Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 20

“Kyeyongera Okubuna era n’Okuba eky’Amaanyi” Wadde nga Waaliwo Okuyigganyizibwa

“Kyeyongera Okubuna era n’Okuba eky’Amaanyi” Wadde nga Waaliwo Okuyigganyizibwa

Ebyo Apolo ne Pawulo bye baakola ebyaviirako amawulire amalungi okweyongera okubuna

Byesigamiziddwa ku Ebikolwa 18:23–19:41

1, 2. (a) Buzibu ki Pawulo ne banne bwe bafuna nga bali mu Efeso? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu ssuula eno?

 EKIBUGA Efeso kizzeemu akajagalalo. Abantu batandise okwegugunga era baleekaana. Babiri ku bantu omutume Pawulo b’atambula nabo bakwatiddwa era babawalaawala nga babatwala mu kifo awalagirwa emizannyo. Abantu beeyongera obungi era bakuŋŋaanira mu kifo ekyo ekituuza abantu nga 25,000. Abasinga obungi ku bantu abo tebamanyi kiviiriddeko kajagalalo ako, naye bateebereza nti waliwo abaagala okutyoboola ekitiibwa kya yeekaalu yaabwe ne katonda waabwe omukazi ayitibwa Atemi gwe baagala ennyo. N’olwekyo batandika okuleekaana ennyo nga bagamba nti: “Atemi ow’Abeefeso mukulu nnyo!”​—Bik. 19:34.

2 Tukiraba nti ne ku luno Sitaani agezaako okukozesa ekibinja ky’abantu abasunguwavu okuziyiza omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Kya lwatu nti ako si ke kakodyo kokka Sitaani k’akozesa. Mu ssuula eno tugenda kulaba obukodyo obw’enjawulo Sitaani bwe yakozesa ng’agezaako okuziyiza omulimu gw’okubuulira n’okumalawo obumu mu kibiina Ekikristaayo eky’omu kyasa ekyasooka. N’ekisinga obukulu, tugenda kukiraba nti obukodyo obwo bwonna bwagwa butaka, kubanga “ekigambo kya Yakuwa . . . kyeyongera okubuna era n’okuba eky’amaanyi.” (Bik. 19:20) Kiki ekyasobozesa Abakristaayo abo okuwangula Sitaani? Ekyo ekyabasobozesa okumuwangula naffe kye kitusobozesa okumuwangula leero. Kya lwatu nti Sitaani tetumuwangula mu busobozi bwaffe, wabula Yakuwa y’atusobozesa okumuwangula. Kyokka okufaananako Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka, tulina okugoberera obulagirizi obutuweebwa. Omwoyo gwa Yakuwa gutuyamba okukulaakulanya engeri ezitusobozesa okutuukiriza obuweereza bwaffe. Kati ka tusooke tulabe ekyokulabirako Apolo kye yassaawo.

Yali “Amanyi Bulungi Ebyawandiikibwa” (Bik. 18:24-28)

3, 4. Kiki Akula ne Pulisikira kye baalaba Apolo kye yali yeetaaga okumanya, era baamuyamba batya?

3 Pawulo bwe yali ku lugendo lwe olw’obuminsani olw’okusatu ng’agenda mu Efeso, Omuyudaaya eyali ayitibwa Apolo yajja mu kibuga ekyo. Yali nzaalwa y’omu kibuga Alekizandiriya eky’omu Misiri ekyali ekitutumufu ennyo. Apolo yalina ebitone eby’enjawulo. Ng’ekyokulabirako, yali mwogezi mulungi. Ate ng’oggyeeko ekyo, yali “amanyi bulungi Ebyawandiikibwa.” Ate era Bayibuli egamba nti: “Olw’omwoyo yali munyiikivu nnyo.” Apolo era yabuuliranga n’obuvumu Abayudaaya abaabanga mu kkuŋŋaaniro.​—Bik. 18:24, 25.

