Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 13

‘Bwe Waabaawo Obutakkaanya Obw’amaanyi’

‘Bwe Waabaawo Obutakkaanya Obw’amaanyi’

Ensonga ey’okukomolebwa etwalibwa eri akakiiko akafuzi

Byesigamiziddwa ku Ebikolwa 15:1-12

1-3. (a) Nsonga ki eyajjawo eyali eyinza okuleetawo enjawukana mu kibiina Ekikristaayo ekyali kyakatandikibwawo? (b) Okwekenneenya ebyo ebyogerwako mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume ebikwata ku nsonga eyo kinaatuganyula kitya?

 PAWULO NE BALUNABBA baakakomawo mu kibuga Antiyokiya eky’omu Busuuli nga bava ku lugendo lwabwe olw’obuminsani olusoose, era basanyufu nnyo. Ekyo kiri kityo kubanga Yakuwa “agguliddewo ab’amawanga oluggi olutuusa ku kukkiriza.” (Bik. 14:26, 27) Mu butuufu, ne wano mu Antiyokiya amawulire amalungi gabuulirwa buli wamu, era ab’Amawanga “bangi” beegatta ku kibiina eky’omu kitundu kino.​—Bik. 11:20-26.

2 Amawulire agakwata ku b’Amawanga bangi okufuuka abakkiriza gatuuka mu Buyudaaya. Kyokka si buli omu mu Buyudaaya nti asanyukira amawulire ago, era kyeyoleka lwatu nti walina okubaawo ekisalibwawo ku nsonga ekwata ku kukomolebwa. Nkolagana ki esaanidde okubaawo wakati w’Abayudaaya n’ab’Amawanga abakkiriza, era ab’Amawanga abakkiriza basaanidde kutwala batya Amateeka ga Musa? Waliwo obutakkaanya obw’amaanyi ne kiba nti ekibiina kyolekedde okwekutulamu ebiwayi. Ensonga eno eneegonjoolwa etya?

3 Nga twekenneenya ebyo ebyaliwo ebyogerwako mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume, tugenda kubaako ebintu bingi ebikulu bye tuyiga. Ekyo kijja kutuyamba okweyisa mu ngeri ey’amagezi singa wajjawo ensonga eziyinza okuviirako ekibiina okubaamu enjawukana.

“Okuggyako nga Mukomoleddwa” (Bik. 15:1)

4. Ndowooza ki enkyamu Abakristaayo abamu gye baalina, era kibuuzo ki ekijjawo?

4 Lukka yawandiika nti: “Awo abantu abamu ne bava e Buyudaaya [ne bagenda mu Antiyokiya] ne batandika okugamba ab’oluganda nti: ‘Temuyinza kulokolebwa okuggyako nga mukomoleddwa ng’Amateeka ga Musa bwe galagira.’” (Bik. 15:1) Tekimanyiddwa obanga ‘abantu abo abaava e Buyudaaya’ bwe baali tebannafuuka Bakristaayo baali Bafalisaayo. Ka kibe nti baaliko Abafalisaayo oba nedda, kirabika baali batwaliriziddwa endowooza z’Abafalisaayo. Ate era bayinza okuba nga baalimbalimba nti baali bakiikirira abatume n’abakadde abaali mu Yerusaalemi. (Bik. 15:23, 24) Naye lwaki Abakristaayo Abayudaaya baali bakyakalambidde ku nsonga ey’okukomolebwa wadde nga waali wayise emyaka nga 13 miramba bukya Katonda awa omutume Peetero obulagirizi okukkiriza ab’Amawanga abatali bakomole okwegatta ku kibiina Ekikristaayo? a​—Bik. 10:24-29, 44-48.

5, 6. (a) Lwaki Abakristaayo abamu Abayudaaya baali bakalambira ku nsonga y’okukomolebwa? (b) Endagaano y’okukomolebwa yali kitundu ky’endagaano Katonda gye yakola ne Ibulayimu? Nnyonnyola. (Laba obugambo obuli wansi.)

