Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 27

‘Okuwa Obujulirwa mu Bujjuvu’

‘Okuwa Obujulirwa mu Bujjuvu’

Pawulo asibibwa mu Rooma era yeeyongera okubuulira

Byesigamiziddwa ku Ebikolwa 28:11-31

1. Kiki Pawulo, Lukka, ne Alisutaluuko kye bamanyi ekibayamba okuba abagumu?

 EKYOMBO ekiriko akabonero okuli ebigambo “Abaana ba Zewu,” era oboolyawo ekyakozesebwanga okwetikka emmere ey’empeke, kisaabala nga kiva ku kizinga ky’e Maluta ekiri ku nnyanja Meditereniyani, nga kigenda mu Yitale. Omwaka guyinza okuba nga gwa 59 E.E. Omutume Pawulo n’omusirikale amukuuma, awamu ne Lukka ne Alisutaluuko, bali ku kyombo kino. (Bik. 27:2) Okwawukana ku bagoba b’ekyombo kino, Pawulo ne baweereza banne bo tebanoonya bukuumi kuva eri abalongo, Castor ne Pollux, batabani ba katonda w’Abayonaani ayitibwa Zewu. (Bik. 28:11) Pawulo ne banne bo baweereza Yakuwa, eyagamba nti Pawulo yandibadde awa obujulirwa mu Rooma era nti yandiyimiridde mu maaso ga Kayisaali.​—Bik. 23:11; 27:24.

2, 3. Ekyombo Pawulo kw’ali kiyita mu bitundu ki, era buyambi ki bw’afuna okuviira ddala ku ntandikwa y’olugendo?

2 Nga wayise ennaku ssatu oluvannyuma lw’ekyombo okugoba ku mwalo gw’ekibuga Sulakusa, ekisangibwa ku kizinga Sisiri, era nga kitutumufu okufaananako Asene ne Rooma, ekyombo kisaabala ne kigenda e Legiyo mu bukiikaddyo bwa Yitale. Oluvannyuma kisaabala olugendo lwa mayiro 175 nga kiyambibwako embuyaga ekunta ng’eva ebukiikaddyo ne kituuka ku mwalo oguyitibwa Putiyooli mu Yitale (okumpi n’ekibuga mu kiseera kino ekiyitibwa Naples). Ku mulundi guno ekyombo kituuka mangu e Putiyooli; kituukayo ku lunaku olw’okubiri.​—Bik. 28:12, 13.

3 Pawulo kati ali mu kitundu ekisembayo eky’olugendo lwe olw’e Rooma gy’ajja okwewozaako mu maaso ga kabaka ayitibwa Nero. Okuviira ddala ku ntandikwa y’olugendo, “Katonda ow’okubudaabuda kwonna” abaddenga wamu ne Pawulo. (2 Kol. 1:3) Nga bwe tugenda okulaba, Yakuwa yeeyongera okuyamba Pawulo era Pawulo yeeyongera okumuweereza n’obunyiikivu.

“Pawulo . . . Yeebaza Katonda n’Aguma” (Bik. 28:14, 15)

4, 5. (a) Pawulo ne banne baafiibwako batya nga bali e Putiyooli, era kiki ekiyinza okuba nga kye kyamuviirako okuweebwa eddembe eryo? (b) Abakristaayo bayinza batya okuganyulwa mu nneeyisa yaabwe ennungi ne bwe baba nga basibiddwa mu kkomera?

4 E Putiyooli, Pawulo ne banne ‘baasangayo ab’oluganda, era ab’oluganda abo ne babeegayirira basigale nabo okumala ennaku musanvu.’ (Bik. 28:14) Okuba nti ab’oluganda abo baalabirira Pawulo ne banne okumala ennaku musanvu, kiraga nti baalina omwoyo gw’okusembeza abagenyi, era baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Awatali kubuusabuusa, ab’oluganda abo nabo bazzibwamu nnyo amaanyi mu by’omwoyo okuyitira mu ebyo Pawulo ne banne bye baabanyumiza. Naye kyajja kitya okuba nti Pawulo eyali omusibe yakkirizibwa okugenda okulaba banne? Enneeyisa ya Pawulo ennungi eyinza okuba nga ye yaviirako abasirikale abaali bamukuuma okumwesiga.

5 Ne leero, abaweereza ba Yakuwa bwe baba nga basibiddwa mu kkomera, emirundi mingi baweebwa eddembe okukola ebintu ebitali bimu, era bafiibwako mu ngeri ey’enjawulo olw’enneeyisa yaabwe ennungi. Ng’ekyokulabirako, omusajja omu mu Romania eyaweebwa ekibonerezo eky’okusibibwa emyaka 75 olw’okuba yali mubbi, yatandika okuyiga Bayibuli era n’akyusa enneeyisa ye. Ekyo kyaviirako abakuumi b’ekkomera lye yalimu okumutumanga mu kibuga okugenda okugula ebintu by’ekkomera nga taliiko amukuuma! Okusingira ddala, enneeyisa yaffe ennungi eviirako Yakuwa okugulumizibwa.​—1 Peet. 2:12.

6, 7. Ab’oluganda okuva e Rooma, baalaga batya Pawulo ne banne okwagala okw’amaanyi?

6 Pawulo ne banne bwe baava e Putiyooli, kirabika baatambula mayiro nga 30 ne batuuka mu Kapuwa nga bayitira mu kkubo ly’e Apiyo eryali ligenda e Rooma. Oluguudo luno olwali lwazimbibwa n’amayinja, lwali luyita mu byalo bya Yitale ebirabika obulungi, era mu bitundu ebimu lwali luyita ku Nnyanja Meditereniyani. Oluguudo luno era lwali luyita mu lusaalu oluyitibwa Pontine Marshes, oluli mayiro nga 40 okuva e Rooma awaali akatale k’e Apiyo. Lukka yagamba nti ab’oluganda mu Rooma “bwe baawulira amawulire” agabakwatako, abamu bajja ne babasisinkana mu katale k’e Apiyo, ate abalala baabalindira mu kifo ekiwummulirwamu ekyali mayiro nga 30 okuva e Rooma ekyali kiyitibwa Ebisulo Ebisatu. Nga baabalaga okwagala kungi!​—Bik. 28:15.

7 Akatale k’e Apiyo tekaali kifo kirungi okuwummuliramu eri omuntu eyabanga akooye olw’olugendo. Omuyiiya w’ebitontome era omuwandiisi Omuruumi ayitibwa Horace yagamba nti akatale ako “kaabanga kakubyeko abalunnyanja era abantu abaakolanga mu bisulo byamu baabanga bakambwe.” Era yagamba nti “amazzi gaayo gaabanga mabi nnyo.” Yagaana n’okulyayo ekintu kyonna! Wadde kyali kityo, ab’oluganda okuva mu Rooma baalindirira Pawulo ne banne mu katale ako nga basanyufu, basobole okubawerekerako okutuusa lwe bandituuse gye baali balaga.

8. Lwaki Pawulo ‘bwe yalaba baganda be,’ yeebaza Katonda?

8 Bayibuli egamba nti, ‘Pawulo olwalaba baganda be ne yeebaza Katonda n’aguma.’ (Bik. 28:15) Pawulo okulaba obulabi ku baganda be abo, nga n’abamu ku bo ayinza okuba nga yali abamanyi, kyamuzzaamu nnyo amaanyi. Lwaki Pawulo yeebaza Katonda? Kubanga yali akimanyi nti okwagala kye kimu ku ebyo ebiri mu kibala eky’omwoyo. (Bag. 5:22) Ne leero, omwoyo omutukuvu guleetera Abakristaayo okubaako bye beefiiriza okusobola okuyamba abalala n’okubudaabuda abo ababa mu bwetaavu.​—1 Bas. 5:11, 14.

