ESSUULA 9
“Katonda Tasosola”
Ab’Amawanga abatali bakomole nabo babuulirwa amawulire amalungi
Byesigamiziddwa ku Ebikolwa 10:1–11:30
1-3. Kwolesebwa ki Peetero kw’afuna, era lwaki kikulu okutegeera amakulu gaakwo?
OMWAKA gwa 36 E.E. Peetero ali mu kisenge ekya waggulu eky’ennyumba emu ku mwalo gw’e Yoppa asaba, era ebweru akasana keememula. Kati wayise ennaku eziwerako bukyanga akyala mu maka ago. Okuba nti ali mu maka ago kiraga nti taliimu nnyo busosoze. Nnannyini maka ago ayitibwa Simooni muwazi w’amaliba, era Abayudaaya batono nnyo abayinza okubeera mu maka g’omuntu ng’oyo. a Naye Peetero agenda kuyiga ekintu ekikulu ennyo ekigenda okumuyamba okweyongera okukimanya nti Yakuwa tasosola.
2 Peetero bw’aba akyasaba, afuna okwolesebwa. By’alaba mu kwolesebwa okwo bisobola okuleetera Omuyudaaya yenna okusoberwa. Alaba ekintu ekinene ekiringa ekitambaala nga kikka okuva mu ggulu era nga kiriko ensolo eziragibwa mu Mateeka nti si nnongoofu. Awulira eddoboozi nga limugamba nti asale alye. Peetero addamu nti: “Siryangako kintu ekitali kirongoofu era ekitali kiyonjo.” Emirundi esatu eddoboozi limugamba nti: “Ebintu Katonda by’alongoosezza lekera awo okubiyita ebitali birongoofu.” (Bik. 10:14-16) Okwolesebwa okwo kuleetera Peetero okusoberwa. Naye mu kiseera kitono ategeera amakulu gaakwo.
3 Okwolesebwa okwo Peetero kwe yafuna kwalina makulu ki? Kikulu okutegeera amakulu g’okwolesebwa okwo, kubanga kulaga engeri Yakuwa gy’atwalamu abantu. Tetusobola kuwa bujulirwa mu bujjuvu ku Bwakabaka bwa Katonda bwe tuba nga tetutunuulira bantu nga Katonda bw’abatunuulira. Okusobola okumanya amakulu g’okwolesebwa okwo, ka tulabe ebyaliwo ebikwatagana nakwo.
“Yasabanga Katonda Bulijjo” (Bik. 10:1-8)
4, 5. Koluneeriyo yali ani, era kiki ekyaliwo ng’asaba?
4 Peetero yali takimanyi nti olunaku lumu emabega omusajja eyali ayitibwa Koluneeriyo eyali abeera mu Kayisaliya ekyali mayiro nga 30 mu bukiikakkono, naye yali afunye okwolesebwa. Koluneeriyo yali musirikale Murooma eyali akulira ekibinja ky’abasirikale, era yali ‘atya Katonda.’ b Ate era yali afaayo ku b’omu maka ge. Bayibuli egamba nti: “Ye n’ab’omu nnyumba ye bonna baali batya Katonda.” Koluneeriyo teyali Muyudaaya mukyufu wabula yali Munnaggwanga ataali mukomole. Wadde kyali kityo, yayambanga Abayudaaya abaabanga mu bwetaavu. Omusajja ono eyali ow’omutima omulungi “yasabanga Katonda bulijjo.”—Bik. 10:2.
5 Koluneeriyo bwe yali asaba ku ssaawa nga mwenda ez’emisana, yalaba malayika mu kwolesebwa, era malayika n’amugamba nti: “Okusaba kwo n’ebintu ebirungi by’okolera abaavu byambuse eri Katonda era bikkiriziddwa ng’ekijjukizo mu maaso ge.” (Bik. 10:4) Koluneeriyo yatuma abasajja bayite omutume Peetero nga malayika bwe yamugamba mu kwolesebwa. Koluneeriyo yali anaatera okufuna ekintu ekyali kitafunibwangako Munnaggwanga yenna ataali mukomole. Yali anaatera okufuna obubaka obw’obulokozi.
6, 7. (a) Waayo ekyokulabirako ekiraga nti Yakuwa addamu essaala z’abantu abeesimbu abaagala okumanya ebimukwatako. (b) Ebyokulabirako ng’ebyo biraga ki?
6 Leero Katonda addamu essaala z’abantu abeesimbu abaagala okumanya amazima agamukwatako? Lowooza ku kyokulabirako kino. Omukazi omu mu Albania yaweebwa Omunaala gw’Omukuumi ogwalimu ekitundu ekikwata ku kukuza abaana. c Yagamba Omujulirwa wa Yakuwa eyagumuwa nti: “Mbadde nsaba Katonda annyambe okumanya engeri y’okukuzaamu bawala bange. Katonda y’akusindise! Ompeeredde ddala ekintu kye mbadde nneetaaga!” Omukyala oyo ne bawala be baatandika okuyiga Bayibuli era oluvannyuma n’omwami we naye yabeegattako.
7 Wabaddewo ebyokulabirako ng’ebyo bingi mu bitundu by’ensi ebitali bimu. N’olwekyo tetusobola kugamba nti bibaawo mu butanwa. Ebyokulabirako ng’ebyo biraga ki? Ekisooka, Yakuwa addamu essaala z’abantu abeesimbu abamunoonya. (1 Bassek. 8:41-43; Zab. 65:2) Eky’okubiri, bamalayika batuyamba nga tukola omulimu gw’okubuulira.—Kub. 14:6, 7.
“Peetero . . . Yali Akyasobeddwa” (Bik. 10:9-23a)
8, 9. Omwoyo gwa Katonda gwayamba Peetero kutegeera ki, era kiki kye yakolawo?
8 Peetero bwe yali akyali mu kisenge ekya waggulu ‘ng’asobeddwa’ era nga yeebuuza amakulu g’okwolesebwa okwo kwe yali afunye, ababaka Koluneeriyo be yatuma baatuuka ku nnyumba we yali. (Bik. 10:17) Peetero eyali agambye emirundi esatu nti yali tayinza kulya mmere Amateeka gye gaali galaga nti si nnongoofu, yandibadde mwetegefu okugenda n’abasajja abo n’ayingira mu nnyumba ya munnaggwanga? Omwoyo omutukuvu gwayamba Peetero okumanya Katonda kye yali ayagala. Peetero yagambibwa nti: “Laba! Abasajja basatu bakunoonya. Situka okke wansi ogende nabo nga tobuusabuusa, kubanga nze mbatumye.” (Bik. 10:19, 20) Okwolesebwa Peetero kwe yali afunye kwamuyamba okukolera ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu.
9 Peetero bwe yakitegeera nti malayika ye yali agambye Koluneeriyo atume ababaka bamuyite, yayingiza ababaka abo abaali ab’Amawanga “mu nju” n’abasembeza “ng’abagenyi be.” (Bik. 10:23a) Peetero yali atandise okukyusa endowooza ye oluvannyuma lw’okumanya Katonda kye yali ayagala.
10. Yakuwa amanyisa atya abantu be ekigendererwa kye, era bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?
10 Ne leero Yakuwa agenda amanyisa abantu be ekigendererwa kye mpolampola. (Nge. 4:18) Akozesa omwoyo gwe omutukuvu okuwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” obulagirizi. (Mat. 24:45) Oluusi wayinza okubaawo enkyukakyuka ezikolebwa mu ngeri gye tutegeeramu Ekigambo kya Katonda oba mu ngeri ekibiina gye kikolamu ebintu. Tusaanidde okwebuuza, ‘Enkyukakyuka ezo nzitwala ntya? Nzikkiriza, bw’entyo ne nkiraga nti nkolera ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu?’
Peetero “n’Alagira Babatizibwe” (Bik. 10:23b-48)
11, 12. Kiki Peetero kye yakola ng’atuuse e Kayisaliya, era kiki kye yayiga?
11 Olunaku olwaddako nga Peetero amaze okufuna okwolesebwa, ye n’abalala mwenda, kwe kugamba, ababaka abasatu Koluneeriyo be yatuma, awamu ‘n’ab’oluganda Abayudaaya omukaaga’ okuva e Yopa, baasitula okugenda e Kayisaliya. (Bik. 11:12) Olw’okuba Koluneeriyo yali asuubira Peetero okujja, yakuŋŋaanya “ab’eŋŋanda ze ne mikwano gye egy’oku lusegere” era nga bonna kirabika baali Bannaggwanga. (Bik. 10:24) Peetero bwe yatuuka, yakola ekintu edda kye yali talowooza nti asobola okukola. Yayingira mu nnyumba ya Munnaggwanga ataali mukomole! Peetero yagamba nti: “Mumanyi bulungi nti tekikkirizibwa mu Mateeka g’Abayudaaya Omuyudaaya okukolagana n’omuntu ow’eggwanga eddala oba okumusemberera; naye Katonda andaze nti sirina kutwala muntu yenna nti si mulongoofu oba nti si muyonjo.” (Bik. 10:28) Kati Peetero yali ayize ekintu ekikulu ennyo mu kwolesebwa okwo ekyali kitakwata ku bya kulya byokka. Yali akitegedde nti teyalina “kutwala muntu yenna [k’abeere Munnaggwanga] nti si mulongoofu.”
12 Bonna abaaliwo baali beetegefu okuwuliriza Peetero. Koluneeriyo yagamba nti: “Ffenna tuli wano mu maaso ga Katonda okuwulira ebintu byonna Yakuwa by’akulagidde okwogera.” (Bik. 10:33) Wandiwulidde otya singa omuntu ayagala okumanya ebisingawo ebikwata ku Katonda akugamba ebigambo ng’ebyo? Peetero yagamba nti: “Mazima ddala ntegedde nti Katonda tasosola, naye mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola ekituufu amukkiriza.” (Bik. 10:34, 35) Peetero yakitegeera nti Katonda tatunuulira bantu ng’asinziira ku langi yaabwe, eggwanga lyabwe, oba ekintu ekirala ekirabwa n’amaaso. Peetero yatandika okuwa obujulirwa ku buweereza bwa Yesu, ku kufa kwe, ne ku kuzuukira kwe.
13, 14. (a) Koluneeriyo n’ab’Amawanga abalala bwe baafuuka abagoberezi ba Kristo mu mwaka gwa 36 E.E. ne bafukibwako omwoyo omutukuvu, kintu ki ekikulu ekyabaawo? (b) Lwaki tetusaanidde kubuulira bantu nga tusinziira ku ndabika yaabwe?
13 Waliwo ekintu ekyali kitabangawo ekyabaawo. “Peetero bwe yali akyayogera,” omwoyo omutukuvu gwafukibwa ku ‘b’Amawanga.’ (Bik. 10:44, 45) Ogwo gwe mulundi gwokka ogwogerwako mu Byawandiikibwa omwoyo omutukuvu lwe gwafukibwa ku bantu nga tebannabatizibwa. Peetero yakiraba nti ako kaali kabonero akalaga nti Katonda yali asiima abantu abo era ‘yalagira ab’Amawanga abo babatizibwe.’ (Bik. 10:48) Ab’Amawanga abo bwe baafuuka abagoberezi ba Kristo mu mwaka gwa 36 E.E., enkolagana ey’enjawulo Katonda gye yalina n’eggwanga ly’Abayudaaya yakoma. (Dan. 9:24-27) Peetero bwe yawoma omutwe mu kuwa obujulirwa ku lunaku olwo, yakozesa ‘ekisumuluzo ky’Obwakabaka’ eky’okusatu era ekisembayo. (Mat. 16:19) Ekisumuluzo ekyo kyaggulirawo ab’Amawanga abataali bakomole enkizo ey’okufuuka Abakristaayo abaafukibwako amafuta.
