ESSUULA 24
“Beera Mugumu!”
Abayudaaya bakola olukwe okutta Pawulo, era Pawulo yeewozaako mu maaso ga Ferikisi
Byesigamiziddwa ku Ebikolwa 23:11–24:27
1, 2. Lwaki Pawulo tekimwewuunyisa nti ayigganyizibwa mu Yerusaalemi?
PAWULO azziddwayo nate mu kkomera oluvannyuma lw’okuggibwa mu kibiina ky’abantu abaswakidde. Omutume ono omunyiikivu tekimwewuunyisa nti ayigganyizibwa wano mu Yerusaalemi. Yagambibwa nti yali ajja ‘kusibibwa, era abonaabone’ ng’ali mu kibuga kino. (Bik. 20:22, 23) Wadde nga Pawulo tamanyidde ddala bigenda kumutuukako, akimanyi nti ajja kweyongera okubonaabona olw’erinnya lya Yesu.—Bik. 9:16.
2 Ne bannabbi Abakristaayo baali baalabula Pawulo nti yali ajja kusibibwa era aweebweyo “mu mikono gy’ab’amawanga.” (Bik. 21:4, 10, 11) Gye buvuddeko awo, ekibiina ky’Abayudaaya kyali kyagala kumutta. Ate waayita ekiseera kitono, ab’Olukiiko Olukulu ne babulako katono “okumuyuzaayuza” olw’ekyo kye yali ayogedde. Kati Pawulo asibiddwa mu kkomera eriri mu nkambi y’abasirikale Abaruumi. Mu kiseera ekitali kya wala agenda kwolekagana n’ebigezo ebirala, era abalabe be bagenda kwongera okumulumiriza ebintu ebirala. (Bik. 21:31; 23:10) Mazima ddala omutume Pawulo yeetaaga okuzzibwamu amaanyi!
3. Tuzzibwamu tutya amaanyi ne tweyongera okukola omulimu gw’okubuulira?
3 Mu kiseera kino eky’enkomerero, tukimanyi nti “abo bonna abaagala okutambulira mu bulamu obw’okwemalira ku Katonda ng’abagoberezi ba Kristo Yesu bajja kuyigganyizibwanga.” (2 Tim. 3:12) Naffe ebiseera ebimu twetaaga okuzzibwamu amaanyi okusobola okweyongera okukola omulimu gw’okubuulira. Mu butuufu, tusiima nnyo ebigambo ebizzaamu amaanyi bye tufuna okuva eri “omuddu omwesigwa era ow’amagezi,” okuyitira mu bitabo ne mu nkuŋŋaana z’atuteekerateekera. (Mat. 24:45) Yakuwa yatukakasa nti abo abagezaako okuziyiza amawulire amalungi tebasobola kuwangula. Tebasobola kusaanyaawo baweereza be ng’ekibiina, era tebasobola kukomya mulimu gwa kubuulira. (Is. 54:17; Yer. 1:19) Ate ye omutume Pawulo? Yasobola okuzzibwamu amaanyi ne yeeyongera okuwa obujulirwa mu bujjuvu wadde nga yali ayigganyizibwa? Bwe kiba kityo, yazzibwamu atya amaanyi, era kiki kye yakola?
Olukwe Lugwa Butaka (Bik. 23:11-34)
4, 5. Pawulo yazzibwamu atya amaanyi, era lwaki ekyo kyaliwo mu kiseera ekituufu?
4 Omutume Pawulo yazzibwamu amaanyi mu kiro ky’olunaku lwe yataasibwa okuva ku balamuzi b’Olukiiko Olukulu. Bayibuli egamba nti: “Mukama waffe n’ayimirira we yali n’amugamba nti: ‘Beera mugumu! Nga bw’obadde ompaako obujulirwa mu Yerusaalemi, bw’otyo bw’oteekwa okumpaako obujulirwa mu Rooma.’” (Bik. 23:11) Ebigambo bya Yesu ebyo ebizzaamu amaanyi byaleetera Pawulo okuba omukakafu nti yandinunuddwa. Yakitegeera nti yali ajja kutuuka e Rooma afune enkizo ey’okuwa obujulirwa ku Yesu mu kibuga ekyo.