9. Tuyinza tutya okwoleka omwoyo gw’okusembeza abagenyi ng’Abakristaayo mu Rooma abaasembeza Pawulo bwe baakola?

9 Ng’ekyokulabirako, omwoyo omutukuvu guleetera ab’oluganda okusembeza mu maka gaabwe abalabirizi abakyalira ebibiina, abaminsani, n’abaweereza ba Yakuwa abalala abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna, era nga bangi ku bo beefiirizza ebintu bingi okusobola okuweereza Yakuwa mu ngeri eyo. Weebuuze: ‘Waliwo kyonna kye nnyinza okukola okusobola okuwagira enteekateeka y’okukyala kw’omulabirizi, oboolyawo nga mmusembeza mu maka gange awamu ne mukyala we, bw’aba nga mufumbo? Nsobola okukola enteekateeka ne mbuulirako wamu nabo?’ Ojja kuganyula nnyo bw’onookola bw’otyo. Lowooza ku ssanyu ab’oluganda abaali mu Rooma lye baawulira nga Pawulo ne banne babanyumiza ebintu bingi ebizzaamu amaanyi bye baali bayiseemu.​—Bik. 15:3, 4.

“Koogerwako Bubi Buli Wantu” (Bik. 28:16-22)

10. Pawulo yali mu mbeera ki ng’ali mu Rooma, era kiki kye yakola nga waakayita ennaku ssatu ng’amaze okutuukayo?

10 Ab’oluganda bwe baatuuka mu Rooma, ‘Pawulo yakkirizibwa okubeera yekka ng’alina omusirikale amukuuma.’ (Bik. 28:16) Okusobola okutangira abasibe abaabanga basibiddwa awaka okutoloka, baasibibwangako olujegere era olwasibibwanga ne ku musirikale eyabanga abakuuma. Wadde nga Pawulo yali asibiddwa mu ngeri eyo, yali mubuulizi wa njiri, era okuba nti yali asibiddwa kyali tekisobola kumulemesa kubuulira. Era oluvannyuma lw’ennaku ssatu, yayita abakulu b’Abayudaaya abaali mu Rooma asobole okubeeyanjulira n’okubawa obujulirwa.

11, 12. Pawulo bwe yali ayogera ne Bayudaaya banne, kiki kye yakola okusobola okubateeka mu mbeera basobole okumuwuliriza obulungi?

11 Pawulo yagamba nti: “Ab’oluganda, wadde nga sirina kibi kye nnakola bantu wadde okuwakanya empisa za bajjajjaffe, nnasibibwa ne mpeebwayo mu mikono gy’Abaruumi mu Yerusaalemi. Era abo bwe baamala okumpozesa ne baagala okunsumulula, kubanga tewaaliwo nsonga eyali eŋŋwanyiza okuttibwa. Naye Abayudaaya bwe baakiwakanya, ne mpalirizibwa okujulira Kayisaali, naye si lwa kuba nti nnalina ekintu kyonna kye nvunaana eggwanga lyange.”​—Bik. 28:17-19.

12 Okuyita Bayudaaya banne abo “ab’oluganda,” Pawulo yali agezaako okukiraga nti ye nabo waaliwo ekibagatta, era ekyo kyandibasobozesezza okuwuliriza obulungi bye yali agenda okubagamba. (1 Kol. 9:20) Ate era yabakakasa nti ekyali kimuleese e Rooma si kubaako by’avunaana Bayudaaya banne, wabula nti yali azze kujulira ewa Kayisaali. Ebikwata ku nsonga eyaleeta Pawulo e Rooma byali bipya eri Abayudaaya abo. (Bik. 28:21) Kyajja kitya okuba nti Abayudaaya mu Rooma baali tebannafuna mawulire gano okuva eri bannaabwe mu Buyudaaya? Ekitabo ekimu kigamba nti: “Ekyombo Pawulo mwe yajjira kiyinza okuba nga kye kimu ku ebyo ebyasooka okutuuka e Yitale ng’ekiseera ky’obutiti kyakaggwa, era bwe kiba nti abakulu b’Abayudaaya balina be baali batumye okuleeta ebbaluwa eyalimu amawulire agakwata ku Pawulo, abo abaali batumiddwa baali tebannatuuka.”

