Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 26

“Tewali n’Omu ku Mmwe Ajja Kufiirwa Bulamu Bwe”

“Tewali n’Omu ku Mmwe Ajja Kufiirwa Bulamu Bwe”

Ekyombo Pawulo mwe yali bwe kyamenyekamenyeka, yalaga okukkiriza okw’amaanyi awamu n’okwagala

Byesigamiziddwa ku Ebikolwa 27:1–28:10

1, 2. Olugendo lwa Pawulo lugenda kuba lutya, era biki by’ayinza okuba ng’alowoozaako?

 PAWULO akyalowooza ku bigambo bya Fesuto, kubanga bikwata ku biseera bye eby’omu maaso. Gavana Fesuto yamugamba nti: “Ewa Kayisaali gy’ojja okugenda.” Pawulo abadde amaze emyaka ebiri ng’ali mu kkomera, n’olwekyo okugenda e Rooma ajja kuba waakiri akyusizza ku kifo n’embeera gy’abaddemu. (Bik. 25:12) Kyokka era Pawulo akijjukira nti eŋŋendo z’oku nnyanja tezitera kuba nnyangu. Ne ku lugendo luno ng’agenda okwewozaako mu maaso ga Kayisaali, ayinza okuba nga yeebuuza ebintu ebitali bimu ebiyinza okumutuukako.

2 Pawulo yayolekagana ‘n’akabi ak’oku nnyanja’ emirundi mingi, era ng’emirundi esatu eryato mwe yali asaabalira lyamenyekamenyeka, ate emirundi emirala n’asula era n’asiiba mu buziba bw’ennyanja. (2 Kol. 11:25, 26) Ate era olugendo luno lugenda kuba lwa njawulo ku ŋŋendo z’obuminsani ze yatambulanga. Olugendo luno agenda kulutambula nga musibe era luwanvu nnyo. Mu butuufu, okuva e Kayisaliya okutuuka e Rooma waliwo mayiro nga 2,000. Anaasobola okutuuka mirembe? Ne bw’anaaba atuuse mirembe, ensonga ze zinaakolwako mu bwenkanya? Kijjukire nti omufuzi agenda okuwulira omusango gwe y’akulembera obufuzi kirimaanyi obw’omu kiseera ekyo.

3. Kiki Pawulo kye yali amaliridde okukola, era biki bye tugenda okulaba mu ssuula eno?

3 Bw’ofumiitiriza ku ebyo byonna by’osomye ku Pawulo, olowooza yaggwaamu essuubi bwe yalowooza ku ebyo bye yali agenda okuyitamu? Nedda. Yali akimanyi nti yali agenda kwolekagana n’ebizibu, naye yali tamanyi obanga byandibadde bya ngeri ki. N’olwekyo, yali tasobola kukkiriza kuggweebwako ssanyu lye yali afunye mu buweereza bwe olw’okweraliikirira ebintu bye yali talina ky’ayinza kukolawo kubitangira kumutuukako. (Mat. 6:27, 34) Pawulo yali akimanyi nti Yakuwa kye yali amwetaaza kwe kukozesa buli kakisa ke yandifunye okubuulira amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda, era nga mu bantu be yandibuulidde mwe mwali n’abo abaali mu buyinza. (Bik. 9:15) Pawulo yali mumalirivu okutuukiriza obuweereza bwe ka bibe bizibu ki bye yali ayinza okufuna. Naffe tusaanidde okuba n’obumalirivu ng’obwo. Kati ka tulabe olugendo lwa Pawulo bwe lwali era n’ebyo bye tuyinza okumuyigirako.

‘Omuyaga Gwali Guva Gye Tulaga’ (Bik. 27:1-7a)

4. Kyombo kya kika ki Pawulo kye yalinnya ng’atandika olugendo lwe, era baani abaamuwerekerako?

4 Pawulo awamu n’abasibe abalala baakwasibwa omukulu w’abasirikale Omuruumi eyali ayitibwa Yuliyo, eyasalawo balinnye ekyombo ky’abasuubuzi ekyali kizze e Kayisaliya. Ekyombo ekyo kyali kivudde Adulamitiyamu, omwalo ogwali ku lubalama olw’ebugwanjuba bwa Asiya Omutono, emitala w’ekibuga Mituleene ekyali ku kizinga Lesibosi. Ekyombo kino kyali kigenda kusaabala nga kidda mu bukiikakkono, oluvannyuma kidde e bugwanjuba kigende nga kiyimirirako mu bitundu eby’enjawulo okutikka n’okutikkula eby’amaguzi. Ebyombo eby’ekika kino byali tebyakolebwa kusaabalizaamu bantu, ka babe abasibe. (Laba akasanduuko “ Okusaabaza Abantu n’Ebyamaguzi ku Nnyanja.”) Ekirungi, Pawulo si ye Mukristaayo yekka eyali mu kyombo kino omwali n’ekibinja ky’abamenyi b’amateeka abaali batwalibwa okuwozesebwa. Yali wamu ne Lukka ne Alisutaluuko. Kya lwatu nti Lukka ye yawandiika ebyo bye tusoma ku lugendo luno. Tetumanyi obanga Lukka ne Alisutaluuko be beesasulira ebisale by’olugendo oba baagenda ng’abaweereza ba Pawulo.​—Bik. 27:1, 2.

5. Baani abaasembeza Pawulo ng’ali e Sidoni, era kiki kye tubayigirako?

5 Nga wayiseewo olunaku lulamba era ng’ekyombo kisaabadde mayiro nga 70 nga kidda mu bukiikakkono, kyagoba ku mwalo gw’e Sidoni mu Busuuli. Kirabika Yuliyo teyayisa Pawulo ng’abasibe abalala, oboolyawo olw’okuba Pawulo yalina obutuuze bwa Rooma ate nga yali tannasingisibwa musango. (Bik. 22:27, 28; 26:31, 32) Yuliyo yakkiriza Pawulo okuva mu kyombo okugenda okulaba ku bakkiriza banne. Bakkiriza banne bateekwa okuba nga baasanyuka nnyo okubeerako awamu naye, oluvannyuma lw’okumala ekiseera kiwanvu ng’asibiddwa. Lowooza ku ngeri gy’oyinza okusembezaamu abalala, ng’Abakristaayo abo bwe baakola. Bw’onookola bw’otyo, ojja kuganyulwa nnyo.​—Bik. 27:3.

6-8. Olugendo lwa Pawulo okuva e Sidoni okutuuka e Kunido lwali lutya, era kakisa ki ak’okubuulira k’ayinza okuba nga yakozesa?

6 Ekyombo kyasimbula e Sidoni ne kigenda ne kiyita mu kitundu ky’ennyanja ekiriraanye Taluso, ekibuga Pawulo gye yazaalibwa eky’omu ssaza ly’e Kirukiya. Lukka tayogera ku bifo birala ekyombo we kyayimirira, naye agamba nti omuyaga gwali gukunta nga ‘guva gye baali balaga.’ (Bik. 27:4, 5) Pawulo ateekwa okuba nga yakozesa buli kakisa ke yafuna okubuulira abalala amawulire amalungi. Yabuulira basibe banne n’abantu abalala abaali ku kyombo, omwali abalunnyanja, abasirikale, awamu n’abantu abalala abaali ku myalo ekyombo gye kyayimiriranga. Naffe tukozesa buli kakisa ke tufuna okubuulira abantu?