4 Akula ne Pulisikira baawuliriza Apolo ng’ayigiriza. Bateekwa okuba nga baasanyuka nnyo okumuwulira ng’ayigiriza “ebintu ebituufu ebikwata ku Yesu.” Kyokka wadde ng’ebyo bye yayogera ebikwata ku Yesu byali bituufu, baakiraba nti waliwo ebintu ebikulu bye yali tamanyi. Bayibuli egamba nti yali “amanyi kubatiza kwa Yokaana kwokka.” Ow’oluganda ono ne mukyala we abaali abakozi ba weema era abataali bagagga, tebaatya kuyamba Apolo wadde nga yali mwogezi mulungi era nga muyivu. Baamutwala “ne bamunnyonnyola bulungi ekkubo lya Katonda.” (Bik. 18:25, 26) Apolo yatwala atya obuyambi obwamuweebwa? Yayoleka emu ku ngeri ezisinga obukulu Abakristaayo ze basaanidde okukulaakulanya, nga buno bwe bwetoowaze.

5, 6. Kiki ekyayamba Apolo okweyongera okuba ow’omugaso eri Yakuwa, era kiki kye tumuyigirako?

5 Olw’okuba Apolo yakkiriza obuyambi Akula ne Pulisikira bwe baamuwa, yeeyongera okuba ow’omugaso ennyo mu buweereza bwe eri Yakuwa. Yagenda mu Akaya, era Bayibuli eraga nti bwe yali eyo “yayamba nnyo” ab’oluganda. Ate era yawa obujulirwa Abayudaaya abaali mu kitundu ekyo abaali bakalambira nti Yesu si ye yali Masiya eyasuubizibwa. Lukka yagamba nti: “Yayogera n’obuvumu okukiraga mu lujjudde nti enjigiriza z’Abayudaaya zaali nkyamu, n’akozesa Ebyawandiikibwa okubalaga nti Yesu ye Kristo.” (Bik. 18:27, 28) Nga Apolo yali wa mugaso nnyo eri ebibiina! Mazima ddala, y’omu ku abo abaakola ennyo mu kubunyisa “ekigambo kya Yakuwa.” Kiki kye tuyigira ku Apolo?

6 Kikulu nnyo Abakristaayo okukulaakulanya obwetoowaze. Buli omu ku ffe alina ebirabo eby’enjawulo. Ebirabo ebyo biyinza okuba ebitone bye twazaalibwa nabyo, obumanyirivu bwe tulina, oba amagezi ge tufunye. Wadde nga tulina ebirabo ng’ebyo, tusaanidde okuba abeetoowaze. Bwe tutaba beetoowaze, kiyinza okuvaamu ebizibu eby’amaanyi. Ebirabo ebyo biyinza okutuviirako okufuna amalala. (1 Kol. 4:7; Yak. 4:6) Bwe tuba abeetoowaze, tujja kukitwala nti abalala batusinga. (Baf. 2:3) Tetujja kugaana kuwabulwa, era tujja kukkiriza abalala okubaako bye batuyigiriza. Omwoyo omutukuvu bwe gunaabaako enkyukakyuka ze guyamba ekibiina okukola, tetujja kugugubira ku ndowooza yaffe. Bwe tuba abeetoowaze tuba ba mugaso eri Yakuwa n’eri Omwana we.​—Luk. 1:51, 52.

7. Pawulo ne Apolo bassaawo batya ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka obwetoowaze?

7 Obwetoowaze era buyamba Abakristaayo okwewala okuvuganya. Sitaani ateekwa okuba nga yali ayagala nnyo okulaba nti wabaawo enjawukana mu Bakristaayo abo abaasooka. Kya lwatu nti yandibadde musanyufu nnyo singa Abakristaayo abaalina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu kibiina, gamba nga Apolo n’omutume Pawulo, baatandika okuvuganya, oboolyawo nga buli omu ayagala okuba nga y’asinga okuganja mu b’oluganda mu kibiina! Ekyo kyali kisobola okubaawo, kubanga Abakristaayo abamu mu kibiina ky’e Kkolinso baali bagamba nti, “Nze ndi wa Pawulo,” ate abalala nti, “Nze ndi wa Apolo.” Pawulo ne Apolo be baaleetera ab’oluganda abo okuba n’endowooza eyo eyali ereetawo enjawukana? Nedda! Pawulo yakyoleka nti yali asiima obuweereza bwa Apolo era yamwongera obuvunaanyizibwa mu kibiina. Ate ye Apolo yakolera ku bulagirizi bwa Pawulo. (1 Kol. 1:10-12; 3:6, 9; Tit. 3:12, 13) Nga baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu kukolera awamu n’okwoleka obwetoowaze!

