Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 23

“Muwulirize nga Mbannyonnyola”

“Muwulirize nga Mbannyonnyola”

Pawulo alwanirira amazima nga yeewozaako mu maaso g’ekibiina ky’abantu abasunguwavu ne mu maaso g’abalamuzi b’Olukiiko Olukulu

Byesigamiziddwa ku Ebikolwa 21:18–23:10

1, 2. Lwaki Pawulo akomyewo e Yerusaalemi, era bizibu ki by’agenda okwolekagana nabyo?

 PAWULO ali mu kibuga Yerusaalemi nate. Atambula mu lumu ku nguudo zaakyo. Yerusaalemi kye kibuga ekikyasinze okubaamu ebyafaayo ebikwata ku ngeri Katonda gy’azze akolaganamu n’abantu be. Abantu b’omu kibuga kino beenyumiririza nnyo mu byafaayo ebyo. Pawulo akimanyi nti Abakristaayo bangi mu kibuga kino batadde nnyo obwesige bwabwe mu bintu ebyo eby’emabega ne balemererwa okukola enkyukakyuka, wadde nga bakimanyi nti Yakuwa yakyusaamu mu ngeri gy’akolaganamu n’abantu be. Pawulo bwe yali mu Efeso, yakitegeera nti ng’oggyeeko okuba nti Abakristaayo mu Yerusaalemi beetaaga okuyambibwa mu by’omubiri, era tebannakitegeera nti Katonda takyakozesa nteekateeka ya Kiyudaaya. Bwe kityo yasalawo okukomawo mu kibuga kino. (Bik. 19:21) Wadde nga yali akimanyi nti kyali kya bulabe okukomawo, teyakyusaamu mu ekyo kye yali asazeewo.

2 Bizibu ki Pawulo by’agenda okwolekagana nabyo mu Yerusaalemi? Ebimu ku byo bigenda kuva eri abamu ku bagoberezi ba Kristo abatali basanyufu olw’ebintu ebyamwogerwako. Naye ebizibu ebisingawo bigenda kuva eri abalabe ba Kristo. Bagenda kumusibako emisango gy’atazza, bamukube, era bagezeeko okumutta. Ebintu ebyo Pawulo by’agenda okuyitamu bigenda kumusobozesa okufuna akakisa okulwanirira amazima. Yateerawo Abakristaayo leero ekyokulabirako ekirungi ku ngeri gye yayolekamu obwetoowaze, obuvumu, n’okukkiriza, ng’ayolekagana n’ebizibu ebyo. Ka tulabe engeri ekyo gye yakikolamu.

“Ne Batandika Okugulumiza Katonda” (Bik. 21:18-20a)

3-5. (a) Lukuŋŋaana ki Pawulo lwe yalimu mu Yerusaalemi, era biki ebyayogerwako mu lukuŋŋaana olwo? (b) Biki bye tuyigira ku lukuŋŋaana olwo?

3 Ku lunaku olwaddako nga Pawulo ne banne bamaze okutuuka mu Yerusaalemi, baagenda okulaba abakadde b’omu kibiina kyayo. Tewali n’omu ku batume abaali bakyali abalamu ayogerwako. Oboolyawo bonna baali bagenze kuweerereza mu bitundu ebirala. Kyokka Yakobo muganda wa Yesu ye yali akyaliyo. (Bag. 2:9) Oboolyawo, Yakobo ye yakola nga ssentebe w’olukuŋŋaana olwo Pawulo lwe yalimu ‘n’abakadde bonna abaaliwo.’​—Bik. 21:18.

4 Pawulo yalamusa abakadde era “n’atandika okubabuulira ebintu byonna Katonda bye yakola mu b’amawanga okuyitira mu buweereza bwe.” (Bik. 21:19) Abakadde abo bateekwa okuba nga bazzibwamu nnyo amaanyi. Naffe leero tusanyuka nnyo okuwulira engeri omulimu gye gugenda mu maaso mu nsi ezitali zimu.​—Nge. 25:25.

5 Kirabika Pawulo yabategeeza ne ku buyambi bwe yali aleese okuva eri ab’oluganda ab’omu Bulaaya. Okuba nti ab’oluganda mu bitundu ebyo eby’ewala baafaayo ku baganda baabwe mu Yerusaalemi, kiteekwa okuba nga kyakwata nnyo ku abo abaali bawuliriza Pawulo. Bayibuli eraga nti ekyo kyaviirako abakadde abo ‘okugulumiza Katonda’! (Bik. 21:20a) Ne leero bakkiriza bannaffe ababa bakoseddwa obutyabaga oba ababa n’obulwadde obw’amaanyi, bakwatibwako nnyo olw’obuyambi bakkiriza bannaabwe bwe babawa n’olw’ebigambo ebizzaamu amaanyi bye boogera nabo.

Bangi ‘Bakyanyiikira Okugoberera Amateeka’ (Bik. 21:20b, 21)

6. Kizibu ki ekyaliwo abakadde kye baategeeza Pawulo?

6 Oluvannyuma abakadde baagamba Pawulo nti waaliwo ekizibu mu Buyudaaya ekyali kivudde ku bintu ebyali bimwogeddwako. Baamugamba nti: “Ow’oluganda, ndowooza olaba nti waliwo abakkiriza Abayudaaya nkumi na nkumi, era bonna banyiikira okugoberera Amateeka. Naye bawulidde nti oyigiriza Abayudaaya bonna abali mu b’amawanga okuleka Amateeka ga Musa, ng’obagaana okukomola abaana baabwe n’okugoberera obulombolombo obulina okugobererwa.” a​—Bik. 21:20b, 21.

7, 8. (a) Ndowooza ki enkyamu Abakristaayo bangi mu Buyudaaya gye baalina? (b) Lwaki okuba nti abamu ku Bakristaayo Abayudaaya baalina endowooza eyo enkyamu kyali tekiraga nti tebaali Bakristaayo ba mazima?

7 Lwaki Abakristaayo bangi baali bakyakalambidde ku ky’okukwata Amateeka ga Musa wadde nga waali wayise emyaka egisukka mu 20 bukya gadibizibwa? (Bak. 2:14) Mu mwaka gwa 49 E.E., abatume n’abakadde mu Yerusaalemi baali baasindikira ebibiina ebbaluwa nga babinnyonnyola nti Abakristaayo ab’amawanga kyali tekibeetaagisa kukomolebwa oba okukwata Amateeka ga Musa. (Bik. 15:23-29) Kyokka ebbaluwa eyo yali teyogedde ku Bakristaayo Abayudaaya, ate nga bangi ku bo baali tebannakitegeera nti kyali tekikyabeetaagisa kugoberera Mateeka ga Musa.

8 Okuba nti Abakristaayo abo Abayudaaya baalina endowooza eyo etaali ntuufu kyali kiraga nti tebaali Bakristaayo ba mazima? Nedda. Kubanga tekyali nti edda baali basinza bakatonda ab’obulimba era nga bakyeyongera okugoberera obulombolombo obw’ekikaafiiri. Amateeka Abayudaaya abo ge baali batwala nti makulu nnyo, Yakuwa ye yali yagawa abantu be. Mu Mateeka ago temwalimu kintu kyonna kikyamu oba ekyalina akakwate ne badayimooni. Kyokka Amateeka ago gaali geesigamye ku ndagaano enkadde, so ng’ate Abakristaayo baali wansi w’endagaano empya. Kati kyali tekyetaagisa kukwata Mateeka ago okusobola okusinza Katonda mu ngeri entuufu. Abakristaayo Abayudaaya abaali bakyanyiikirira okukwata Amateeka ga Musa, baali tebannakitegeera nti baalina okulekera awo okugoberera endagaano enkadde, okuva bwe kiri nti kati baali wansi w’endagaano empya. Era baali tebeesiga kibiina Ekikristaayo. Baalina okutereeza endowooza yaabwe ebe ng’etuukagana n’amazima agaali gabikuddwa. b​—Yer. 31:31-34; Luk. 22:20.

“Bye Baakwogerako Si Bituufu” (Bik. 21:22-26)

9. Pawulo yayigiriza ki ku bikwata ku Mateeka ga Musa?

9 Ate ebyo ebyali byogerwa nti Pawulo yali agaana Abayudaaya abaali mu b’Amawanga “okukomola abaana baabwe n’okugoberera obulombolombo” obwalina okugobererwa? Pawulo yali mutume eri ab’Amawanga, era yabagamba okukolera ku ekyo ekyali kisaliddwawo nti ab’Amawanga tebaalina kukwata Mateeka ga Musa. Ate era yakiraga nti kyali kikyamu omuntu yenna okugamba ab’Amawanga okukomolebwa okusobola okulaga nti baali wansi w’Amateeka ga Musa. (Bag. 5:1-7) Pawulo era yabuuliranga amawulire amalungi Abayudaaya abaabanga mu bibuga bye yagendangamu. Kya lwatu nti abo abaali baagala okuwulira amawulire ago, yabannyonnyola nti okufa kwa Yesu kwaviirako Amateeka okudiba, era nti obutuukirivu bwali bufunibwa okuyitira mu kukkiriza so si mu kukwata Amateeka.​—Bar. 2:28, 29; 3:21-26.

10. Ndowooza ki etagudde lubege Pawulo gye yalina ku kukwata Amateeka ga Musa ne ku kukomolebwa?

10 Wadde kyali kityo, Pawulo teyavumirira abo abaali bawulira nti baalina okukwata ebimu ku ebyo ebyali mu Mateeka, gamba ng’okwewala okukola emirimu ku Ssabbiiti oba okwewala okulya ebintu ebimu. (Bar. 14:1-6) Era teyassaawo mateeka gakwata ku kukomolebwa. Mu butuufu, Pawulo yakomola Timoseewo, Abayudaaya baleme okwesittala ng’agenze gye bali kubanga baali bakimanyi nti kitaawe yali Muyonaani. (Bik. 16:3) Ensonga ekwata ku kukomolebwa buli muntu yali alina kugyesalirawo ku lulwe. Pawulo yagamba Abaggalatiya nti: “Okukomolebwa oba obutakomolebwa si kikulu; ekikulu kwe kukkiriza okuba kukolera ku kwagala.” (Bag. 5:6) Kyokka omuntu okukomolebwa asobole okukiraga nti akwata Amateeka ga Musa, oba ng’alowooza nti ekyo kyandimuviiriddeko okusiimibwa mu maaso ga Katonda, kyandiraze nti talina kukkiriza.

11. Bulagirizi ki abakadde bwe baawa Pawulo, era kiki ekyali kizingirwa mu kukolera ku bulagirizi obwo? (Laba obugambo obuli wansi.)

11 Kyokka, wadde ng’ebyo ebyali byogerwa ku Pawulo tebyali bituufu, Abakristaayo Abayudaaya tebaali basanyufu olw’ebintu ebyo. N’olwekyo abakadde baagamba Pawulo nti: “Tulina abasajja bana abaakola obweyamo. Twala abasajja abo weetukulize wamu nabo era obasasulire ebyetaagibwa, balyoke bamweko enviiri zaabwe. Olwo nno buli muntu ajja kumanya nti bye baakwogerako si bituufu, era nti weeyisa bulungi era nti okwata Amateeka.” c​—Bik. 21:23, 24.

12. Pawulo yakiraga atya nti teyali mukakanyavu era nti yali mwetegefu okukolera ku bulagirizi abakadde b’omu Yerusaalemi bwe baamuwa?

12 Pawulo ayinza okuba nga yali akiraba nti ekizibu kyali tekiva ku bintu ebyali bimwogeddwako, wabula kyali kiva ku Bayudaaya abaali banyiikira okukwata Amateeka ga Musa. Naye teyali mukakanyavu era yali mwetegefu okukola buli kimu abakadde kye baamugamba kasita kiba nti kyali tekikontana na misingi gya Katonda. Emabegako yali yagamba nti: “Eri abo abali wansi w’amateeka nnafuuka ng’ali wansi w’amateeka nsobole okufuna abo abali wansi w’amateeka.” (1 Kol. 9:20) Ku luno Pawulo yakola ekyo abakadde mu Yerusaalemi kye baamugamba, n’aba “ng’ali wansi w’amateeka.” Mu kukola bw’atyo yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo leero. Tusaanidde okukolera ku bulagirizi abakadde bwe batuwa ne tutakalambira ku ndowooza yaffe.​—Beb. 13:17.

Bwe waali tewaaliwo musingi gwa Bayibuli gumenyeddwa, Pawulo teyakalambira ku ndowooza ye. Naawe bw’otyo bw’okola?

“Tasaanidde Kuba Mulamu!” (Bik. 21:27–22:30)

13. (a) Lwaki abamu ku Bayudaaya baaleetawo akajagalalo mu yeekaalu? (b) Obulamu bwa Pawulo bwataasibwa butya?

13 Ebintu tebyagenda bulungi ku yeekaalu. Ennaku ez’okumaliriza obweyamo bwe zaali zinaatera okuggwaako, Abayudaaya okuva mu Asiya baalaba Pawulo ne bamuwaayiriza nti yali aleese ab’amawanga mu yeekaalu, era Abayudaaya abo baaleetawo akajagalalo. Singa omuduumizi w’amagye Omuruumi teyaliiwo n’abaako ky’akolawo, Pawulo yandibadde akubibwa okutuusa lwe yandifudde. Kyokka wadde nga Pawulo teyattibwa, omusirikale oyo yamutwala n’amusiba. Kyali kigenda kutwalira Pawulo emyaka egisukka mu ena okusobola okuddamu okwetaaya. Kyokka waaliwo n’obuzibu obulala. Omuduumizi w’amagye bwe yabuuza Abayudaaya ensonga lwaki baali bakuba Pawulo, buli omu yayogera kikye. Olw’okuba oluyoogaano lwali lwa maanyi, omuduumizi oyo yali talina ky’ayinza kutegeera. Embeera yayonooneka nnyo ne kiba nti Pawulo yalina okusitulibwa n’aggibwa mu kifo ekyo. Pawulo n’abasirikale Abaruumi bwe baali banaatera okuyingira mu nkambi, Pawulo yagamba omuduumizi w’amagye nti: “Nkusaba onzikirize njogere eri abantu.” (Bik. 21:39) Omusirikale oyo yakkiriza era Pawulo n’ayogera eri ekibiina ky’abantu abo n’abannyonnyola by’akkiriza.

14, 15. (a) Kiki Pawulo kye yannyonnyola Abayudaaya? (b) Biki omusirikale Omuruumi bye yakola okusobola okumanya ekyaviirako Abayudaaya okusunguwalira Pawulo?