13, 14. Pawulo yatandika atya okwogera ku bubaka bw’Obwakabaka, era tuyinza tutya okumukoppa?

13 Pawulo yatandika okwogera ebikwata ku Bwakabaka mu ngeri eyandireetedde Abayudaaya abo abaali bazze gy’ali okwagala okumanya ebisingawo. Yagamba nti: “N’olw’ensonga eyo, mbayise njogere gye muli, kubanga nsibiddwa enjegere zino olw’essuubi lya Isirayiri.” (Bik. 28:20) Kya lwatu nti essuubi eryo lyali lirina akakwate ku Masiya n’Obwakabaka bwe, ng’Abakristaayo bwe baali babuulira. Awo abakulu b’Abayudaaya kwe kugamba nti: “Twandyagadde okuwulira endowooza yo, kubanga tukimanyi nti akabiina k’eddiini kano koogerwako bubi buli wantu.”​—Bik. 28:22.

14 Okufaananako Pawulo, buli lwe tuba tufunye akakisa okubuulira abantu amawulire amalungi, tusaanidde okukozesa ebigambo oba ebibuuzo ebireetera abantu okwagala okumanya ebisingawo. Ebitabo gamba nga Reasoning From the Scriptures, Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, ne Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza birimu amagezi amalungi ennyo agasobola okutuyamba. Ofuba okukozesa ebitabo ebyo?

Yatuteerawo Ekyokulabirako Ekirungi mu ‘Kuwa Obujulirwa mu Bujjuvu’ (Bik. 28:23-29)

15. Bintu ki ebina bye tuyigira ku ngeri Pawulo gye yawaamu obujulirwa?

15 Olunaku lwe baali balagaanye bwe lwatuuka, Abayudaaya ‘bangi bajja’ mu kifo Pawulo we yali asula. Pawulo yabannyonnyola “ng’abawa obujulirwa obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu bujjuvu, era n’agezaako okubasendasenda okukkiriza Yesu ng’akozesa Amateeka ga Musa n’ebyo ebyawandiikibwa bannabbi, okuva ku makya okutuukira ddala akawungeezi.” (Bik. 28:23) Waliwo ebintu bina bye tuyigira ku ngeri Pawulo gye yawaamu obujulirwa. Ekisooka, essira yalissa ku Bwakabaka bwa Katonda. Eky’okubiri, ‘yagezaako okusendasenda’ abaali bamuwuliriza okukkiriza bye yali ayogera. Eky’okusatu, yabannyonnyola ng’akozesa Ebyawandiikibwa. N’eky’okuna, yali teyeesaasira, bwe yababuulira “okuva ku makya okutuukira ddala akawungeezi.” Nga yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo! Biki ebyavaamu? ‘Abamu bakkiriza,’ ate abalala baagaana okukkiriza. Lukka agamba nti wajjawo obutakkaanya era abantu “ne batandika okuvaawo.”​—Bik. 28:24, 25a.

16-18. Lwaki Pawulo tekyamwewuunyisa Abayudaaya bangi mu Rooma bwe baagaana okuwuliriza obubaka bwe yababuulira, era twandikitutte tutya singa abantu bagaana okuwuliriza obubaka bwe tubabuulira?

16 Engeri Abayudaaya abo gye baatwalamu ebyo Pawulo bye yababuulira teyamwewuunyisa, kubanga ekyo yali akirabye enfunda n’enfunda, era kyali kyayogerwako ne mu bunnabbi obuli mu Bayibuli. (Bik. 13:42-47; 18:5, 6; 19:8, 9) N’olwekyo Pawulo yagamba Abayudaaya abo abatakkiriza bye yababuulira nti: “Omwoyo omutukuvu kye gwayogera ku bajjajjammwe okuyitira mu nnabbi Isaaya kituukirawo, bwe yagamba nti, ‘Genda eri abantu bano obagambe nti: “Okuwulira muliwulira naye temulitegeera, n’okutunula mulitunula naye temuliraba. Kubanga omutima gw’abantu bano gugubye.”’” (Bik. 28:25b-27) Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa nga “gugubye,” kitegeeza omutima “omukalubo” oba “ogujjudde amasavu,” ne kiba nti obubaka bw’Obwakabaka tebusobola kugutuukako. (Bik. 28:27) Ekyo nga kiba kibi nnyo!

17 Pawulo bwe yali amaliriza okwogera yakiraga nti obutafaananako Bayudaaya abo, bo ab’amawanga baali bajja kuwuliriza amawulire amalungi. (Bik. 28:28; Zab. 67:2; Is. 11:10) Mu butuufu, omutume Pawulo ekyo yali akikakasiza ddala, kubanga yali alabye ab’amawanga bangi abakkiriza obubaka bw’Obwakabaka!​—Bik. 13:48; 14:27.

18 Okufaananako Pawulo, tetusaanidde kunyiiga singa abantu bagaana okuwuliriza amawulire amalungi ge tubabuulira. Bayibuli eraga nti abantu batono ddala abali mu kkubo erigenda mu bulamu. (Mat. 7:13, 14) Ate era abantu ab’emitima emirungi bwe batwegattako mu kusinza okw’amazima, tusaanidde okubaaniriza n’essanyu.​—Luk. 15:7.

Okubuulira “Ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda” (Bik. 28:30, 31)

19. Pawulo yakozesa atya obulungi ekiseera kye yamala ng’asibiddwa mu nnyumba?

19 Lukka yafundikira ng’agamba nti: “Pawulo yamala emyaka ebiri mu nnyumba gye yali apangisizza, n’ayanirizanga n’essanyu abo abajjanga gy’ali, n’ababuulira ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda, era n’abayigiriza ebintu ebikwata ku Mukama waffe Yesu Kristo, ng’ayogera n’obuvumu, awatali kuziyizibwa.” (Bik. 28:30, 31) Mazima ddala Pawulo yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu kusembeza abagenyi, mu kuba n’okukkiriza okunywevu, ne mu kuba omunyiikivu.

20, 21. Abamu ku abo abaaganyulwa mu buweereza bwa Pawulo mu Rooma be baluwa?

20 Mu bantu Pawulo be yayaniriza n’essanyu mwe mwali n’omusajja eyali ayitibwa Onesimo, ng’ono yali muddu eyali adduse ku mukama we mu Kkolosaayi. Pawulo yayamba Onesimo okufuuka Omukristaayo, era Onesimo yafuuka ‘muganda wa Pawulo omwesigwa.’ Mu butuufu, Pawulo yamwogerako ‘ng’omwana we gwe yazaala.’ (Bak. 4:9; Fir. 10-12) Onesimo ateekwa okuba nga yazzaamu nnyo Pawulo amaanyi! a

21 Waliwo n’abalala abaaganyulwa mu kyokulabirako ekirungi Pawulo kye yassaawo. Pawulo yawandiikira Abafiripi n’abagamba nti: “Ebintu ebintuuseeko biviiriddeko amawulire amalungi okubunyisibwa mu kifo ky’okuziyizibwa, ne kiba nti kimanyiddwa mu Bakuumi ba Kabaka bonna n’eri abalala bonna nti nnasibibwa olw’okukkiririza mu Kristo. Ab’oluganda abasinga obungi mu Mukama waffe bafunye obugumu olw’okusibibwa kwange, era booleka obuvumu nga babuulira ekigambo kya Katonda awatali kutya.”​—Baf. 1:12-14.

22. Pawulo yakozesa atya obulungi ekiseera kye yamala ng’asibiddwa mu Rooma?

22 Pawulo yakozesa ekiseera kye yamala ng’asibiddwa mu Rooma okuwandiika agamu ku mabaluwa kati agasangibwa mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani. b Amabaluwa ago gaaganyula nnyo Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka be yagawandiikira. Naffe tuganyulwa mu mabaluwa ago kubanga okubuulirira okugalimu naffe kutukwatako leero.​—2 Tim. 3:16, 17.