Yakubaganya “Ebirowoozo n’Abantu ku Bikwata ku Bwakabaka bwa Katonda” (Bik. 18:23; 19:1-10)

8. Pawulo yayita wa ng’addayo mu Efeso, era lwaki?

8 Pawulo yali asuubizza ab’oluganda mu Efeso nti yali ajja kukomawo gye bali, era yatuukiriza kye yasuubiza. a (Bik. 18:20, 21) Naye weetegereze engeri gye yakomawo. Twasembye okusoma ebimukwatako ng’ali mu Antiyokiya eky’omu Busuuli. Okusobola okutuuka mu Efeso, yali asobola okuyita mu kkubo ery’okumpi n’agenda e Serukiya n’alinnya ekyombo, n’asaabala butereevu okusobola okutuuka gye yali alaga. Mu kifo ky’ekyo, ‘yayita ku lukalu.’ Nga bwe kiragibwa mu Ebikolwa 18:23 ne 19:1, kiteeberezebwa nti olugendo Pawulo lwe yatambula lwali luweza mayiro nga lukumi. Lwaki Pawulo yasalawo okutindigga olugendo oluwanvu bwe lutyo? Olw’okuba yali ayagala ‘okuzzaamu abayigirizwa bonna amaanyi.’ (Bik. 18:23) Okufaananako eŋŋendo ze ez’obuminsani ebbiri ezaasooka, ne ku lugendo luno olw’obuminsani olw’okusatu yali agenda kwefiiriza nnyo. Naye okwefiiriza okwo kwandivuddemu ebirungi. Abalabirizi abakyalira ebibiina leero awamu ne bakyala baabwe nabo booleka omwoyo ng’ogwo. Mazima ddala tubasiima nnyo!

9. Lwaki abayigirizwa abamu baali beetaaga okuddamu okubatizibwa, era kiki kye tubayigirako?

9 Pawulo bwe yatuuka mu Efeso, yasangayo abayigirizwa nga kkumi na babiri abaali baabatizibwa mu kubatizibwa kwa Yokaana Omubatiza, mu kiseera ekyo okwali kwadibizibwa. Ate era kirabika baali tebalina kye bamanyi ku mwoyo omutukuvu. Pawulo yabannyonnyola kye kyali kitegeeza okubatizibwa mu linnya lya Yesu, era okufaananako Apolo, nabo baali beetoowaze era nga beetegefu okuyiga. Bwe baamala okubatizibwa mu linnya lya Yesu, baafuna omwoyo omutukuvu n’ebimu ku birabo by’omwoyo. Ekyo ekyaliwo kiraga nti okukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’agenda awa ekibiina kye kivaamu emikisa mingi.​—Bik. 19:1-7.

