Ebbaluwa Okuva eri Akakiiko Akafuzi
Omubuulizi w’Obwakabaka Omwagalwa:
Kuba akafaananyi ng’oli omu ku batume era nga muyimiridde ku Lusozi lw’Emizeyituuni. Muba mukyali awo, Yesu n’abalabikira. Bw’aba anaatera okugenda mu ggulu, abagamba nti: “Mujja kufuna amaanyi, omwoyo omutukuvu bwe gunaabakkako, era mujja kuba bajulirwa bange mu Yerusaalemi, mu Buyudaaya mwonna, mu Samaliya, n’okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.” (Bik. 1:8) Ebigambo ebyo byandikukutteko bitya?
Oboolyawo wandiwulidde nti omulimu ogwo guyitiridde obunene. Oyinza okuba nga wandyebuuzizza nti, ‘Ffe abatono bwe tuti, tunaasobola tutya okuwa obujulirwa okutuuka “mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala”?’ Era oboolyawo wandijjukidde ebigambo bino Yesu bye yayogera mu kiro ekyasembayo amale attibwe: “Omuddu tasinga mukama we. Bwe baba nga nze banjigganyizza, nammwe bajja kubayigganya; bwe baba nga bakutte ekigambo kyange, n’ekyammwe bajja kukikwata. Naye bajja kubakola ebintu bino byonna olw’erinnya lyange, kubanga tebamanyi Oyo eyantuma.” (Yok. 15:20, 21) Okufumiitiriza ku bigambo ebyo oboolyawo kyandikuleetedde okwebuuza nti, ‘Nnaasobola ntya okuwa obujulirwa mu bujjuvu nga waliwo okuziyizibwa okw’amaanyi n’okuyigganyizibwa?’
Leero twebuuza ebibuuzo ng’ebyo. Naffe tulina okuwa obujulirwa mu bujjuvu “mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala,” era tulina okubuwa “abantu b’omu mawanga gonna.” (Mat. 28:19, 20) Tuyinza tutya okuwa obujulirwa mu bujjuvu nga tuziyizibwa era nga tuyigganyizibwa nga Yesu bwe yagamba?
Ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume kiraga engeri Yakuwa gye yayamba Abatume n’Abakristaayo abalala abaaliwo mu kyasa ekyasooka okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe. Ekitabo kino ky’osoma kitegekeddwa okukuyamba okwekenneenya n’okukuba akafaananyi ku ebyo ebyaliwo. Ojja kwewuunya okukiraba nti waliwo bingi Abakristaayo leero bye bafaanaganya n’Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka. Ojja kukiraba nti tukola omulimu gwe gumu gwe baakola, era nti n’engeri gye tutegekeddwamu okugukolamu y’emu n’engeri gye baagukolangamu. Okufumitiiriza ku kufaanagana okwo okuliwo wakati waffe nabo, kijja kukuyamba okweyongera okuba omukakafu nti Yakuwa akyeyongera okuwa ekitundu eky’okunsi eky’ekibiina kye obulagirizi.
Tusuubira nti okwekenneenya ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume kijja kukuyamba okweyongera okuba omukakafu nti Yakuwa ajja kukuyamba, era nti omwoyo gwe omutukuvu gujja kwongera okukuwa amaanyi okukola by’ayagala. N’olwekyo, weeyongere ‘okuwa obujulirwa mu bujjuvu’ obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda, oyambe abalala okuyiga ebikwata ku Katonda basobole okuba n’essuubi ery’okulokolebwa.—Bik. 28:23; 1 Tim. 4:16.
Ffe baganda bammwe,
Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa