Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 21

“Sivunaanibwa Musaayi gwa Muntu Yenna”

“Sivunaanibwa Musaayi gwa Muntu Yenna”

Pawulo abuulira n’obunyiikivu era abuulirira abakadde

Byesigamiziddwa ku Ebikolwa 20:1-38

1-3. (a) Yutiko yatuuka atya okufa? (b) Kiki Pawulo kye yakolawo, era ekyo kitulaga ki ku ngeri gye yali atwalamu obulamu bw’abalala?

 PAWULO ali mu Tulowa mu kisenge ekimu ekiri ku mwaliiro ogw’okusatu, era ekisenge ekyo kijjudde abantu. Okuva bwe kiri nti guno gwe omulundi gw’agenda okusembayo okuba n’ab’oluganda b’ali nabo mu kisenge ekyo, ayogera gye bali okumala ekiseera kiwanvu. Kati obudde bwa ttumbi. Ekisenge ekyo kirimu ettaala eziwerako ezongedde ku bbugumu erikirimu. Waliwo omuvubuka omu ayitibwa Yutiko atudde ku ddirisa. Pawulo bw’aba akyayogera, Yutiko atandika okusumagira, era awanuka ku ddirisa ku mwaliro ogw’okusatu n’agwa wansi!

2 Olw’okuba Lukka musawo, kirabika y’omu ku abo abasooka okudduka wabweru okwekebejja omuvubuka oyo. Bwe bamwekebejja, bakiraba nti afudde. (Bik. 20:9) Kyokka wabaawo ekyamagero. Pawulo agwa ku muvubuka oyo n’amuwambaatira era n’agamba abaliwo nti: “Mulekere awo okukuba ebiwoobe, kubanga mulamu.” Pawulo azuukizza Yutiko!​—Bik. 20:10.

3 Ekyo ekyaliwo kiraga amaanyi g’omwoyo gwa Katonda omutukuvu. Pawulo si ye yali avunaanyizibwa ku kufa kwa Yutiko. Wadde kyali kityo, yali tayagala kufa kwa muvubuka oyo kuttattana lukuŋŋaana olwo olwali olukulu ennyo, oba okubaako omuntu yenna gwe kwesitazza mu by’omwoyo. Pawulo bwe yazuukiza Yutiko, yaleka ekibiina kibudaabudiddwa nnyo era nga kizziddwamu amaanyi okweyongera okukola omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi. Mazima ddala obulamu bw’abalala Pawulo yali abutwala nga bwa muwendo nnyo. Ebyo ebyaliwo bitujjukiza ebigambo bino bye yayogera: “Sivunaanibwa musaayi gwa muntu yenna.” (Bik. 20:26) Ka tulabe engeri ekyokulabirako Pawulo kye yassaawo naffe gye kiyinza okutuyamba.

‘Yagenda e Masedoniya’ (Bik. 20:1, 2)

4. Mbeera ki etaali nnyangu Pawulo gye yali ayiseemu?

4 Nga bwe twalaba mu ssuula eyaggwa, Pawulo yali ayise mu mbeera etaali nnyangu. Obuweereza bwe mu Efeso bwali buviiriddeko abantu okwegugunga. Abaweesi ba ffeeza abaali bafuna ssente mu kusinza kwa Atemi, be baali baleeseewo akeegugungo ako. Ebikolwa 20:1 wagamba nti: “Oluyoogaano bwe lwakendeera, Pawulo n’atumya abayigirizwa, era bwe yamala okubazzaamu amaanyi n’okubasiibula, n’agenda e Masedoniya.”

5, 6. (a) Pawulo ayinza okuba nga yamala bbanga lyenkana wa mu Masedoniya, era kiki kye yakolera ab’oluganda mu kitundu ekyo? (b) Ndowooza ki Pawulo gye yalina ku bakkiriza banne?

5 Pawulo bwe yali agenda e Masedoniya, yakyamako ku mwalo gw’e Tulowa n’abeerayo okumala ekiseera. Pawulo yali asuubira nti Tito eyali atumiddwa e Kkolinso, yandimwegasseeko ng’ali eyo. (2 Kol. 2:12, 13) Kyokka Pawulo bwe yakimanya nti Tito yali tagenda kujja, yeeyongerayo e Masedoniya, oboolyawo n’amalayo omwaka gumu oba n’okusingawo, ‘ng’azzaamu abayigirizwa abaaliyo amaanyi era ng’ababuulira ekigambo.’ a (Bik. 20:2) Oluvannyuma Tito yeegatta ku Pawulo e Masedoniya, n’aleeta amawulire amalungi agaali gakwata ku ngeri Abakkolinso gye baali batuttemu ebyo ebyali mu bbaluwa Pawulo gye yasooka okubawandiikira. (2 Kol. 7:5-7) Ekyo kyaviirako Pawulo okubawandiikira ebbaluwa endala, leero emanyiddwa nga 2 Abakkolinso.

6 Weetegereze nti Lukka akiraga nti Pawulo bwe yakyalira ab’oluganda mu Efeso ne mu Masedoniya, ‘yabazzaamu amaanyi.’ Ekyo kyoleka bulungi endowooza Pawulo gye yalina ku bakkiriza banne! Okwawukana ku Bafalisaayo abaali banyooma abalala, Pawulo yali atwala ab’oluganda nga bakozi banne. (Yok. 7:47-49; 1 Kol. 3:9) Pawulo yalina endowooza eyo ku b’oluganda ne bwe kyali kimwetaagisa okubawabula.​—2 Kol. 2:4.

7. Abalabirizi Abakristaayo leero bayinza batya okukoppa Pawulo?

7 Leero abakadde n’abalabirizi abakyalira ebibiina bafuba okukoppa Pawulo. Baba n’ekigendererwa eky’okuzzaamu abalala amaanyi, ne bwe baba nga balina be bawabula. Ekigendererwa ky’abakadde kya kuzzaamu balala maanyi so si kubasalira musango. Omulabirizi omu akyalira ebibiina yagamba nti: “Abasinga obungi ku baganda baffe ne bannyinaffe baagala okukola ekituufu, naye emirundi mingi boolekagana n’ebintu ebibamalako essanyu, ebibatiisa, era oluusi bawulira nga baweddemu amaanyi.” Abalabirizi basobola okuzzaamu amaanyi bakkiriza bannaffe ng’abo.​—Beb. 12:12, 13.

‘Baamusalira Olukwe’ (Bik. 20:3, 4)

8, 9. (a) Kiki ekyaviirako Pawulo okusazaamu enteekateeka gye yalina ey’okusaabala agende mu Busuuli? (b) Kiki ekiyinza okuba nga kye kyaviirako Abayudaaya okuba nga tebaagalira ddala Pawulo?

8 Pawulo bwe yava e Masedoniya yagenda Kkolinso. b Oluvannyuma lw’okumala mu Kkolinso emyezi essatu, yali ayagala okugenda e Kenkereya gye yali ayagala okulinnyira eryato agende mu Busuuli. Eyo mu Busuuli gye yandivudde n’agenda e Yerusaalemi n’atwalayo ebintu by’ab’oluganda abaali mu bwetaavu. c (Bik. 24:17; Bar. 15:25, 26) Kyokka waliwo ekyabaawo ekyamuviirako okukyusa mu nteekateeka ze. Ebikolwa 20:3 wagamba nti: “Abayudaaya ne bamusalira olukwe.”