23, 24. Okufaananako Pawulo, abaweereza ba Yakuwa bangi leero boolese batya endowooza ennungi nga basibiddwa olw’okukkiriza kwabwe?

23 Ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume tekyogera ku kiseera Pawulo we yasumululirwa, naye ng’emyaka gyonna awamu gye yamala nga musibe gyali ena. Ebiri yagimala mu Kayisaaliya, ate ebiri yagimala mu Rooma. c (Bik. 23:35; 24:27) Naye ekiseera ekyo kyonna, yasigala musanyufu era yeeyongera okubuulira. N’abaweereza ba Yakuwa bangi leero abasibibwa mu makomera olw’okukkiriza kwabwe, basigala basanyufu era beeyongera okubuulira. Lowooza ku w’Oluganda Adolfo, eyasibibwa mu Sipeyini olw’obutabaako ludda lw’awagira. Omusirikale omu yamugamba nti: “Tukwewuunya. Tufubye nnyo okukuyisa obubi, naye gye tukomye okukuyisa obubi, gy’okomye okuba omusanyufu n’okuba ow’ekisa.”

24 Oluvannyuma lw’ekiseera, abakuumi b’ekkomera baatandika okwesiga Adolfo ne batuuka n’okuleka oluggi lw’akaduukulu mwe yali nga luggule. Abasirikale bajjanga gy’ali okumubuuza ebibuuzo ebikwata ku Bayibuli. Omu ku bakuumi yatuuka n’okugendanga mu kaduukulu Adolfo mwe yali okusoma Bayibuli ng’eno Adolfo bw’alabiriza ku mulyango. Kyewuunyisa nti kati eyali omusibe “ye yali akuuma” omukuumi w’abasibe! Naffe tusaanidde okukoppa abaweereza ba Yakuwa abo abeesigwa, ‘ne twoleka obuvumu nga tubuulira ekigambo kya Katonda awatali kutya,’ wadde nga tuli mu mbeera enzibu.

25, 26. Mu myaka egitawera 30, bunnabbi ki Pawulo bwe yalaba nga butuukirizibwa, era kiki ekifaananako n’ekyo ekibaddewo mu kiseera kyaffe?

25 Mazima ddala ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume, ekitutegeeza ebintu ebitali bimu Abakristaayo abaasooka bye baakola, kifundikira bulungi nga kyogera ku mutume wa Kristo eyali asibiddwa mu nnyumba, ‘eyabuuliranga abo bonna abajjanga gy’ali ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda.’ Mu ssuula esooka, twasoma ku mulimu Yesu gwe yawa abagoberezi be bwe yabagamba nti: “Mujja kufuna amaanyi, omwoyo omutukuvu bwe gunaabakkako, era mujja kuba bajulirwa bange mu Yerusaalemi, mu Buyudaaya mwonna, mu Samaliya, n’okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.” (Bik. 1:8) Naye kati nga tewannayita myaka 30, amawulire agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda gaali ‘gabuuliddwa mu bitonde byonna ebiri wansi w’eggulu.’ d (Bak. 1:23) Ekyo kyoleka bulungi amaanyi g’omwoyo gwa Katonda omutukuvu!​—Zek. 4:6.

26 Ne leero omwoyo omutukuvu guyamba baganda ba Kristo abakyasigaddewo ne bannaabwe ‘ab’endiga endala,’ okuwa “obujulirwa obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu bujjuvu” mu nsi ezisukka mu 240! (Yok. 10:16; Bik. 28:23) Weenyigira mu bujjuvu mu mulimu ogwo?

a Pawulo yali ayagala Onesimo asigale naye, kyokka ekyo kyandibaddeko etteeka lya Rooma lye kimenya, ssaako okulinnyirira eddembe ly’Omukristaayo eyali ayitibwa Firemooni eyali mukama wa Onesimo. N’olwekyo Onesimo yaddayo eri Firemooni era yagenda n’ebbaluwa Pawulo gye yawandiikira Firemooni ng’amukubiriza okwaniriza Onesimo mu ngeri ey’ekisa, nga muganda we ow’eby’omwoyo.​—Fir. 13-19.