Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 11

“Beeyongera Okusanyuka n’Okujjula Omwoyo Omutukuvu”

“Beeyongera Okusanyuka n’Okujjula Omwoyo Omutukuvu”

Ekyokulabirako Pawulo kye yassaawo ng’asisikanye abantu abaali bamuwakanya era abaali bataagala kuwuliriza

Byesigamiziddwa ku Ebikolwa 13:1-52

1, 2. Kya njawulo ki ekiri ku lugendo Balunabba ne Sawulo lwe banaatera okugendako, era omulimu gwe bagenda okukola gugenda kutuukiriza gutya ebyo ebiri mu Ebikolwa 1:8?

 LUNAKU lwa ssanyu nnyo mu kibiina ky’e Antiyokiya. Mu bannabbi bonna n’abayigiriza bonna abali mu kibiina kino, omwoyo omutukuvu gulonzeemu Balunabba ne Sawulo okugenda okubuulira amawulire amalungi mu bitundu eby’ewala. a (Bik. 13:1, 2) Kyo kituufu nti si be basoose okusindikibwa okubuulira mu bitundu eby’ewala, naye emabegako abo abaagenda okubuulira mu bitundu eby’ewala, baagenda mu bitundu ebyali byabuulirwamu. (Bik. 8:14; 11:22) Ku luno, Balunabba ne Sawulo bagenda mu bitundu abantu gye batawuliranga ku mawulire malungi. Bagenda ne Yokaana Makko agenda okukola ng’omuweereza waabwe.

2 Emyaka nga 14 emabega, Yesu yali agambye abagoberezi be nti: “Mujja kuba bajulirwa bange mu Yerusaalemi, mu Buyudaaya mwonna, mu Samaliya, n’okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.” (Bik. 1:8) Okulondebwa kwa Balunabba ne Sawulo okuweereza ng’abaminsani kijja kuyambako mu kutuukirizibwa kw’ebigambo bya Yesu ebyo! b

Baalondebwa ‘Okukola Omulimu’ (Bik. 13:1-12)

3. Lwaki tekyabanga kyangu kutambula ŋŋendo mpanvu mu kyasa ekyasooka?

3 Leero olw’okuba waliwo emmotoka n’ennyonyi, omuntu kiyinza okumutwalira essaawa ng’emu oba bbiri okutambula olugendo oluwanvu ennyo. Naye si bwe kityo bwe kyali mu kyasa ekyasooka E.E. Mu kiseera ekyo, okusingira ddala abantu baalinga batambuza bigere, era emirundi mingi amakubo tegaabanga malungi. Olugendo lwa mayiro 20 omuntu yalutambuliranga lunaku lulamba, era yakoowanga nnyo! c N’olwekyo, wadde nga Balunabba ne Sawulo baali baagala nnyo okukola omulimu ogwabaweebwa, baali bakimanyi nti okusobola okugukola, kyali kyetaagisa okufuba n’okwefiiriza.​—Mat. 16:24.

4. (a) Balunabba ne Sawulo baalondebwa batya, era bakkiriza bannaabwe baatwala batya okulondebwa kwabwe? (b) Tuyinza tutya okuwagira abo ababa baweereddwa enkizo mu kibiina?

4 Naye lwaki omwoyo omutukuvu gwalondamu Balunabba ne Sawulo ‘okukola omulimu’? (Bik. 13:2) Bayibuli tetubuulira. Naye kye tumanyi kiri nti omwoyo omutukuvu gwe gwawa obulagirizi ku kulondebwa kw’abasajja abo. Tewaliiwo kiraga nti bannabbi n’abayigiriza abaali mu Antiyokiya baawakanya ekyo ekyasalibwawo. Mu kifo ky’ekyo, baawagira okulondebwa kwabwe. Lowooza ku ngeri Balunabba ne Sawulo gye baawuliramu nga baganda baabwe tebabakwatiddwa buggya! Baganda baabwe abo ‘baasiiba, baasaba, baabassaako emikono, era oluvannyuma ne babasiibula.’ (Bik. 13:3) Naffe tusaanidde okuwagira bakkiriza bannaffe ababa baweereddwa obuvunaanyizibwa mu kibiina, nga mwe muli n’abo abalondebwa okuweereza ng’abalabirizi mu kibiina. Mu kifo ky’okukwatirwa obuggya abo ababa bafunye enkizo ng’ezo, tusaanidde ‘okubaagala ennyo n’okubalaga ekisa olw’omulimu gwe bakola.’​—1 Bas. 5:13.