5 Pawulo yazzibwamu amaanyi mu kiseera ekituufu. Ku lunaku olwaddako, Abayudaaya abasukka mu 40 baakola “olukwe, ne beerayirira nga bagamba nti bakolimirwe singa balya oba banywa nga tebannatta Pawulo.” Abayudaaya abo baali bamalirivu nnyo okutta Pawulo. Baali bakitwala nti ekyo bwe batandikikoze ekintu ekibi ennyo kyandibatuuseeko. (Bik. 23:12-15) Bakabona abakulu n’abakadde baasemba olukwe abasajja abo lwe baakola, era bwe luti bwe lwali: Baali baakusaba nti Pawulo akomezebwewo mu maaso g’abalamuzi b’Olukiiko Olukulu, nga beefudde ng’abaali baagala okubaako ebintu ebirala bye baali bamubuuza basobole okutegeera obulungi ensonga ze. Naye bwe yandibadde akomezebwawo eri Olukiiko Olukulu, bandimuzinduukirizza ne bamutta.
6. Olukwe lw’okutta Pawulo lwamanyibwa lutya, era kiki leero abavubuka kye bayigira ku mwana wa mwannyina wa Pawulo?
6 Kyokka omwana wa mwannyina wa Pawulo yawulira ku lukwe olwo era n’ategeezaako Pawulo. Ekyo Pawulo bwe yakitegeera, yasaba nti omuvubuka oyo atwalibwe eri Kulawudiyo Lusiya, omuduumizi w’amagye Omuruumi, amutegeeze ebyo bye yali awulidde. (Bik. 23:16-22) Mu butuufu, Yakuwa ayagala nnyo abavubuka abalinga omuvubuka oyo, abooleka obuvumu ne bayamba abantu ba Katonda, era ne bakola kyonna ekisoboka okuwagira Obwakabaka.
7, 8. Nteekateeka ki Kulawudiyo Lusiya ze yakola okukakasa nti Pawulo tatuusibwako kabi?
7 Amangu ddala nga Kulawudiyo Lusiya, eyali aduumira abasirikale 1,000, amaze okutegeezebwa ku lukwe lw’okutta Pawulo, yakola enteekateeka Pawulo aggibwe e Yerusaalemi ekiro ekyo, atwalibwe e Kayisaliya ng’awerekerwako abasirikale 470 ab’okumukuuma. Mu basirikale abo mwalimu ab’amafumu, n’abeebagala embalaasi. Bwe bandimutuusizza e Kayisaliya, bandimukwasizza Gavana Ferikisi. a Wadde ng’e Kayisaliya, awaali ekitebe Abaruumi gye baasinziiranga okufuga essaza ly’Abayudaaya waaliyo Abayudaaya bangi, ekibuga ekyo kyali kisinga kubaamu bantu b’amawanga amalala. Okwawukana ku kibuga Yerusaalemi omwali abantu abangi abaalina obukyayi ku bantu ab’eddiini endala era omwabeeranga ennyo obwegugungo, mu Kayisaliya mwo mwalimu obutebenkevu. Ate era mu Kayisaliya mwe mwali ekitebe ekikulu eky’amagye ga Rooma agaali gaweerereza mu Buyudaaya.
8 Ng’akolera ku tteeka eryassibwawo gavumenti ya Rooma, Lusiya yaweereza Ferikisi ebbaluwa ng’amulaga ensonga lwaki yali asindise Pawulo gy’ali. Lusiya yagamba nti bwe yakitegeera nti Pawulo yalina obutuuze bwa Rooma, yamutaasa ku Bayudaaya abaali baagala ‘okumutta.’ Lusiya era yagamba nti talina kikyamu kyonna kye yazuula mu Pawulo ekyali ‘kimugwanyiza okufa wadde okusibibwa.’ Kyokka olw’okuba Abayudaaya baali bakoze olukwe okutta Pawulo, eyo ye nsonga lwaki yasalawo okumusindika eri gavana Ferikisi asobole okuwulira ebyo bye baali bavunaana Pawulo, kimusobozese okusalawo ku nsonga eyo.—Bik. 23:25-30.