10. Lwaki Pawulo yalekera awo okuyigiririza mu kkuŋŋaaniro n’adda mu kisenge ky’essomero, era tumuyigirako ki?

10 Waliwo ekintu ekirala ekyaliwo ekyasobozesa ekigambo kya Katonda okweyongera okubuna. Bayibuli eraga nti Pawulo yabuulira n’obuvumu mu kkuŋŋaaniro okumala emyezi esatu. Wadde nga yali “akubaganya ebirowoozo n’abantu ku bikwata ku Bwakabaka bwa Katonda,” abamu baakakanyaza emitima gyabwe ne batandika okuvumirira amawulire amalungi. Mu kifo ky’okumalira ebiseera ku abo abaali “bavumirira Ekkubo,” Pawulo yatandika okuyigiririza mu kisenge ky’essomero erimu. (Bik. 19:8, 9) Abo abaali baagala okukulaakulana mu by’omwoyo, baalina okulekera awo okukuŋŋaanira mu kkuŋŋaaniro batandike okukuŋŋaanira mu kisenge ky’essomero. Okufaananako Pawulo, naffe tusobola okukomya emboozi singa tukiraba nti omuntu tayagala kuwuliriza, oba ng’ayagala kuwakana buwakanyi. Wakyaliyo abantu bangi nnyo abalinga endiga abeetaaga okuwuliriza obubaka bwaffe obuzzaamu amaanyi.

11, 12. (a) Pawulo yakiraga atya nti yali mubuulizi munyiikivu era nti yali atuukana n’embeera? (b) Abajulirwa ba Yakuwa boolese batya obunyiikivu era batuukanye batya n’embeera z’abantu nga babuulira?

11 Pawulo ayinza okuba nga yayigiririzanga mu kisenge ky’essomero ekyo okuva awo nga ku ssaawa ttaano ez’okumakya okutuuka ku ssaawa nga kkumi ez’olweggulo. (Bik. 19:9) Mu ssaawa ezo kirabika waabangawo ebbugumu lingi, era abantu baawummuzanga mu mirimu gyabwe okulya eky’emisana oba okuwummulamu. Bwe kiba nti Pawulo yagoberera enteekateeka eyo okumala emyaka ebiri, yamala essaawa ezisukka mu 3,000 ng’ayigiriza. b Ekyo nakyo kyasobozesa ekigambo kya Yakuwa okweyongera okubuna n’okuba eky’amaanyi. Pawulo yali mubuulizi munyiikivu era yatuukananga n’embeera. Yakyusa mu nteekateeka ze asobole okubuulira abantu b’omu kitundu ekyo. Biki ebyavaamu? Bayibuli egamba nti: “Abatuuze b’omu ssaza ly’e Asiya bonna, Abayudaaya n’Abayonaani, baawulira ekigambo kya Mukama waffe.” (Bik. 19:10) Mazima ddala yawa obujulirwa mu bujjuvu!

Tufuba okutuusa ku bantu amawulire amalungi yonna gye babeera

12 Abajulirwa ba Yakuwa leero nabo babuulira n’obunyiikivu era bafuba okutuukana n’embeera. Tufuba okutuuka ku bantu mu bifo gye tuyinza okubasanga, era mu biseera bye tuyinza okubasangiramu. Tubuulira ku nguudo, mu butale, ne mu bifo awasimba ebidduka. Oluusi tubuulira abantu nga tubakubira amasimu, oba nga tubawandiikira amabaluwa. Ate bwe tuba tubuulira nnyumba ku nnyumba, tufuba okugenda eri abantu mu biseera we batera okubeerera awaka.

Emyoyo Emibi Tegyakiremesa ‘Kweyongera Kubuna n’Okuba eky’Amaanyi’ (Bik. 19:11-22)

13, 14. (a) Kiki Yakuwa kye yasobozesa Pawulo okukola? (b) Nsobi ki batabani ba Sukeva gye baakola, era bangi leero mu Kristendomu bafaananako batya abasajja abo?

13 Lukka atutegeeza nti Yakuwa yasobozesa Pawulo okukola “ebyamagero eby’amaanyi ennyo.” N’engoye Pawulo ze yayambalanga awamu n’ebikubiro bye, bwe baabitwaliranga abalwadde baawonanga. N’emyoyo emibi gyavanga ku bantu. c (Bik. 19:11, 12) Mazima ddala Sitaani yawangulwa! Naye ebimu ku ebyo ebyavaamu tebyali birungi.