5 Wayinza okuba nga waaliwo ensonga nnyingi ezaabaviirako okukalambira ku nsonga ey’okukomolebwa. Okusookera ddala, Yakuwa kennyini ye yali yawa ekiragiro eky’okukomolebwa. Era okukomolebwa kaali kabonero akaali kalaga enkolagana ey’enjawulo eyaliwo wakati we n’Abayisirayiri. Okukomolebwa kwatandika na Ibulayimu n’ab’ennyumba ye, nga n’Amateeka ga Musa tegannabaawo. b Oluvannyuma Amateeka ga Musa bwe gassibwawo, okukomolebwa kye kimu ku biragiro ebyali mu Mateeka ago. (Leev. 12:2, 3) Amateeka ga Musa gaali gaalagira nti ne bannaggwanga baalina okukomolebwa okusobola okukola ebintu ebimu Abayisirayiri bye baakolanga, gamba ng’okulya ku kijjulo ky’Embaga ey’Okuyitako. (Kuv. 12:43, 44, 48, 49) Mu butuufu, Abayudaaya baali batwala omuntu atali mukomole okuba atali mulongoofu era anyoomebwa.​—Is. 52:1.

6 N’olwekyo Abakristaayo Abayudaaya kyali kibeetaagisa okuba n’okukkiriza okw’amaanyi n’okuba abeetoowaze okusobola okukkiriza enkyukakyuka eyo eyali ezzeewo. Endagaano y’Amateeka yali evuddewo era ng’endagaano empya y’ezze mu kifo kyayo. N’olwekyo omuntu okuzaalibwa nga Muyudaaya ku bwakyo kyali tekimufuula kuba omu ku bantu ba Katonda. Ate era Abakristaayo Abayudaaya abaali babeera mu bitundu omwali Abayudaaya, gamba ng’abo abaali babeera mu Buyudaaya, kyali kibeetaagisa obuvumu okusobola okukkiririza mu Kristo n’okukolagana n’Abakristaayo ab’Amawanga abataali bakomole.​—Yer. 31:31-33; Luk. 22:20.

7. Kiki abantu abamu okuva e Buyudaaya kye baali balemereddwa okutegeera?

7 Kya lwatu nti emitindo gya Katonda gyali tegikyuse. Obukakafu obulaga ekyo kwe kuba nti endagaano empya yeesigamye ku musingi gwe gumu Amateeka ga Musa kwe gaali geesigamye. (Mat. 22:36-40) Ng’ekyokulabirako, ng’ayogera ku kukomolebwa, Pawulo oluvannyuma yagamba nti: “Omuyudaaya ddala ye w’omunda, n’okukomolebwa kwe kwa mu mutima okuyitira mu mwoyo so si mu Mateeka agali mu buwandiike.” (Bar. 2:29; Ma. 10:16) Abantu abaali bavudde mu Buyudaaya abaali bakalambira ku nsonga y’okukomolebwa baali tebategeeranga mazima ago, era baali bagamba nti Katonda taggyangawo tteeka lya kukomolebwa. Naye ddala abantu abo bandiwulirizza bwe bandinnyonnyoddwa ebikwata ku nsonga eyo?

“Obutakkaanya n’Okuwakana” (Bik. 15:2)

8. Lwaki ensonga y’okukomolebwa yatwalibwa eri akakiiko akafuzi mu Yerusaalemi?

8 Lukka era yagamba nti: ‘Bwe waabaawo obutakkaanya n’okuwakana okw’amaanyi wakati w’abantu abo abaava e Buyudaaya ne Pawulo ne Balunabba, abakadde baakola enteekateeka ne batuma Pawulo ne Balunabba n’abalala eri abatume n’abakadde e Yerusaalemi babategeeze ku nsonga eno.’ c (Bik. 15:2) Okuba nti waaliwo “obutakkaanya n’okuwakana” okw’amaanyi, kiraga nti buli lumu ku njuyi zombi lwali lulaba nti lwe lutuufu, era ekibiina ky’omu Antiyokiya kyali tekisobola kugonjoola nsonga eyo. Okusobola okukuuma emirembe n’obumu, ekibiina kyakola enteekateeka ensonga eyo etwalibwe eri “abatume n’abakadde e Yerusaalemi,” abaali bakola ng’akakiiko akafuzi. Kiki kye tuyigira ku bakadde b’omu kibiina ky’omu Antiyokiya?

Abamu baakalambira nti: “Ab’Amawanga . . . kyetaagisa okubakomola n’okubalagira okukwata Amateeka ga Musa”

9, 10. Kyakulabirako ki ekirungi ab’oluganda mu Antiyokiya awamu ne Pawulo ne Balunabba kye baatuteerawo?