14 Tukimanyi nti “Katonda tasosola.” (Bar. 2:11) Ayagala “abantu aba buli ngeri okulokolebwa.” (1 Tim. 2:4) N’olwekyo bwe tuba tubuulira abantu, tetusinziira ku ndabika yaabwe. Omulimu gwaffe gwa kuwa bujulirwa mu bujjuvu ku Bwakabaka bwa Katonda, era ekyo kizingiramu okubuulira abantu bonna ka babe ba langi ki, ggwanga ki, ddiini ki, oba ka babe nga balabika batya.
Bik. 11:1-18)
‘Baalekera awo Okuwakana, ne Bagulumiza Katonda’ (15, 16. Lwaki Abakristaayo abamu Abayudaaya tebaali basanyufu olw’ekyo Peetero kye yali akoze, era yabannyonnyola atya ekyo ekyamuviirako okukola ekyo?
15 Peetero yakwata ekkubo okudda e Yerusaalemi era ateekwa okuba nga yali yeesunga nnyo okubuulira banne ebyo ebyali bibaddewo. Kirabika amawulire agakwata ku b’Amawanga abataali bakomole ‘okukkiriza ekigambo kya Katonda’ gaatuuka e Yerusaalemi nga tannatuukayo. Peetero olwali okutuuka, abo abaali ‘bawagira okukomolebwa ne batandika okumuvumirira.’ Kyabayisa bubi okuba nti Peetero yali ayingidde ‘mu nnyumba y’abatali bakomole era n’alya nabo.’ (Bik. 11:1-3) Abayigirizwa abo Abayudaaya baali tebawakanya kya b’Amawanga kufuuka bagoberezi ba Kristo, wabula baali bagamba nti ab’Amawanga baalina okukwata Amateeka ga Musa agaali gazingiramu okukomolebwa okusobola okusinza Yakuwa mu ngeri gy’asiima. Kyeyoleka lwatu nti abayigirizwa abamu Abayudaaya kyali kibazibuwalira okukkiriza nti Amateeka ga Musa gaali tegakyakola.
16 Peetero yabannyonnyola atya ekyo ekyamuviirako okukola ebyo bye yali akoze? Okusinziira ku Ebikolwa 11:4-16, yalaga obukakafu bwa mirundi ena obwali bulaga nti Katonda ye yali awadde obulagirizi ku nsonga eyo, era obukakafu obwo bwe buno: (1) okwolesebwa kwe yafuna (Olunyiriri 4-10); (2) ekiragiro omwoyo omutukuvu kye gwamuwa (Olunyiriri 11, 12); (3) malayika okulabikira Koluneeriyo (Olunyiriri 13, 14); ne (4) omwoyo omutukuvu okufukibwa ku b’Amawanga. (Olunyiriri 15, 16) Peetero bwe yali amaliriza yababuuza nti: “Bwe kiba nti Katonda yabawa [ab’Amawanga abakkiriza] ekirabo kye kimu [omwoyo omutukuvu] nga naffe [Abayudaaya] abakkiririza mu Mukama waffe Yesu Kristo kye yatuwa, nze ani eyandiziyizza Katonda?”—Bik. 11:17.
17, 18. (a) Kiki Abakristaayo Abayudaaya kye baalina okukola oluvannyuma lw’okuwulira ebyo Peetero bye yayogera? (b) Lwaki kiyinza obutaba kyangu okukuuma obumu mu kibiina, era bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?
17 Okusinziira ku bujulizi Peetero bwe yawa, Abakristaayo Abayudaaya baalina okukyusa endowooza yaabwe. Bandyeggyeemu obusosoze bwonna bwe bayinza okuba nga baalina ne basembeza ab’Amawanga abaali baakabatizibwa? Bayibuli egamba nti Abatume n’Abakristaayo Abayudaaya “bwe baawulira ebyo ne balekera awo okuwakana ne Peetero era ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti: ‘N’ab’amawanga Katonda abawadde omukisa okwenenya basobole okufuna obulamu.’” (Bik. 11:18) Endowooza eyo ennungi yayamba ekibiina okusigala nga kiri bumu.
