Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 8

Ekibiina “ne Kibeera mu Mirembe”

Ekibiina “ne Kibeera mu Mirembe”

Sawulo eyali ayigganya ennyo Abakristaayo yafuuka omubuulizi omunyiikivu

Byesigamiziddwa ku Ebikolwa 9:1-43

1, 2. Kiki Sawulo kye yali ayagala okukola mu Ddamasiko?

 ABASAJJA abanyiivu ennyo batambula boolekera ekibuga Ddamasiko. Balina ekintu ekibi ennyo kye baagala okukolayo. Baagala kugenda mu mayumba g’abayigirizwa ba Kristo babaggyeyo lwa mpaka, babasibe, babakole ebintu ebibaswaza, era babatwale e Yerusaalemi eri Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya.

2 Akulembeddemu abasajja abo ayitibwa Sawulo. Emabegako yawagira ekikolwa eky’okutta omuntu. a Banne bwe baali batta omuyigirizwa wa Yesu ayitibwa Siteefano, yaliwo era yawagira ekyo kye baakola. (Bik. 7:57–8:1) Sawulo alaba ng’eky’okuyigganya abagoberezi ba Yesu abali mu Yerusaalemi tekimala, era asalawo okuyigganya n’abo abali mu bitundu ebirala. Ayagala asaanyeewo enzikiriza y’abo abayitibwa “ab’Ekkubo,” kubanga agitwala okuba akadiini ak’omutawaana.​—Bik. 9:1, 2; laba akasanduuko “ Obuyinza bwa Sawulo mu Ddamasiko.”

3, 4. (a) Kiki ekyatuuka ku Sawulo? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya?

3 Sawulo aba akyali mu kkubo ng’agenda, ekitangaala eky’amaanyi kimwetooloola. Banne b’ali nabo balaba ekitangaala ekyo, naye babulwa eky’okwogera olw’entiisa ey’amaanyi gye bafuna. Sawulo aziba amaaso era agwa wansi. Awulira eddoboozi okuva mu ggulu nga ligamba nti: “Sawulo, Sawulo, lwaki onjigganya?” Sawulo abuuza nti: “Ggwe ani, Mukama wange?” Eky’okuddamu ky’afuna kiteekwa okuba nga kimwewuunyisa nnyo. Eddoboozi eryo ligamba nti: “Nze Yesu, gw’oyigganya.”​—Bik. 9:3-5; 22:9.

4 Kiki kye tuyigira ku bigambo Yesu bye yasooka okwogera ne Sawulo? Tuganyulwa tutya mu kwekenneenya ebyo ebyaliwo nga Sawulo afuuka omuyigirizwa wa Yesu? Era biki bye tuyigira ku ngeri ekibiina gye kyakozesaamu ekiseera eky’emirembe ekyaliwo nga Sawulo amaze okufuuka omugoberezi wa Yesu?

“Lwaki Onjigganya?” (Bik. 9:1-5)

5, 6. Kiki kye tuyigira ku bigambo Yesu bye yagamba Sawulo?

5 Yesu bwe yayimiriza Sawulo ku luguudo olwali lugenda e Ddamasiko, teyamubuuza nti: “Lwaki oyigganya abayigirizwa bange?” Wabula yamubuuza nti: “Lwaki onjigganya?” (Bik. 9:4) Ekyo kitulaga nti abayigirizwa ba Yesu bwe baba boolekagana n’ebigezo, Yesu naye aba alumwa.​—Mat. 25:34-40, 45.

6 Bw’oba ng’oyisibwa bubi olw’okuba omugoberezi wa Kristo, ba mukakafu nti Yakuwa ne Yesu bategeera embeera gy’oyitamu. (Mat. 10:22, 28-31) Mu kiseera kino, bayinza obutaggyawo kizibu ekyo. Kijjukire nti Sawulo bwe yali awagira okuttibwa kwa Siteefano ne bwe yali ng’asikambula abayigirizwa ba Yesu mu mayumba gaabwe mu Yerusaalemi, Yesu yali alaba. (Bik. 8:3) Kyokka teyaziyiza bintu ebyo kubaawo. Wadde kyali kityo, Yakuwa ng’ayitira mu Kristo, yawa Siteefano n’abayigirizwa abalala amaanyi ge baali beetaaga okusobola okusigala nga beesigwa gy’ali.

