amalungi?

15 Okusobola okukakasa nti Pawulo ne Siira tebatuusibwako kabi, baasindikibwa e Beroya ekyali kyesudde mayiro nga 40. Bwe baatuukayo, Pawulo yagenda mu kkuŋŋaaniro n’ayogera eri abantu abaali bakuŋŋaanye. Ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo abantu abo bwe basiima obubaka bwe yababuulira. Lukka yagamba nti Abayudaaya ab’omu Beroya “baalina endowooza ennuŋŋamu okusinga ab’e Ssessalonika, kubanga bakkiriza mangu ekigambo, era buli lunaku beekenneenyanga n’obwegendereza Ebyawandiikibwa okulaba obanga ebyo bye baawulira byali bituufu.” (Bik. 17:10, 11) Ebigambo ebyo biraga nti abantu b’omu Ssessalonika abaali bafuuse Abakristaayo tebaalina ndowooza nnungi? Nedda. Kubanga oluvannyuma Pawulo yabawandiikira n’abagamba nti: “Twebaza Katonda obutayosa, kubanga bwe mwafuna ekigambo kya Katonda kye mwawulira okuva gye tuli, temwakikkiriza ng’ekigambo ky’abantu, naye mwakikkiriza ng’ekigambo kya Katonda, nga bwe kiri ddala, era kikolera mu mmwe abakkiriza.” (1 Bas. 2:13) Naye lwaki kigambibwa nti abantu b’omu Beroya baalina endowooza ennuŋŋamu?

16. Lwaki kituukirawo okugamba nti abantu b’e Beroya “baalina endowooza ennuŋŋamu”?

16 Wadde ng’abantu b’e Beroya ebintu bye baali bawulira baali tebabiwulirangako, tebaabyekengera wadde okubivumirira. Kyokka era tebaamala gabikkiriza. Okusookera ddala, baawuliriza n’obwegendereza ebyo Pawulo bye yali ababuulira. Oluvannyuma baanoonyereza mu Byawandiikibwa Pawulo bye yali yaakamala okubannyonnyola okukakasa obanga ebyo ebyali bibabuuliddwa byali bituufu. Ate era baasomanga Ekigambo kya Katonda, si ku Ssabbiiti lwokka, wabula buli lunaku. Era baafuba okulaba ekyo Ebyawandiikibwa kye byali byogera ku bintu ebipya bye baali baakayiga. Oluvannyuma baakola enkyukakyuka, kubanga Bayibuli eraga nti “bangi ku bo baafuuka bakkiriza.” (Bik. 17:12) N’olwekyo, tekyewuunyisa nti Lukka yagamba nti: “Baalina endowooza ennuŋŋamu”!

17. Lwaki ekyokulabirako abantu b’e Beroya kye bassaawo kirungi nnyo, era tuyinza tutya okweyongera okubakoppa ka tube nga tumaze bbanga ki nga tuweereza Yakuwa?

17 Abantu b’e Beroya tebaakimanya nti ekyo kye baakola nga bawulidde amawulire amalungi Katonda yandibadde akiwandiisa mu Kigambo kye okuba ekyokulabirako eri abaweereza be bonna mu mirembe egyandizzeewo. Baakolera ddala ekyo Pawulo kye yali abasuubira okukola, era Yakuwa kye yali ayagala bakole. Naffe ekyo kye tukubiriza abantu okukola, kwe kugamba, okwekenneenya Bayibuli n’obwegendereza, okukkiriza kwabwe kube nga kwesigamye ku Kigambo kya Katonda. Naye bwe tumala okufuuka abaweereza ba Yakuwa kiba tekikyatwetaagisa kwekenneenya Byawandikiibwa n’obwegendereza? Kya lwatu nedda. Tuba twetaaga nnyo okuyigirizibwa Yakuwa n’okukolera mangu ku ebyo by’atuyigiriza. Bwe tukola bwe tutyo, tuba tukkiriza Yakuwa okutubumba n’okututendeka okukola by’ayagala. (Is. 64:8) Bwe kityo, tweyongera okuba ab’omugaso eri Kitaffe ow’omu ggulu era tuba tumusanyusa.

18, 19. (a) Lwaki Pawulo yava e Beroya, era kyakulabirako ki ekirungi kye yassaawo kye tusaanidde okukoppa? (b) Baani Pawulo be yali agenda okuddako okubuulira?

18 Pawulo teyamala kiseera kiwanvu mu Beroya. Bayibuli egamba nti: “Abayudaaya ab’omu Ssessalonika bwe baawulira nti Pawulo yali abuulira ekigambo kya Katonda ne mu Beroya, ne bagendayo okukuma omuliro mu bantu n’okubasasamaza. Amangu ago ab’oluganda ne basindika Pawulo ku nnyanja, naye Siira ne Timoseewo ne basigala. Abo abaawerekera Pawulo baamutuusa mu Asene, era bwe yamala okubalagira okugamba Siira ne Timoseewo okujja gy’ali amangu ddala nga bwe kisoboka, ne bavaayo.” (Bik. 17:13-15) Mazima ddala abantu abo baali bamalirivu okulemesa omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi. Tekyabamala kugoba Pawulo mu Ssessalonika; baagenda n’e Beroya okuleetawo embeera y’emu gye baali baleeseewo mu Ssessalonika. Naye ekyo tekyasoboka. Pawulo yali akimanyi nti ekitundu kye yalina okubuuliramu kyali kinene nnyo. N’olwekyo yeeyongerayo okubuulira awalala. Naffe leero tusaanidde okuba abamalirivu obutakkiriza muntu yenna kutulemesa kukola mulimu gwa kubuulira.

19 Oluvannyuma lw’okuwa obujulirwa mu bujjuvu Abayudaaya b’omu Ssessalonika n’ab’omu Beroya, Pawulo yali ayize obukulu bw’okubuulira n’obuvumu n’okukozesa Ebyawandiikibwa okukubaganya n’abalala ebirowoozo. Naffe ekyo kye tulina okukola. Kyokka kati Pawulo yali agenda kubuulira abantu ab’ekiti ekirala, kwe kugamba, ab’Amawanga ab’omu Asene. Ebintu byandimugendedde bitya mu kibuga ekyo? Ekyo tujja kukiraba mu ssuula eddako.

a Okusinziira ku mwekenneenya omu, mu kiseera ekyo waaliwo ekiragiro Kayisaali kye yayisa ekyali kigaana omuntu yenna okugamba nti “wajja kubaawo obwakabaka obulala oba kabaka omulala, naddala oyo eyali ayinza okuggya kabaka eyaliwo mu kiseera ekyo mu buyinza, oba okumusalira omusango.” Abayudaaya abaakwatirwa Pawulo obuggya bayinza okuba nga baanyoolanyoola obubaka bwa Pawulo bulabike ng’obumenya ekiragiro ng’ekyo. Laba akasanduuko “ Bakayisaali n’Ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume.