Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 25

“Njulira Kayisaali!”

“Njulira Kayisaali!”

Pawulo assaawo ekyokulabirako ekirungi ng’alwanirira amawulire amalungi

Byesigamiziddwa ku Ebikolwa 25:1–26:32

1, 2. (a) Mbeera ki Pawulo gy’alimu? (b) Okuba nti Pawulo yajulira Kayisaali, kireetawo kibuuzo ki?

 PAWULO akyakuumibwa butiribiri mu Kayisaliya. Emyaka ebiri emabega, bwe yali azzeeyo mu Buyudaaya, Abayudaaya baagezaako emirundi egitakka wansi w’esatu okumutta. (Bik. 21:27-36; 23:10, 12-15, 27) Wadde ng’abalabe be bakyalemereddwa okutuukiriza ekigendererwa kyabwe, tebannapondooka. Pawulo bw’akiraba nti ayinza okuweebwayo mu mikono gyabwe, agamba gavana Omuruumi ayitibwa Fesuto nti: “Njulira Kayisaali!”​—Bik. 25:11.

2 Ekyo Pawulo kye yasalawo eky’okujulira Kayisaali Yakuwa yakisiima? Eky’okuddamu kikulu nnyo eri ffe abawa obujulirwa mu bujjuvu ku Bwakabaka bwa Katonda mu nnaku zino ez’enkomerero. Twagala okumanya obanga Pawulo yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi “mu kulwanirira amawulire amalungi era n’okuganyweza okuyitira mu mateeka.”​—Baf. 1:7.

“Nnyimiridde mu Maaso g’Entebe . . . ey’Okusalirako Emisango” (Bik. 25:1-12)

3, 4. (a) Lwaki Abayudaaya baasaba nti Pawulo aleetebwe e Yerusaalemi, era yawona atya okuttibwa? (b) Yakuwa ayamba atya abaweereza be leero nga bwe yayamba Pawulo?

3 Nga wayise ennaku ssatu oluvannyuma lw’okufuuka gavana wa Buyudaaya, Fesuto yagenda e Yerusaalemi. a Ng’ali eyo, bakabona abakulu n’abakulu b’Abayudaaya baamuloopera emisango egya nnaggomola gye baali bavunaana Pawulo. Baali bakimanyi nti gavana oyo omupya bakama be baali bamwetaagisa okukwatagana obulungi nabo era n’Abayudaaya bonna okutwalira awamu. N’olwekyo baamusaba aleete Pawulo e Yerusaalemi awozesebwe eyo. Kyokka luno lwali lukwe lwa kuttira Pawulo mu kkubo ng’ava e Kayisaliya okujja e Yerusaalemi. Fesuto teyakkiriza ekyo kye baamusaba, era yabagamba nti: “Ab’obuyinza mu mmwe bajje ŋŋende nabo [e Kayisaliya] bamulumirize bwe waba nga waliwo ekibi kye yakola.” (Bik. 25:5) Ne ku mulundi guno Pawulo yawona okuttibwa.

4 Mu bizibu byonna Pawulo bye yayolekagana nabyo, Yakuwa yamuyamba ng’ayitira mu Mukama waffe Yesu Kristo. Kijjukire nti Yesu yagamba Pawulo mu kwolesebwa nti: “Beera mugumu!” (Bik. 23:11) Leero abaweereza ba Katonda boolekagana n’ebizibu ebitali bimu era batiisibwatiisibwa. Yakuwa taziyiza bizibu kututuukako, naye atuwa amagezi n’amaanyi okusobola okubigumira. Bulijjo Katonda waffe ow’okwagala atuwa “amaanyi agasinga ku ga bulijjo.”​—2 Kol. 4:7.

5. Fesuto yakwata atya ensonga za Pawulo?

5 Nga wayiseewo ennaku, Fesuto yatuula “ku ntebe okusalirwa emisango” mu Kayisaliya. b Pawulo n’abo abaali bamuvunaana baayimirira mu maaso ge. Ng’addamu ebyo ebyali bimuvunaanibwa ebitaaliko bukakafu, Pawulo yagamba nti: “Sikolanga kintu kyonna kimenya Mateeka g’Abayudaaya, wadde okutyoboola yeekaalu oba okujeemera Kayisaali.” Pawulo teyalina musango, era yali agwana kuteebwa. Fesuto yandisazeewo atya? Olw’okuba yali ayagala okuganja eri Abayudaaya, yabuuza Pawulo nti: “Wandyagadde kugenda Yerusaalemi owozesebwe eyo emisango gino mu maaso gange?” (Bik. 25:6-9) Kya lwatu ekyo tekyali kya magezi n’akamu. Pawulo bwe yandisindikiddwa e Yerusaalemi okuwoleza eyo, abalabe be be bandibadde abalamuzi be, era awatali kubuusabuusa bandimusalidde gwa kufa. Mu kifo ky’okutunuulira ensonga mu bwenkanya, Fesuto yali anoonya buwagizi nga munnabyabufuzi. Emabegako, ne Gavana Pontiyo Piraato bwe yali asala omusango ogwali guvunaanibwa Yesu, yakola ekintu kye kimu. (Yok. 19:12-16) Ne leero abalamuzi bayinza okusalawo mu ngeri eteri ya bwenkanya olw’okwagala okuganja mu maaso g’abalala. N’olwekyo, tekisaanidde kutwewuunyisa abalamuzi bwe bataba benkanya nga basala emisango egikwata ku bantu ba Katonda.

6, 7. Lwaki Pawulo yajulira Kayisaali, era kyakulabirako ki kye yateerawo Abakristaayo leero?

6 Fesuto okwagala okuganja eri Abayudaaya kyali kiyinza okuviirako Pawulo okuttibwa. Eyo ye nsonga lwaki Pawulo yakozesa eddembe lye yalina ng’omutuuze wa Rooma. Yagamba Fesuto nti: “Nnyimiridde mu maaso g’entebe ya Kayisaali ey’okusalirako emisango we nteekeddwa okuwozesebwa. Sirina kibi kye nkoze Bayudaaya nga naawe bw’okizudde. . . . Njulira Kayisaali!” Emirundi egisinga omuntu bwe yajuliranga Kayisaali, ekyo kyalinga tekisobola kusazibwamu. Ekyo Fesuto yakikkaatiriza bwe yagamba nti: “Ojulidde Kayisaali, era ewa Kayisaali gy’ojja okugenda.” (Bik. 25:10-12) Pawulo bwe yajulira omufuzi ow’obuyinza obusingako, yateerawo Abakristaayo ab’amazima leero ekyokulabirako. Abo abalwanyisa okusinza okw’amazima bwe bagezaako ‘okutusuula mu mitawaana nga beeyambisa amateeka,’ naffe tweyambisa amateeka okulwanirira amawulire amalungi. c​—Zab. 94:20.

7 Oluvannyuma lw’emyaka egisukka mu ebiri ng’asibiddwa mu kkomera olw’emisango gy’atazza, Pawulo yaweebwa akakisa okugenda e Rooma. Kyokka waaliwo omufuzi omulala eyali ayagala okusooka okumulaba nga tannagenda.

Ensonga zaffe bwe zikolwako mu ngeri etali ya bwenkanya, tujulira mu kkooti eza waggulu

“Saajeema” (Bik. 25:13–26:23)

8, 9. Lwaki Kabaka Agulipa yakyala mu Kayisaliya?

8 Nga wayise ennaku nga Pawulo amaze okujulira Kayisaali, Kabaka Agulipa ne mwannyina Berenike bajja ‘okukyalira mu butongole’ gavana omupya, Fesuto. d Mu kiseera ky’obufuzi bwa Rooma, kyabanga kya bulijjo abakungu okukyalira bagavana abaabanga baakalondebwa. Mu kuyozaayoza Fesuto okulondebwa ku bwagavana, Agulipa yali agezaako okussaawo enkolagana ennungi ne gavana oyo omupya, era ng’ekyo kyandibaddeko ne bwe kimuyamba mu biseera eby’omu maaso.​—Bik. 25:13.