5. Pawulo ne Balunabba baakola batya omulimu gw’okubuulira nga bali ku kizinga Kupulo?

5 Oluvannyuma lw’okutambula ne batuuka e Serukiya, omwalo ogwali okumpi ne Antiyokiya, Balunabba ne Sawulo baasaabala okugenda ku kizinga ky’e Kupulo era ng’olugendo olwo lwali lwa mayiro nga 120. d Olw’okuba Balunabba yali nzaalwa y’e Kupulo, ateekwa okuba nga yali yeesunga nnyo okubuulira abantu b’omu kitundu ekyo amawulire amalungi. Bwe baatuuka e Salamisi, akabuga akaali ku lubalama olw’ebuvanjuba bw’ekizinga Kupulo, ‘baatandikirawo okubuulira ekigambo kya Katonda mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya.’ e (Bik. 13:5) Balunabba ne Sawulo baatambula okuva ku luuyi olumu olw’ekizinga Kupulo okutuuka ku luuyi olulala, era kirabika baagendanga babuulira mu bibuga bye baayitangamu. Okutwalira awamu, abaminsani abo bayinza okuba nga baatambula mayiro nga 100!

6, 7. (a) Serugiyo Pawulo yali ani era lwaki Bali-Yesu yagezaako okumulemesa okuwuliriza amawulire amalungi? (b) Sawulo yalemesa atya Bali-Yesu okutuukiriza ekigendererwa kye?

6 Kupulo eky’omu kyasa ekyasooka kyali kijjudde okusinza okw’obulimba. Ekyo kyeyoleka bulungi Balunabba ne Sawulo bwe baatuuka e Pafo, ku lubalama lw’ekizinga ekyo olw’ebugwanjuba. Eyo baasangayo omusajja “Omuyudaaya ayitibwa Bali-Yesu, eyali omusamize era nga nnabbi wa bulimba. Yali wamu n’ow’essaza ayitibwa Serugiyo Pawulo, omusajja eyali ow’amagezi.” f Mu kyasa ekyasooka, Abaruumi bangi ‘ab’amagezi,’ gamba nga Serugiyo Pawulo, baateranga okukozesa abasamize n’abalaguzisa emmunyeenye okubayambako nga balina ebintu ebikulu bye basalawo. Wadde kyali kityo, Serugiyo Pawulo yakwatibwako nnyo obubaka bw’Obwakabaka era ‘yayagala okuwulira ekigambo kya Katonda.’ Kino tekyasanyusa Bali-Yesu, era eyali amanyiddwa nga Eruma, ekitegeeza “Omusamize.”​—Bik. 13:6-8.

7 Bali-Yesu yali tayagala mawulire g’Obwakabaka gabuulirwe. Mu butuufu, engeri yokka gye yali ayinza okusigala nga ye muwi w’amagezi owa Serugiyo Pawulo, kwe kulemesa ‘ow’essaza oyo okukkiriza Mukama waffe.’ (Bik. 13:8) Naye Sawulo yali tagenda kukkiriza musamize oyo kulemesa Serugiyo Pawulo kumanya bisingawo. Kiki kye yakola? Bayibuli egamba nti: “Sawulo, era ayitibwa Pawulo, n’ajjula omwoyo omutukuvu, [n’atunuulira Bali-Yesu] enkaliriza n’agamba nti: ‘Musajja ggwe ajjudde obukuusa n’ebintu ebibi ebya buli ngeri, ggwe omwana w’Omulyolyomi, omulabe wa buli kintu ekituukirivu, toolekere awo kukyamya makubo ga Yakuwa ag’obutuukirivu? Laba! Omukono gwa Yakuwa gukuliko, era ojja kuziba amaaso obe nga tolaba kitangaala okumala ekiseera.’ Amangu ago amaaso ge ne gajjako ekifu n’ekizikiza eky’amaanyi, n’agenda ng’awammanta nga bw’anoonya ow’okumukwata ku mukono.” g Kiki ekyavaamu? Bayibuli egamba nti: “Ow’essaza bwe yalaba ebyali bibaddewo, n’afuuka mukkiriza olw’okuba ebintu ebikwata ku Yakuwa bye yayiga byamwewuunyisa nnyo.”​—Bik. 13:9-12.