9 Ekintu ekimu kye tuyigira ku ekyo ekyaliwo kiri nti, tusaanidde okwesiga ekibiina kya Yakuwa. Lowooza ku kino: Ab’oluganda mu Antiyokiya baali bakimanyi bulungi nti ab’oluganda abaali ku kakiiko akafuzi baali Bayudaaya. Wadde kyali kityo, beesiga ab’oluganda abo nti baali bajja kugoberera Ebyawandiikibwa nga bagonjoola ensonga ekwata ku kukomolebwa. Lwaki? Baali bakakafu nti Yakuwa yali ajja kuwa obulagirizi ku nsonga eyo ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu, n’Omutwe gw’Ekibiina Ekikristaayo, Yesu Kristo. (Mat. 28:18, 20; Bef. 1:22, 23) Leero bwe wajjawo ensonga ezitali nnyangu kugonjoola, tusaanidde okukoppa ekyokulabirako ekirungi baganda baffe ab’omu Antiyokiya kye bassaawo, nga twesiga ekibiina kya Yakuwa n’ab’oluganda abaafukibwako amafuta abali ku Kakiiko Akafuzi.

10 Ekintu ekirala kye tuyiga bwe bukulu bw’okuba abeetoowaze n’okuba abagumiikiriza. Pawulo ne Balunabba baali baalondebwa omwoyo omutukuvu okugenda okubuulira ab’Amawanga. Kyokka abasajja abo tebaakitwala nti be baalina okugonjoola ensonga ekwata ku kukomolebwa eyali ezzeewo mu Antiyokiya. (Bik. 13:2, 3) Nga wayise ekiseera, Pawulo yagamba nti: ‘Nnagenda e Yerusaalemi olw’okubikkulirwa kwe nnafuna.’ (Bag. 2:2) Ekyo kiraga nti Katonda yabawa obulagirizi ku nsonga eyo. Leero abakadde basaanidde okuba abeetoowaze n’okuba abagumiikiriza nga wazzeewo ensonga eziyinza okuleetawo enjawukana mu kibiina. Mu kifo ky’okukalambira ku ndowooza yaabwe, basaanidde okufuba okumanya endowooza ya Yakuwa nga beekenneenya Ebyawandiikibwa era nga banoonya obulagirizi okuva eri omuddu omwesigwa era ow’amagezi.​—Baf. 2:2, 3.

11, 12. Lwaki kikulu okulindirira Yakuwa?

11 Mu mbeera ezimu, kiyinza okutwetaagisa okulindirira okutuusa Yakuwa lw’anaatuyamba okweyongera okutegeera ensonga emu. Kijjukire nti ab’oluganda mu kiseera kya Pawulo baalina okulindirira okutuusa awo nga mu mwaka gwa 49 E.E., nga gye myaka nga 13 okuva Koluneeriyo lwe yafukibwako amafuta mu mwaka gwa 36 E.E., Yakuwa n’alyoka abayamba okutegeera obanga ab’Amawanga baalina okukomolebwa oba nedda. Lwaki Yakuwa yaleka ekiseera kiwanvu okuyitawo? Oboolyawo yaleka ekiseera ekyo okuyitawo kisobozese Abayudaaya abeesimbu okutuukana n’enkyukakyuka eyo eyali ey’amaanyi. Okukomya endagaano ey’okukomolebwa eyakolebwa ne Ibulayimu jjajjaabwe gwe baali baagala ennyo, eyali emaze emyaka 1,900, tekyali kintu kitono!​—Yok. 16:12.

12 Nga tulina enkizo ey’ekitalo ennyo okuyigirizibwa Kitaffe ow’omu ggulu ow’ekisa era omugumiikiriza! Bulijjo ebiva mu kuyigirizibwa okwo biba birungi era bigasa ffe. (Is. 48:17, 18; 64:8) N’olwekyo, ka bulijjo twewale okukalambira ku ndowooza yaffe oba okugaana okukolera ku nkyukakyuka eziba zikoleddwa mu ngeri ebintu ebimu gye bikolebwamu mu kibiina, oba mu ngeri gye tutegeeramu ebyawandiikibwa ebimu. (Mub. 7:8) Bw’okiraba nti oluusi kikuzibuwalira okukkiriza enkyukakyuka ezo, saba Yakuwa akuyambe era fumiitiriza ku misingi egiri mu Ebikolwa essuula 15. d

13. Tuyinza tutya okukoppa obugumiikiriza bwa Yakuwa mu buweereza bwaffe?

13 Kiyinza okutwetaagisa okuba abagumiikiriza nga tuyigiriza abantu abazibuwalirwa okulekayo enjigiriza ez’obulimba ze baagala ennyo, oba obulombolombo obukontana n’Ebyawandiikibwa. Mu mbeera ng’eyo, kiyinza okutwetaagisa okuleka ekiseera ekiwerako okuyitawo omwoyo gwa Yakuwa gusobole okuyamba omuyizi okukola enkyukakyuka. (1 Kol. 3:6, 7) Ate era ensonga eyo tusaanidde okugitegeezaako Yakuwa mu kusaba. Mu ngeri emu oba endala, era mu kiseera ekituufu, Yakuwa aba ajja kutuyamba okumanya kye tusaanidde okukola.​—1 Yok. 5:14.

Baabategeeza Ebintu Ebizzaamu Amaanyi (Bik. 15:3-5)

14, 15. Ab’oluganda mu kibiina ky’omu Antiyokiya baalaga batya nti baali bassa ekitiibwa mu Pawulo ne Balunabba awamu n’abalala be baali nabo, era Pawulo ne banne bazzaamu batya bakkiriza bannaabwe amaanyi?

14 Lukka era agamba nti: “Ab’oluganda mu kibiina bwe baamala okubawerekerako katono, abasajja abo ne beeyongerayo ne bayita mu Foyiniikiya ne mu Samaliya, nga bategeeza ab’oluganda ng’ab’Amawanga bwe baali bakyuka okudda eri Katonda, era kino ne kisanyusa nnyo ab’oluganda.” (Bik. 15:3) Okuba nti ab’oluganda mu kibiina ky’e Antiyokiya baawerekerako Pawulo ne Balunabba awamu n’abo be baali nabo, kyalaga nti baali babaagala era nga babassaamu ekitiibwa. Ate era kyalaga nti baali babaagaliza emikisa gya Katonda. Ne mu nsonga eno ab’oluganda mu Antiyokiya baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo! Ossa ekitiibwa mu bakkiriza banno, ‘naddala abakadde abakola ennyo mu kwogera ne mu kuyigiriza’?​—1 Tim. 5:17.

15 Pawulo ne banne bwe baali ku lugendo lwabwe, bazzaamu bakkiriza bannaabwe ab’omu Foyiniikiya ne Samaliya amaanyi bwe baababuulira ebirungi ebyava mu kubuulira amawulire amalungi mu b’Amawanga. Mu abo abaabawuliriza muyinza okuba nga mwalimu Abakristaayo Abayudaaya abaali baddukira mu bitundu ebyo oluvannyuma lw’okuttibwa kwa Siteefano. Ne leero lipoota eziraga engeri Yakuwa gy’awaamu omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa omukisa zizzaamu nnyo Abakristaayo amaanyi, naddala abo ababa boolekagana n’ebizibu eby’amaanyi. Oganyulwa mu bujjuvu mu lipoota ng’ezo ng’obaawo mu nkuŋŋaana ennene n’entono, era ng’osoma ebyafaayo ebikwata ku baganda baffe ebifulumira mu bitabo byaffe oba ku mukutu gwaffe jw.org?

16. Kiki ekiraga nti ensonga eyali ekwata ku kukomolebwa yali yeetaaga okugonjoolwa?

16 Oluvannyuma lw’ab’oluganda abo abaali bavudde mu Antiyokiya okutambula mayiro nga 350 nga badda mu bukiikaddyo, baatuuka gye baali balaga. Lukka yagamba nti: “Bwe baatuuka mu Yerusaalemi, ekibiina, n’abatume n’abakadde ne babaaniriza n’essanyu, Pawulo ne Balunabba ne babategeeza ebintu bingi Katonda bye yali akoze okuyitira mu bo.” (Bik. 15:4) Kyokka “abamu ku abo abaali mu kabiina k’Abafalisaayo abaali bafuuse abakkiriza ne basituka ne bagamba nti: ‘Ab’amawanga abakkiriza kyetaagisa okubakomola n’okubalagira okukwata Amateeka ga Musa.’” (Bik. 15:5) Kyeyoleka lwatu nti ensonga eyali ekwata ku Bakristaayo abataali Bayudaaya okukomolebwa oba obutakomolebwa, yali yeetaaga okugonjoolwa.