9. (a) Eddembe Pawulo lye yalina ng’omutuuze wa Rooma lyalinnyirirwa litya? (b) Lwaki oluusi tuyinza okukozesa amateeka okulwanirira ddembe lyaffe mu nsi mwe tubeera?
9 Lusiya bye yawandiika byonna byali bituufu? Nedda. Kirabika yali agezaako okwewaako ekifaananyi ekirungi eri gavana. Okuba nti Pawulo yalina obutuuze bwa Rooma, si ye nsonga eyaviirako Lusiya okumutaasa. Eky’okulagira nti Pawulo ‘asibibwe mu njegere bbiri’ era oluvannyuma “bamukube embooko nga bwe bamubuuza ebibuuzo,” Lusiya teyakyogerako. (Bik. 21:30-34; 22:24-29) Bwe kityo yalinnyirira eddembe lya Pawulo, okuva bwe kiri nti Pawulo yali mutuuze wa Rooma. Leero Sitaani akozesa bannaddiini abamu okukuma omuliro mu kuyigganya Abajulirwa ba Yakuwa era bayinza n’okugezaako okulinnyirira eddembe lyaffe ery’okusinza. Naye okufaananako Pawulo, abantu ba Katonda bayinza okukozesa amateeka okusobola okulwanirira eddembe lye balina mu nsi mwe baba.
“Nja Kwewozaako nga Ndi Mugumu” (Bik. 23:35–24:21)
10. Misango ki egya nnaggomola gye baasiba ku Pawulo?
10 Mu Kayisaliya, Pawulo ‘yakuumirwa mu lubiri lwa Kerode’ nga bw’alindirira abo abaali bamuvunaana bajje okuva e Yerusaalemi. (Bik. 23:35) Nga wayise ennaku ttaano, baatuuka. Mu abo mwalimu Ananiya kabona asinga obukulu, munnamateeka eyali ayitibwa Terutuulo, n’ekibinja ky’abakadde. Terutuulo bwe yatandika okwogera, yasooka kutendereza Ferikisi olw’ebyo bye yali akolera Abayudaaya, era kya lwatu nti yali amuwaanawaana asobole okuganja gy’ali. b Oluvannyuma bwe yatandika okwanja ensonga ze, yagamba nti Pawulo yali musajja wa “mutawaana, aleetera Abayudaaya mu nsi yonna okujeemera gavumenti, [nti] y’akulembera akabiina k’Abannazaaleesi,” era nti ‘yagezaako okutyoboola yeekaalu, ne bamukwata.’ Abayudaaya abalala baamwegattako ne “balumiriza nti ebintu ebyo bituufu.” (Bik. 24:5, 6, 9) Emisango gye baali bavunaana Pawulo egy’okuleetera abalala okujeemera gavumenti, okukulemberamu akabiina ak’omutawaana, n’okutyoboola yeekaalu, gyali gya nnaggomola era gyali giyinza okumuviirako okusalirwa ogw’okufa.
11, 12. Pawulo yakiraga atya nti bye baali bamuvunaana tebyali bituufu?
