ESSUULA 7
Okubuulira “Amawulire Amalungi Agakwata ku Yesu”
Firipo yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kubuulira amawulire amalungi
Byesigamiziddwa ku Ebikolwa 8:4-40
1, 2. Biki ebyava mu kugezaako okulemesa Abakristaayo mu kyasa ekyasooka okubuulira amawulire amalungi?
WABALUSEEWO okuyigganyizibwa okw’amaanyi era Sawulo atandise “okutigomya” ekibiina. Ekigambo ekyavvuunulwa okutigomya, mu Luyonaani kitegeeza okutulugunya ennyo. (Bik. 8:3) Abayigirizwa baddukidde mu bitundu ebitali bimu, era eri abamu, ekigendererwa kya Sawulo eky’okusaanyaawo Obukristaayo kirabika ng’ekijja okutuukirira. Kyokka wabaawo ekintu ekitasuubirwa ekiva mu kusaasaana kw’Abakristaayo. Kintu ki ekyo?
2 Abo abasaasaanye batandika okulangirira “amawulire amalungi ag’ekigambo kya Katonda” mu bitundu gye baddukidde. (Bik. 8:4) Kirowoozeeko! Ng’oggyeeko okuba nti okuyigganyizibwa tekulemesezza mawulire malungi kubuulirwa, era kuyambyeko mu kugabunyisa. Abo abayigganya abayigirizwa bwe babaleetedde okusaasaana mu bitundu ebitali bimu, mu butamanya babaviiriddeko okubuulira amawulire amalungi mu bitundu eby’ewala. Nga bwe tugenda okulaba, ekintu ekifaananako ng’ekyo kibaddewo ne mu kiseera kyaffe.
“Abo Abaasaasaana” (Bik. 8:4-8)
3. (a) Firipo yali ani? (b) Lwaki kyenkana ekitundu ky’e Samaliya kyali tekibuulirwangamu, naye kiki Yesu kye yagamba ekyandibaddewo mu kitundu ekyo?
3 Omu ku “abo abaasaasaana” yali Firipo. a (Bik. 8:4; laba akasanduuko “ Firipo ‘Omubuulizi w’Enjiri.’”) Firipo yagenda Samaliya, ekibuga kyenkana ekyali kitabuulirwangamu. Ekibuga ekyo kyali kubanga mu kusooka Yesu yali yagamba abayigirizwa be nti: “Temuyingira mu kibuga kyonna eky’Abasamaliya; naye mugende eri endiga ezaabula ez’ennyumba ya Isirayiri.” (Mat. 10:5, 6) Kyokka Yesu yali akimanyi nti oluvannyuma lw’ekiseera amawulire amalungi gandibuuliddwa mu bujjuvu mu Samaliya. N’olwekyo, bwe yali addayo mu ggulu yagamba nti: “Mujja kuba bajulirwa bange mu Yerusaalemi, mu Buyudaaya mwonna, mu Samaliya, n’okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.”— Bik. 1:8.
4. Abasamaliya baatwala batya obubaka Firipo bwe yababuulira, era kiki ekiyinza okuba nga kye kyaviirako ekyo?
4 Firipo yakiraba nti ekitundu ky’e Samaliya kyali ‘kituuse okukungulwa.’ (Yok. 4:35) Obubaka bwe yabuulira abantu baayo bwabazzaamu nnyo amaanyi, era ekyo tekyewuunyisa. Abayudaaya baali tebakolagana na Basamaliya. Mu butuufu, bangi baali tebabaagalira ddala. Kyokka Abasamaliya baakiraba nti amawulire amalungi gaali gawa abantu bonna essuubi awatali kusosola. Ate era baakiraba nti gaali ga njawulo nnyo ku ndowooza z’Abafalisaayo ezaali zitumbula obusosoze. Firipo bwe yabuulira Abasamaliya, yakiraga nti yali tatwaliriziddwa busosoze bw’abo abaali babanyooma. N’olwekyo tekyewuunyisa nti Abasamaliya bangi nnyo baawuliriza Firipo.—Bik. 8:6.
5-7. Waayo ebyokulabirako ebiraga engeri okusaasaana kw’Abakristaayo gye kuviiriddeko amawulire amalungi okubunyisibwa.