9 Tekyewuunyisa nti Abayudaaya baali tebaagalira ddala Pawulo. Baali bamutwala nga kyewaggula. Emabegako bwe yali ng’abuulira mu Kkolinso, yaviirako Kulisupo eyali omu ku bantu ab’ekitiibwa mu kkuŋŋaaniro ly’e Kkolinso okufuuka Omukristaayo. (Bik. 18:7, 8; 1 Kol. 1:14) Ate ku mulundi omulala, Abayudaaya mu Kkolinso baamutwala eri Galiyo, eyali omukulu w’essaza ly’e Akaya, nga balina omusango gwe bamuvunaana. Kyokka Galiyo yagoba omusango ogwo era ekyo kyanyiiza nnyo abo abaali bavunaana Pawulo. (Bik. 18:12-17) Abayudaaya mu Kkolinso bayinza okuba nga baali bakitegeddeko oba nga baali basuubira nti Pawulo yali anaatera okuva mu kitundu ekyo asaabale ng’ayitira ku mwalo gw’e Kenkereya. Bwe kityo, baakola olukwe okumuteega. Kiki Pawulo kye yandikoze?

10. Pawulo obutayita Kenkereya kiraga nti yali mutiitiizi? Nnyonnyola.

10 Okusobola okwewala okutuusibwako akabi n’okukuuma ebintu ebyali bimukwasiddwa bye yali atwalira ab’oluganda, Pawulo yasalawo obutayitira Kenkereya wabula n’ayitira mu Masedoniya. Kyo kituufu nti okuyita ku lukalu nakyo kyalimu obuzibu. Enguudo z’edda zaateranga okubaako ebibinja by’abazigu. Ate era ebifo ebyali bisulwamu nabyo oluusi byabanga bya bulabe. Wadde kyali kityo, Pawulo yasalawo okuyita ku lukalu mu kifo ky’okuyita e Kenkereya gye baali bamusalidde olukwe. Ekirungi, teyali yekka ku lugendo olwo. Mu abo be yatambula nabo ku lugendo luno olw’obuminsani mwalimu Alisutaluuko, Gayo, Sekundo, Sopateri, Timoseewo, Tulofiimo, ne Tukiko.​—Bik. 20:3, 4.

11. Biki Abakristaayo leero bye bakola okwekuuma, era kyakulabirako ki Yesu kye yassaawo?

11 Okufaananako Pawulo, Abakristaayo leero bwe baba bakola omulimu gw’okubuulira, beewala okussa obulamu bwabwe mu kabi. Mu bitundu ebimu, batambulira mu bibinja oba batambula babiri babiri mu kifo ky’okutambula omu omu. Ate watya singa wabaawo okuyigganyizibwa? Abakristaayo bakimanyi nti tebayinza kwewala kuyigganyizibwa. (Yok. 15:20; 2 Tim. 3:12) Wadde kiri kityo, tebamala gessa mu kabi. Lowooza ku kyokulabirako Yesu kye yassaawo. Lumu abantu mu Yerusaalemi bwe baali baagala okumukuba amayinja, “yeekweka n’afuluma mu yeekaalu.” (Yok. 8:59) Ate ku mulundi omulala Abayudaaya bwe baali bakoze olukwe okumutta, yalekera “awo okutambula kyere mu Bayudaaya, naye n’avaayo n’agenda mu kitundu ekiriraanye eddungu.” (Yok. 11:54) Yesu alina kye yakolangawo okwekuuma, kasita kyaba nga tekikontana n’ekyo Katonda kye yali ayagala akole. Abakristaayo leero nabo bakola kye kimu.​—Mat. 10:16.

‘Baasanyuka Nnyo’ (Bik. 20:5-12)

12, 13. (a) Okuzuukizibwa kwa Yutiko kwakwata kutya ku b’oluganda mu kibiina? (b) Ssuubi ki Bayibuli ly’ewa eribudaabuda abo abaafiirwa abantu baabwe?

12 Pawulo ne banne baatambulira wamu nga bali mu Masedoniya, naye kirabika oluvannyuma baakwata amakubo ag’enjawulo. Kirabika baddamu ne basisinkana e Tulowa. d Lukka agamba nti: “Ne tubasanga e Tulowa nga tewannayita nnaku ttaano.” e (Bik. 20:6) Eno e Tulowa, omuvubuka ayitibwa Yutiko, ayogeddwako ku ntandikwa y’essuula eno gye yazuukizibwa. Lowooza ku ngeri ab’oluganda gye baawuliramu nga balabye Yutiko ng’azuukiziddwa! Bayibuli egamba nti, ‘Baasanyuka nnyo.’​—Bik. 20:12.