14 Pawulo yatandika okwogera gye bali ng’agamba nti: “Muwulirize nga mbannyonnyola.” (Bik. 22:1) Pawulo yayogera nabo mu Lwebbulaniya, ekyabakkakkanya ne bamuwuliriza. Yabannyonnyola ensonga lwaki kati yali mugoberezi wa Kristo. Bwe yali abannyonnyola, yayogera ku bintu Abayudaaya bye baali basobola okukakasa bwe bandyagadde. Pawulo yali yayigirizibwa Gamalyeri eyali omumanyifu ennyo, era yali yayigganya abagoberezi ba Kristo era kirabika ekyo abamu ku abo abaaliwo baali bakimanyi. Kyokka bwe yali mu kkubo ng’agenda e Ddamasiko, yafuna okwolesebwa n’alaba Kristo eyali yazuukizibwa era n’ayogera naye. Abo Pawulo be yali atambula nabo baalaba ekitangaala eky’amaanyi era baawulira n’eddoboozi, naye tebaategeera bigambo ebyagambibwa Pawulo. (Bik. 9:7; 22:9) Oluvannyuma abo abaali ne Pawulo baamukwata ku mukono ne bamutwala e Ddamasiko olw’okuba yali azibye amaaso. Eyo mu Ddamasiko, omusajja eyali ayitibwa Ananiya, Abayudaaya ab’omu kitundu ekyo gwe baali bamanyi obulungi, mu ngeri ey’ekyamagero yasobozesa Pawulo okuddamu okulaba.

15 Pawulo era yagamba abaali bawuliriza nti bwe yamala okukomawo mu Yerusaalemi, Yesu yamulabikira mu yeekaalu. Ebigambo ebyo byanyiiza Abayudaaya abaali bamuwuliriza, era ne baleekaana nga bagamba nti: “Omusajja oyo mumutte kubanga tasaanidde kuba mulamu!” (Bik. 22:22) Okusobola okuwonya Pawulo, omuduumizi w’amagye yalagira atwalibwe mu nkambi y’abasirikale. Ng’ayagala okumanya ekyaviirako Abayudaaya abo okusunguwalira Pawulo, yalagira bateeketeeke okubuuza Pawulo ebibuuzo ng’eno bwe bamukuba. Kyokka okusobola okwewala okuyisibwa obubi, Pawulo yeeyambisa amateeka n’ategeeza omusirikale oyo nti yali mutuuze wa Rooma. Abaweereza ba Yakuwa leero nabo beeyambisa amateeka okulwanirira okukkiriza kwabwe. (Laba obusanduuko “ Amateeka ga Rooma n’Abatuuze ba Rooma” ne “ Okulwanirira Amawulire Amalungi mu Mateeka mu Kiseera Kyaffe.”) Omuduumizi w’amagye bwe yategeera nti Pawulo yalina obutuuze bwa Rooma, yakiraba nti yalina okunoonyayo engeri endala ey’okumanyamu ensonga lwaki Abayudaaya bamulumbye. Enkeera, omusirikale oyo yaleeta Pawulo mu maaso g’Olukiiko Olukulu, olwali lukola nga kkooti enkulu ey’Abayudaaya.

“Ndi Mufalisaayo” (Bik. 23:1-10)

16, 17. (a) Nnyonnyola ebyo ebyaliwo nga Pawulo ayogera eri abalamuzi ab’Olukiiko Olukulu. (b) Pawulo bwe yakubibwa, yassaawo atya ekyokulabirako mu kuba omwetoowaze?

16 Pawulo bwe yali atandika okwewozaako mu maaso g’abalamuzi b’Olukiiko Olukulu, yagamba nti: “Ab’oluganda, mbadde n’omuntu ow’omunda omulungi mu maaso ga Katonda okutuusa leero.” (Bik. 23:1) Bayibuli eraga nti bwe yali tannaba kwongerako kintu kirala kyonna, “Ananiya kabona asinga obukulu n’alagira abo abaamuli okumpi bamukube ku mumwa.” (Bik. 23:2) Ekyo nga kyali kibi nnyo! Kabona oyo yalina kyekubiira, kubanga yakyoleka nti Pawulo yali mulimba wadde nga yali tannabaako bujulizi bwonna bw’awuliriza. Tekyewuunyisa nti Pawulo yamuddamu ng’agamba nti: “Katonda agenda kukubonereza ggwe ekisenge ekyasiigibwa langi enjeru. Otuula okunsalira omusango ng’osinziira ku Mateeka ate n’omenya Amateeka ng’olagira bankube?”​—Bik. 23:3.