5 Nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, leero okuyigganyizibwa tekulemesezza bantu ba Katonda kubuulira mawulire malungi. Emirundi mingi okuwaliriza Abakristaayo okuva mu kitundu ekimu okudda mu kirala, gamba ng’okubatwala mu makomera, oba mu nsi endala, kisobozesezza amawulire ag’Obwakabaka okubuulirwa mu bitundu gye baba batwaliddwa. Ng’ekyokulabirako, mu kiseera kya Ssematalo II, Abajulirwa ba Yakuwa baawa obujulirwa mu nkambi z’abasibe ezaateekebwawo Abanazi. Omusajja omu Omuyudaaya eyasisinkana Abajulirwa ba Yakuwa mu emu ku nkambi ezo yagamba nti: “Obuvumu n’obukkakkamu Abajulirwa ba Yakuwa abaali basibiddwa bye baayoleka, byandeetera okuba omukakafu nti eddiini yaabwe egoberera ebyo ebiri mu Byawandiikibwa. Eyo ye nsonga lwaki nange nnafuuka Omujulirwa wa Yakuwa.”
6 Mu mbeera ezimu, n’abamu ku abo abaali bayigganya Abajulirwa ba Yakuwa baabuulirwa amawulire amalungi era ne bawuliriza. Ng’ekyokulabirako, Omujulirwa wa Yakuwa ayitibwa Franz Desch bwe yatwalibwa mu nkambi y’abasibe ey’omu Austria eyitibwa Gusen, yayiga Bayibuli n’omu ku basirikale abaali bakuuma enkambi eyo. Lowooza ku ssanyu ow’oluganda oyo n’omusajja oyo gwe yayigiriza lye baafuna nga wayiseewo emyaka bwe baasisinkana ku lukuŋŋaana olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa, nga bombi kati babuulizi b’amawulire amalungi!
7 Ekintu ekifaananako bwe kityo kizze kibaawo nga Abajulirwa ba Yakuwa baddukidde mu nsi endala olw’okuyigganyizibwa. Ng’ekyokulabirako, emyaka nga 40 emabega Abajulirwa ba Yakuwa mu Malawi bwe baddukira e Mozambique baabuulira n’obunyiikivu abantu b’omu nsi eyo. Ate era okuyigganyizibwa bwe kwabalukawo ne mu Mozambique, omulimu gw’okubuulira gwasigala gugenda mu maaso. Ow’oluganda ayitibwa Francisco Coana yagamba nti: “Kyo kituufu nti abamu ku ffe twasibibwa emirundi egiwerako olw’okubuulira. Naye abantu bangi bwe baawuliriza obubaka bw’Obwakabaka kyatukakasa nti Katonda yali atuyamba nga bwe yayamba Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka.”
8. Enkyukakyuka mu by’obufuzi n’embeera y’eby’enfuna bikutte bitya ku mulimu gw’okubuulira?
8 Kya lwatu nti okuyigganyizibwa kwokka si kwe kuviiriddeko Obukristaayo okubunyisibwa mu bitundu ebitali bimu. Mu myaka egiyise, enkyukakyuka mu by’obufuzi ne mu mbeera y’eby’enfuna biviiriddeko abantu ab’ennimi ez’enjawulo mu nsi ezitali zimu okubuulirwa amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Abantu abamu badduse mu nsi ezirimu entalo oba ezitali bulungi mu by’enfuna, ne bagenda mu nsi endala era ne batandika okuyiga Bayibuli. Okuba nti abanoonyi b’obubudamu bangi baddukidde mu nsi ezitali zimu, kiviiriddeko amawulire amalungi okubuulirwa mu nnimi ezitali zimu mu nsi gye baddukidde. Ofuba okubuulira abantu mu kitundu gy’obeera ‘abava mu buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi?’—Kub. 7:9.
“Nange Mumpe Obuyinza Buno” (Bik. 8:9-25)
9. Simooni yali ani, era kiki ekyamuleetera okuwuliriza Firipo bye yali ayigiriza?
9 Firipo yakola ebyamagero bingi mu Samaliya. Ng’ekyokulabirako, yawonya abaaliko obulemu, era yagoba emyoyo emibi ku bantu. (Bik. 8:6-8) Waaliwo omusajja omu eyakwatibwako ennyo olw’ebyamagero Firipo bye yali akola. Omusajja oyo yali ayitibwa Simooni, era yakolanga eby’obufuusa. Abantu baali bamutwala nti wa kitiibwa nnyo, era bwe baabanga bamwogerako baagambanga nti: “Omusajja ono ge Maanyi ga Katonda.” Kyokka kati Simooni yali yeerabirako n’agage amaanyi ga Katonda aga ddala agaali geeyolekera mu byamagero Firipo bye yali akola. Era oluvannyuma Simooni yafuuka omukkiriza. (Bik. 8:9-13) Kyokka waliwo ekintu ekyabaawo ekyalaga ekiruubirirwa Simooni kye yalina. Kintu ki ekyo?
10. (a) Kiki Peetero ne Yokaana kye baakola mu Samaliya? (b) Kiki Simooni kye yakola bwe yalaba ng’abayigirizwa abapya bafuna omwoyo omutukuvu oluvannyuma lwa Peetero ne Yokaana okubassaako emikono?
10 Abatume bwe baakimanya nti omuwendo gw’abakkiriza gwali gweyongera obungi mu Samaliya, baatumayo Peetero ne Yokaana. (Laba akasanduuko “ Peetero Akozesa ‘Ebisumuluzo by’Obwakabaka.’”) Peetero ne Yokaana bwe baatuukayo, baateeka emikono ku bayigirizwa abapya era abayigirizwa abo ne bafuna omwoyo omutukuvu. b Ekyo Simooni yakyewuunya nnyo era n’akyegomba. Yagamba abatume nti: “Nange mumpe obuyinza buno, buli muntu gwe nteekako emikono asobole okufuna omwoyo omutukuvu.” Yabasuubiza okubawa ssente asobole okufuna amaanyi gano agava eri Katonda!—Bik. 8:14-19.
11. Kiki Peetero kye yagamba Simooni, era Simooni yaddamu atya?
11 Peetero yagamba Simooni nti: “Ssente zo ka zizikirire naawe, kubanga oyagala okufuna ekirabo kya Katonda ng’owaayo ssente. Tolina mugabo gwonna mu nsonga eno, kubanga omutima gwo si mwesimbu mu maaso ga Katonda.” Peetero era yagamba Simooni okwenenya era asabe Yakuwa amusonyiwe. Yamugamba nti: “Weegayirire Yakuwa akusonyiwe ekigendererwa ekibi ekiri mu mutima gwo.” Kirabika Simooni teyali muntu mubi; yali ayagala okukola ekituufu, naye yali tannategeera bulungi mazima. Yeegayirira abatume n’abagamba nti: “Munneegayiririre Yakuwa, ku bye mwogedde byonna waleme kubaawo na kimu kintuukako.”—Bik. 8:20-24.
12. Okugulirira ebifo oba enkizo kulina kifo ki mu Kristendomu?
12 Ebyo Peetero bye yagamba Simooni birimu eky’okuyiga ekikulu eri Abakristaayo bonna leero. Tulina okwewala okutunda oba okugulirira enkizo mu kibiina. Ebyafaayo biraga nti enkola eno ey’okugulirira ebifo oba enkizo bulijjo ebaddengawo mu Kristendomu. Ng’ekyokulabirako, ekitabo The Encyclopædia Britannica (1878) kigamba nti: ‘Ebyafaayo ebikwata ku kulondebwa kwa Ppaapa biraga nti tewabangawo kulondebwa kwa Ppaapa kutaliimu kugulirira. Era emirundi mingi okugulirira okwo kubaddenga kukolebwa kyere.’