18 Okuva bwe kiri nti leero abaweereza ba Yakuwa bava “mu buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi,” kiyinza obutaba kyangu kukuuma bumu mu kibiina. (Kub. 7:9) Mu bibiina bingi mulimu abantu aba langi ez’enjawulo, ab’obuwangwa obw’enjawulo, era abaakulira mu mbeera ez’enjawulo. Tusaanidde okwebuuza: ‘Nfubye okweggyamu obusosoze? Ndi mumalirivu obutakkiriza bintu bya nsi eno ebireetawo enjawukana, gamba nga mwoyo gwa ggwanga, okwenyumiririza mu buwangwa oba mu langi, okundeetera okusosola bakkiriza bannange?’ Lowooza ku ekyo ekyatuuka ku Peetero (Keefa) nga wayiseewo emyaka bukya ab’Amawanga basooka okufuuka Abakristaayo. Yatwalirizibwa obusosoze bw’abalala ‘ne yeeyawula’ ku Bakristaayo ab’Amawanga, era Pawulo yamunenya. (Bag. 2:11-14) Bulijjo ka tufubenga okulaba nti twewala okuba abasosoze.
‘Bangi Baafuuka Bakkiriza’ (Bik. 11:19-26a)
19. Abakristaayo abaali babeera mu Antiyokiya baatandika kubuulira baani, era biki ebyavaamu?
19 Abagoberezi ba Yesu baatandika okubuulira ab’Amawanga abataali bakomole? Weetegereze ekyo ekyaliwo oluvannyuma mu Antiyokiya ekya Busuuli. d Ekibuga ekyo kyalimu Abayudaaya bangi era tewaaliwo nnyo mbiranye wakati w’Abayudaaya n’Ab’amawanga. N’olwekyo kyali kyangu okubuulira ab’Amawanga amawulire amalungi mu Antiyokiya. Eyo mu Antiyokiya abamu ku bayigirizwa Abayudaaya gye baatandikira okubuulira amawulire amalungi abantu abaali “boogera Oluyonaani.” (Bik. 11:20) Tebaabuuliranga Bayudaaya bokka abaali boogera Oluyonaani, wabula baabuuliranga n’Abamawanga abataali bakomole. Yakuwa yawa omukisa okufuba kwabwe, era ‘bangi baafuuka bakkiriza.’—Bik. 11:21.
20, 21. Balunabba yakiraga atya nti yali mwetoowaze, era naffe tuyinza tutya okukiraga nti tuli beetoowaze nga tukola omulimu gwaffe ogw’okubuulira?
20 Okusobola okuyamba abantu abo ab’omu Antiyokiya abaali abeetegefu okuwuliriza, ekibiina mu Yerusaalemi kyasindikayo Balunabba. Okuva bwe kiri nti abantu bangi baali baagala okuwuliriza, omuntu omu teyandisobodde kubabuulira bonna. Sawulo eyali agenda okuba omutume eri amawanga, ye yali omuntu omutuufu okukolera awamu ne Balunabba. (Bik. 9:15; Bar. 1:5) Balunabba yandikwatiddwa Sawulo obuggya? Nedda. Mu butuufu yayoleka obwetoowaze. Yagenda e Taluso n’anoonya Sawulo n’amuleeta mu Antiyokiya okumuyambako. Bombi baamala omwaka mulamba nga bazzaamu amaanyi ab’oluganda mu kibiina eky’omu kitundu ekyo.—Bik. 11:22-26a.
21 Tuyinza tutya okwoleka obwetoowaze nga tukola omulimu gw’okubuulira? Bwe tuba abeetoowaze tuba tumanyi obusobozi bwaffe we bukoma. Ffenna tulina obusobozi bwa njawulo. Ng’ekyokulabirako, abamu banguyirwa okubuulira embagirawo oba okubuulira nnyumba ku nnyumba naye nga bazibuwalirwa okuddayo eri abantu ababa balaze okusiima oba okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli. Bw’oba ng’olina we weetaaga okulongoosa mu buweereza bwo, saba obuyambi. Bw’onookola bw’otyo, ojja kwongera okukola obulungi omulimu gw’okubuulira, era ojja kufuna essanyu lingi.—1 Kol. 9:26.