14 Waaliwo “abamu ku Bayudaaya abaatambulatambulanga nga bagoba dayimooni,” abaagezaako okukola ebyamagero Pawulo bye yali akola. Abayudaaya abo baagezaako okugoba dayimooni nga bakozesa erinnya lya Yesu n’erya Pawulo. Ng’ekyokulabirako, Lukka ayogera ku basajja omusanvu abaali batabani ba kabona eyali ayitibwa Sukeva abaagezaako okukola ekyo. Dayimooni yabagamba nti: “Yesu ne Pawulo mbamanyi, naye mmwe baani?” Omusajja eyaliko dayimooni yabuukira abasajja abo abaali beefuula kye batali n’abataagulataagula ng’ensolo, ne badduka nga batuusiddwako ebisago era nga bali bwereere. (Bik. 19:13-16) Mazima ddala obwo bwali buwanguzi bwa maanyi nnyo eri “ekigambo kya Yakuwa.” Ekyo kyalaga nti waaliwo enjawulo ya maanyi wakati wa Pawulo eyali aweereddwa obuyinza okuva eri Katonda ne bannaddiini ab’obulimba abataalina maanyi gonna. Leero waliwo abantu bukadde na bukadde abalowooza nti okukoowoola obukoowoozi erinnya lya Yesu oba okweyita “Abakristaayo,” kimala. Kyokka nga Yesu bwe yalaga, abo bokka abakola Kitaawe by’ayagala be bagenda okufuna emikisa gy’Obwakabaka egijja.​—Mat. 7:21-23.

15. Tuyinza tutya okukoppa Abeefeso bwe kituuka ku kwenyigira mu by’obusamize n’okuba n’ebintu ebirina akakwate ku by’obusamize?

15 Ekyo ekyatuuka ku batabani ba Sukeva kyaviirako abantu bangi okutya Katonda ne balekayo eby’obusamize bye baali beenyigiramu, era ne bafuuka abakkiriza. Abantu b’omu Efeso baali beenyigira nnyo mu by’obusamize. Bangi beesibanga yirizi era baateranga okulaamiriza, era bingi ku bigambo bye baalaamirizanga byabanga mu buwandiike. Bangi ku bantu abo baakwatibwako nnyo ne baggyayo ebitabo byabwe ebyalina akakwate n’eby’obusamize ne babyokera mu lujjudde, wadde ng’ebitabo ebyo byali bya ssente nnyingi nnyo. d Lukka yagamba nti: “Bwe kityo ekigambo kya Yakuwa ne kyeyongera okubuna era n’okuba eky’amaanyi.” (Bik. 19:17-20) Kya lwatu, amazima geeyongera okusaasaana era emyoyo emibi ne giwangulwa. Abantu b’omu Efeso nga baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi! Naffe tuli mu nsi ejjudde eby’obusamize. Singa tukizuula nti tulina ekintu kyonna ekirina akakwate n’eby’obusamize, tusaanidde okukola ng’Abeefeso bwe baakola, ne tukyeggyako mangu. Tusaanidde okwewalira ddala ebintu ebyo eby’omuzizo ka bibe bya bbeeyi bitya.

“Waaliwo Akakyankalano ak’Amaanyi” (Bik. 19:23-41)

“Bannange, mumanyi bulungi nti omulimu guno gutusobozesezza okufuna obugagga.”​—Ebikolwa 19:25

16, 17. (a) Demeteriyo yaleetawo atya akakyankalano mu Efeso? (b) Abeefeso baakiraga batya nti baali tebafumiitiriza bwe kituuka ku bintu ebikwata ku ddiini?

16 Kati ka tulabe akakodyo akalala Sitaani ke yakozesa, Lukka ke yayogerako bwe yagamba nti: “Waaliwo akakyankalano ak’amaanyi olw’Ekkubo.” Mu kwogera ebigambo ebyo, Lukka yali tasavuwaza. e (Bik. 19:23) Omuweesi wa ffeeza eyali ayitibwa Demeteriyo yaleetawo akakyankalano. Yasooka n’agamba baweesi banne nti obugagga bwe baalina bwali buva mu kutunda bifaananyi ebisinzibwa. Oluvannyuma yabagamba nti obubaka Pawulo bwe yali abuulira bwali bukosa bizineesi yaabwe, okuva bwe kiri nti Abakristaayo baali tebasinza bifaananyi. Ate era yayogera ku kintu ekyakwata ennyo ku bantu abo abaali beenyumiririza mu kuba abatuuze b’omu Efeso, era abaalimu ennyo mwoyo gwa ggwanga. Yabagamba nti katonda waabwe omukazi eyali ayitibwa Atemi ne yeekaalu yaabwe eyali emanyiddwa mu nsi yonna, byali bigenda kutandika ‘okunyoomebwa.’​—Bik. 19:24-27.