13. Mu ngeri ki Abakristaayo gye basaanidde okwewala okugula oba okutunda enkizo?
13 Abakristaayo balina okwewala omuze ogw’okugulirira oba okutunda enkizo mu kibiina. Ng’ekyokulabirako, tebasaanidde kuwa birabo oba okuwaanawaana abo abalina obuvunaanyizibwa obw’okuwa abalala enkizo mu kibiina, nga balina ekigendererwa eky’okuganja gye bali basobole okubaako enkizo ze babawa. Ku luuyi olulala, abo abalina obuvunaanyizibwa obw’okuwa abalala enkizo basaanidde okwekuuma baleme kwekubiira ku ludda lw’abagagga. Mu mbeera ezo zombi okwo kuba kugulirira. Mu butuufu, abaweereza ba Katonda bonna basaanidde okwetwala ‘okuba aba wansi’ era ne balindirira omwoyo gwa Yakuwa okubasobozesa okufuna enkizo. (Luk. 9:48) Abo ‘abeenoonyeza ekitiibwa’ tebalina kifo mu kibiina kya Yakuwa.—Nge. 25:27.
“Ddala Otegeera by’Osoma?” (Bik. 8:26-40)
14, 15. (a) “Omwesiyopiya omulaawe” yali ani era Firipo yamutuukako atya? (b) Omwesiyopiya yakola ki oluvannyuma lwa Firipo okumunnyonnyola ebyawandiikibwa, era lwaki tuyinza okugamba nti teyabatizibwa lwa kukwatibwa bukwatibwa kinyegenyege? (Laba obugambo obuli wansi.)
14 Oluvannyuma malayika wa Yakuwa yagamba Firipo okugenda mu kkubo eryali liva e Yerusaalemi okudda e Gaaza. Firipo bw’aba nga yali yeebuuza ensonga lwaki malayika yamugamba okugenda mu kkubo eryo, eky’okuddamu yakifuna bwe yasisinkana Omwesiyopiya omulaawe eyali “asoma ekitabo kya nnabbi Isaaya mu ddoboozi eriwulikika.” (Laba akasanduuko “ Mu Ngeri Ki Gye Yali ‘Omulaawe?’”) Omwoyo gwa Yakuwa gwaleetera Firipo okugenda awaali eggaali ly’omusajja oyo, era bwe yalituukako yamubuuza nti: “Ddala otegeera by’osoma?” Omwesiyopiya yamuddamu nti: “Nnyinza ntya okubitegeera okuggyako nga waliwo annyinyonnyodde?”—Bik. 8:26-31.
15 Omwesiyopiya yagamba Firipo okulinnya eggaali lye. Era oluvannyuma baatandika okukubaganya ebirowoozo! Omwesiyopiya oyo yali yeebuuza ani yali “endiga” oba “omuweereza” ayogerwako mu bunnabbi bwa Isaaya. (Is. 53:1-12) Firipo yayamba Omwesiyopiya oyo okukitegeera nti obunnabbi obwo bwali bwatuukirizibwa ku Yesu Kristo. Okufaananako abo abaabatizibwa ku Pentekooti 33 E.E., Omwesiyopiya oyo eyali Omuyudaaya omukyufu yamanyirawo kye yali ateekeddwa okukola. Yagamba Firipo nti: “Laba! Amazzi gaago; kiki ekiŋŋaana okubatizibwa?” Awatali kulonzalonza Firipo yabatiza Omwesiyopiya oyo! c (Laba akasanduuko “ Okubatizibwa mu ‘Mazzi Amangi.’”) Oluvannyuma omwoyo gwa Yakuwa gwatwala Firipo mu kifo ekirala, mu Asudodi, ne yeeyongera okubuulira amawulire amalungi.—Bik. 8:32-40.
16, 17. Bamalayika beenyigira batya mu mulimu gw’okubuulira leero?