13 Kya lwatu nti ebyamagero ng’ebyo leero tebikyakolebwa. Wadde kiri kityo, abo abaafiirwa abantu baabwe ‘babudaabudibwa nnyo’ bwe balowooza ku kisuubizo kya Bayibuli eky’okuzuukira. (Yok. 5:28, 29) Lowooza ku kino: Olw’okuba Yutiko yali tatuukiridde, oluvannyuma yaddamu n’afa. (Bar. 6:23) Naye abo abanaazuukizibwa mu nsi empya bajja kuba n’essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna! Ate abo abazuukizibwa okufugira awamu ne Yesu mu ggulu bambazibwa obutafa. (1 Kol. 15:51-53) Abakristaayo leero, ka babe abo abaafukibwako amafuta oba ‘ab’endiga endala,’ ‘babudaabudibwa nnyo’ bwe balowooza ku ssuubi ery’okuzuukira.​—Yok. 10:16.

“Mu Lujjudde era ne Nnyumba ku Nnyumba” (Bik. 20:13-24)

14. Pawulo bwe yasisinkana abakadde b’omu Efeso e Mireeto, kiki kye yabagamba?

14 Pawulo ne banne baava e Tulowa ne bagenda mu Asosi. Oluvannyuma baatuuka e Mituleene, ne bayita e Kiyosi, e Samosi, ne batuuka e Mireeto. Pawulo yali ayagala okutuuka e Yerusaalemi ng’Embaga ey’Okuyitako tennatuuka. Okuba nti yasalawo okulinnya eryato eryali litayita Efeso ng’addayo mu Yerusaalemi, kiraga nti yali ayagala okutuuka e Yerusaalemi ng’Embaga ey’Okuyitako tennatuuka. Kyokka okuva bwe kiri nti Pawulo yali ayagala okwogerako n’abakadde b’omu Efeso, yabasaba basisinkane naye e Mireeto. (Bik. 20:13-17) Bwe baatuuka, Pawulo yabagamba nti: “Mumanyi bulungi engeri gye nneeyisangamu nga ndi mu mmwe okuva ku lunaku lwe nnatuuka mu ssaza ly’e Asiya, nga mpeereza Mukama waffe n’obuwombeefu, nga nkaaba amaziga, era nga ngezesebwa olw’enkwe z’Abayudaaya. Ate era mumanyi nti saalekayo kubabuulira bintu bya muganyulo wadde okubayigiriza mu lujjudde era ne nnyumba ku nnyumba. Naye nnawa Abayudaaya n’Abayonaani obujulirwa mu bujjuvu beenenye badde eri Katonda era bakkiririze mu Mukama waffe Yesu.”​—Bik. 20:18-21.

15. Ebimu ku birungi ebiri mu kubuulira nnyumba ku nnyumba bye biruwa?

15 Leero waliwo engeri nnyingi ez’okubuuliramu abantu amawulire amalungi. Okufaananako Pawulo, tufuba okugenda wonna awaba abantu, ka wabe mu bifo awasimba emmotoka, ku nguudo, oba mu butale. Kyokka okubuulira nnyumba ku nnyumba ye nkola Abajulirwa ba Yakuwa gye basinga okukozesa. Lwaki? Okusookera ddala, enkola eyo ewa abantu bonna akakisa okuwulira amawulire amalungi, era ekyo kiraga nti Katonda tasosola. Ate era esobozesa abantu ab’emitima emirungi okuyambibwa okusinziira ku mbeera yaabwe. Era okubuulira nnyumba ku nnyumba kunyweza okukkiriza kw’abo abakwenyigiramu, era kubayamba okweyongera okukulaakulanya obugumiikiriza. Mu butuufu, omulimu ogwawulawo Abakristaayo ab’amazima leero, kwe kubuulira “mu lujjudde era ne nnyumba ku nnyumba.”

