Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 1

‘Mugende Mufuule Abantu Abayigirizwa’

‘Mugende Mufuule Abantu Abayigirizwa’

Ebiri mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume n’engeri gye bitukwatako leero

1-6. Waayo ebyokulabirako ebiraga nti Abajulirwa ba Yakuwa babuulira abantu mu mbeera ezitali zimu.

 OMUWALA Omujulirwa wa Yakuwa ayitibwa Rebecca abeera mu Ghana, yali atwala essomero lye yali asomeramu ng’ekitundu kye eky’okubuuliramu. Bulijjo mu nsawo ye ey’essomero yabanga n’ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli. Mu biseera eby’okuwummulamu, yakozesanga buli kakisa ke yafunanga okubuulira bayizi banne. Yatandika okuyiga Bayibuli ne bayizi banne abawerako.

2 Ku kizinga ky’e Madagascar, ekiri ebuvanjuba wa ssemazinga wa Afirika, bapayoniya babiri baatambulanga mayiro 15 mu musana omungi okusobola okutuuka ku kyalo ekimu. Ku kyalo ekyo baayigiriza abantu abawerako Bayibuli.

3 Okusobola okutuuka ku bantu ababeera ku lubalama lw’Omugga Paraguay n’Omugga Paraná, Abajulirwa ba Yakuwa mu Paraguay awamu ne bannaabwe abalala okuva mu nsi 15 baakolera wamu okuzimba eryato. Eryato eryo baalikola nga liringa ennyumba, nga lisobola okusuza abantu abawerera ddala 12. Ababuulizi b’Obwakabaka abanyiikivu baakozesa eryato eryo okutuusa amawulire amalungi mu bitundu ebizibu okutuukamu.

4 Abajulirwa ba Yakuwa mu Alaska baakozesa akakisa ke baafuna okubuulira abalambuzi abagendayo mu kiseera ekitali kya butiti. Mu kiseera ekyo, emmeeri zitwalayo abantu bangi okuva mu nsi ez’enjawulo, era Abajulirwa ba Yakuwa mu kitundu ekyo baabeeranga ku mwalo nga balina ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli mu nnimi ez’enjawulo nga balindiridde abalambuzi abo. Mu kitundu ekyo kye kimu, ababuulizi baakozesa ennyonyi okusobola okutuuka mu byalo ebyesudde, ne kibasobozesa okutuusa amawulire amalungi mu Aleut, Athabascan, Tsimshian, ne Tlingit.

5 Larry, ow’omu ssaza lya Texas, mu Amerika, yali abeera mu kifo awalabirirwa bannamukadde n’abateesobola, era ekyo kye kyali ekitundu kye mwe yali abuulira. Wadde nga yali atambulira mu kagaali k’abalema olw’akabenje ke yafuna, yabuuliranga abalala n’obunyiikivu amawulire amalungi. Yabategeezanga ne ku ssuubi ly’alina ery’okuddamu okutambula, Obwakabaka bwa Katonda bwe bunaaba bufuga ensi yonna mu bujjuvu.​—Is. 35:5, 6.

6 Okusobola okubaawo ku lukuŋŋaana olunene olwali mu bukiikakkono bwa Myanmar, Abajulirwa ba Yakuwa baalinnya ekidyeri okuva e Mandalay, era kyabatwalira ennaku ssatu okutuukayo. Olw’okuba baali baagala nnyo okubuulira amawulire amalungi, baagenda n’ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli bye baagabira abantu be baali nabo ku kidyeri. Buli ekidyeri lwe kyayimiriranga ku mwalo gw’akabuga akamu oba ogw’ekyalo ekimu, ababuulizi baavangako ne bayitaayita mu kitundu ekyo nga babuulira abantu era nga babagabira ebitabo. Bwe baakomangawo ku kidyeri, ng’ate babuulira n’abasaabaze abalala abaabanga baakalinnya.

7. Nkola ki Abajulirwa ba Yakuwa ze bakozesa okubuulira abalala ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda, era baba na kigendererwa ki?

7 Okufaananako baganda baffe ne bannyinaffe abo be tulabye, Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi ‘bawa obujulirwa obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu bujjuvu.’ (Bik. 28:23) Babuulira abantu nnyumba ku nnyumba, babuulira ku nguudo, era babuulira nga bawandiika amabaluwa oba nga bakozesa amasimu. Ka babe nga bali mu ntambula eya lukale, nga bali mu bifo ebiwummulirwamu, oba nga bali ku mirimu gyabwe mu biseera eby’okuwummulamu, bakozesa buli kakisa ke bafuna okubuulira abalala ku Bwakabaka bwa Katonda. Wadde ng’enkola ze bakozesa okubuulira za njawulo, baba n’ekigendererwa kye kimu, nga kwe kubuulira abantu amawulire amalungi wonna we babasanga.​—Mat. 10:11.