17 Ebyo Demeteriyo bye yayogera byavaamu kye yali ayagala. Abaweesi ba ffeeza baatandika okuleekaana nga bagamba nti: “Atemi ow’Abeefeso mukulu nnyo!” Ekyo kyaviirako ekibuga kyonna okukyankalana, n’abantu okukuŋŋaana awamu nga bwe kyayogeddwako ku ntandikwa y’essuula eno. f Pawulo yali ayagala kugenda mu kifo awalagirwa emizannyo abantu abo we baali bakuŋŋaanidde asobole okwogerako gye bali, naye abayigirizwa ne bamugaana nga batya nti yali ayinza okutuusibwako akabi. Omusajja omu eyali ayitibwa Alekizanda yayimirira n’agezaako okwogera eri abantu abo. Okuva bwe kiri nti yali Muyudaaya, ayinza okuba nga yali ayagala kubannyonnyola enjawulo eyaliwo wakati w’Abayudaaya n’Abakristaayo. Naye abantu abo abaali bataamye baali tebasobola kumuwuliriza. Bwe baakitegeera nti yali Muyudaaya, tebaamuganya kwogera, era beeyongera okuleekaana nga bagamba nti: “Atemi ow’Abeefeso mukulu nnyo!” Ekyo baakikola okumala essaawa nga bbiri. Ne leero abantu abamu tebafumiitiriza bwe kituuka ku bintu ebikwata ku ddiini.​—Bik. 19:28-34.

18, 19. (a) Omukulu w’ekibuga yakkakkanya atya ekibiina ky’abantu mu Efeso? (b) Ebiseera ebimu abantu ba Yakuwa bafunye batya obukuumi okuva eri ab’obuyinza, era kiki kye tuyinza okukolawo okufuna obukuumi ng’obwo?

18 Oluvannyuma omukulu w’ekibuga yakkakkanya ekibinja ky’abantu abo. Omusajja oyo eyali omutegeevu yakakasa abantu abo nti Abakristaayo baali tebalina kabi konna ke baali bakoze ku yeekaalu yaabwe ne ku katonda waabwe. Ate era yabagamba nti Pawulo ne banne tebaalina kibi kyonna kye baali bakoze ku yeekaalu ya Atemi, era nti waaliwo engeri entuufu abantu gye baali bayinza okuyitamu okutwala okwemulugunya kwabwe eri be kikwatako. N’ekisinga obukulu, yajjukiza abantu abo nti baali basobola n’okubonerezebwa gavumenti ya Rooma olw’okukuŋŋaana mu ngeri emenya amateeka, n’olw’okwegugunga okwo. Oluvannyuma yagamba abantu bagende. Ng’obusungu bw’abantu abo bwe bwali bubuubuuse amangu, era bwe butyo bwe bwakkakkana olw’ebigambo ebyo eby’amagezi.​—Bik. 19:35-41.