7 Oluvannyuma ekyombo kyatuuka ku mwalo gw’e Mula ogwali ku lubalama olw’ebukiikaddyo bwa Asiya Omutono. Nga bali eyo, Pawulo ne be yali nabo baalina okulinnya ekyombo ekirala ekyandibatuusizza e Rooma. (Bik. 27:6) Mu kiseera ekyo eŋŋaano esinga obungi eyaliibwanga mu Rooma yavanga Misiri, era ebyombo ebyabanga byetisse eŋŋaano eyavanga e Misiri byayimirirangako ku mwalo gw’e Mula. Yuliyo yafuna ekimu ku byombo ebyo era n’alagira abasibe n’abasirikale abaali babakuuma okukirinnya. Ekyombo kino kiteekwa okuba nga kyali kinene okusinga kye baali basoose okulinnya. Kyatikka eŋŋaano awamu n’abantu abaali bawerera ddala 276, omwali abalunnyanja, abasirikale, abasibe, oboolyawo n’abantu abalala abaali bagenda e Rooma. Oluvannyuma lw’okukyusa ekyombo, kati Pawulo yali afunye abantu abalala ab’okubuulira, era ateekwa okuba nga yakozesa akakisa ako okubabuulira.

8 Ekyombo bwe kyava e Mula kyayimirira Kunido, ebukiikaddyo wa Asiya Omutono. Embuyaga bwe yabanga ekunta bulungi, olugendo olwo ekyombo kyalusaabaliranga olunaku nga lumu. Kyokka Lukka agamba nti ‘oluvannyuma lw’okuseeyeeya empolampola okumala ennaku nnyingi, baatuuka e Kunido, naye nga bayise mu buzibu bungi.’ (Bik. 27:7a) Ennyanja yali efuukuuse era nga si kyangu okusaabala. (Laba akasanduuko “ Embuyaga z’Oku Nnyanja Meditereniyani.”) Lowooza ku ngeri abantu abaali mu kyombo gye baali bawuliramu nga kyesuukunda olw’omuyaga ogwali gukunta ennyo.

“Twali Tusuukundibwa Nnyo Omuyaga” (Bik. 27:7b-26)

9, 10. Buzibu ki abo abaali ku kyombo bwe baafuna nga bali kumpi n’ekizinga ky’e Kuleete?

9 Omugoba w’ekyombo yali ayagala ekyombo kiseeyeeye nga kidda bugwanjuba. Naye Lukka yagamba nti: “Omuyaga gwatulemesa okweyongerayo.” (Bik. 27:7b) Ekyombo bwe kyatuuka mu buziba, embuyaga ey’amaanyi okuva mu bukiikakkono yakireetera okuseeyeeya nga kidda mu bukiikaddyo, oboolyawo ku sipiidi ey’amaanyi. Ng’ekizinga ky’e Kupulo bwe kyali kibasobozesezza okwewogoma omuyaga, n’ekizinga ky’e Kuleete kyabasobozesa okwewogoma omuyaga. Ekyombo bwe kyamala okuyita e Salumone, ebuvanjuba wa Kuleete, ennyanja yali etereddemuko. Lwaki? Ekyombo kyali kituuse ku luuyi olw’ebukiikaddyo olw’ekizinga awataali mbuyaga ya maanyi. Abo abaali ku kyombo bateekwa okuba nga baawulira obuweerero. Kyokka baali bakyali ku nnyanja, era baali bakimanyi nti ekiseera eky’obutiti kyali kinaatera okutuuka. N’olwekyo baalinamu okweraliikirira.

10 Lukka agamba nti: “Twayitira ddala kumpi n’olubalama [lw’e Kuleete] nga tutegana nnyo, ne tutuuka mu kifo ekiyitibwa Omwalo Omulungi.” Wadde nga baayita kumpi n’olubalama, era nga kino kyandibayambye okwewogoma omuyaga, tekyali kyangu kutwala kyombo ekyo gye baali baagala kigende. Kyokka, kyaddaaki baafuna ekifo ekyombo we kyali kisobola okugoba, ku kikono ky’ennyanja ekitono mu kitundu ekirowoozebwa okuba nga kyali kumpi ne mu bukiikakkono bw’olubalama lw’e Kuleete. Eyo baamalayo bbanga ki? Lukka agamba nti baamalayo “ekiseera kiwanvu.” Naye tebaalina kulwayo nnyo kiseera kiyitiridde, kubanga kyabanga kya bulabe okusaabala mu mwezi gwa Ssebutemba n’ogwa Okitobba.​—Bik. 27:8, 9.

11. Magezi ki Pawulo ge yawa abo be yali nabo ku kyombo, naye bo baasalawo ki?

11 Okuva bwe kiri nti Pawulo yali asaabalidde ku nnyanja Meditereniyani emirundi egiwerako, abamu ku abo abaali ku kyombo bayinza okuba nga baamwebuuzaako. Yabagamba nti kyandibadde kya magezi ne bateeyongerayo ku lugendo lwabwe, kubanga bwe bandyeyongeddeyo wandibaddewo “okufiirwa kwa maanyi,” oboolyawo omwandibadde n’okufiirwa obulamu. Kyokka omugoba w’ekyombo ne nnannyini kyo baali baagala okweyongerayo oboolyawo nga balowooza nti baali bayinza okufuna ekifo ekisingawo obulungi we baali bayinza okugira nga basigala. Yuliyo omukulu w’abasirikale yabawuliriza era n’abantu abasinga obungi ku kyombo baali baagala bagezeeko okutuuka e Foyiniikiya, omwalo ogwali mu kitundu ekirala ku kizinga ky’e Kuleete. Omwalo ogwo guyinza okuba nga gwali muneneko era nga mulungi okubeerako mu kiseera ky’obutiti. N’olwekyo embuyaga eyali eva mu bukiikaddyo bwe yatandika okukunta empolampola, baasalawo okusimbula ekyombo.​—Bik. 27:10-13.

12. Buzibu ki abo abaali ku kyombo bwe baayolekagana nabwo oluvannyuma lw’okuva e Kuleete, era abalunnyanja baagezaako batya okuziyiza akabi okubaawo?

12 Kyokka nga wayise ekiseera kitono, “omuyaga ogw’amaanyi” okuva mu bukiikakkono gwatandika okukunta. Baafuba okugwewogoma nga bayita okumpi n’akazinga “akatono akayitibwa Kawuda” akaali mayiro nga 40 okuva ku “Mwalo Omulungi. Wadde kyali kityo, ekyombo kyali kikyayolekedde obuzibu bw’okukunsibwa omuyaga nga kidda mu bukiikaddyo, era nga kino kyandikiviiriddeko okutubira mu kitundu ky’ennyanja aweetuumye omusenyu okumpi n’olubalama lwa Afirika. Nga bafuba okuziyiza ekyo okubaawo, abalunnyanja baayingiza munda mu kyombo akaato akatono akaali kasibiddwa emabega waakyo. Tekyali kyangu kuyingiza munda kaato ako kubanga kirabika kaali kajjudde amazzi. Oluvannyuma baagezaako nnyo nga bwe basobola okunyweza ekyombo nga bayisa emiguwa n’enjegere wansi waakyo okusobola okunyweza embaawo zaakyo. Baaleegulula emiguwa egiwanika amatanga, ekyombo kireme kuyuuzibwayuuzibwa nnyo muyaga ogwo ogwali ogw’amaanyi. Mazima ddala entiisa yali ya maanyi nnyo! Wadde ng’abalunnyanja baakola ebintu ebyo, ekyombo kyeyongera ‘okusuukundibwa ennyo omuyaga.’ Ku lunaku olw’okusatu, baasuula mu nnyanja emiguwa gyonna egyali giwanika amatanga, oboolyawo kisobozese ekyombo okuwewuka kireme okubbira.​—Bik. 27:14-19.

13. Embeera mu kyombo yali etya ng’omuyaga gukunta?

13 Entiisa ku kyombo eteekwa okuba nga yali ya maanyi nnyo. Naye Pawulo ne banne bo baali bagumu. Emabegako, Mukama waffe yali yakakasa omutume Pawulo nti yandibadde awa obujulirwa mu Rooma, era oluvannyuma malayika yamukakasa ekintu kye kimu. (Bik. 19:21; 23:11) Wadde kyali kityo, omuyaga gweyongera okukunta ennyo okumala wiiki bbiri, emisana n’ekiro. Ate era olw’okuba enkuba yali etonnya obutasalako era ng’ebire ebyali bikutte ku ggulu bisiikirizza enjuba n’emmunyeenye, omugoba w’ekyombo yali tasobola kutunula ku ggulu kumanya kitundu ki ekyombo mwe kyali oba wa gye kyali kiraga. Kya lwatu nti abo abaali ku kyombo baali tebasobola na kulowooza ku kya kulya mmere. Ggwe ate oba enkuba yali etonnya nnyo, ng’obunnyogovu bungi, ng’abamu balwadde, era nga bali mu ntiisa etagambika.

14, 15. (a) Nsonga ki eyaleetera Pawulo okujjukiza abo be yali nabo mu kyombo ebyo bye yali abagambye? (b) Kiki kye tuyigira ku bubaka obuwa essuubi Pawulo bwe yategeeza abo be yali nabo mu kyombo?

14 Pawulo yayimirira n’abajjukiza nti yali abalabudde okugira nga basigala ku lubalama lwe baaliko e Kuleete. Naye ekyo teyakikola kubanenya olw’obutakolera ku ekyo kye yali abagambye, wabula yali abalaga nti ebyo bye baali bayiseemu byali bikyolese nti amagezi ge yali abawadde tegaali mabi n’akamu. Oluvannyuma yabagamba nti: “Naye kaakano mbakubiriza okuba abagumu, kubanga tewali n’omu ku mmwe ajja kufiirwa bulamu bwe, wabula ekyombo kyokka kye kijja okusaanawo.” (Bik. 27:21, 22) Ebigambo ebyo biteekwa okuba nga byabazzaamu nnyo amaanyi! Pawulo naye ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo okuba nti Yakuwa yali amuwadde obubaka obwo obuwa essuubi bwe yatuusa ku abo be yali nabo mu kyombo. Kikulu okukijjukira nti buli muntu Yakuwa amutwala nti wa muwendo. Omutume Peetero yagamba nti: “Yakuwa . . . tayagala muntu yenna kuzikirizibwa wabula bonna beenenye.” (2 Peet. 3:9) N’olwekyo kikulu nnyo leero okubuulira abantu bangi nga bwe kisoboka obubaka obuwa essuubi Yakuwa bw’ayagala tubabuulire! Obulamu bw’abantu buli mu kabi.

15 Kirabika Pawulo yabuulira abantu bangi abaali ku kyombo ku ‘ssuubi lye yalina mu kisuubizo Katonda kye yawa.’ (Bik. 26:6; Bak. 1:5) Kati ng’ekyombo kyolekedde okusaanawo, waliwo ekintu Pawulo kye yabagamba ekyabayamba okuba n’essuubi nti baali basobola okuwonawo. Yabagamba nti: “Katonda gwe nsinza . . . yatumye malayika we ekiro n’ayimirira okumpi nange, n’aŋŋamba nti, ‘Totya Pawulo. Oteekwa okuyimirira mu maaso ga Kayisaali, era laba! Katonda ajja kuwonyaawo obulamu bw’abo bonna b’oli nabo mu kyombo.’” Pawulo era yabagamba nti: “N’olwekyo, mugume, kubanga nnina obwesige mu Katonda nti kijja kuba nga bwe kyaŋŋambiddwa. Naye ekyombo kijja kumenyekeramenyekera okumpi n’ekizinga ekimu.”​—Bik. 27:23-26.

‘Bonna Baatuuka Bulungi ku Lukalu’ (Bik. 27:27-44)

“Yeebaza Katonda nga bonna balaba.”​—Ebikolwa 27:35

16, 17. (a) Pawulo yakozesa kakisa ki okusaba, era biki ebyavaamu? (b) Ekyo Pawulo kye yali agambye kyatuukirira kitya?

16 Oluvannyuma lw’okumala wiiki bbiri nga bali mu kutya okw’amaanyi, era ng’ekyombo omuyaga gukikunsizza mayiro nga 540, abalunnyanja baakitegeera nti baali banaatera okutuuka ku lukalu, oboolyawo okusinziira ku ngeri amayengo gye gaali geesuukundamu. Baasuula ennanga nga basinziira mu kitundu ky’ekyombo eky’emabega, omuyaga guleme kukikunsa kuva awo we kyali, ate n’ekitundu ky’akyo eky’omu maaso kisigale nga kitunudde mu maaso singa bagoba ku lukalu. Mu kiseera ekyo abalunnyanja baagezaako okudduka mu kyombo naye abasirikale ne babalemesa. Pawulo yagamba omuduumizi w’amagye n’abasirikale nti: “Temusobola kuwonawo okuggyako ng’abasajja bano basigadde mu kyombo.” Olw’okuba ekyombo kyali tekikyesuukunda nnyo, Pawulo yakubiriza bonna abaakiriko okulya emmere era n’addamu okubakakasa nti baali bajja kuwonawo. Oluvannyuma “yeebaza Katonda nga bonna balaba.” (Bik. 27:31, 35) Mu kusaba essaala eyo, Pawulo yateerawo Lukka, Alisutaluuko, n’Abakristaayo abaliwo leero ekyokulabirako ekirungi. Bw’obeera okulembeddemu abalala mu kusaba, essaala zo zibazzaamu amaanyi era zibabudaabuda?

17 Pawulo bwe yamala okusaba, ‘bonna baaguma ne batandika okulya.’ (Bik. 27:36) Baayongera okuwewula ekyombo nga basuula ebitereke by’eŋŋaano mu nnyanja, kisobole okuba nga tekikka nnyo mu mazzi nga kigenda kisemberera olukalu. Obudde bwe bwakya, abalunnyanja baasala emiguwa gy’ennanga, ne basumulula emiguwa gy’enkasi ezaali zisibiddwa ku kitundu eky’emabega era ne bawanika ettanga ery’omu maaso, ekyombo kisobole okuseeyeeya mpolampola okuva we kyali nga kisemberera omwalo. Kyokka ekitundu ky’ekyombo eky’omu maaso kyatubira, oboolyawo mu musenyu oba mu bitosi, era ekitundu kyakyo eky’emabega ne kitandika okumenyekamenyeka olw’okukubibwa amayengo. Abamu ku basirikale baali baagala okutta abasibe waleme kubaawo n’omu atoloka, kyokka Yuliyo n’abagaana. Yalagira buli omu okuwuga oba okubaako ekintu kyonna kye yeekwatako asobole okutuuka ku lukalu. Pawulo kye yali abagambye kyatuukirira; bonna 276 baawonawo. ‘Bonna baatuuka bulungi ku lukalu.’ Naye wano baali mu kitundu ki?​—Bik. 27:44.

“Ekisa Ekitalojjeka” (Bik. 28:1-10)

18-20. Abantu b’oku kizinga Maluta baalaga batya “ekisa ekitalojjeka,” era kyamagero ki Katonda kye yakola okuyitira mu Pawulo?

18 Bakaawonawo abo ekitundu kye baali batuuseemu kyali kizinga ekiyitibwa Maluta ekyali ebukiikaddyo wa Sisiri. (Laba akasanduuko “ Maluta Kyali Kisangibwa Wa?”) Abantu b’oku kizinga ekyo abaali boogera olulimi olulala baabalaga “ekisa ekitalojjeka.” (Bik. 28:2) Baakuma omuliro, abantu be baali batamanyi abaali batotobadde era nga bonna bakankana ne basobola okwota. Bwe kityo baasobola okubuguma wadde ng’obudde bwali bunnyogovu era ng’enkuba etonnya. Naye ate waliwo ekyamagero ekyabaawo.

19 Olw’okuba Pawulo yali ayagala okubaako ky’akolawo okuyamba abalala, yagenda n’akuŋŋaanya obuku n’abuteeka ku muliro. Naye bwe yali abussa ku muliro, bwavaamu omusota ogw’obusagwa ne gumubojja era ne gwerippa ku mukono gwe. Abantu b’oku kizinga Maluta baalowooza nti bakatonda baali babonereza Pawulo. a

20 Abantu b’oku kizinga ekyo abaalaba Pawulo ng’abojjebwa omusota baalowooza nti yali agenda “kuzimba.” Okusinziira ku kitabo ekimu, ekigambo ekyavvuunulwa nga “okuzimba” kikozesebwa mu bya bujjanjabi. N’olwekyo tekyewuunyisa nti “Lukka, omusawo omwagalwa,” yakozesa ekigambo ekyo. (Bik. 28:6; Bak. 4:14) Kyokka Pawulo yeekunkumulako omusota ogwo ne gugwa mu muliro era teyatuukibwako kabi konna.

21. (a) Waayo ebyokulabirako ebiraga nti ebyo Lukka bye yawandiika bituufu ddala. (b) Byamagero ki Pawulo bye yakola, era byakwata bitya ku bantu b’oku kizinga?

21 Waaliwo omusajja omugagga eyali ayitibwa Pubuliyo eyali abeera ku kizinga ekyo. Ayinza okuba nga yali mukungu eyali akiikirira Rooma ku kizinga Maluta. Lukka yamuyita “omukulu w’ekizinga,” ekyongera okulaga nti bye yawandiika byali bituufu ddala, kubanga ebigambo “omukulu w’ekizinga” bisangibwa ne ku biwandiiko bibiri ebyazuulibwa awaali Maluta eky’edda. Pubuliyo yasembeza Pawulo ne banne ewuwe okumala ennaku ssatu. Kyokka taata wa Pubuliyo yali mulwadde. Lukka yannyonnyolera ddala bulungi ekika ky’obulwadde obwali bumuluma. Yagamba nti: “Yali yeebase nga mulwadde omusujja n’ekiddukano ky’omusaayi.” Pawulo yasabira omusajja oyo era n’amussaako emikono n’awona. Abantu b’oku kizinga ekyo baakwatibwako nnyo olw’ekyamagero ekyo, era baaleetera Pawulo abalwadde baabwe asobole okubawonya. Oluvannyuma baawa Pawulo ne banne ebintu ebyandibayambye ku lugendo lwabwe.​—Bik. 28:7-10.

22. (a) Omwekenneenya omu yayogera ki ku ebyo Lukka bye yawandiika ebyaliwo ku lugendo ng’awerekeddeko Pawulo e Rooma? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu ekiddako?

22 Engeri ebyo bye twakalaba ku lugendo luno gye byawandiikibwamu eraga nti bituufu ddala. Omwekenneenya omu yagamba nti: ‘Lukka y’omu ku bawandiisi ba Bayibuli abaasinga okunnyonnyola obulungi kalonda akwata ku ebyo bye baawandiika. Ebyo bye yawandiika ku ngeri abalunnyanja gye baakolangamu omulimu gwabwe mu kyasa ekyasooka n’embeera z’omu kitundu ky’Ennyanja Meditereniyani eky’ebuvanjuba bituufu ddala,’ ne kiba nti ateekwa okuba nga yabiwandiikanga abirabako. Lukka ayinza okuba nga yawandiikanga ebintu ebyo ng’awerekeddeko Pawulo ku ŋŋendo ze. Ekyo bwe kiba kituufu, yalina bingi eby’okuwandiika mu kitundu ky’olugendo ekyali kiddako. Naye kiki ekyandituuse ku Pawulo nga batuuse e Rooma? Ka tulabe.

a Ekigambo kyʼOluyonaani ekyavvuunulwa “omusota“ mu Ebikolwa 28:3, obutereevu kitegeeza essalambwa. Okuba nti abantu abo baali bamanyi emisota ng’egyo, kyali kiraga nti mu kiseera ekyo ku kizinga ekyo kwabeerangako amasalambwa. Mu kiseera kino ku kizinga ky’e Maluta tekuli masalambwa. Ekyo kiyinza okuba nga kyava ku kuba nti ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, embeera y’oku kizinga ekyo yakyuka amasalambwa ne gaba nga tegakyasobola kubeerako. Oba omuwendo gw’abantu ogweyongera obungi guyinza okuba nga gwe gwaviirako amasalambwa okusaanawo.