“Abatume n’Abakadde” Baakuŋŋaana Wamu (Bik. 15:6-12)

17. Baani abaali ku kakiiko akafuzi mu Yerusaalemi, era lwaki “abakadde” nabo baatekebwa ku kakiiko ako?

17 Bayibuli egamba nti: “Abo abateesa baba n’amagezi.” (Nge. 13:10, obugambo obuli wansi) Nga bakolera ku musingi ogwo, ‘abatume n’abakadde baakuŋŋaana wamu okwekenneenya ensonga’ ekwata ku kukomolebwa. (Bik. 15:6) “Abatume n’abakadde” baali bakiikirira ekibiina Ekikristaayo kyonna, era ng’Akakiiko Akafuzi leero bwe kakola. Lwaki “abakadde” baali baweerereza wamu n’abatume? Kijjukire nti omutume Yakobo yali yattibwa, era n’omutume Peetero yali yasibwako mu kkomera okumala ekiseera. Kyandiba nti ebintu ng’ebyo byali bisobola okutuuka ne ku batume abalala? Okuba nti waaliwo abasajja abalala abaafukibwako amafuta abaalina ebisaanyizo, kyandiyambye ekibiina okweyongera okulabirirwa obulungi.

18, 19. Bigambo ki Peetero bye yayogera, era abo abaali bamuwuliriza byabayamba kutegeera ki?

18 Lukka agamba nti: “Bwe baamala okukubaganya ebirowoozo, Peetero n’ayimuka n’abagamba nti: ‘Ab’oluganda, mukimanyi bulungi nti mu nnaku ezaayita Katonda yannonda mu mmwe, ab’Amawanga basobole okuwulira amawulire amalungi, bakkirize. Ate era Katonda amanyi emitima yawa obukakafu obulaga nti abasiima ng’abawa omwoyo omutukuvu nga naffe bwe yagutuwa. Teyayawulawo wakati waffe nabo, naye yatukuza emitima gyabwe olw’okukkiriza kwabwe.’” (Bik. 15:7-9) Okusinziira ku kitabo ekimu, ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa nga ‘okukubaganya ebirowoozo’ mu lunyiriri 7, era kitegeeza “okunoonya,” oba ‘okwebuuza ebibuuzo.’ Kirabika wadde ng’ab’oluganda abo baalina endowooza za njawulo, baali beesimbu, era buli omu yawa endowooza ye awatali kutya.

19 Ebigambo Peetero bye yayogera byayamba bonna abaaliwo okukijjukira nti ye kennyini yaliwo ng’omwoyo omutukuvu gufukibwa ku b’Amawanga abataali bakomole abasooka, kwe kugamba, Koluneeriyo n’ab’omu nnyumba ye, mu mwaka gwa 36 E.E. Okuva bwe kiri nti Yakuwa yali yalekera awo okwawula Abayudaaya ku bantu abatali Bayudaaya, kyeyoleka lwatu nti tewali muntu yenna yalina buyinza kwawula Bayudaaya ku bantu batali Bayudaaya. Ate era okukkiririza mu Kristo, so si okukwata Amateeka ga Musa, kye kitukuza omutima gw’omuntu.​—Bag. 2:16.

20. Abo abaali bakalambira ku nsonga y’okukomolebwa baali bagezesa batya Katonda?

20 Ng’asinziira ku bujulizi obw’enkunkunala obwali mu Kigambo kya Katonda n’obw’omwoyo omutukuvu, Peetero yafundikira agamba nti: “Kale, lwaki kati mugezesa Katonda nga mutikka abayigirizwa omugugu omuzito bajjajjaffe gwe bataasobola kwetikka era naffe gwe tutayinza kwetikka? Ng’oggyeeko ekyo, tukkiriza nti tulokolebwa lwa kisa eky’ensusso ekya Mukama waffe Yesu, era nabo ekyo kye bakkiriza.” (Bik. 15:10, 11) Mu butuufu, abo abaali bagamba nti ab’Amawanga baalina okukomolebwa, baali ‘bagezesa Katonda’ oba baali bagezesa ‘obugumiikiriza bwe,’ ng’enzivuunula ya Bayibuli emu bw’egamba. Baali bagezaako okukaka ab’Amawanga okukwata Amateeka bo ge baalemererwa okukwata mu bujjuvu ne beereetako omusango ogw’okufa. (Bag. 3:10) Mu kifo ky’okukalambira ku nsonga ey’okukomolebwa, Abayudaaya abaali bawuliriza Peetero bandibadde beebaza bwebaza Katonda olw’ekisa eky’ensusso ky’alaga okuyitira mu Yesu.