11 Oluvannyuma Pawulo yakkirizibwa okwogera. Era yatandika agamba nti: “Nja kwewozaako nga ndi mugumu.” Yakiraga nti ebyo bye baali bamuvunaana tebyali bituufu. Pawulo yali tatyoboolangako yeekaalu era yali taleeterangako balala kujeemera gavumenti. Yagamba nti yali amaze “emyaka mingi” nga tabeera mu Yerusaalemi, era nti yali akomyewo ‘n’ebirabo,’ kwe kugamba, ebintu bye yali aleetedde Abakristaayo ab’omu Buyudaaya abaali baavuwadde ennyo olw’enjala n’olw’okuyigganyizibwa. Pawulo yagamba nti bwe yali tannayingira mu yeekaalu yali asoose ‘kwetukuza,’ era nti yali afubye nnyo okulaba nti tazza musango gwonna “mu maaso ga Katonda n’abantu.”—Bik. 24:10-13, 16-18.
12 Kyokka Pawulo yagamba nti yali asinza Katonda wa bajjajjaabe ng’agoberera ‘ensinza bo gye baali bayita akabiina.’ Era yakyoleka nti yali akkiriza “ebintu byonna ebiri mu Mateeka ne mu bitabo bya bannabbi.” Era nti okufaananako abo abaali bamuvunaana, yalina essuubi erikwata ku ‘kuzuukira kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu.’ Oluvannyuma Pawulo yasaba abo abaali bamulumiriza baleete obukakafu ku ebyo bye baali bamulumiriza. Yagamba nti: “Abasajja abali wano bennyini boogere ekikyamu kye baazuula ku nze bwe nnayimirira mu maaso g’Olukiiko Olukulu, okuggyako ebigambo bino bye nnayogera nga nnyimiridde mu maaso gaabwe nti: ‘Nvunaanibwa mu maaso gammwe olw’essuubi ery’okuzuukira kw’abafu!’”—Bik. 24:14, 15, 20, 21.
13-15. Lwaki tugamba nti Pawulo yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu kuwa obujulirwa eri ab’obuyinza?
13 Pawulo yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi kye tusaanidde okukoppa singa abo abataagala bantu ba Yakuwa batuvunaana mu mbuga z’amateeka nti tukuma mu bantu omuliro, tuleetera abalala okujeemera gavumenti, era nti tuli mu “kabiina ak’omutawaana.” Pawulo teyagezaako kwegula eri gavana ng’ayogera ebigambo ebimuwaanawaana nga Terutuulo bwe yakola. Yasigala mukkakkamu era n’akyoleka nti yali assaamu gavana n’abalala abaaliwo ekitiibwa. Yeewozaako mu ngeri ey’amagezi era eyali etegeerekeka obulungi. Yagamba nti “Abayudaaya abamu abaava mu ssaza ly’e Asiya” abaali bamuvunaana nti yali atyoboola yeekaalu tebaaliwo, era nti yandyagadde okwewozaako ng’Abayudaaya abo we bali.—Bik. 24:18, 19.
14 N’ekisinga obukulu, Pawulo teyalema kuwa bujulirwa ku ebyo bye yali akkiririzaamu. Pawulo yaddamu okukyoleka nti yali akkiririza mu kuzuukira, era nti eyo ye nsonga eyali eviiriddeko ab’Olukiiko Olukulu okukyankalana bwe yali mu maaso gaabwe. (Bik. 23:6-10) Lwaki Pawulo bwe yali yeewozaako yaggumiza ensonga y’okuzuukira? Kubanga yali awa obujulirwa ku Yesu ne ku kuzuukira kwa Yesu, ekintu abalabe be kye baali batakkiriza. (Bik. 26:6-8, 22, 23) Mu butuufu, obuzibu obwaliwo bwali bwetooloolera ku nsonga ekwata ku kuzuukira, kwe kugamba, okukkiririza mu Yesu ne mu kuzuukira kwe.
15 Okufaananako Pawulo, naffe tusobola okuwa obujulirwa n’obuvumu, era ebigambo bino Yesu bye yagamba abayigirizwa be bituzzaamu nnyo amaanyi: “Mulikyayibwa abantu bonna olw’erinnya lyange. Naye oyo agumiikiriza okutuuka ku nkomerero y’alirokolebwa.” Twandyeraliikiridde ebyo bye twandyogedde? Nedda. Yesu yagamba nti: “Bwe baliba babatwala mu mbuga z’amateeka, temweraliikiriranga kye mulyogera; naye kyonna kye muliweebwa mu kiseera ekyo, kye mubanga mwogera, kubanga si mmwe muliba mukyogera wabula omwoyo omutukuvu.”—Mak. 13:9-13.