16 Leero Abakristaayo balina enkizo ey’okwenyigira mu mulimu ogulinga ogwo Firipo gwe yakola. Ng’ekyokulabirako, emirundi mingi bwe baba nga baliko gye balaga, abantu be basanga bababuulira mbagirawo amawulire agakwata ku Bwakabaka. Mu mbeera ezisinga, okusisinkana omuntu ayagala okuwuliriza amawulire amalungi tekijjaawo mu butanwa. Ekyo kisuubirwa okubaawo kubanga Bayibuli ekyoleka bulungi nti bamalayika bawa abaweereza ba Katonda obulagirizi mu mulimu gw’okubuulira, amawulire amalungi ag’Obwakabaka gasobole okutuuka mu “buli ggwanga n’ekika n’olulimi n’abantu.” (Kub. 14:6) Yesu yagamba nti bamalayika bandyenyigidde mu mulimu gw’okubuulira. Mu lugero olukwata ku ŋŋaano n’omuddo, Yesu yagamba nti mu kiseera ky’amakungula, kwe kugamba, mu kiseera ky’amafundikira g’enteekateeka y’ebintu eno, “abakunguzi be bamalayika.” Yagattako nti bamalayika bandibadde baggya mu bwakabaka bwe “ebintu byonna ebyesittaza n’abantu abakola eby’obujeemu.” (Mat. 13:37-41) Ate era yagamba nti bamalayika bandibadde bakuŋŋaanya abo abandibadde n’essuubi ery’okufuga mu Bwakabaka, era oluvannyuma bandibadde bakuŋŋaanya ‘n’ab’ekibiina ekinene’ ‘eky’ab’endiga endala,’ Yakuwa b’ayagala okuleeta mu kibiina kye.—Kub. 7:9; Yok. 6:44, 65; 10:16.
17 Ekikakasa nti bamalayika beenyigira mu mulimu gw’okubuulira kwe kuba nti abamu ku abo be tubuulira bagamba nti we tubatuukirako baba basabye Katonda abawe obulagirizi mu by’omwoyo. Lowooza ku kyokulabirako kino: Lumu ababuulizi babiri baagenda okubuulira nga bali wamu n’omwana omuto. Awo nga mu ttuntu, ababuulizi abo baali banaatera okumaliriza omulimu gw’okubuulira, naye nga ye omwana ayagala nnyo beeyongereyo ku nnyumba eyali eddako. Mu butuufu omwana oyo yagenda yekka ku nnyumba eyo n’akonkona! Omukazi eyalimu bwe yaggulawo oluggi, ababuulizi baagenda ne boogera naye. Beewuunya nnyo omukazi oyo bwe yabagamba nti yali yaakamala okusaba Katonda abeeko omuntu gw’asindika amuyambe okutegeera Bayibuli. Baakola enteekateeka okutandika okumuyigiriza Bayibuli!
18. Lwaki bulijjo enkizo gye tulina ey’okubuulira tusaanidde okugitwala nga ya muwendo?
18 Olw’okuba oli mu kibiina Ekikristaayo, olina enkizo ey’okukolera awamu ne bamalayika mu mulimu gw’okubuulira ogukolebwa leero ku kigero ekitabangawo. Bulijjo enkizo eyo gitwalenga nti ya muwendo nnyo. Bw’oneeyongera okubuulira “amawulire amalungi agakwata ku Yesu,” ojja kufuna essanyu lingi nnyo.—Bik. 8:35.
a Ono si ye mutume Firipo. Nga bwe twalaba mu Ssuula 5, ono ye Firipo eyali omu ku ‘basajja omusanvu abeesigika’ abaalondebwa okugabira bannamwandu abaali boogera Oluyonaani n’abaali boogera Olwebbulaniya emmere mu Yerusaalemi.—Bik. 6:1-6.
b Kirabika mu kiseera ekyo abayigirizwa abapya baafukibwangako omwoyo omutukuvu nga babatizibwa. Ekyo kyabasobozesa okuba n’essuubi ery’okufugira awamu ne Yesu mu ggulu nga bakabaka era nga bakabona. (2 Kol. 1:21, 22; Kub. 5:9, 10; 20:6) Kyokka ku luno abayigirizwa abapya omwoyo omutukuvu tebaagufuna nga babatizibwa. Peetero ne Yokaana baamala kubassaako mikono ne balyoka bagufuna era ne baba nga basobola n’okukola ebyamagero bye gwasobozesanga abayigirizwa okukola.
c Omwesiyopiya oyo teyabatizibwa lwa kukwatibwa bukwatibwa kinyegenyege. Okuva bwe kiri nti yali Muyudaaya omukyufu, yali amanyi Ebyawandiikibwa, omuli n’obunnabbi obukwata ku Masiya. Okuva bwe kiri nti kati yali ategedde ekifo Yesu ky’alina mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Yakuwa, yali asobola okubatizibwa awatali kulonzalonza.