Okufaananako Pawulo, bwe tuba tuyigganyizibwa tulwanirira amazima

8. Tuyinza tutya okwoleka obuvumu nga Pawulo?

8 Pawulo teyatya Bali-Yesu. Naffe tetusaanidde kutya abo abataagala bubaka bwaffe, abagezaako okulemesa abo abaagala okuwuliriza obubaka bw’Obwakabaka. Wadde kiri kityo, bulijjo ebigambo byaffe birina ‘okuba eby’ekisa era nga binoze omunnyo.’ (Bak. 4:6) Tetulina kulekayo kubuulira mawulire malungi abo ababa baagala okuwuliriza olw’okuba tutya okuleetawo obuzibu. Era tetulina kutya kwanika njigiriza za madiini ag’obulimba ‘agakyamya amakubo ga Yakuwa ag’obutuukirivu’ nga Bali-Yesu bwe yali akola. (Bik. 13:10) Okufaananako Pawulo, bulijjo ka tulangirirenga amawulire amalungi n’obuvumu, tuyambe abantu ab’emitima emirungi. Wadde ng’okwawukana ku Pawulo ffe tuyinza obutalabirawo ngeri Yakuwa gy’atuyambamu, tuli bakakafu nti ajja kukozesa omwoyo gwe omutukuvu okuyamba abantu ab’emitima emirungi okuyiga amazima.​—Yok. 6:44.

“Ekigambo Ekiyinza Okuzzaamu Abantu Amaanyi” (Bik. 13:13-43)

9. Kyakulabirako ki Pawulo ne Balunabba kye baateerawo abo abatwala obukulembeze leero mu kibiina?

9 Waliwo enkyukakyuka eyajjawo oluvannyuma lwa Balunabba ne Pawulo awamu n’abalala okusitula okuva e Pafo okugenda e Peruga ku mwalo gwa Asiya Omutono, mayiro nga 150 ng’oyitidde ku nnyanja. Nga lwogera ku basajja abo, Ebikolwa 13:13 wagamba nti: “Pawulo ne banne.” Ebigambo ebyo biraga nti kati Pawulo ye yali akulemberamu ab’oluganda abo. Kyokka tewaliiwo kiraga nti Balunabba yakwatirwa Pawulo obuggya. Okwawukana kw’ekyo, abasajja abo bombi beeyongera okukolera awamu okusobola okutuukiriza ekyo Katonda ky’ayagala. Pawulo ne Balunabba baateerawo ab’oluganda abatwala obukulembeze mu kibiina ekyokulabirako ekirungi. Mu kifo ky’Abakristaayo okuvuganya, basaanidde okujjukiranga ebigambo bya Yesu bino: “Mmwenna muli ba luganda.” Ate era yagattako nti: “Buli eyeegulumiza alitoowazibwa na buli eyeetoowaza aligulumizibwa.”​—Mat. 23:8, 12.

10. Olugendo Pawulo ne banne lwe baatambula okuva e Peruga okutuuka mu Antiyokiya eky’omu Pisidiya lwali lutya?

10 Bwe baatuuka e Peruga, Yokaana Makko yaleka Pawulo ne Balunabba n’addayo e Yerusaalemi. Bayibuli teraga nsonga yamuviirako kuddayo. Pawulo ne Balunabba beeyongerayo ku lugendo lwabwe, ne bava e Peruga ne bagenda e Antiyokiya eky’omu Pisidiya, ekibuga ekyali mu ssaza ly’e Ggalatiya. Olugendo olwo terwali lwangu, okuva bwe kiri nti Antiyokiya eky’omu Pisidiya kyali ku bugulumivu bwa ffuuti nga  3,600. Amakubo agaali gagendayo gaali mabi, era gaateranga okubaamu ebibinja by’abazigu. Ng’oggyeeko ekyo, kirabika mu kiseera ekyo Pawulo yalina obulwadde obwali bumutawaanya. h

11, 12. Pawulo bwe yali ayogera mu kkuŋŋaaniro ly’e Antiyokiya eky’omu Pisidiya, yaleetera atya abaali bamuwuliriza okwagala okumanya ebisingawo?

11 Bwe baatuuka mu Antiyokiya eky’omu Pisidiya, Pawulo ne Balunabba baagenda mu kkuŋŋaaniro ku Ssabbiiti. Bayibuli egamba nti: “Oluvannyuma lw’Amateeka n’ebitabo bya Bannabbi okusomebwa, abakulu b’ekkuŋŋaaniro ne babasaba nga bagamba nti: ‘Ab’oluganda, bwe muba nga mulina ekigambo ekiyinza okuzzaamu abantu amaanyi, mukibabuulire.’” (Bik. 13:15) Pawulo yayimirira okwogera.

12 Pawulo yatandika ng’agamba nti: “Mmwe Abayisirayiri nammwe abalala abatya Katonda.” (Bik. 13:16) Mu abo abaali bamuwuliriza mwalimu Abayudaaya n’abakyufu. Pawulo yaleetera atya abo abaali batamanyi kifo Yesu ky’alina mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda okwagala okumanya ebisingawo? Okusookera ddala, yayogera mu bumpimpi ku byafaayo by’eggwanga lya Isirayiri. Yabategeeza engeri Yakuwa gye ‘yagulumiza bajjajja b’Abayisirayiri bwe baali abagwira mu nsi ya Misiri,’ n’engeri oluvannyuma lw’okubaggya mu buddu e Misiri gye “yabagumiikiriza okumala emyaka nga 40 mu ddungu.” Ate era yayogera ku ngeri Abayisirayiri gye baaweebwamu ensi ensuubize, n’engeri Yakuwa gye “yagibagabanyizaamu okuba obusika bwabwe.” (Bik. 13:17-19) Okuva bwe kiri nti ku Ssabbiiti baasomanga Ebyawandiikibwa, kigambibwa nti Pawulo ayinza okuba nga yali ayogera ku byawandiikibwa ebyali byakamala okusomebwa. Bwe kiba nga kituufu, ekyo nakyo kiraga engeri Pawulo gye yali amanyi ‘okufuuka byonna eri abantu aba buli ngeri.’​—1 Kol. 9:22.

13. Tuyinza tutya okuleetera abatuwuliriza okwagala okumanya ebisingawo?

13 Naffe tusaanidde okuleetera abantu be tubuulira okusiima obubaka bwaffe. Ng’ekyokulabirako, bwe tumanya eddiini y’omuntu kisobola okutuyamba okwogera ku bintu by’ayinza okwagala okuwuliriza. Ate era tuyinza okukozesa ebyawandiikibwa omuntu by’ayinza okuba ng’amanyi bulungi. Kiba kirungi ne tumuleka ne yeesomera mu Bayibuli ye. Bulijjo fubanga okutuuka ku mitima gy’abakuwuliriza.

14. (a) Pawulo yatandika atya okwogera ebikwata ku Yesu, era kulabula ki kwe yawa abaali bamuwuliriza? (b) Abo abaali bawuliriza Pawulo baakwatibwako batya?