“Ferikisi n’Atya” (Bik. 24:22-27)
16, 17. (a) Ferikisi yakwata atya omusango gwa Pawulo? (b) Lwaki Ferikisi ayinza okuba nga yatya, naye nsonga ki eyamuviirako okweyongera okutumyanga Pawulo?
16 Guno si gwe mulundi Gavana Ferikisi gwe yali asoose okuwulira ebyo Abakristaayo bye bakkiririzaamu. Bayibuli egamba nti: “Olw’okuba Ferikisi yali amanyi bulungi ebikwata ku Kkubo lino [erinnya eryayitibwanga abagoberezi ba Kristo abaasooka nga tebannatandika kuyitibwa Bakristaayo], yayongezaayo omusango gwabwe ng’agamba nti: ‘Lusiya omuduumizi w’amagye bw’alimala okujja, ndisala omusango gwammwe.’ Awo n’alagira omukulu w’ekibinja ky’abasirikale nti Pawulo akuumirwe mu kkomera naye nga takugirwa nnyo, era abantu be bakkirizibwe okukola ku byetaago bye.”—Bik. 24:22, 23.
17 Nga wayise ennaku, Ferikisi ng’ali wamu ne mukyala we Dulusira, eyali Omuyudaaya, yatumya Pawulo “n’amuwuliriza ng’ayogera ebikwata ku kukkiririza mu Kristo Yesu.” (Bik. 24:24) Kyokka Pawulo bwe yayogera ku “butuukirivu, okwefuga, n’okusala omusango okulibaawo, Ferikisi” yatya. Ekyo kyali kityo oboolyawo olw’okuba ebintu ebyo byali bimuleetera okulumirizibwa omuntu ow’omunda, okuva bwe kiri nti yali akoze ebintu ebibi ennyo mu bulamu bwe. Bwe kityo yagamba Pawulo nti: “Kaakano genda, naye bwe nnaafuna akaseera nja kukutumya nate.” Ferikisi yatumya Pawulo emirundi emirala mingi, naye si lwa kuba nti yali ayagala okumanya amazima, wabula olw’okuba yali asuubira Pawulo okumuwa enguzi.—Bik. 24:25, 26.
18. Lwaki Pawulo yabuulira Ferikisi ne mukyala we ebikwata ku “butuukirivu, okwefuga, n’okusala omusango okulibaawo”?
18 Lwaki Pawulo yabuulira Ferikisi ne mukazi we ebikwata ku “butuukirivu, okwefuga, n’okusala omusango okulibaawo”? Kijjukire nti baali baagala okumanya ebizingirwa mu “kukkiririza mu Kristo Yesu.” Olw’okuba Pawulo yali akimanyi nti Ferikisi ne mukyala we baali bagwenyufu, nga beenyigira mu bikolwa eby’obukambwe, era nga si benkanya, yali abalaga emitindo abagoberezi ba Kristo bonna gye balina okutambulirako. Ebyo Pawulo bye yayogera byalaga enjawulo eyaliwo wakati w’emitindo gya Katonda egy’obutuukirivu n’obulamu Ferikisi ne mukyala we bwe baali batambuliramu. Ekyo kyandibayambye okukiraba nti abantu bonna bavunaanyizibwa eri Katonda olw’ebyo bye balowooza, bye boogera, ne bye bakola. Era kyandibayambye okukiraba nti engeri Katonda gye yali agenda okubalamulamu yali nkulu nnyo okusinga engeri Ferikisi gye yandiramuddemu Pawulo. Tekyewuunyisa nti Ferikisi ‘yatya’!