16, 17. Pawulo yakiraga atya nti yali takkiriza mbeera yonna kumulemesa kutuukiriza buweereza bwe, era Abakristaayo leero bamukoppa batya?

16 Pawulo yagamba abakadde b’omu Efeso nti yali tamanyi buzibu bwe yali agenda kwolekagana nabwo ng’azzeeyo e Yerusaalemi. Yabagamba nti: “Obulamu bwange sibutwala nga bwa muwendo gye ndi, kasita mmaliriza olugendo lwange n’obuweereza bwe nnaweebwa Mukama waffe Yesu, okuwa obujulirwa mu bujjuvu ku mawulire amalungi agakwata ku kisa kya Katonda eky’ensusso.” (Bik. 20:24) Pawulo teyakkiriza mbeera yonna, ka bube bulwadde oba okuyigganyizibwa, okumulemesa okutuukiriza obuweereza bwe.

17 Abakristaayo leero nabo bagumira ebizibu eby’enjawulo. Abamu bali mu nsi omulimu gwaffe gye gwawerebwa, era bayigganyizibwa. Abalala balina obulwadde obw’amaanyi. Abavubuka boolekagana n’okupikirizibwa ku masomero. Ka bibe bizibu ki bye boolekagana nabyo, Abajulirwa ba Yakuwa basigala banywevu nga Pawulo. Bamalirivu “okuwa obujulirwa mu bujjuvu ku mawulire amalungi.”

“Mwekuume era Mukuume n’Ekisibo Kyonna” (Bik. 20:25-38)

18. Kiki Pawulo kye yakola obutavunaanibwa musaayi gwa muntu yenna, era abakadde b’omu Efeso baali bayinza kumukoppa batya?

18 Ekyaddako, Pawulo yabuulirira abakadde b’omu Efeso ng’ajuliza ekyokulabirako kye. Yasooka n’abagamba nti ogwo guyinza okuba nga gwe omulundi gwe baali bagenda okusembayo okumulaba. Oluvannyuma yabagamba nti: “Sivunaanibwa musaayi gwa muntu yenna, kubanga saalekayo kubabuulira kigendererwa kya Katonda.” Abakadde b’omu Efeso bandikoppye batya Pawulo nabo ne baba nga tebavunaanibwa musaayi gwa muntu yenna? Pawulo yabagamba nti: “Mwekuume era mukuume n’ekisibo kyonna, omwoyo omutukuvu mwe gwabalondera okuba abalabirizi, okulabiriranga ekibiina kya Katonda kye yagula n’omusaayi gw’Omwana we.” (Bik. 20:26-28) Ate era Pawulo yabalabula nti abantu abalinga “emisege emikambwe” bandiyingidde mu kibiina ne boogera “ebintu ebikyamye okusendasenda abayigirizwa okubagoberera.” Kiki abakadde kye baalina okukola? Pawulo yabagamba nti: “Mutunule, era mujjukire nti okumala emyaka esatu, emisana n’ekiro, saalekera awo kubuulirira buli omu ku mmwe nga nkaaba n’amaziga.”​—Bik. 20:29-31.

19. Kiki ekyaliwo mu kibiina Ekikristaayo ku nkomerero y’ekyasa ekyasooka, era kyavaamu ki mu byasa ebyaddirira?

19 Abantu abalinga “emisege emikambwe” baayingira mu kibiina ng’ekyasa ekyasooka kinaatera okuggwako. Awo nga mu 98 E.E., omutume Yokaana yawandiika nti: “Waliwo abalabe ba Kristo bangi; . . . Baava mu ffe naye tebaali bamu ku ffe; kubanga singa baali bamu ku ffe bandibadde basigala mu ffe.” (1 Yok. 2:18, 19) Ekyasa eky’okusatu we kyatuukira, obwakyewaggula bwali buviiriddeko Kristendomu okutandikawo, era mu kyasa eky’okuna, Kabaka Constantine yatongoza Obukristaayo obw’obulimba. Abakulembeze b’amadiini bwe baatandika okugoberera obulombolombo obw’ekikaafiiri ne babulabisa ‘ng’obw’Ekikristaayo,’ mu ngeri eyo baali ‘boogera ebintu ebikyamye.’ Ebyo ebyava mu bwakyewaggula obwo ne leero birabikira mu njigiriza ne mu bulombolombo bw’amaddiini ga Kristendomu.

20, 21. Pawulo yayoleka atya omwoyo gw’okwefiiriza, era abakadde mu kibiina Ekikristaayo leero bayinza kumukoppa batya?

20 Pawulo yali wa njawulo nnyo ku abo abandizzeewo oluvannyuma, abandibadde bayisa obubi ekisibo. Yakolanga emirimu okweyimirizaawo aleme okutikka ekibiina omugugu. Ebyo bye yakolanga ku lwa bakkiriza banne yalinga tabikola kwenoonyeza bibye. Pawulo yakubiriza abakadde b’omu Efeso okwoleka omwoyo gw’okwefiiriza. Yabagamba nti mulina “okuyamba abeetaaga obuyambi, era mulina okujjukira ebigambo bya Mukama waffe Yesu, nga bwe yagamba nti: ‘Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.’”​—Bik. 20:35.

21 Okufaananako Pawulo, abakadde mu kibiina Ekikristaayo leero booleka omwoyo gw’okwefiiriza. Okwawukana ku bakulembeze b’amadiini ga Kristendomu abanyuunyunta abagoberezi baabwe, abo abaweereddwa obuvunaanyizibwa ‘obw’okulabirira ekibiina kya Katonda,’ bafuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo awatali kwenoonyeza byabwe ku bwabwe. Amalala n’okwenoonyeza ebitiibwa tebirina kifo mu kibiina Ekikristaayo, kubanga abo ‘abeenoonyeza ebitiibwa’ ku nkomerero bafeebezebwa. (Nge. 25:27) Mu butuufu, okwetulinkiriza kuvaamu okuswala.​—Nge. 11:2.

“Bonna ne bakaaba nnyo.”​—Ebikolwa 20:37

22. Kiki ekyaviirako abakadde mu Efeso okwagala ennyo Pawulo?

22 Okwagala Pawulo kwe yalina eri bakkiriza banne kwabaviirako okumwagala ennyo. Ekiseera bwe kyatuuka okubasiibula, ‘bonna baakaaba nnyo ne bamugwa mu kifuba ne bamunywegera.’ (Bik. 20:37, 38) Abakristaayo ab’amazima basiima nnyo era baagala nnyo abo abalinga Pawulo abakola ennyo okuyamba ekisibo. Oluvannyuma lw’okwekenneenya ekyokulabirako ekirungi Pawulo kye yassaawo, tukiraba nti bwe yagamba nti “Sivunaanibwa musaayi gwa muntu yenna,” yali teyeewaana era yali tasavuwaza.​—Bik. 20:26.

b Ebbaluwa Pawulo gye yawandiikira Abaruumi, kirabika yagiwandiika mu kiseera kino ng’ali mu Kkolinso.

c Laba akasanduuko “ Pawulo Atwalira ab’Oluganda Obuyambi.”

d Mu bigambo Lukka bye yakozesa mu Ebikolwa 20:5, 6 naye kennyini yeezingiramu, era ekyo kiraga nti ayinza okuba nga yaddamu okusisinkana Pawulo mu Firipi, Pawulo gye yali yamuleka emabegako.​—Bik. 16:10-17, 40.

e Kyabatwalira ennaku ttaano okuva e Firipi okutuuka e Tulowa. Wayinza okuba nga waaliyo embuyaga ey’amaanyi, kubanga emabegako olugendo olwo lwali lwabatwalira ennaku bbiri zokka.​—Bik. 16:11.