Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 10

“Ekigambo kya Yakuwa ne Kyeyongera Okubuna”

“Ekigambo kya Yakuwa ne Kyeyongera Okubuna”

Peetero anunulibwa, era okuyigganyizibwa tekulemesa mawulire malungi kubunyisibwa

Byesigamiziddwa ku Ebikolwa 12:1-25

1-4. Mbeera ki enzibu Peetero gye yalimu era wandiwulidde otya singa ggwe wali mu mbeera eyo?

 PEETERO ayingizibwa mu kkomera era oluggi olunene olw’ekyuma luggalwawo. Ateekebwa mu kaduukulu ng’ali wakati w’abasirikale Abaruumi babiri era ng’asibiddwa enjegere. Abeera eyo okumala essaawa nnyingi oba ennaku eziwerako ng’alindirira okumanya ekibonerezo kye bagenda okumuwa. Talina kintu kyonna ky’alaba okuggyako ebisenge by’akaduukulu, emitayimbwa, enjegere ze bamusibye, n’abakuumi b’ali nabo.

2 Amawulire g’afuna mabi nnyo. Kabaka Kerode ayagala kumutta. a Mu butuufu, Peetero wa kuleetebwa eri abantu oluvannyuma lw’Embaga y’Okuyitako era okuttibwa kwe kugenda kuba ng’ekirabo Kerode ky’ayagala okuwa abantu okubasanyusa. Amawulire ago si ga kumutiisatiisa butiisatiisa, kubanga emabegako awo Kerode yaakatta omutume ayitibwa Yakobo.

3 Budde bwa kawungeezi era enkeera lwe bateekateeka okutta Peetero. Kiki Peetero ky’alowoozaako ng’ali eyo mu kaduukulu? Ajjukira ekyo Yesu kye yamugamba emyaka mitono emabega nti yandisibiddwa n’atwalibwa gy’atayagala, kwe kugamba, n’atwalibwa okuttibwa? (Yok. 21:18, 19) Oboolyawo Peetero alowooza nti ekiseera kituuse ebigambo bya Yesu bituukirire.

4 Wandiwulidde otya singa ggwe wali mu mbeera Peetero gye yalimu? Bangi bwe baba mu mbeera ng’eyo baggwaamu essuubi. Naye waliwo embeera eyinza okuleetera omugoberezi wa Yesu Kristo owa nnamaddala okuggweramu ddala essuubi? Kiki kye tuyigira ku ekyo Peetero ne Bakristaayo banne kye baakolawo nga bayigganyizibwa? Ka tulabe.

“Ekibiina Kyanyiikira Okumusabira” (Bik. 12:1-5)

5, 6. (a) Lwaki Kabaka Kerode yatandika okuyigganya ekibiina, era yakiyigganya atya? (b) Lwaki okuttibwa kwa Yakobo kyali kigezo kya maanyi nnyo eri ekibiina?

5 Nga bwe twalaba mu ssuula eyaggwa, Koluneeriyo Munnaggwanga n’ab’omu maka ge bwe baafuuka Abakristaayo kyasanyusa nnyo ekibiina Ekikristaayo. Kyokka Abayudaaya abataali Bakristaayo bateekwa okuba nga baayisibwa bubi nnyo okulaba ng’Abayudaaya Abakristaayo basinziza wamu n’abataali Bayudaaya.

6 Olw’okuba Kerode yali munnabyabufuzi mukujjukujju, ako yakalaba ng’akakisa ke yandikozesezza okuganja eri Abayudaaya, era bw’atyo yatandika okuyigganya Abakristaayo. Yakimanyaako nti omutume Yakobo yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Yesu Kristo. N’olwekyo, “yatta n’ekitala Yakobo muganda wa Yokaana.” (Bik. 12:2) Ekyo nga kiteekwa okuba nga kyayisa bubi nnyo ekibiina! Yakobo yali omu ku batume abasatu abaalaba Yesu ng’afuusibwa era abaalaba ebyamagero Yesu bye yakola, abatume abalala bye bataalaba. (Mat. 17:1, 2; Mak. 5:37-42) Yakobo ne muganda we, Yesu yali yabatuuma “Baana ba Kubwatuka,” olw’ebbugumu lye baalina mu ngeri gye baali bakolamu ebintu. (Mak. 3:17) N’olwekyo, ekibiina kyafiirwa omutume eyali omuvumu, omwesigwa, era eyali ayagalibwa ennyo.

