ESSUULA 28
“Okutuuka mu Bitundu by’Ensi Ebisingayo Okuba eby’Ewala”
Omulimu abagoberezi ba Kristo ab’omu kyasa ekyasooka gwe baatandikako gukyagenda mu maaso, era gukolebwa Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu kiseera kino
1. Bintu ki Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka bye bafaanaganya n’Abajulirwa ba Yakuwa leero?
BAAWA obujulirwa n’obunyiikivu. Bakkiriza obuyambi n’obulagirizi ebyabaweebwa okuyitira mu mwoyo omutukuvu. Okuyigganyizibwa tekwabalemesa kubuulira. Era Katonda yabawa emikisa. Bwe kityo bwe kyali eri Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka, era bwe kiri n’eri Abajulirwa ba Yakuwa leero.
2, 3. Ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume kyogera ku ki?
2 Oteekwa okuba ng’ozziddwamu nnyo amaanyi olw’ebyo ebiri mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume! Ekitabo kino kya njawulo nnyo, kubanga kye kyokka mu bitabo ebyaluŋŋamizibwa ekittottola ebyafaayo by’ekibiina Ekikristaayo.
3 Ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume kimenya amannya g’abantu 95, ensi 32, ebibuga 54, n’ebizinga 9. Kyogera ku bantu aba bulijjo, bannaddiini, bannabyabufuzi abaali ab’amalala, ssaako n’abantu ab’emitima emikakanyavu abaayigganya ennyo Abakristaayo. Naye okusingira ddala, kitubuulira ebikwata ku baganda baffe ne bannyinaffe abaabuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu, wadde nga baayolekagana n’ebizibu eby’amaanyi.
4. Kiki kye tufaanaganya n’omutume Pawulo, Tabbiisa, n’abaweereza ba Yakuwa abalala abaaliwo mu kyasa ekyasooka?
4 Peetero ne Pawulo ababuulizi abaali abanyiikivu, Lukka eyali omusawo omwagalwa, Balunabba eyazzangamu abalala amaanyi, Siteefano eyali omuvumu, Tabbiisa eyali ow’ekisa, Liidiya eyalina omwoyo gw’okusembeza abalala, n’abaweereza ba Yakuwa abeesigwa abalala bangi ab’omu kyasa ekyasooka baaliwo emyaka nga 2000 egiyise. Wadde baaliwo dda nnyo, tubaagala nnyo era tulina kye tufaanaganya nabo. Lwaki? Naffe tukola omulimu gwe baakolanga ogw’okufuula abantu abayigirizwa.—Mat. 28:19, 20.
5. Wa abagoberezi ba Yesu gye baatandikira okukola omulimu gw’okubuulira?
5 Lowooza ku mulimu Yesu gwe yawa abagoberezi be. Yabagamba nti: “Mujja kufuna amaanyi, omwoyo omutukuvu bwe gunaabakkako, era mujja kuba bajulirwa bange mu Yerusaalemi, mu Buyudaaya mwonna, mu Samaliya, n’okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.” (Bik. 1:8) Okusookera ddala, omwoyo omutukuvu gwayamba abayigirizwa okuwa obujulirwa “mu Yerusaalemi.” (Bik. 1:1–8:3) Ate era, nga bakolera ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu, baawa obujulirwa “mu Buyudaaya mwonna, [ne] mu Samaliya.” (Bik. 8:4–13:3) Oluvannyuma baatandika okubuulira amawulire amalungi ne “mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.”—Bik. 13:4–28:31.
6, 7. Biki bye tulina bakkiriza bannaffe ab’omu kyasa ekyasooka bye bataalina ebituyamba nga tukola omulimu gw’okubuulira?
6 Bakkiriza banno abaaliwo mu kyasa ekyasooka bwe baali bakola omulimu gwabwe ogw’okuwa obujulirwa, tebaalina Bayibuli mu bulambalamba. Ekitabo ky’Enjiri ya Matayo kyaggwa okuwandiikibwa awo nga mu mwaka gwa 41 E.E. Agamu ku mabaluwa ga Pawulo gaggwa okuwandiikibwa awo nga mu mwaka gwa 61 E.E., ng’ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume tekinnaggwa kuwandiikibwa. Abakristaayo abaasooka tebaalina kopi zaabwe ku bwabwe eza Bayibuli mu bulambalamba oba ebitabo eby’okulekera abo be baabuuliranga. Nga tebannafuuka bagoberezi ba Yesu, Abakristaayo Abayudaaya baalinga bawulira Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya nga bisomebwa mu makuŋŋaaniro. (2 Kol. 3:14-16) Kale nno, baalina okussaayo ennyo omwoyo ng’Ebyawandiikibwa bisomebwa, kubanga kirabika baajulizanga ebyo bye baabanga bakutte mu mutwe.
7 Leero, abasinga obungi ku ffe tulina Bayibuli ezaffe ku bwaffe, era tulina n’ebitabo bingi ebinnyonnyola Bayibuli. Tufuula abantu abayigirizwa nga tubuulira amawulire amalungi mu nsi 240 era mu nnimi nnyingi.
Omwoyo Omutukuvu Gwabayamba era Gwabawa Obulagirizi
8, 9. (a) Biki omwoyo omutukuvu bye gwasobozesa abayigirizwa ba Yesu okukola? (b) Kiki omuddu omwesigwa ky’asobodde okukola olw’obuyambi bw’omwoyo omutukuvu?
8 Yesu bwe yali akwasa abagoberezi be obuvunaanyizibwa obw’okubuulira, yabagamba nti: “Mujja kufuna amaanyi, omwoyo omutukuvu bwe gunaabakkako.” Bwe bandikoledde ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu, abagoberezi ba Yesu bandisobodde okuwa obujulirwa mu nsi yonna. Omwoyo omutukuvu gwasobozesa Peetero ne Pawulo okuwonya endwadde, okugoba dayimooni, n’okuzuukiza abafu! Kyokka omwoyo omutukuvu gwasobozesa abagoberezi ba Yesu okukola ekintu ekisingawo ku ebyo. Gwasobozesa abatume n’abayigirizwa okuyamba abalala okufuna okumanya okutuufu okwandibasobozesezza okufuna obulamu obutaggwaawo.—Yok. 17:3.
9 Ku lunaku lwa Pentekooti 33 E.E., abayigirizwa ba Yesu baayogera “mu nnimi ez’enjawulo ng’omwoyo bwe gwabasobozesa.” Bwe kityo, baawa obujulirwa “ku bintu bya Katonda eby’ekitalo.” (Bik. 2:1-4, 11) Leero tetwogera nnimi ndala mu ngeri ey’ekyamagero. Kyokka olw’obuyambi bw’omwoyo omutukuvu, omuddu omwesigwa asobodde okufulumya ebitabo ebiyamba abantu okutegeera Bayibuli mu nnimi nnyingi nnyo. Ng’ekyokulabirako, kopi bukadde na bukadde ez’Omunaala gw’Omukuumi ne Zuukuka! zikubibwa buli mwezi, ate ku mukutu gwaffe jw.org kuliko ebitabo ne vidiyo ebinnyonnyola Bayibuli mu nnimi ezisukka mu 1,000. Ebyo byonna bituyamba okulangirira ‘ebintu bya Katonda eby’ekitalo’ eri abantu b’omu mawanga gonna, ebika, n’ennimi.—Kub. 7:9.
10. Ku bikwata ku mulimu gw’okuvvuunula Bayibuli, kiki ekibaddewo okuva mu 1989?
10 Okuva mu 1989, omuddu omwesigwa ayongedde amaanyi mu mulimu gw’okuvvuunula Enkyusa ey’Ensi Empya mu nnimi nnyingi. Enkyusa eno evvuunuddwa mu nnimi ezisukka mu 200, era Bayibuli bukadde na bukadde zimaze okukubibwa era n’endala nnyingi zijja kukubibwa. Kino tekyandisobose awatali buyambi bwa Katonda okuyitira mu mwoyo gwe.
11. Omulimu gw’okuvvuunula ebitabo Abajulirwa ba Yakuwa bagukola ku kigero kyenkana wa?
11 Omulimu gw’okuvvuunula gukolebwa bannakyewa Abakristaayo nkumi na nkumi, mu nsi ezisukka mu 150. Kino tekitwewuunyisa kubanga ng’oggyeeko ffe, teri kibiina kirala ku nsi kikolera ku bulagirizi bw’omwoyo gwa Katonda okusobola ‘okuwa obujulirwa mu bujjuvu’ mu nsi yonna ku Yakuwa Katonda, ku Masiya Kabaka, ne ku Bwakabaka obw’omu ggulu kati obufuga!—Bik. 28:23.
12. Kiki ekyasobozesa Pawulo n’Abakristaayo abalala okukola omulimu gw’okubuulira?
12 Pawulo bwe yabuulira Abayudaaya n’ab’Amawanga mu Antiyokiya eky’omu Pisidiya, “abo bonna abaalina endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo” baafuuka bakkiriza. (Bik. 13:48) Ebigambo bya Lukka ebisembayo mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume, biraga nti Pawulo yali abuulira “ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda . . . ng’ayogera n’obuvumu, awatali kuziyizibwa.” (Bik. 28:31) Wa Pawulo gye yali abuulira? Mu Rooma! Kiteeberezeemu, yali abuulira mu kibuga ekikulu eky’obufuzi obwali kirimaanyi mu kiseera ekyo. Ka kibe nti abagoberezi ba Yesu abaasooka baabuuliranga bakubaganya ebirowoozo n’abantu, oba nga bakozesa nkola ndala, omwoyo omutukuvu gwe gwabayamba okukola omulimu ogwo era baakoleranga ku bulagirizi bwagwo.
Beeyongera Okubuulira Wadde nga Baali Bayigganyizibwa
13. Lwaki tusaanidde okusaba bwe tuba nga tuyigganyizibwa?
13 Abayigirizwa ba Yesu ab’omu kyasa ekyasooka bwe baayigganyizibwa, baasaba Yakuwa okubawa obuvumu. Biki ebyavaamu? Baafuna omwoyo omutukuvu ne boogera ekigambo kya Katonda n’obuvumu. (Bik. 4:18-31) Naffe bwe tuba tuyigganyizibwa, tusaba Yakuwa atuwe amagezi n’amaanyi tusobole okweyongera okuwa obujulirwa. (Yak. 1:2-8) Olw’okuba tulina omukisa gwa Yakuwa n’omwoyo gwe, tweyongera okubuulira. Tewali kiyinza kulemesa mulimu gwa kubuulira. Ne bwe tuba tuziyizibwa nnyo oba nga tuyigganyizibwa nnyo, tetulekera awo kubuulira. Bwe tuba tuyigganyizibwa, tulina okusaba Yakuwa atuwe omwoyo omutukuvu, amagezi, era atuwe n’obuvumu okweyongera okubuulira amawulire amalungi.—Luk. 11:13.
14, 15. (a) Biki ebyava mu ‘kuyigganyizibwa okwajjawo oluvannyuma lw’okufa kwa Siteefano’? (b) Mu kiseera kyaffe, kiki ekyasobozesa abantu bangi mu Siberia okuyiga amazima?
14 Siteefano yawa obujulirwa n’obuvumu ng’abalabe be tebannamutta. (Bik. 6:5; 7:54-60) ‘Okuyigganyizibwa okw’amaanyi’ bwe kwabalukawo mu kiseera ekyo, abayigirizwa bonna, ng’oggyeeko abatume, baasaasaanira mu Buyudaaya mwonna ne mu Samaliya. Naye ekyo tekyalemesa mulimu gwa kuwa bujulirwa kweyongera kukolebwa. Firipo yagenda e Samaliya ‘okubuulira ebikwata ku Kristo,’ era ebyavaamu byali birungi nnyo. (Bik. 8:1-8, 14, 15, 25) Ate era Bayibuli egamba nti: “Abo abaasaasaana olw’okuyigganyizibwa okwajjawo oluvannyuma lw’okufa kwa Siteefano [baagenda] mu Foyiniikiya, mu Kupulo, ne mu Antiyokiya, naye nga babuulira Bayudaaya bokka ekigambo. Naye mu bo mwalimu abaava e Kupulo n’e Kuleene abajja mu Antiyokiya ne batandika okwogera n’abantu abaali boogera Oluyonaani, nga bababuulira amawulire amalungi aga Mukama waffe Yesu.” (Bik. 11:19, 20) Mu kiseera ekyo, okuyigganyizibwa kwaviirako obubaka bw’Obwakabaka okusaasaana mu bitundu abitali bimu.
15 Mu kiseera kyaffe, ekintu ekifaananako ng’ekyo kyaliwo mu biseera by’obufuzi bwa Soviet Union. Naddala mu myaka gya 1950, Abajulirwa ba Yakuwa nkumi na nkumi baawaŋŋangusibwa ne batwalibwa mu Siberia. Olw’okuba baasaasaanira mu byalo bingi, kyaviirako amawulire amalungi okubuna mu kitundu ekyo ekinene. Tekyandisobose Abajulirwa ba Yakuwa abangi bwe batyo okufuna ssente ze bandikozesezza okutindigga olugendo lwa mayiro nga 6,000 okusobola okubuulira amawulire amalungi! Kyokka gavumenti yennyini ye yabatwalayo. Ow’oluganda omu yagamba nti, “Ab’obuyinza bennyini be baasobozesa enkumi n’enkumi z’abantu b’omu Siberia ab’emitima emirungi okutegeera amazima.”
Yakuwa Yabawa Emikisa
16, 17. Biki bye tusomako mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume ebiraga nti Yakuwa yawa omukisa omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi?
16 Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa yawa Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka emikisa. Pawulo n’abalala baasiga era ne bafukirira, “naye Katonda ye yakuza.” (1 Kol. 3:5, 6) Ebyo bye tusoma mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume biraga nti okukulaakulana okwaliwo kwava ku kuba nti Yakuwa yawa omukisa omulimu gw’okuwa obujulirwa. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli egamba nti: “Ekigambo kya Katonda . . . kyeyongera okubuna, era omuwendo gw’abayigirizwa ne gweyongera nnyo mu Yerusaalemi.” (Bik. 6:7) Omulimu gw’okuwa obujulirwa bwe gweyongera okukolebwa mu bitundu bingi, “ekibiina kyonna mu Buyudaaya ne Ggaliraaya ne Samaliya . . . [kyabeera] mu mirembe, ne kinywezebwa; era okuva ekibiina kyonna bwe kyali kitambulira mu kutya Yakuwa era nga kibudaabudibwa okuyitira mu mwoyo omutukuvu, kyeyongera obunene.”—Bik. 9:31.
17 Mu Antiyokiya ekya Busuuli, Abayudaaya awamu n’abo abaali boogera Oluyonaani, baawulira amawulire amalungi okuva eri ababuulizi abavumu. Bayibuli egamba nti: “Yakuwa yali nabo, era bangi abakkiriza ne badda eri Mukama waffe.” (Bik. 11:21) Ng’eyogera ku kweyongerayongera okulala okwaliwo mu kibuga ekyo, Bayibuli era egamba nti: “Ekigambo kya Yakuwa ne kyeyongera okubuna era abakkiriza ne beeyongera obungi.” (Bik. 12:24) Ate era olw’okuba Pawulo n’abalala baabuulira n’obunyiikivu ab’amawanga, “ekigambo kya Yakuwa . . . kyeyongera okubuna era n’okuba eky’amaanyi.”—Bik. 19:20.
18, 19. (a) Tumanyira ku ki nti Yakuwa atuyamba? (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga nti Yakuwa ayamba abantu be.
18 Tewali kubuusabuusa nti ne leero Yakuwa ali naffe. Eyo ye nsonga lwaki abantu bangi beewaayo eri Yakuwa era ne babatizibwa. Ate era olw’okuba Katonda atuyamba era atuwa emikisa gye, tusobodde okugumira okuziyizibwa okw’amaanyi n’okuyigganyizibwa, ne tweyongera okubuulira amawulire amalungi nga Pawulo n’Abakristaayo abalala bwe baakola. (Bik. 14:19-21) Bulijjo Yakuwa waali okutuyamba. Mu bizibu byonna bye twolekagana nabyo, “emikono gye egy’emirembe n’emirembe” gibaawo okutuwanirira. (Ma. 33:27) Ate era tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa tasobola kwabulira bantu be ku lw’erinnya lye ekkulu.—1 Sam. 12:22; Zab. 94:14.