17 Ekyo abamu ku abo abaaliwo kyabayisa bubi. Eky’okukuba Pawulo si kye kyabayisa obubi, wabula ekyo Pawulo kye yayogera! Baagamba nti: “Ovuma kabona asinga obukulu owa Katonda?” Ekyo Pawulo kye yabaddamu kyali kyakulabirako gye bali ekyoleka obwetoowaze n’okussa ekitiibwa mu mateeka. Yagamba nti: “Ab’oluganda, mbadde simanyi nti ye kabona asinga obukulu. Kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Toyogeranga bubi ku mufuzi w’abantu bo.’” d (Bik. 23:4, 5; Kuv. 22:28) Pawulo yakyusaamu n’akozesa akakodyo akalala. Olw’okuba yali akimanyi nti Olukiiko Olukulu lwalimu Abafalisaayo n’Abasaddukaayo, yagamba nti: “Ab’oluganda, ndi Mufalisaayo, omwana w’Abafalisaayo. Mpozesebwa olw’essuubi ery’okuzuukira kw’abafu.”​—Bik. 23:6.

Okufaananako Pawulo, bwe tuba twogera n’abantu ab’eddiini endala, twogera ku kintu kye tukkiriziganyako nabo

18. Lwaki Pawulo yeeyita Omufalisaayo, era tuyinza tutya okumukoppa nga tukubaganya ebirowoozo n’abantu abamu?

18 Lwaki Pawulo yeeyita Mufalisaayo? Kubanga yali ‘mwana w’Abafalisaayo,’ kwe kugamba, yali ava mu maka g’Abafalisaayo. N’olwekyo bangi baali bakyamutwala ng’Omufalisaayo. e Naye kijja kitya okuba nti Pawulo yali akkiriziganya n’Abafalisaayo ku nsonga ekwata ku kuzuukira? Kigambibwa nti Abafalisaayo baali bakkiriza nti omuntu bwe yafanga, omwoyo gwasigalangawo nga mulamu, era nti emyoyo gy’abatuukirivu oluvannyuma gyandizzeemu okubeera mu mibiri gy’abantu. Enjigiriza eyo Pawulo yali tagikkiririzaamu. Yali akkiririza mu kuzuukira Yesu kwe yayigiriza. (Yok. 5:25-29) Wadde kyali kityo, Pawulo yali akkiriziganya n’ekyo Abafalisaayo kye baali bakkiriza nti waaliyo obulamu oluvannyuma lw’okufa, era nga kyali kyawukanira ddala ku ekyo Abasaddukaayo kye baali bakkiriza nti teri bulamu luvannyuma lwa kufa. Naffe tusobola okukozesa enkola eyo bwe tuba nga tukubaganya ebirowoozo n’Abakatoliki, n’Abapulositanti, oba Abalokole. Tuyinza okugamba nti naffe tukkiririza mu Katonda nga bo. Kyo kituufu nti bo bayinza okuba nga bakkiririza mu Katonda ali mu busatu, ate nga ffe tukkiririza mu Katonda ayogerwako mu Bayibuli. Wadde kiri kityo, bakkiriza nti eriyo Katonda era naffe ekyo kye tukkiriza.

19. Lwaki Olukiiko Olukulu lwajjamu akakyankalano?

19 Ebyo Pawulo bye yayogera byaviirako ab’Olukiiko Olukulu okweyawulamu. Bayibuli egamba nti: “Awo ne wabaawo oluyogaano olw’amaanyi, era abamu ku bawandiisi ab’omu kibiina ky’Abafalisaayo ne bayimuka ne bawakana nnyo nga bagamba nti: “Tewali kikyamu kyonna kye tuzudde ku musajja ono, naye bwe kiba nti ekitonde eky’omwoyo, oba malayika yayogera naye,​—.’” (Bik. 23:9) Okuwulira obuwulizi nti malayika ayinza okuba nga yayogera ne Pawulo, kyayisa bubi nnyo Abasaddukaayo kubanga baali tebakkiririza mu bamalayika! (Laba akasanduuko “ Abasaddukaayo n’Abafalisaayo.”) Akakyankalano kaali ka maanyi nnyo ne kiba nti omuduumizi w’amagye yalina okuddamu okuggyawo Pawulo aleme kutuusibwako kabi. (Bik. 23:10) Wadde kyali kityo, waliwo obuzibu obulala obwali bwolekedde Pawulo. Kiki ekyali kigenda okumutuukako? Tujja kukiraba mu ssuula eddako.