7, 8. Ekibiina kyakola ki nga Peetero asibiddwa?

7 Nga Agulipa bwe yali asuubira, okuttibwa kwa Yakobo kwasanyusa nnyo Abayudaaya. Ekyo kyayongera okumuwa obuvumu era bw’atyo n’akwata Peetero. Nga bwe kyogeddwako ku ntandikwa y’essuula eno, yasiba Peetero mu kkomera. Agulipa ayinza okuba nga yali ajjukira nti abatume baali baggibwako mu kkomera mu ngeri ey’ekyamagero nga bwe kyalagibwa mu ssuula 5 ey’ekitabo kino. Okusobola okukakasa nti Peetero tatoloka mu kkomera, Kerode yamusiba enjegere era enjegere ezo ne zisibibwa ne ku basirikale babiri. Ate era ku luggi lw’ekkomera yassaawo abakuumi 16 nga bakuuma mu mpalo emisana n’ekiro. Peetero bwe yanditolose, abakuumi abo be bandiweereddwa ekibonerezo kye yali agenda okuweebwa. Mu mbeera eyo etaali nnyangu, kiki bakkiriza banne kye bandikoze?

8 Ekibiina kyali kimanyi bulungi eky’okukola. Ebikolwa 12:5 wagamba nti: “Peetero yali akuumirwa mu kkomera, naye ekibiina kyanyiikira okumusabira eri Katonda.” Abakristaayo abo baanyiikirira okusabira muganda waabwe. Okufa kwa Yakobo kwali tekubamazeemu maanyi era kwali tekubaleetedde kulowooza nti okusaba tekugasa. Yakuwa ayagala nnyo abaweereza be okumusaba. Bwe bamusaba ebyo ebituukagana n’ebyo by’ayagala, essaala zaabwe aziddamu. (Beb. 13:18, 19; Yak. 5:16) Ekyo Abakristaayo leero balina kye bakiyigirako.

9. Kiki kye tuyigira ku ekyo Abakristaayo kye baakola nga Peetero asibiddwa?

9 Olinayo bakkiriza banno b’omanyi aboolekagana n’ebizibu? Bayinza okuba nga bayigganyizibwa, nga mu nsi mwe bali gavumenti yawera omulimu gwaffe, oba nga bakoseddwa obutyabaga. Fuba okubasabira. Era oyinza okuba ng’olinayo bakkiriza banno b’omanyi aboolekagana n’ebizibu abalala bye bayinza okuba nga tebamanyi, gamba ng’ebizibu mu maka, ebintu ebimalamu amaanyi, oba ebigezesa okukkiriza kwabwe. Bw’oba ng’ogenda kusaba, lowooza ku bantu abatali bamu b’osobola okusabira eri Oyo “awulira okusaba,” ng’oyogera n’amannya gaabwe. (Zab. 65:2) Kya lwatu nti naawe bw’obeera mu buzibu wandyagadde bakkiriza banno bakole kye kimu.

Tusaanidde okusabira baganda baffe ababa basibiddwa mu kkomera olw’okukkiriza kwabwe

‘Ngoberera’ (Bik. 12:6-11)

10, 11. Nnyonnyola engeri malayika gye yaggya Peetero mu kkomera.

10 Peetero yali yeeraliikirira olw’akabi akaali kamwolekedde? Tetumanyi. Naye mu kiro kye yasembayo okuba mu kkomera, yali wakati w’abakuumi babiri abaali bamukuuma obutiribiri nga yeebase. Omuweereza wa Yakuwa oyo omwesigwa yali mukakafu nti ka kibe ki ekyandimutuuseeko, Yakuwa yandibadde wamu naye. (Bar. 14:7, 8) Kyokka ebintu ebyewuunyisa ebyaddirira Peetero yali tabisuubira. Mangu ddala waabaawo ekitangaala eky’amaanyi mu kaduukulu mwe yali. Malayika yayimirira n’azuukusa Peetero, era abakuumi tebaamulaba. Enjegere ezaali zisibye emikono gye era ezaali zirabika ng’ezitasobola kukutuka zaavaako ne zigwa!