14 Ekyaddako, Pawulo yalaga engeri “omulokozi, Yesu,” gye yava mu lunyiriri lwa bakabaka ba Isirayiri, era yalaga nti Yokaana Omubatiza yamukulemberamu mu buweereza bwe. Oluvannyuma Pawulo yalaga engeri Yesu gye yattibwa era n’azuukizibwa. (Bik. 13:20-37) Yagamba nti: “Ka mukimanye nti Katonda ajja kubasonyiwa ebibi byammwe okuyitira mu kufa kw’omusajja oyo, . . . buli akkiriza aggibwako omusango okuyitira mu oyo.” Oluvannyuma Pawulo yalabula abaali bamuwuliriza. Yabagamba nti: “N’olwekyo, mwegendereze ebyayogerwa mu Kitabo kya Bannabbi bireme okubatuukako, ebigamba nti: ‘Mukirabe mmwe abanyoomi, mwewuunye, era musaanewo, kubanga waliwo kye nkola mu nnaku zammwe, kye mutajja kukkiriza, omuntu yenna ne bw’anaakibannyonnyola.’” Abantu baakwatibwako nnyo ebyo Pawulo bye yayogera. Bayibuli egamba nti: “Abantu ne babeegayirira boogere ku bintu ebyo ne ku Ssabbiiti eddako.” Ate era olukuŋŋaana olwo bwe lwaggwa, “Abayudaaya bangi n’abakyufu abaali basinza Katonda ne bagoberera Pawulo ne Balunabba.”​—Bik. 13:38-43.

“Ka Tugende eri ab’Amawanga” (Bik. 13:44-52)

15. Kiki ekyaliwo ku Ssabbiiti eyaddako?

15 Ku Ssabbiiti eyaddako, “kumpi ab’omu kibuga bonna” baakuŋŋaana okuwuliriza Pawulo. Ekyo tekyasanyusa Bayudaaya abamu era ‘baatandika okuwakanya Pawulo n’okuvumirira bye yali ayogera.” Pawulo ne Balunabba baabagamba nti: “Kyali kigwanira ekigambo kya Katonda okusooka okwogerwa gye muli. Naye okuva bwe mukigaanye, ne mukiraga mmwe mmwennyini nti temusaanira kufuna bulamu butaggwaawo, ka tugende eri ab’amawanga. Mu butuufu, Yakuwa atuwadde ekiragiro ng’agamba nti, ‘Nkulonze okuba ekitangaala eri amawanga, n’obulokozi okutuuka ensi gy’ekoma.’”​—Bik. 13:44-47; Is. 49:6.

“Ne bayigganya Pawulo ne Balunabba . . .  Abayigirizwa ne beeyongera okusanyuka n’okujjula omwoyo omutukuvu.”​—Ebikolwa 13:50-52

16. Abayudaaya baakola ki bwe baawulira ebigambo abaminsani bye baayogera, era kiki Pawulo ne Balunabba kye baakola ng’Abayudaaya bakumye omuliro mu bantu ne babagoba mu kitundu kyabwe?

16 Ab’Amawanga abaali bawuliriza baasanyuka nnyo era “abo bonna abaalina endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo ne bafuuka bakkiriza.” (Bik. 13:48) Mu kiseera kitono ekigambo kya Yakuwa kyabuna mu kitundu ekyo kyonna. Kyokka bo Abayudaaya tebaasanyukira bubaka obwabuulirwa. Pawulo ne Balunabba baagamba Abayudaaya abo nti wadde nga be baasooka okubuulirwa Ekigambo kya Katonda, baasalawo okugaana okukkiriza Masiya, era nti baali bajja kusalirwa omusango. Abayudaaya baakuma omuliro mu bakazi ab’ebitiibwa n’abasajja abaali abakulu b’ekibuga, “ne bayigganya Pawulo ne Balunabba ne babagoba mu kitundu kyabwe.” Kiki Pawulo ne Balunabba kye baakola? ‘Baakunkumula enfuufu y’ebigere byabwe ng’akabonero okubalabula, ne bagenda mu Ikoniyo.’ Eyo ye yali enkomerero y’Obukristaayo mu Antiyokiya eky’omu Pisidiya? Nedda! Abayigirizwa abaasigalayo “beeyongera okusanyuka n’okujjula omwoyo omutukuvu.”​—Bik. 13:50-52.