19, 20. (a) Kiki kye tusaanidde okukola singa abo be tubuulira balabika ng’abaagala ebyo bye tubayigiriza kyokka nga si beetegefu kubikolerako? (b) Tukimanya tutya nti Ferikisi teyali mukwano gwa Pawulo?
19 Bwe tuba tukola omulimu gw’okubuulira tuyinza okusanga abantu abalinga Ferikisi. Mu kusooka bayinza okulabika ng’abaagala amazima, naye nga tebaagala kukolera ku ebyo bye bayiga. Tusaanidde okuba abeegendereza nga tuyamba abantu abali abo. Era okufaananako Pawulo, mu ngeri ey’amagezi tusaanidde okubagamba ekyo kye balina okukola okusobola okusanyusa Katonda. Oboolyawo amazima gasobola okutuuka ku mitima gyabwe. Naye bwe tukitegeera nti si beetegefu kuleka makubo gaabwe amabi, tusobola okubaleka ne tunoonya abo abaagala amazima.
20 Ekyo Bayibuli ky’eddako okututegeeza kyoleka ekyali mu mutima gwa Ferikisi. Egamba nti: “Bwe waayitawo emyaka ebiri, Polukiyo Fesuto n’adda mu kifo kya Ferikisi; naye olw’okuba Ferikisi yayagala okuganja eri Abayudaaya, [yaleka] Pawulo nga musibe.” (Bik. 24:27) Ferikisi teyali mukwano gwa Pawulo. Yali akimanyi nti abagoberezi ‘b’Ekkubo’ baali tebakuma muliro mu bantu kujeemera gavumenti oba okwagala okuleetawo enkyukakyuka. (Bik. 19:23) Ate era yali akimanyi nti Pawulo talina tteeka lya Rooma lyonna lye yali amenye. Kyokka olw’okuba yali ayagala “okuganja eri Abayudaaya,” yaleka omutume Pawulo mu kkomera.
21. Kiki ekyatuuka ku Pawulo oluvannyuma lwa Polukiyo Fesuto okufuuka gavana, era kiki ekyamuzzangamu amaanyi?
21 Nga bwe kiragibwa mu lunyiriri olusembayo olw’ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume essuula 24, Pawulo yali akyali mu kkomera mu kiseera Polukiyo Fesuto we yaddira Ferikisi mu bigere nga gavana. Okuva mu kiseera ekyo Pawulo yeewozaako mu maaso g’abakungu bangi ab’enjawulo. Mazima ddala omutume ono eyali omuvumu yatwalibwa “mu maaso ga bakabaka ne bagavana.” (Luk. 21:12) Nga bwe tujja okulaba, oluvannyuma yali agenda kuwa obujulirwa omukungu eyali asingayo okuba n’obuyinza mu kiseera ekyo. Wadde nga Pawulo yayita mu bintu ebyo, okukkiriza kwe kwasigala kunywevu. Awatali kubuusabuusa, ebigambo bya Yesu nti “beera mugumu,” byazzaamu nnyo Pawulo amaanyi.
a Laba akasanduuko “ Ferikisi—Gavana wa Buyudaaya.”
b Terutuulo yeebaza Ferikisi ‘olw’emirembe emingi’ gye yali aleese mu Buyudaaya. Kyokka ekituufu kiri nti bw’ogeraageranya ekiseera ky’obufuzi bwa Ferikisi n’eky’obufuzi bwa bagavana abalala abaamusookawo, ekiseera kya Ferikisi kye kyasinga obutabaamu mirembe, okutuusiza ddala Abayudaaya lwe baajeemera Rooma. Ate era Terutuulo okugamba nti Abayudaaya baali ‘basiima nnyo’ Ferikisi olw’enkyukakyuka ze yali akoze, kyali kikyamu. Ekituufu kiri nti Abayudaaya abasinga obungi baali tebaagala Ferikisi olw’okubanyigiriza, n’olw’okukozesa eryanyi eriyitiridde okumalawo obwegugungo.—Bik. 24:2, 3.