Okuweereza ab’Oluganda “Obuyambi” (Bik. 11:26b-30)
22, 23. Ab’oluganda mu Antiyokiya baakola ki ekyalaga nti baalina okwagala okwa nnamaddala, era kiki Abakristaayo leero kye bakola ekifaananako n’ekyo?
22 Mu Antiyokiya “abayigirizwa gye baasookera okuyitibwa Abakristaayo, erinnya eryava eri Katonda.” (Bik. 11:26b) Erinnya eryo liraga ekyo abagoberezi ba Kristo kye bali. Abantu ab’Amawanga bwe baafuuka Abakristaayo, baasobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’Abakristaayo Abayudaaya? Lowooza ku ekyo ekyaliwo enjala ey’amaanyi bwe yagwa awo nga mu mwaka gwa 46 E.E. e Mu biseera by’edda enjala yakosanga nnyo abantu abaavu, kubanga tebaabanga na ssente wadde emmere gye baabanga batereseewo. Enjala eyo bwe yagwa, Abakristaayo abaali babeera mu Buyudaaya era nga bangi ku bo kirabika baali baavu, baali mu bwetaavu bw’emmere n’ebintu ebirala. Ab’oluganda mu Antiyokiya nga mwe mwali n’Abakristaayo ab’Amawanga, bwe baakitegeera nti baganda baabwe mu Buyudaaya baali mu bwetaavu, baabaweereza “obuyambi.” (Bik. 11:29) Nga baabalaga okwagala okwa nnamaddala!
23 Ne leero abantu ba Katonda bayambagana. Bwe tukimanya nti baganda baffe mu nsi endala oba mu nsi mwe tubeera bali mu bwetaavu, tufuba okubayamba. Ab’oluganda bwe bakosebwa obutyabaga, gamba ng’omuyaga, musisi, oba sunami, mangu ddala ab’oluganda abali ku bukiiko bw’amatabi bassaawo Obukiiko Obukola ku Kudduukirira Abakoseddwa Obutyabaga okusobola okubayamba. Ekyo kiraga okwagala okwa nnamaddala kwe tulina eri baganda baffe.—Yok. 13:34, 35; 1 Yok. 3:17.
24. Tuyinza tutya okukiraga nti tutegeera amakulu g’okwolesebwa Peetero kwe yafuna?
24 Ffe Abakristaayo ab’amazima tutegeera amakulu g’okwolesebwa Peetero kwe yafuna ng’ali mu Yopa mu kyasa ekyasooka. Tusinza Katonda atasosola. Katonda ayagala tuwe obujulirwa mu bujjuvu ku Bwakabaka bwe, era ng’ekyo kizingiramu okubuulira abantu bonna ka babe ba langi ki, ggwanga ki, baavu oba bagagga, bayivu oba si bayivu. N’olwekyo ka tufube okubuulira bonna abeetegefu okuwuliriza amawulire amalungi.—Bar. 10:11-13.
a Abayudaaya abamu beewalanga abawazi b’amaliba olw’okuba abawazi b’amaliba baakwatanga ku nsolo ezifudde ne ku bintu ebirala ebyenyinyaza. Abawazi b’amaliba baali batwalibwa nti tebasaana kujja ku yeekaalu, era ekifo we baakoleranga kyalina okuba nga kyesudde emikono 50 oba ffuuti 70 okuva abantu we baaberanga. Eyo eyinza okuba nga ye nsonga lwaki ennyumba ya Simooni yali “eriraanye ennyanja.”—Bik. 10:6.
b Laba akasanduuko, “ Koluneeriyo n’Eggye lya Rooma.”
c Laba ekitundu, “Amagezi Ageesigika Agakwata ku Kukuza Abaana,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Noovemba 1, 2006, olupapula 4- 7.
d Laba akasanduuko “ Antiyokiya ekya Busuuli.”
e Munnabyafaayo Omuyudaaya ayitibwa Josephus yagamba nti “enjala ey’amaanyi” yaliwo mu kiseera ky’obufuzi bwa Empula ayitibwa Kulawudiyo (41-54 E.E.).