19 Ng’ekyokulabirako: Olw’okuba ow’Oluganda Harald Abt yeeyongera okuwa obujulirwa, Abanazi baamusindika mu nkambi y’abasibe eya Sachsenhausen mu kiseera kya Ssematalo ow’okubiri. Mu mwezi gwa Maayi 1942, abasirikale baagenda ne bakwata mukyala we Elsa ne bamusiba era ne bamuggyako ne kawala kaabwe akato. Elsa yasibibwa mu nkambi ez’enjawulo. Mwannyinaffe Elsa Abt agamba nti: “Nnayiga ekintu ekikulu mu kiseera kye nnamala mu nkambi z’abasibe mu Bugirimaani. Nnayiga nti bw’oba mu mbeera enzibu ennyo, omwoyo gwa Yakuwa gukuwa amaanyi n’osobola okugyaŋŋanga! Nga sinnakwatibwa, nnali nsomye ebbaluwa ya mwannyinaffe eyagamba nti ‘mu mbeera enzibu ennyo omwoyo gwa Yakuwa gukuyamba okuba omukkakkamu.’ Nnali ndowooza nti muganda wange oyo yali asavuwaza. Naye bwe nnali nga njolekagana n’embeera enzibu, nnakiraba nti ekyo kye yagamba kyali kituufu. Mazima ddala bwe kityo bwe kyali gye ndi. Kizibu okukimanya bw’oba nga tokiyitangamu. Naye ddala bwe kityo bwe kyali.”
Weeyongere Okuwa Obujulirwa mu Bujjuvu!
20. Kiki omutume Pawulo kye yakola bwe yali ng’asibiddwa mu nnyumba, era ekyo kiyinza kitya okuzzaamu abamu ku baganda baffe ne bannyinaffe amaanyi?
20 Ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume kikomekkereza kiraga nga Pawulo abuulira n’obunyiikivu “ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda.” (Bik. 28:31) Olw’okuba yali asibiddwa mu nnyumba, yali tasobola kubuulira nnyumba ku nnyumba mu Rooma. Wadde kyali kityo, yabuuliranga bonna abajjanga okumulaba. Leero, abamu ku baganda baffe ne bannyinaffe tebasobola kuva waka olw’obulwadde, oba olw’okuba bali mu bifo awalabirirwa bannamukadde oba abaliko obulemu. Kyokka okwagala kwe balina eri Katonda n’eri omulimu gw’okubuulira tekukendedde. Tubasabira era tusaba Yakuwa abayambe okufuna abantu abaagala okuyiga ebimukwatako, n’ebikwata ku kigendererwa kye.
21. Lwaki omulimu gw’okuwa obujulirwa tusaanidde okugukola n’obunyiikivu?
21 Abasinga obungi ku ffe tusobola okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira nnyumba ku nnyumba, ne mu ngeri endala ez’okubuulira. N’olwekyo, ka buli omu ku ffe akole kyonna ekisoboka okweyongera okuwa obujulirwa “mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.” Omulimu guno gulina okukolebwa n’obunyiikivu, okuva bwe kiri nti ‘akabonero’ k’okubeerawo kwa Kristo keeyolese bulungi. (Mat. 24:3-14) Tusaanidde okukozesa obulungi ebiseera byaffe. Mu kiseera kino tulina “eby’okukola bingi mu mulimu gwa Mukama waffe.”—1 Kol. 15:58.
22. Kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola nga bwe tulindirira olunaku lwa Yakuwa?
22 Nga bwe tulindirira “olunaku lwa Yakuwa olukulu era olw’entiisa,” ka tube bamalirivu okweyongera okuwa obujulirwa n’obuvumu. (Yow. 2:31) Wakyaliyo abantu abalinga ab’e Beroya ‘abakkiriza amangu ekigambo.’ (Bik. 17:10, 11) N’olwekyo, ka tweyongere okuwa obujulirwa mu bujjuvu, okutuusa lwe tunaawulira Mukama waffe ng’atugamba nti: “Weebale nnyo omuddu omulungi era omwesigwa!” (Mat. 25:23) Singa tukola n’obunyiikivu omulimu gw’okubuulira leero era ne tusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa, mazima ddala tujja kuba basanyufu emirembe gyonna okukimanya nti twenyigira mu mulimu omukulu ‘ogw’okuwa obujulirwa mu bujjuvu’ ku Bwakabaka bwa Katonda!