8, 9. (a) Lwaki kyewuunyisa okuba nti omulimu gw’okubuulira ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda gukolebwa mu nsi yonna? (b) Kibuuzo ki ekijjawo, era kiki kye tulina okukola okusobola okukiddamu?

8 Oli omu ku babuulizi b’Obwakabaka kati abasangibwa mu nsi ezisukka mu 235? Bwe kiba kityo, olina kinene ky’okola mu mulimu gw’okubunyisa amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Mu butuufu, kyewuunyisa nnyo okuba nti omulimu guno gukolebwa okwetooloola ensi yonna. Wadde ng’Abajulirwa ba Yakuwa boolekagana n’ebizibu eby’amaanyi, gamba nga gavumenti ezimu okuwera omulimu gwabwe oba okubayigganya, babuulira n’obunyiikivu abantu mu mawanga gonna amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda.

9 Naye ekyebuuzibwa kiri nti, lwaki tewabaddeewo kintu kyonna, ka kube kuziyizibwa okuva eri Sitaani, kisobodde kulemesa mulimu gwa kubuulira mawulire malungi kugenda mu maaso? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, tusaanidde okwekenneenya ebyo ebyaliwo mu kyasa ekyasooka E.E. Kikulu okubyekenneenya, kubanga omulimu Abajulirwa ba Yakuwa gwe bakola leero gwatandikibwawo mu kiseera ekyo.

Omulimu Munene era Gutwala Ekiseera Kiwanvu

10. Mulimu ki Yesu gwe yeemalirako, era kiki kye yali amanyi ku mulimu ogwo?

10 Yesu Kristo, eyatandikawo ekibiina Ekikristaayo, yali munyiikivu nnyo mu kubuulira amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Gwe mulimu ogwali gusinga obukulu mu bulamu bwe. Yagamba nti: “Nnina okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda . . . kubanga ekyo kye kyantumya.” (Luk. 4:43) Yesu yali akimanyi nti omulimu gwe yali atandise yali tayinza kugumaliriza yekka. Bwe waali wabula ekiseera kitono attibwe, yagamba nti amawulire amalungi ag’Obwakabaka gandibadde gabuulirwa “mu mawanga gonna.” (Mak. 13:10) Naye omulimu ogwo gwandikoleddwa gutya, era baani abandigukoze?

“Mugende mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa.”​—Matayo 28:19

11. Mulimu ki omukulu Yesu gwe yawa abayigirizwa be, era buyambi ki bwe bandifunye nga bakola omulimu ogwo?

11 Oluvannyuma lwa Yesu okufa era n’okuzuukira, yalabikira abayigirizwa be n’abawa omulimu omukulu ennyo. Yabagamba nti: “Mugende mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, n’ery’Omwana, n’ery’omwoyo omutukuvu, nga mubayigiriza okukwata ebintu byonna bye nnabalagira. Era laba! Ndi wamu nammwe ennaku zonna okutuusa ku mafundikira g’enteekateeka y’ebintu.” (Mat. 28:19, 20) Ebigambo “ndi wamu nammwe” biraga nti Yesu yandiyambye abayigirizwa be nga bakola omulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa. Bandibadde beetaaga obuyambi obwo, kubanga Yesu yagamba nti ‘bandibadde bakyayibwa amawanga gonna.’ (Mat. 24:9) Waliwo n’ekirala ekyandiyambye abayigirizwa. Yesu bwe yali anaatera okuddayo mu ggulu, yabagamba nti bandibadde bafuna omwoyo omutukuvu ogwandibayambye okuba abajulirwa be “mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.”​—Bik. 1:8.