a Okuva bwe kiri nti omuwendo gw’Abakristaayo Abayudaaya gwali munene, kirabika ebibiina bingi byali bikuŋŋaanira mu maka g’Abakristaayo kinnoomu.

b Nga wayise emyaka mitono, omutume Pawulo yawandiikira Abebbulaniya ebbaluwa, era mu bbaluwa eyo yalaga engeri endagaano empya gye yali esingira ewala endagaano enkadde. Yakiraga nti endagaano empya yadibya endagaano enkadde. Ebyo bye yayogera ku nsonga eyo, Abakristaayo Abayudaaya baali basobola okubikozesa okunnyonnyola abo abaali bakalambira nti kyali kyetaagisa okukwata Amateeka ga Musa. Ate era byanyweza nnyo okukkiriza kw’abamu ku Bakristaayo abaali banyiikira okukwata Amateeka ga Musa.​—Beb. 8:7-13.

c Abeekenneenya bagamba nti abasajja abo baali bakoze obweyamo obw’okuba Abanaziri. (Kubal. 6:1-21) Kyo kituufu nti Amateeka ga Musa agaali geetaagisa omuntu okukola obweyamo ng’obwo kati gaali gadibiziddwa. Wadde kyali kityo, Pawulo ayinza okuba nga muli yagamba nti tekyali kikyamu abantu abo okutuukiriza ebyo bye baali beeyamye eri Yakuwa. N’olwekyo, tekyandibadde kikyamu okubasasulira ebyo ebyali byetaagibwa era n’okubawerekerako. Tetumanyidde ddala ekyo abasajja abo kye beeyama, naye ka kibe ki kye beeyama, tekiyinzika kuba nti Pawulo yali asobola okusasulira ensolo ez’okuwaayo nga ssaddaaka (ng’Abanaziri bwe baakolanga), ng’alowooza nti ssaddaaka z’ensolo ezo zandibadde zitangirira ebibi by’abasajja abo. Okuva bwe kiri nti Kristo yali amaze okuwaayo ssaddaaka etuukiridde, ssaddaaka ng’ezo ez’ensolo zaali tezikyasobola kutangirira bibi. Ka kibe ki ekyali kizingirwa mu ekyo Pawulo kye yakola, tuli bakakafu nti yali tasobola kukkiriza kukola kintu kyonna ekyali kiyinza okumuleetera okulumirizibwa omuntu we ow’omunda.

d Abamu bagamba nti Pawulo yali talaba bulungi, era nti ye nsonga lwaki yali tamanyi nti yali ayogera ne kabona asinga obukulu. Oba ayinza okuba nga yali amaze ekiseera kiwanvu nnyo nga tajja Yerusaalemi ne kiba nti yali tamanyi kabona asinga obukulu. Oba kiyinzika okuba nti olw’okuba waaliwo abantu bangi, yali tasobola kulaba ani yawa ekiragiro eky’okumukuba.

e Mu 49 E.E., abatume n’abakadde bwe baali bakubaganya ebirowoozo ku nsonga eyali ekwata ku b’amawanga okukwata Amateeka ga Musa oba obutagakwata, abamu ku Bakristaayo abaaliwo Bayibuli eboogerako ng’abo “abaali mu kabiina k’Abafalisaayo abaali bafuuse abakkiriza.” (Bik. 15:5) Kirabika Abakristaayo abo baali bayitibwa Bafalisaayo olw’okuba edda baali Bafalisaayo.