7. Kiki ky’osaanidde okukola okusobola okugumira okuyigganyizibwa?

7 Naawe osobola okugumira okuyigganyizibwa singa okola ebintu bino: (1) Malirira okusigala ng’oli mwesigwa eri Yakuwa ka kibe ki ekibaawo. (2) Saba Yakuwa akuyambe. (Baf. 4:6, 7) (3) Ensonga zireke mu mikono gya Yakuwa. (Bar. 12:17-21) (4) Weesige Yakuwa nti ajja kukuwa amaanyi ge weetaaga okusobola okugumira ekizibu okutuusa lw’anaakiggyawo mu kiseera kye ekituufu.​—Baf. 4:12, 13.

“Sawulo Muganda Wange, Mukama Waffe . . . Antumye gy’Oli” (Bik. 9:6-17)

8, 9. Ananiya ayinza kuba nga yawulira atya ng’aweereddwa obuvunaanyizibwa okwogera ne Sawulo?

8 Oluvannyuma lwa Yesu okuddamu ekibuuzo Sawulo kye yamubuuza nti, “Ggwe ani, Mukama wange?” Yesu yamugamba nti: “Yimuka ogende mu kibuga, era ojja kutegeezebwa ky’olina okukola.” (Bik. 9:6) Sawulo eyali takyalaba yatwalibwa mu nnyumba emu mu Ddamasiko gye yamala ennaku ssatu ng’asiiba era ng’asaba. Mu kiseera ekyo mu Ddamasiko waaliyo omuyigirizwa wa Yesu eyali ayitibwa Ananiya. Ananiya yali “ayogerwako bulungi Abayudaaya” bonna, era Yesu yamubuulira ebikwata ku Sawulo.​—Bik. 22:12.

9 Lowooza ku ngeri Ananiya gye yali awuliramu mu kaseera ako. Yesu Kristo kennyini, Omutwe gw’Ekibiina, ye yali ayogera naye ng’amukwasa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi. Eyo yali nkizo ya kitalo nnyo, kyokka obuvunaanyizibwa obwo tebwali bwangu. Ananiya bwe yagambibwa nti yali agenda kwogera ne Sawulo, yagamba nti: “Mukama wange, mpulidde ebintu bingi ebikwata ku musajja oyo, n’ebibi bingi bye yakola abatukuvu bo e Yerusaalemi. Era yajja nga bakabona abakulu bamuwadde obuyinza okukwata abo bonna abakoowoola erinnya lyo abasibe.”​—Bik. 9:13, 14.

10. Engeri Yesu gye yakwatamu Ananiya etuyigiriza ki ku Yesu?

10 Yesu teyanenya Ananiya olw’okutya obuvunaanyizibwa bwe yali amuwadde. Mu kifo ky’ekyo, yamunnyonnyola mu ngeri etegeerekeka obulungi ekyo kye yalina okukola. Ate era yalaga nti yali amufaako bwe yamubuulira ensonga lwaki yali ayagala akole ekyo kye yali amutuma okukola. Yesu yayogera bw’ati ku Sawulo: “Omusajja oyo kibya kye nnonze okutwala erinnya lyange eri ab’amawanga, eri bakabaka, n’eri abaana ba Isirayiri. Nja kumulaga ebintu bingi by’alina okuyitamu ng’abonaabona olw’erinnya lyange.” (Bik. 9:15, 16) Ananiya yasitukiramu n’akola ekyo Yesu kye yamugamba. Yagenda eri Sawulo, era bwe yatuukayo yamugamba nti: “Sawulo muganda wange, Mukama waffe Yesu eyakulabikidde mu kkubo ng’ojja, antumye gy’oli osobole okuddamu okulaba era ojjuzibwe omwoyo omutukuvu.”​—Bik. 9:17.

11, 12. Kiki kye tuyigira ku ebyo ebyaliwo wakati wa Yesu ne Ananiya ne Sawulo?

11 Waliwo bingi bye tuyigira ku ebyo ebyaliwo wakati wa Yesu ne Ananiya ne Sawulo. Ng’ekyokulabirako, tukiraba nti Yesu awa abagoberezi be obulagirizi mu mulimu gw’okubuulira nga bwe yasuubiza. (Mat. 28:20) Wadde nga tayogera butereevu na bantu leero, awa abagoberezi be obulagirizi obukwata ku mulimu gw’okubuulira ng’akozesa omuddu omwesigwa era ow’amagezi, gwe yalonda okulabirira ab’omu nju ye. (Mat. 24:45-47) Akakiiko Akafuzi kawa ababuulizi ne bapayoniya obulagirizi ku ngeri y’okunoonyaamu abo abaagala okumanya ebisingawo ku Kristo. Nga bwe kyayogerwako mu ssuula eyayita, bangi ku bantu abo baba basabye Katonda abawe obulagirizi, era oluvannyuma Abajulirwa ba Yakuwa babatuukako ne bababuulira.​—Bik. 9:11.

12 Ananiya yakkiriza okukola omulimu ogwamuweebwa, era yafuna emikisa. Ogondera ekiragiro kya Yesu eky’okuwa obujulirwa mu bujjuvu ne bwe kiba nti okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo kikutiisa? Abamu batya okubuulira nnyumba ku nnyumba oba okwogera n’abantu be batamanyi. Abalala batya okubuulira mu bifo omukolerwa bizineesi, ku nguudo, oba okubuulira nga bakozesa essimu oba nga bawandiika amabaluwa. Ananiya yaggwaamu okutya kwe yalina, era yafuna enkizo ey’okuyamba Sawulo okufuna omwoyo omutukuvu. b Yasobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe olw’okuba yeesiga Yesu, era olw’okuba yatwala Sawulo nga muganda we. Okufaananako Ananiya, naffe tusobola okuggwaamu okutya bwe tukijjukira nti Yesu y’awa obulagirizi mu mulimu gw’okubuulira, bwe tuba nga tulumirirwa abo be tubuulira, era bwe tuba nga n’abo abalabika ng’abatiisa ennyo tubatwala ng’abasobola okufuuka baganda baffe.​—Mat. 9:36.

‘Yatandika Okubuulira Nti Yesu Ye Mwana wa Katonda’ (Bik. 9:18-30)

13, 14. Bw’oba ng’oyiga Bayibuli era nga tonnabatizibwa, kiki ky’oyinza okuyigira ku Sawulo?

13 Sawulo yakolera mangu ku ebyo bye yayiga. Oluvannyuma lw’okuwonyezebwa yasalawo okubatizibwa era n’atandika okubeeranga awamu n’abayigirizwa mu Ddamasiko. Naye yakola ekisinga ku ekyo. Bayibuli egamba nti: “Amangu ago n’atandika okubuulira mu makuŋŋaaniro nti Yesu ye Mwana wa Katonda.”​—Bik. 9:20.

14 Bw’oba ng’oyiga Bayibuli naye nga tonnabatizibwa, onooba nga Sawulo n’otolonzalonza kukolera ku ebyo by’oyiga era n’obatizibwa? Kyo kituufu nti Sawulo yalaba ekyamagero Kristo kye yakola, era ng’ekyo kiteekwa okuba nga kyamuyamba okubaako ky’akolawo. Naye era waliwo n’abalala abaalaba Yesu ng’akola ebyamagero. Ng’ekyokulabirako, waliwo Abafalisaayo abaalaba Yesu ng’awonya omusajja eyalina omukono ogukaze, era n’Abayudaaya bangi baakimanya nti Yesu yazuukiza Lazaalo. Wadde kyali kityo, bangi ku bo tebaakwatibwako, era abamu baamukyawa. (Mak. 3:1-6; Yok. 12:9, 10) Kyokka ye Sawulo bwe yalaba ekyamagero, yakyuka. Lwaki Sawulo yakyuka ate ng’abalala bangi baalemererwa okubaako kye bakolawo? Olw’okuba yali atya Katonda okusinga abantu, era yasiima nnyo ekisa Kristo kye yamulaga. (Baf. 3:8) Naawe bw’onooba nga Sawulo, tojja kukkiriza kintu kyonna kukulemesa kukola mulimu gwa kubuulira na kutuukiriza bisaanyizo bya kubatizibwa.