12. Bibuuzo ki ebikulu ebijjawo, era lwaki kikulu okumanya eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo?

12 Naye waliwo ebibuuzo ebikulu ebijjawo: Abatume ba Yesu n’abayigirizwa be ab’omu kyasa ekyasooka omulimu ogwabaweebwa baagutwala nga mukulu? Abakristaayo abo abaali abatono ennyo baasobola okuwa obujulirwa mu bujjuvu ku Bwakabaka bwa Katonda ne bwe baali bayigganyizibwa nnyo? Baafuna obuyambi okuva eri Yakuwa ne Yesu Kristo ne bamalayika awamu n’omwoyo omutukuvu nga bakola omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa? Ebibuuzo ebyo n’ebirala biddibwamu mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume. Kikulu nnyo okumanya eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo. Lwaki? Yesu yagamba nti omulimu gwe yawa abayigirizwa be gwandikoleddwa “okutuusa ku mafundikira g’enteekateeka y’ebintu.” Ekyo kiraga nti omulimu guno gwandikoleddwa Abakristaayo bonna ab’amazima, nga mw’otwalidde naffe abaliwo mu kiseera kino eky’enkomerero. N’olwekyo, twetaaga okumanya ebyo ebiri mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume.

Ebiri mu Kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume

13, 14. (a) Ani yawandiika ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume, era bye yawandiika yabifuna atya? (b) Biki ebiri mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume?

13 Ani yawandiika ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume? Ekitabo kino tekiraga linnya ly’oyo eyakiwandiika, naye ebigambo ebiri mu nnyiriri ezisooka bikyoleka bulungi nti oyo eyakiwandiika era ye yawandiika Enjiri ya Lukka. (Luk. 1:1-4; Bik. 1:1, 2) N’olwekyo, okuva edda Lukka “omusawo omwagalwa” era munnabyafaayo omwegendereza, y’azze atwalibwa nti ye yawandiika ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume. (Bak. 4:14) Ebyogerwako mu kitabo kino byaliwo mu kiseera kya myaka nga 28, kwe kugamba, okuva mu mwaka gwa 33 E.E Yesu lwe yaddayo mu ggulu, okutuuka awo nga mu mwaka gwa 61 E.E omutume Pawulo bwe yali ng’asibiddwa e Rooma. Engeri Lukka gye yawandiikamu ebintu ebimu eraga nti bingi ku ebyo bye yayogerako yabirabako oba yaliwo nga bibaawo. (Bik. 16:8-10; 20:5; 27:1) Ate era olw’okuba Lukka yanoonyereza nnyo, ebintu ebimu ateekwa okuba nga yabifuna okuva eri abo abaabiraba nga bibaawo, gamba nga Pawulo, Balunabba, Firipo, n’abalala aboogerwako mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume.

14 Biki ebiri mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume? Mu kitabo ky’Enjiri kye yawandiika, Lukka yattottola ebintu Yesu bye yayogera ne bye yakola. Kyokka mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume yawandiika ku bintu abagoberezi ba Yesu bye baayogera ne bye baakola. N’olwekyo, ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume kyogera ku bantu abaakola omulimu ogw’amaanyi wadde nga bangi ku bo baali batwalibwa ng’abataali ‘bayigirize era abantu aba bulijjo.’ (Bik. 4:13) Mu bumpimpi, ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume kyogera ku ngeri ekibiina Ekikristaayo gye kyatandikawo n’engeri gye kyakulaakulanamu. Kitulaga engeri Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka gye baabuulirangamu, kwe kugamba, enkola ze baakozesanga okubuulira era n’endowooza gye baalina ku mulimu gw’okubuulira. (Bik. 4:31; 5:42) Kiraga engeri omwoyo omutukuvu gye gwayambamu mu kubunyisa amawulire amalungi. (Bik. 8:29, 39, 40; 13:1-3; 16:6; 18:24, 25) Ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume kyogera ku nsonga esinga obukulu eyogerwako mu Bayibuli ekwata ku kutukuzibwa kw’erinnya lya Katonda okuyitira mu Bwakabaka bwe obufugibwa Kristo, era kiraga engeri amawulire agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda gye gaabunyisibwamu wadde nga waaliwo okuyigganyizibwa okw’amaanyi.​—Bik. 8:12; 19:8; 28:30, 31.

15. Tunaaganyulwa tutya mu kwekenneenya ebyo ebiri mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume?

15 Mu butuufu, bwe tuneekenneenya ebyo ebiri mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume, kijja kunyweza nnyo okukkiriza kwaffe! Tujja kukwatibwako nnyo bwe tunaafumiitiriza ku buvumu n’obunyiikivu abagoberezi ba Kristo abaasooka bwe baayoleka. Ekyo kijja kutuleetera okufuba okukoppa okukkiriza kwa baganda baffe ne bannyinaffe abo abaaliwo mu kyasa ekyasooka. Era kijja kutuyamba okutuukiriza omulimu ogwatuweebwa ‘ogw’okufuula abantu abayigirizwa.’ Ekitabo kino ky’osoma kyawandiikibwa okukuyamba okwekenneenya ebyo ebiri mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume.