9 Fesuto yabuulira Agulipa ebikwata ku Pawulo, era Agulipa naye yayagala okuwuliriza Pawulo. Ku lunaku olwaddako, Fesuto ne Agulipa baatuula ku ntebe okusalirwa emisango. Wadde nga baalina ekitiibwa n’obuyinza ebyanaamiriza abalabi, ebigambo ebyayogerwa omusibe eyaleetebwa mu maaso gaabwe bye byasinga okukwata ku bantu abaaliwo.​—Bik. 25:22-27.

10, 11. Pawulo yakiraga atya nti yali assaamu Agulipa ekitiibwa, era biki ebikwata ku bulamu bwe obw’emabega bye yabuulira kabaka oyo?

10 Pawulo yeebaza Kabaka Agulipa olw’okumuwa akakisa okwewozaako mu maaso ge, era n’akiraga nti kabaka oyo yali amanyi bulungi empisa z’Abayudaaya n’enkaayana zaabwe. Oluvannyuma Pawulo yayogera ku bulamu bwe obw’emabega. Yagamba nti: “Nnali mu kibiina ky’eddiini ekisinga okukwata enjigiriza z’eddiini yaffe, nnali Mufalisaayo.” (Bik. 26:5) Pawulo bwe yali akyali Mufalisaayo, yali akkiriza nti Masiya yali ajja kujja. Kati oluvannyuma lw’okufuuka Omukristaayo, yakyoleka n’obuvumu nti Yesu Kristo ye Masiya eyali alindirirwa. Yakiraga nti ensonga eyali emuviiriddeko okuwozesebwa ku lunaku olwo yali ekwata ku ekyo Katonda kye yasuubiza bajjajjaabe, era ng’ekyo ye n’abo abaali bamuvunaana baali bakikkiririzaamu. Ekyo kyaleetera Agulipa okwagala ennyo okumanya ebyo Pawulo bye yali agenda okuzzaako okwogera. e

11 Ng’ayogera ku ngeri embi ennyo gye yali yayisaamu Abakristaayo, Pawulo yagamba nti: “Nze kennyini nnalowoozanga nti nnali nteekeddwa okukola ebintu bingi ebiziyiza ekibiina ekiyitibwa erinnya lya Yesu Omunnazaaleesi. . . . Olw’okuba nnabasunguwalira nnyo, [abagoberezi ba Kristo] nnabayigganyanga ne mu bibuga ebirala.” (Bik. 26:9-11) Pawulo yali tasavuwaza. Abantu bangi baali bamanyi ebikolwa eby’obukambwe bye yakola Abakristaayo. (Bag. 1:13, 23) Agulipa ayinza okuba nga muli yali yeebuuza nti, ‘Kiki ekyaleetera omusajja ono okukyuka?’

12, 13. (a) Pawulo yannyonnyola atya engeri gye yafuukamu Omukristaayo? (b) Pawulo yali ‘asamba atya emiwunda’?

12 Ebigambo Pawulo bye yaddako okwogera byaddamu ekibuuzo ekyo. Yagamba nti: “Lwali lumu, nga ŋŋenda e Ddamasiko era nga nfunye obuyinza n’ebiragiro okuva eri bakabona abakulu, Ai Kabaka, nga ndi mu kkubo mu ssaawa ez’omu ttuntu, ekitangaala okuva mu ggulu ekisinga eky’enjuba ne kyaka okunneetooloola awamu n’abo be nnali ntambula nabo. Ffenna bwe twali tugudde wansi, ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba mu Lwebbulaniya nti: ‘Sawulo, Sawulo, lwaki onjigganya? Okusamba emiwunda kirumya ggwe.’ Ne mbuuza nti, ‘Ggwe ani Mukama wange?’ Mukama waffe n’aŋŋamba nti: ‘Nze Yesu, gw’oyigganya.’” f​—Bik. 26:12-15.

13 Pawulo bwe yali tannafuna kwolesebwa okwo, yali ‘ng’asamba emiwunda.’ Ng’ensolo bwe yeerumyanga ng’esambye akasongezo k’omuwunda, ne Pawulo yeerumya mu by’omwoyo ng’agezaako okuziyiza ekigendererwa kya Katonda. Yesu bwe yalabikira Pawulo ng’agenda e Ddamasiko, yamuyamba okutereeza endowooza ye, kubanga ekyo Pawulo kye yali akola kyali kikyamu wadde nga yali akikola mu bwesimbu.​—Yok. 16:1, 2.

14, 15. Kiki Pawulo kye yayogera ku nkyukakyuka ze yakola mu bulamu bwe?

14 Mazima ddala Pawulo yakola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwe. Yagamba Agulipa nti: “Saajeemera bubaka bwe nnafuna okuyitira mu kwolesebwa okwava mu ggulu, naye nnasookera ku b’omu Ddamasiko oluvannyuma ne ŋŋenda mu Yerusaalemi, ne mu kitundu kyonna eky’e Buyudaaya, ne mu b’amawanga nga mbagamba beenenye badde eri Katonda, nga bakola ebikolwa ebiraga nti beenenyezza.” (Bik. 26:19, 20) Pawulo yali amaze emyaka mingi ng’akola omulimu Yesu Kristo gwe yamuwa bwe yamulabikira mu ttuntu. Biki ebyavaamu? Abo abaawuliriza amawulire amalungi Pawulo ge yababuulira, baalekayo enneeyisa yaabwe embi ne badda eri Katonda. Abantu abo baafuuka abatuuze abalungi era abagondera amateeka agassibwawo ab’obuyinza.

15 Wadde ng’omulimu Pawulo gwe yakola gwavaamu emiganyulo, abaali bamuyigganya baali tebagusiima. Pawulo yagamba nti: “Abayudaaya kyebaava bankwatira mu yeekaalu ne bagezaako okunzita. Naye olw’okuba nfunye obuyambi okuva eri Katonda, n’okutuusa leero nkyawa abantu ab’ebitiibwa n’abatali ba bitiibwa obujulirwa.”​—Bik. 26:21, 22.

16. Tuyinza tutya okukoppa Pawulo nga tubuulira abalamuzi n’abafuzi ebikwata ku ebyo bye tukkiririzaamu?

16 Bulijjo tusaanidde okuba “abeetegefu” okunnyonnyola abalala ebikwata ku ebyo bye tukkiririzaamu. (1 Peet. 3:15) Bwe tuba nga tubuulira abalamuzi n’abafuzi ebikwata ku nzikiriza zaffe, tusaanidde okukoppa engeri Pawulo gye yayogeramu eri Agulipa ne Fesuto. Bwe twogera nabo mu ngeri eraga nti tubassaamu ekitiibwa ne tubabuulira engeri Bayibuli gy’ekyusizzaamu obulamu bwaffe awamu n’obw’abo be tubuulira, kiyinza okukwata ku mitima gyabwe.

“Wandinsendasenda ne Nfuuka Omukristaayo” (Bik. 26:24-32)

17. Fesuto yakwatibwako atya ebyo Pawulo bye yayogera, era ndowooza ki efaananako n’eyo gye yalina abantu bangi gye balina leero?

17 Ebigambo Pawulo bye yayogera nga yeewozaako byakwata nnyo ku bafuzi abo ababiri. Bayibuli egamba nti: “[Pawulo] bwe yali ng’akyayogera ebintu ebyo nga yeewozaako, Fesuto n’amugamba mu ddoboozi ery’omwanguka nti: ‘Pawulo, ogudde eddalu! Okusoma ennyo kukusudde eddalu!’” (Bik. 26:24) Ebigambo bya Fesuto ebyo biyinza okuba nga biraga endowooza gye yalina era abantu bangi leero gye balina. Abantu bangi leero bakitwala nti abo abayigiriza ebyo ebiri mu Bayibuli baba tebalowooza bulungi. Abo abatwalibwa okuba abagezi mu nsi bakaluubirirwa okukkiriza ekyo Bayibuli ky’eyigiriza nti abafu bajja kuzuukira.