15, 16. Kiki Sawulo kye yakolanga mu makuŋŋaaniro, era Abayudaaya mu Ddamasiko baatwala batya obubaka bwe?

15 Sawulo bwe yatandika okubuulira ebikwata ku Kristo mu makuŋŋaaniro, abantu bateekwa okuba nga beewuunya nnyo, ate abalala bayinza okuba nga baawulira obusungu. Baabuuza nti: “Ono si ye musajja eyayigganya ennyo abo abaali mu Yerusaalemi abakoowoola erinnya lino?” (Bik. 9:21) Sawulo bwe yali abuulira abantu ensonga eyamuviirako okukyuka n’atandika okukkiririza mu Yesu, yabannyonnyola mu “ngeri etegeerekeka obulungi nti Yesu ye Kristo.” (Bik. 9:22) Naye abantu abamu ne bwe bannyonnyolwa mu ngeri etegeerekeka obulungi, tebakyuka. Ekyo kiri kityo olw’okuba bagugubira ku bulombolombo bwabwe, oba olw’okuba baba n’amalala. Wadde abantu abamu tebakkiriza ebyo Sawulo bye yali ababuulira, teyalekayo kubuulira.

16 N’oluvannyuma nga wayise emyaka esatu, Abayudaaya mu Ddamasiko baali bakyawakanya Sawulo. Oluvannyuma baakola olukwe okumutta. (Bik. 9:23; 2 Kol. 11:32, 33; Bag. 1:13-18) Olukwe olwo bwe lwamanyibwa, Sawulo yasalawo okuva mu kibuga ekyo. Okusobola okukivaamu, baamuteeka mu kisero ne bamuyisa mu ddirisa eryali ku bbugwe w’ekibuga ne bamussa wansi. Abo abaayamba Sawulo okuva mu kibuga ekiro ekyo Lukka aboogerako ‘ng’abayigirizwa ba Sawulo.’ (Bik. 9:25) Ebigambo ebyo biraga nti abamu ku bantu Sawulo be yabuulira mu Ddamasiko baawuliriza era ne bafuuka abagoberezi ba Kristo.

17. (a) Abantu batwala batya amazima agali mu Bayibuli agababuulirwa? (b) Kiki kye tusaanidde okweyongera okukola, era lwaki?

17 Lwe wasooka okubuulira ab’eŋŋanda zo, mikwano gyo, n’abalala ku bintu ebirungi bye wali oyiga mu Bayibuli, oyinza okuba nga wali osuubira nti bonna bandikkiriza amazima agali mu Bayibuli agategeerekeka obulungi. Abamu bayinza okuba nga baagakkiriza, naye bangi baagagaana. Mu butuufu, ab’eŋŋanda zo bayinza okuba nga baakuyisa ng’omulabe waabwe. (Mat. 10:32-38) Kyokka bwe weeyongera okulongoosa mu ngeri gy’onnyonnyolamu Ebyawandiikibwa era ne weeyongera okutambulira ku mitindo gya Bayibuli egy’empisa, n’abo abagezaako okukulemesa okuweereza Yakuwa oluvannyuma bayinza okukyusa endowooza yaabwe.​—Bik. 17:2; 1 Peet. 2:12; 3:1, 2, 7.

18, 19. (a) Balunabba bwe yayamba Sawulo ng’abatume bamutidde, kiki ekyavaamu? (b) Tuyinza tutya okukoppa Balunabba ne Sawulo?