19 Ogwo si gwe mulundi ogwali gusoose omuntu ali mu buyinza omukkakkamu era omutegeevu okubaako ky’akolawo okukuuma abagoberezi ba Yesu, era si gwe gwasembayo. Mu butuufu, mu kwolesebwa omutume Yokaana kwe yafuna, yalaba ng’ensi, ekikiirira abantu abamu abatasinza Yakuwa, eyasama n’emira omugga, ogukiikirira okuyigganyizibwa Sitaani kw’aleeta ku bagoberezi ba Yesu. (Kub. 12:15, 16) Ekyo bwe kityo bwe kibadde. Waliwo abalamuzi bangi abazze basalawo obulungi ku nsonga ezikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa. Bakiraze nti Abajulirwa ba Yakuwa balina eddembe okukuŋŋaana awamu okusinza n’okubuulira abalala amawulire amalungi. Kya lwatu nti enneeyisa yaffe ennungi erina ky’ekola ku buwanguzi obwo. Kirabika enneeyisa ya Pawulo ennungi yamuviirako okwagalibwa abamu ku b’obuyinza mu Efeso, era baafuba okulaba nti tatuusibwako kabi. (Bik. 19:31) Naffe bulijjo ka tufube okweyisanga obulungi kubanga ekyo kisobola okukwata ku bantu abatulaba ne kivaamu ebirungi bye tuba tutasuubira.

20. (a) Owulira otya bw’olowooza ku ngeri ekigambo kya Yakuwa gye kyabunamu mu kyasa ekyasooka era n’engeri gye kibunamu leero? (b) Kiki ky’omaliridde okukola bw’olowooza ku ngeri Yakuwa gy’asobozesezza ekigambo kye okubuna mu kiseera kyaffe?

20 Mazima ddala bwe tufumiitiriza ku ngeri ekigambo kya Katonda gye “kyeyongera okubuna era n’okuba eky’amaanyi” mu kyasa ekyasooka, kituleetera essanyu lingi. Ne leero bwe tulaba engeri Yakuwa gy’asobozesezza ekigambo kye okubuna, kituleetera essanyu. Naawe wandyagadde okubaako ky’okolawo, ka kibe kitono kitya, mu kubunyisa ekigambo kya Katonda? Bwe kiba kityo, baako by’oyigira ku ebyo bye tulabye mu kitundu kino. Sigala ng’oli mwetoowaze, kolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa okuyitira mu kibiina kye, buuliranga n’obunyiikivu, weewalire ddala eby’obusamize, era fuba okuwa obujulirwa okuyitira mu nneeyisa yo ennungi.

b Pawulo era yawandiika ekitabo kya 1 Abakkolinso ng’ali mu Efeso.

c Engoye ezo ziyinza okuba nga bwali butambaala Pawulo bwe yeesibanga ku kyenyi, entuuyo zireme okumukulukutira mu maaso. Ate era okuva bwe kiri nti Pawulo yeesibanga ebikubiro kiraga nti ayinza okuba nga yakolanga omulimu gwe ogw’okukola weema mu biseera bye eby’eddembe, oboolyawo mu ssaawa ez’oku makya.​—Bik. 20:34, 35.

d Lukka yagamba nti ebitabo ebyo byali bibalirirwamu ebitundu bya ffeeza 50,000. Bwe kiba nti yali ategeeza ddinaali, kiba kitegeeza nti omuntu kyali kimwetaagisa okukola buli lunaku okumala ennaku 50,000, oba emyaka 137 okusobola okufuna ssente ezo.

e Abamu bagamba nti akakyankalano ako Pawulo ke yali ayogerako bwe yagamba Abakkolinso nti: “Twali tetumanyi nti tusobola okusigala nga tuli balamu.” (2 Kol. 1:8) Kyokka Pawulo ayinza okuba nga yali ayogera ku mbeera endala eyali ey’obulabe ennyo n’okusinga ku eyo. Pawulo bwe yagamba nti ‘yalwana n’ensolo mu Efeso,’ ayinza okuba nga yali ategeeza nti yalwana n’ensolo enkambwe mu kisaawe omulagirwa emizannyo, oba nti yali ategeeza abantu abaali bamuyigganya.​—1 Kol. 15:32.

f Ebimu ku bibiina by’obwegassi ng’ebyo byabanga bya maanyi nnyo. Ng’ekyokulabirako, nga wayise emyaka nga kikumi, ekibiina ky’abafumbi b’emigaati kyaleetawo akajagalalo mu Efeso akafaananako bwe katyo.