18. Pawulo yaddamu atya Fesuto, era ekyo kyaleetera Agulipa kugamba ki?

18 Kyokka Pawulo yaddamu gavana nti: “Sigudde ddalu ow’Ekitiibwa Fesuto, naye njogera ebigambo eby’amazima era eby’amagezi. Mazima ddala, kabaka gwe njogera naye awatali kutya amanyi bulungi nnyo ebintu bino . . . Kabaka Agulipa, okkiririza mu Bannabbi? Nkimanyi nti obakkiririzaamu.” Agulipa yamuddamu nti: “Mu kaseera katono wandinsendasenda ne nfuuka Omukristaayo.” (Bik. 26:25-28) Ebigambo ebyo Agulipa bye yayogera, ka kibe nti yabyogera mu bwesimbu oba nedda, biraga nti obujulirwa Pawulo bwe yawa bwamukwatako nnyo.

19. Kiki Fesuto ne Agulipa kye baalaba oluvannyuma lw’okuwuliriza Pawulo?

19 Oluvannyuma Agulipa ne Fesuto baayimirira, ekyalaga nti okuwulira omusango kwali kuwedde. “Bwe baali bagenda ne bagambagana nti: ‘Omusajja ono talina kye yakola kimugwanyiza kufa wadde okusibibwa.’ Agulipa n’agamba Fesuto nti: ‘Omusajja ono yandibadde asumululwa singa teyajulira Kayisaali.’” (Bik. 26:31, 32) Abafuzi abo bombi baakiraba nti Pawulo teyalina musango. Oboolyawo kati baali bagenda kuba n’endowooza ennungi ku Bakristaayo.

20. Biki ebyava mu bujulirwa Pawulo bwe yawa abakungu ba Rooma?

20 Kirabika ku bafuzi abo bombi, tekuli yakkiriza mawulire malungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Ddala kyalimu omuganyulo gwonna omutume Pawulo okwewozaako mu maaso gaabwe? Yee. Pawulo okutwalibwa “mu maaso ga bakabaka ne bagavana” mu Buyudaaya, kyaviirako okuwa obujulirwa abakungu ba Rooma abandibadde abazibu okutuukako. (Luk. 21:12, 13) Ate era ebyo bye yayitamu ng’ayolekagana n’ekigezo ekyo awamu n’obwesigwa bwe yayoleka, byazzaamu nnyo bakkiriza banne amaanyi.​—Baf. 1:12-14.

21. Bwe tweyongera okubuulira amawulire amalungi, birungi ki ebiyinza okuvaamu?

21 Bwe kityo bwe kiri ne leero. Bwe tweyongera okubuulira amawulire amalungi wadde nga twolekagana n’ebizibu oba nga tuziyizibwa, muyinza okuvaamu ebirungi. Tuyinza okuwa obujulirwa abakungu oboolyawo abandibadde abazibu okutuukako. Obwesigwa n’obugumiikiriza bwe twoleka biyinza okuzzaamu bakkiriza bannaffe amaanyi, ne beeyongera okuba abavumu nga bakola omulimu gw’okuwa obujulirwa ku Bwakabaka bwa Katonda.

a Laba akasanduuko “ Polukiyo Fesuto, Gavana Omuruumi.”

b ‘Entebe okusalirwa emisango’ yabanga ku kituuti. Okuba nti entebe eyo yabanga waggulu, kyalaganga nti ekyo omulamuzi kye yabanga asazeewo kyabanga kya nkomeredde era kyalinanga okussibwamu ekitiibwa. Ne Piraato bwe yali asala omusango ogwali guvunaanibwa Yesu, yali atudde ku ntebe okusalirwa emisango.

d Laba akasanduuko “ Kabaka Kerode Agulipa II.”

e Olw’okuba Pawulo yali Mukristaayo, yali akkiriza nti Yesu ye Masiya. Abayudaaya abaagaana okukkiririza mu Yesu baali batwala Pawulo nga kyewaggula.​—Bik. 21:21, 27, 28.

f Ng’ayogera ku ekyo Pawulo kye yagamba nti yali mu kkubo mu “ssaawa ez’omu ttuntu,” omwekenneenya omu owa Bayibuli yagamba nti: “Okuggyako nga waaliwo ensonga ey’amaanyi eyabanga emwetaagisa okutuuka amangu gye yabanga agenda, omuntu teyatambulanga mu ssaawa ez’omu ttuntu ebbugumu we libeerera eringi. Ekyo kituyamba okulaba obumalirivu Pawulo bwe yalina mu kuyigganya Abakristaayo.”