18 Sawulo bwe yagenda e Yerusaalemi, abayigirizwa tebaasooka kukikkiriza nti ddala yali afuuse omuyigirizwa wa Yesu; era ekyo tekyewuunyisa. Kyokka Balunabba bwe yabakakasa nti Sawulo yali afuuse omuyigirizwa wa Yesu, ekyo abatume baakikkiriza era Sawulo yasigala nabo okumala ekiseera. (Bik. 9:26-28) Wadde nga Sawulo yabanga mwegendereza mu ngeri gye yabuulirangamu abalala, amawulire amalungi gaali tegamukwasa nsonyi. (Bar. 1:16) Yabuulira n’obuvumu mu Yerusaalemi, mu kibuga kyennyini mwe yayigganyiza ennyo abayigirizwa ba Yesu Kristo. Abayudaaya mu Yerusaalemi bwe baakitegeera nti Sawulo eyali awomye omutwe mu kusaanyaawo abagoberezi ba Yesu kati naye yali afuuse omugoberezi wa Yesu, kyabayisa bubi nnyo era baakola olukwe okumutta. Bayibuli egamba nti, ‘Ab’oluganda bwe baakitegeera ne batwala Sawulo e Kayisaliya, ne bamusindika e Taluso.’ (Bik. 9:30) Sawulo yakolera ku bulagirizi Yesu bwe yamuwa okuyitira mu kibiina. Sawulo n’ab’oluganda bonna mu kibiina baaganyulwa nnyo.

19 Weetegereze nti Balunabba yabaako ky’akolawo okuyamba Sawulo. Kya lwatu nti ekyo kyaleetera abaweereza ba Yakuwa abo abanyiikivu okuba ab’omukwano ennyo. Okufaananako Balunabba, naawe ofaayo ku bapya mu kibiina ng’obuulirako wamu nabo era ng’obayamba okukulaakulana mu by’omwoyo? Bw’okola bw’otyo, ojja kufuna emikisa mingi. Bw’oba ng’okyali mubuulizi mupya, okufaananako Sawulo, okkiriza obuyambi obukuweebwa? Bw’onookolera awamu n’ababuulizi abalina obumanyirivu, ojja kweyongera okulongoosa mu ngeri gy’obuuliramu, ojja kweyongera okuba omusanyufu, era ojja kufuna emikwano mingi egya nnamaddala.

‘Bangi Bakkiriza Mukama Waffe’ (Bik. 9:31-43)

20, 21. Abaweereza ba Katonda ab’omu biseera eby’edda n’ab’omu kiseera kino bakozesezza batya ‘ebiseera eby’emirembe?

20 Oluvannyuma lwa Sawulo okufuuka Omukristaayo n’okuva mu Yerusaalemi nga tatuusiddwako kabi, ‘ekibiina kyonna mu Buyudaaya ne Ggaliraaya ne Samaliya kyabeera mu mirembe.’ (Bik. 9:31) Abayigirizwa baakozesa batya ekiseera ekyo ekyali ekirungi? (2 Tim. 4:2) Bayibuli egamba nti: ‘Baanywezebwa.’ Abatume n’ab’oluganda abalala abaali batwala obukulembeze beeyongera okunyweza okukkiriza kw’abayigirizwa, era ekibiina ne kyeyongera ‘okutambulira mu kutya Yakuwa nga kibudaabudibwa okuyitira mu mwoyo omutukuvu.’ Ng’ekyokulabirako, Peetero yakozesa ekiseera ekyo okunyweza ab’oluganda abaali babeera mu kabuga Luda, mu Lusenyi lwa Saloni. Ekyo kyaviirako bangi abaali babeera mu bitundu ebyali biriraanyeewo okudda “eri Mukama waffe.” (Bik. 9:32-35) Abayigirizwa tebakkiriza kintu kyonna kubawugula. Mu kifo ky’ekyo, baafuba okuyambagana n’okubuulira amawulire amalungi. N’ekyavaamu, ekibiina “kyeyongera obunene.”

21 Ekyasa 20 bwe kyali kinaatera okuggwaako, Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi nnyingi baafuna ekiseera ‘eky’emirembe.’ Gavumenti ezaali zimaze emyaka mingi nga ziyigganya abantu ba Katonda zaava mu buyinza, era mu nsi ezimu omulimu gwaffe gye gwali guwereddwa oba gye gwali gukugiddwa gwaddamu okukkirizibwa mu mateeka. Abajulirwa ba Yakuwa bangi mu nsi ezo baakozesa akakisa ako okubuulira n’obunyiikivu, era ebyavaamu byali birungi nnyo.