21. Mu kukubaganya ebirowoozo okwaliwo, kiki Pawulo ne Balunabba kye baayogera?

21 Ebigambo bya Peetero byakwata nnyo ku abo abaali bamuwuliriza, kubanga Bayibuli egamba nti: ‘Bonna baasirika.’ Oluvannyuma Pawulo ne Balunabba baabategeeza “obubonero obungi n’ebyamagero Katonda bye yali akoze mu b’amawanga okuyitira mu bo.” (Bik. 15:12) Kati abatume n’abakadde baali basobola okwekenneenya obujulizi bwonna obwali buweereddwa era basalewo mu ngeri eyali eyoleka endowooza Katonda gye yalina ku nsonga y’okukomolebwa.

22-24. (a) Ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi leero bakoppa batya ab’oluganda abaali ku kakiiko akafuzi mu kyasa ekyasooka? (b) Abakadde bonna bayinza batya okukiraga nti bassa ekitiibwa mu ngeri ekibiina gye kiddukanyizibwamu?

22 Ne leero ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi bwe bakuŋŋaana awamu okwogera ku nsonga ezitali zimu, banoonya obulagirizi okuva mu Kigambo kya Katonda era bamusaba abawe omwoyo gwe omutukuvu. (Zab. 119:105; Mat. 7:7-11) Okusobola okusalawo mu ngeri etuukana n’ekyo Katonda ky’ayagala, buli omu ku abo abali ku Kakiiko Akafuzi aweebwa nga bukyali ebyo ebiba bigenda okukubaganyizibwako ebirowoozo asobole okubifumiitirizaako n’okusaba Yakuwa abawe obulagirizi basobole okusalawo obulungi ku bintu ebyo. (Nge. 15:28) Mu nkuŋŋaana ezo, buli omu ku b’oluganda abo awa endowooza ye mu ngeri eraga nti assaamu banne ekitiibwa. Ate era bakozesa nnyo Ebyawandiikibwa.

23 Abakadde mu kibiina basaanidde okukoppa ekyokulabirako ekyo. Bwe baba n’ensonga gye boogerako mu lukuŋŋaana lwabwe naye n’ebalema okugonjoola, basobola okwebuuza ku b’oluganda ku ofiisi y’ettabi, oba abo ababakiikirira gamba ng’abalabirizi abakyalira ebibiina. Era bwe kiba kyetaagisa, ab’oluganda ku ofiisi y’ettabi bayinza okuwandiikira Akakiiko Akafuzi ne bakeebuuzaako.

24 Mazima ddala Yakuwa awa emikisa abo abawagira enteekateeka z’ekibiina era abooleka obwetoowaze, obwesigwa, n’obugumiikiriza. Nga bwe tujja okulaba mu kitundu ekiddako, bwe tuwagira enteekateeka ezo Katonda atuyamba ne tuba n’emirembe egya nnamaddala, ne tweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo, era ne tuba bumu.

b Endagaano y’okukomolebwa teyali kitundu ky’endagaano Yakuwa gye yakola ne Ibulayimu ekyaliwo n’okutuusa leero. Endagaano Yakuwa gye yakola ne Ibulayimu yatandika okukola mu 1943 E.E.T., Ibulayimu (mu kiseera ekyo eyali ayitibwa Ibulaamu) bwe yasomoka Omugga Fulaati ng’agenda mu Kanani. Mu kiseera ekyo Ibulayimu yalina emyaka 75. Endagaano y’okukomolebwa yakolebwa luvannyuma, mu 1919 E.E.T., Ibulayimu bwe yali ng’alina emyaka 99.​—Lub. 12:1-8; 17:1, 9-14; Bag. 3:17.

c Kirabika Tito, Omukristaayo Omuyonaani omu ku abo oluvannyuma abaakolera awamu ne Pawulo era eyamukiikiriranga, yali omu ku abo abaatumibwa eri akakiiko akafuzi. (Bag. 2:1; Tit. 1:4) Tito yali kyakulabirako kirungi ekya Munnaggwanga ataali mukomole eyafukibwako omwoyo omutukuvu.​—Bag. 2:3.