“Ne batuuka ku luggi olw’ekyuma oluyingira mu kibuga, ne lweggulawo lwokka.”​—Ebikolwa 12:10

11 Malayika yagamba Peetero nti: “Situka mangu! . . . Weetereeze era oyambale n’engatto zo. . . . Yambala ekyambalo kyo eky’okungulu.” Peetero yakolerawo mangu ekyo malayika kye yamulagira. Oluvannyuma malayika yamugamba nti: ‘Ngoberera,’ era Peetero n’amugoberera. Baafuluma mu kaduukulu ne bayita ku bakuumi abaali bayimiridde wabweru, ne bagenda ne batuuka ku luggi olunene olw’ekyuma olw’oku mulyango ogwali guyingira mu kibuga. Bandiyiseewo batya? Bwe kiba nti Peetero yali yeebuuza ekibuuzo ekyo, tewaayita kiseera kiwanvu ng’akyakyebuuza. Bwe baatuuka ku luggi olwo, “lweggulawo lwokka.” Baafuluma ne bagenda mu luguudo era malayika n’abulawo. Malayika bwe yamala okugenda, awo Peetero n’alyoka akitegeera nti ebyo byonna ebyali bibaddewo byali bya ddala. Tekwali kwolesebwa. Mu butuufu, yali asumuluddwa mu kkomera!​—Bik. 12:7-11.

12. Lwaki kituzzaamu nnyo amaanyi bwe tufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yanunulamu Peetero?

12 Kituzzaamu nnyo amaanyi bwe tulowooza ku maanyi agataliiko kkomo Yakuwa g’akozesa okununula abantu be. Peetero yali asibiddwa kabaka eyalina obuyinza okuva eri gavumenti eyali ekyasinzeeyo okuba ey’amaanyi. Wadde kyali kityo, Peetero yanunulwa okuva mu kkomera! Kyo kituufu nti Yakuwa abaweereza be bonna tabakolera byamagero ng’ebyo. Teyabikolera Yakobo, era n’oluvannyuma teyabikolera Peetero ng’ekiseera kituuse ebigambo Yesu bye yayogera ebikwata ku ngeri gye yandifuddemu bituukirire. Leero tetusuubira kununulibwa mu ngeri ya kyamagero. Wadde kiri kityo, tukimanyi nti Yakuwa takyuka. (Mal. 3:6) Mu kiseera ekitali kya wala, ajja kukozesa Omwana we okuggya abantu mu kkomera erisingayo okuba n’enzigi ennywevu, nga kuno kwe kufa. (Yok. 5:28, 29) Ebisuubizo ng’ebyo bituzzaamu nnyo amaanyi nga twolekagana n’ebizibu leero.

‘Bwe Baamulaba, Beewuunya Nnyo’ (Bik. 12:12-17)

13-15. (a) Kiki ab’oluganda abaali bakuŋŋaanidde mu nnyumba ya Maliyamu kye baakola nga Peetero azze? (b) Ani ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume gwe kiddako okwogerako, era Peetero yeeyongera atya okuyamba baganda be ne bannyina?

13 Peetero yayimirira ku luguudo mu nzikiza ng’alowooza ku wa gye yandigenze. Oluvannyuma yasalawo aw’okugenda. Mu kitundu ekyo mwalimu omukyala Omukristaayo eyali ayitibwa Maliyamu. Kirabika Maliyamu yali nnamwandu era nga tali bubi mu bya nfuna. Yalina ennyumba ennene eyali esobola okukuŋŋaanirwamu ekibiina ekiramba. Ye yali maama wa Yokaana Makko. Wano Yokaana Makko w’asooka okwogerwako mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume, era oluvannyuma yafuuka ng’omwana eri Peetero. (1 Peet. 5:13) Mu kiro kino, bangi mu kibiina ky’omu Yerusaalemi baali mu nnyumba ya Maliyamu nga basaba wadde ng’obudde bwali bwa kiro nnyo. Baali basaba Yakuwa ayambe Peetero asumululwe. Naye engeri Yakuwa gye yaddamu essaala yaabwe baali tebagisuubira!