22. Oyinza otya okukozesa obulungi emirembe gy’olina kati?

22 Okozesa bulungi eddembe ly’olina kati? Bwe kiba nti ensi gy’olimu tegaana bantu kusinza nga bwe baagala, Sitaani yandyagadde weemalire mu kunoonya eby’obugagga mu kifo ky’okukulembeza Obwakabaka. (Mat. 13:22) Tokkiriza kuwugulibwa. Kozesa bulungi ekiseera ekyo eky’emirembe emisaamusaamu. Kitwale ng’akakisa k’olina okubuulira amawulire amalungi mu bujjuvu n’okuzimba ekibiina. Kijjukire nti embeera eyinza okukyuka ekiseera kyonna.

23, 24. (a) Biki bye tuyigira ku ebyo bye tusoma ku Tabbiisa? (b) Kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola?

23 Ate lowooza ku kyatuuka ku muyigirizwa omu eyali ayitibwa Tabbiisa, oba Doluka. Yali abeera mu Yopa, ekibuga ekyali okumpi ne Luda. Mwannyinaffe oyo omwesigwa yakozesa bulungi ekiseera eky’emirembe. Bayibuli egamba nti: “Yayitirira mu kukola ebikolwa ebirungi ne mu kuyamba abaavu.” Kyokka Tabbiisa yalwala mu bwangu era n’afa. c Bwe yafa, abayigirizwa abaali babeera mu Yoppa baanakuwala nnyo, naddala bannamwandu be yali akoledde ebintu ebirungi. Peetero bwe yatuuka mu nnyumba awaali omulambo gwe, yakola ekyamagero ekyali kitakolwangako mutume wa Yesu Kristo n’omu. Peetero yasaba, oluvannyuma n’azuukiza Tabbiisa! Lowooza ku ssanyu bannamwandu n’abayigirizwa abalala lye baafuna bwe baalaba nga Tabbiisa azuukiziddwa. Ekyo kiteekwa okuba nga kyanyweza nnyo okukkiriza kwabwe era ne kibayamba okweteekerateekera ebigezo ebyali bijja mu maaso! Ekyamagero ekyo ‘kyamanyibwa mu Yopa yonna, era bangi bakkiriza Mukama waffe.’​—Bik. 9:36-42.

Oyinza otya okukoppa Tabbiisa?

24 Waliwo ebintu bibiri bye tuyiga mu ebyo Bayibuli by’eyogera ku Tabbiisa. (1) Obulamu bumpi. N’olwekyo kikulu nnyo okukola erinnya eddungi eri Katonda nga kikyasoboka! (Mub. 7:1) (2) Ddala wajja kubaawo okuzuukira. Yakuwa yalaba ebintu ebirungi Tabbiisa bye yakola era yamuwa empeera. Naffe singa tufa nga Amagedoni tannatuuka, Yakuwa ajja kujjukira ebirungi bye twakola, era ajja kutuzuukiza. (Beb. 6:10) N’olwekyo, ka kibe nti mu kiseera kino tulina emirembe emisaamusaamu oba nedda, ka tweyongere okuwa obujulirwa ku Kristo mu bujjuvu.​—2 Tim. 4:2.

a Laba akasanduuko “ Sawulo Omufalisaayo.”

b Mu kiseera ekyo abantu baawebwanga omwoyo omutukuvu okuyitira mu batume. Naye ku luno kirabika Yesu yawa Sawulo omwoyo omutukuvu ng’ayitira mu Ananiya. Oluvannyuma lwa Sawulo okufuuka Omukristaayo, waayita ekiseera ekiwerako nga tannagenda eri abatume 12. Naye mu kiseera ekyo kyonna kirabika yali abuulira. N’olwekyo kirabika Yesu yakakasa nti Sawulo afuna amaanyi ge yali yeetaaga okusobola okukola omulimu gw’okubuulira.