Ekitabo Ekigenda Okutuyamba

16. Bintu ki ebisatu ekitabo kino kye bigenda okutuyambamu?

16 Ekitabo kino kigenda kutuyamba kitya? Ekitabo kino kyawandiikibwa okutuyamba mu bintu bino bisatu: (1) okweyongera okuba abakakafu nti Yakuwa akozesa omwoyo gwe omutukuvu okuyamba abaweereza be okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda n’okufuula abantu abayigirizwa, (2) okweyongera okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira nga twekenneenya ekyokulabirako ky’abagoberezi ba Kristo abaaliwo mu kyasa ekyasooka, (3) n’okweyongera okussa ekitiibwa mu kibiina kya Yakuwa ne mu abo abawoma omutwe mu mulimu gw’okubuulira n’okulabirira ebibiina.

17, 18. Ebiri mu kitabo kino bisengekeddwa bitya, era biki ebikirimu ebijja okukuyamba ng’okisoma?

17 Ekitabo kino kisengekeddwa kitya? Ekitabo kino kirimu ebitundu munaana era nga buli kitundu kiriko bye kyogera ebiri mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume. Essuula eziri mu kitabo kino tezoogera ku buli lunyiriri oluli mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume, wabula zinokolayo ebyo bye tuyiga mu bintu ebyogerwako mu kitabo ekyo, n’engeri gye tuyinza okubikolerako. Wansi wa buli mutwe gw’essuula waliwo ebigambo ebiraga ensonga enkulu eyogerwako mu ssuula eyo, n’ebyawandiikibwa ebiggiddwa mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume ebiba bigenda okwogerwako mu ssuula eyo.

18 Waliwo ebintu ebirala ebiri mu kitabo kino ebijja okutuyamba nga tukisoma. Ebifaananyi ebirabika obulungi ebiraga ebintu ebyogerwako mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume bijja kukuyamba okukuba akafaananyi ku bintu ebyaliwo ebyogerwako mu kitabo ekyo. Essuula nnyingi zirimu obusanduuko obulimu ebintu ebirala ebijja okukuyamba okumanya ebisingawo. Obusanduuko obumu bwogera ku bantu aboogerwako mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume abaayoleka okukkiriza okw’amaanyi era be tusaanidde okukoppa. Obusanduuko obulala bwogera ku bifo, ku bintu ebyaliwo, ne ku bantu abalala aboogerwako mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume.

Buulira n’obunyiikivu mu kitundu ky’olina okubuuliramu

19. Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza buli luvannyuma lwa kiseera?

19 Ekitabo kino kisobola okukuyamba okwekebera mu bwesimbu. K’obe ng’omaze kiseera kyenkana wa ng’obuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda, kirungi buli luvannyuma lwa kiseera okwekebera olabe by’okulembeza mu bulamu n’engeri gy’otwalamu omulimu gw’okubuulira. (2 Kol. 13:5) Weebuze: ‘Bwe mba nkola omulimu guno, nkyoleka nti gulina okukolebwa mu bwangu? (1 Kol. 7:29-31) Omulimu guno ngukola n’obunyiikivu? (1 Bas. 1:5, 6) Nneenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa?’​—Bak. 3:23.

20, 21. Lwaki omulimu gw’okubuulira tusaanidde okugukola mu bwangu, era kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola?

20 Ka bulijjo tukijjukirenga nti twaweebwa omulimu omukulu ennyo ogw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa. Buli lunaku oluyitawo, ekiseera ky’okukola omulimu guno kigenda kikendeera era tulina okugukola mu bwangu. Enkomerero eneetera okutuuka. Obulamu bw’abantu bangi nnyo buli mu kabi. Tetumanyi bantu bameka abalina endowooza ennuŋŋamu abanaawuliriza obubaka bwaffe. (Bik. 13:48) Buvunaanyizibwa bwaffe okuyamba abantu abo ng’enkomerero tennajja.​—1 Tim. 4:16.

21 Okufaananako ababuulizi b’Obwakabaka abaaliwo mu kyasa ekyasooka, kikulu nnyo naffe okubuulira n’obunyiikivu. Okusoma ekitabo kino ka kukuyambe okweyongera okubuulira n’obunyiikivu era n’obuvumu. Era ka weeyongere okuba omumalirivu ‘okuwa obujulirwa obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu bujjuvu.’​—Bik. 28:23.