14 Peetero yakonkona ku luggi lw’omulyango ogwali guyingira mu luggya. Omuwala omuweereza eyali ayitibwa Looda, erinnya ery’Oluyonaani eritegeeza “Roza,” yagenda ku mulyango. Yeewunya nnyo bwe yawulira eddoboozi lya Peetero. Mu kifo ky’okuggulawo oluggi, yadduka n’addayo mu nju olw’essanyu eringi lye yalina era n’ateegeza abaaliyo nti Peetero ye yali akonkona. Baamugamba nti yali atabuse omutwe! Naye yeeyongera okukikkaatiriza nti kye yali abagamba kyali kituufu. Abamu baagamba nti eyali ku mulyango ayinza okuba nga yali Malayika eyali akiikiridde Peetero. (Bik. 12:12-15) Mu kiseera ekyo kyonna Peetero yali akonkona, era kyaddaaki baagenda ne baggulawo.

15 Bwe ‘baamulaba, beewuunya nnyo’! (Bik. 12:16) Peetero yabawenya n’omukono basirike ababuulire ekyali kibaddewo. Bwe yamala okubabuulira yabagamba nti bategeezeeko Yakobo n’ab’oluganda abalala, oluvannyuma n’agenda ng’abasirikale ba Kerode tebannaba kumuzuula. Peetero yagenda mu kitundu ekirala yeeyongere okuweereza Yakuwa ng’obulamu bwe tebuli mu kabi. Ng’oggyeeko mu Ebikolwa by’Abatume essuula 15 w’ayogerwako akatono nga wazzeewo ensonga y’okukomolebwa, wano Peetero w’akoma okwogerwako mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume. Essuula eziddako zoogera ku mulimu Pawulo gwe yakola n’eŋŋendo ze yatambula. Kyokka tuli bakakafu nti yonna Peetero gye yagenda, yanyweza okukkiriza kwa baganda be ne bannyina. Peetero bwe yava ewa Maliyamu, Abakristaayo be yalekayo bateekwa okuba nga baasigala basanyufu nnyo.

16. Lwaki tujja kufuna essanyu lingi nnyo mu biseera eby’omu maaso?

16 Oluusi Yakuwa awa abaweereza be ekisukka ku ekyo kye baba basuubira, ne bafuna essanyu eritagambika. Bwe batyo Abakristaayo abaali mu nnyumba ya Maliyamu bwe baawulira mu kiro Peetero lwe yaggibwa mu kkomera. Oluusi naffe bwe tutyo bwe tuwulira nga Yakuwa alina ekintu ky’atukoledde. (Nge. 10:22) Mu biseera eby’omu maaso, tujja kulaba ng’ebisuubizo bya Yakuwa byonna bituukirizibwa okwetooloola ensi. Ebintu by’ajja okutukolera bijja kuba bisingira wala ebyo bye tusuubira. N’olwekyo, bwe tusigala nga tuli beesigwa tujja kufuna essanyu eritagambika mu biseera eby’omu maaso.

‘Malayika wa Yakuwa Yamulwaza’ (Bik. 12:18-25)

17, 18. Kiki ekyaviirako abantu okuwaana Kerode?

17 Kerode naye yawuniikirira bwe yakimanya nti Peetero yali abuzeewo. Naye ye tekyamusanyusa. Mangu ddala yalagira nti anoonyezebwe era nti n’abo abaali bamukuuma bawozesebwe. Baatwalibwa ‘okubonerezebwa,’ oboolyawo okuttibwa. (Bik. 12:19) Kerode Agulipa yali wa ttima. Naye ekiseera kyandituuse n’abonerezebwa?

18 Agulipa ayinza okuba nga yawulira ng’aweebuuse olw’okulemererwa okutta Peetero, naye waliwo ekintu ekyabaawo ekyamuleetera okuddamu okwegulumiza. Abamu ku balabe be bajja okutabagana naye, era awatali kubuusabuusa yali yeesunga nnyo okwogera eri ekibiina ky’abantu ekinene. Lukka yagamba nti Kerode bwe yali ajja okwogera eri abantu abo, “yayambala ekyambalo ky’obwakabaka.” Munnabyafaayo Omuyudaaya ayitibwa Josephus yagamba nti ekyambalo kya Kerode kyali kyakolebwa mu ffeeza, ne kiba nti kyali kimasamasa nnyo ng’ekitangaala kikyaseeko. Munnabyabufuzi oyo eyali ow’amalala yatandika okwogera. Abantu abaali bamuwuliriza baatandika okumuwaanawaana nga bagamba nti: “Eryo ddoboozi lya katonda, si lya muntu!”​—Bik. 12:20-22.

19, 20. (a) Lwaki Yakuwa yabonereza Kerode? (b) Bye tusoma ku ngeri Kerode gye yafaamu bitubudaabuda bitya?

19 Ekitiibwa ng’ekyo kyali kigwanidde kuweebwa Katonda era Katonda yali alaba! Kerode yali asobola okubaako ky’akolawo okuziyiza akabi okumutuukako. Yandibadde awabula abantu abo, oba waakiri yandibadde agaana okuweebwa ekitiibwa kye baamuwa. Mu kifo ky’ekyo, yayoleka amalala n’agwa mu buzibu. Era nga Bayibuli bw’egamba, “amalala gaviirako omuntu okugwa.” (Nge. 16:18) Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Amangu ago malayika wa Yakuwa n’amulwaza.” Mu butuufu, malayika oyo yaleetera omufuzi oyo eyali ow’amalala okufa mu ngeri embi ennyo. Bayibuli egamba nti Kerode ‘yaliibwa envunyu n’afa.’ (Bik. 12:23) Josephus naye yagamba nti Agulipa obulwadde bwamugwira mangu; era yagattako nti kabaka oyo yagamba nti yali agenda kufa olw’okukkiriza abantu okumuwaanawaana. Ate era Josephus yagamba nti Agulipa yalwalira ennaku ttaano oluvannyuma n’afa. b

20 Oluusi abantu ababi balabika ng’abatabonerezebwa olw’ebibi bye bakola. Ekyo tekisaanidde kutwewuunyisa kubanga “ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.” (1 Yok. 5:19) Wadde kiri kityo, oluusi abaweereza ba Katonda bayisibwa bubi bwe balaba ng’abantu ababi balabika ng’abatabonerezebwa olw’ebibi bye bakola. Eyo ye nsonga lwaki ebyo Bayibuli by’eyogera ku bantu abamu, gamba nga Kerode, bitubudaabuda. Bwe tubisoma tukiraba nti Yakuwa alina ky’akolawo, era nti ayagala obwenkanya. (Zab. 33:5) Ekiseera kituuka n’ayoleka obwenkanya bwe.

21. Nsonga ki enkulu eri mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume essuula 12, era lwaki okufumiitiriza ku nsonga eyo kituzzaamu amaanyi?

21 Essuula 12 ekomekkerezebwa n’ebigambo bino ebizzaamu amaanyi: “Ekigambo kya Yakuwa ne kyeyongera okubuna.” (Bik. 12:24) Nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, ne leero tukiraba nti Yakuwa awa omulimu gw’okubuulira omukisa. Naye okuttibwa kw’omutume omu n’okusumululwa kw’omutume omulala mu kkomera si ye nsonga enkulu eri mu Ebikolwa essuula 12. Ensonga enkulu ekwata ku Yakuwa ne ku ngeri gy’alemesaamu Sitaani okusaanyaawo ekibiina Ekikristaayo n’okuziyiza omulimu gw’okubuulira. Obulumbaganyi bwa Sitaani bwagwa butaka mu kyasa ekyasooka era ne leero bujja kugwa butaka. (Is. 54:17) Ku luuyi olulala, abo abali ku ludda lwa Yakuwa ne Yesu Kristo beenyigira mu mulimu abalabe ba Yakuwa gwe batasobola kukomya. Ekyo nga kizzaamu nnyo amaanyi! Mazima ddala tulina enkizo ey’ekitalo ey’okubunyisa “ekigambo kya Yakuwa” leero!

a Laba akasanduuko “ Kabaka Kerode Agulipa I.”

b Omusawo omu agamba nti obubonero bw’obulwadde Josephus ne Lukka bwe baayogerako buyinza okuba nga bwaleetebwa ebiwuka eby’omu lubuto ebyakula ng’ensiriŋŋanyi era nga biviirako ekyenda okwesiba. Ebiwuka ebyo oluusi omuntu abisesema, oba bw’amala okufa bifulumira emabega. Ekitabo ekimu kigamba nti olw’okuba Lukka yali musawo, yali amanyi obulungi kye yali ayogerako. Ekyo kiraga nti Kerode yafa bubi nnyo.