17-19. Tuyinza tutya okukoppa Pawulo ne Balunabba, era ekyo kiyinza kitya okutuyamba okuba abasanyufu?

17 Tulina ekintu ekikulu kye tuyigira ku ekyo Pawulo ne Balunabba kye baakolawo nga bayigganyizibwa. Abantu ab’ebitiibwa mu nsi ne bwe bagezaako okutulemesa okubuulira amawulire amalungi, tetulekaayo kubuulira. Ate era weetegereze nti abantu b’omu Antiyokiya bwe baagaana okuwuliriza, Pawulo ne Balunabba ‘baakunkumula enfuufu y’ebigere byabwe.’ Mu kukola ekyo baali tebooleka busungu, wabula baali balaga nti tebavunaanyizibwa musaayi gw’abantu abo. Abaminsani abo baali bakimanyi nti tebalina buyinza ku ngeri abantu gye bandituttemu bubaka bwabwe. Naye eky’okusalawo obanga bandyeyongedde okubuulira kyali mu buyinza bwabwe, abantu ka babe nga bawuliriza oba nedda. Era ddala beeyongera okubuulira bwe baagenda mu Ikoniyo!

18 Ate bo abayigirizwa abaasigala mu Antiyokiya? Kyo kituufu nti ekitundu kye baalimu tekyali kyangu. Naye essanyu lyabwe lyali terisinziira ku kuba nti abantu bawuliriza oba nedda. Yesu yagamba nti: “Abalina essanyu beebo abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikolerako!” (Luk. 11:28) Ekyo kyennyini abayigirizwa ab’omu Antiyokiya eky’omu Pisidiya kye baamalirira okukola.

19 Okufaananako Pawulo ne Balunabba, naffe bulijjo tusaanidde okukijjukira nti obuvunaanyizibwa bwaffe bwa kubuulira mawulire malungi. Abantu be tubuulira be balina okwesalirawo obanga banaatuwuliriza oba nedda. Singa abo be tubuulira tebatuwuliriza, tusaanidde okukoppa abayigirizwa abaaliwo mu kyasa ekyasooka. Bwe tusiima amazima era ne tukolera ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu, naffe tusobola okuba abasanyufu ne bwe tuba nga tuyigganyizibwa.​—Bag. 5:18, 22.

b Mu kiseera ekyo, ebibiina byali byatandikawo dda mu bitundu eby’ewala, gamba nga mu Antiyokiya ekya Busuuli, ekyali mayiro nga 350 ebukiikakkono wa Yerusaalemi.

c Laba akasanduuko, “ Mu Kkubo.”

d Mu kyasa ekyasooka, ekyombo kyakitwaliranga olunaku lumu okusaabala olugendo lwa mayiro nga kikumi, embuyaga bwe yabanga ekunta edda gye kiraga. Naye embeera y’obudde bwe yabanga embi, kyakitwaliranga ebbanga ddene n’okusingawo.

e Laba akasanduuko, “ Mu Makuŋŋaaniro g’Abayudaaya.”

f Kupulo kyali wansi wa bufuzi bwa Rooma era kyafugibwanga gavana, eyayitibwanga ow’essaza.

g Okuva mu kiseera ekyo Sawulo yatandika okuyitibwa Pawulo. Abamu bagamba nti Sawulo yatandika okukozesa erinnya eryo ery’Ekirooma olw’okwagala okussa ekitiibwa mu Serugiyo Pawulo. Kyokka okuva bwe kiri nti Pawulo yasigala yeeyita erinnya eryo n’oluvannyuma lw’okuva ku kizinga ky’e Kupulo, kiraga nti nsonga ndala eyaleetera ‘omutume oyo eri amawanga,’ okweyita erinnya eryo ery’Ekirooma. Era ayinza okuba nga yasalawo okukozesa erinnya Pawulo olw’okuba enjatula y’erinnya ly’Ekiyudaaya, Sawulo, efaanana n’ekigambo ky’Oluyonaani ekirina amakulu amabi.​—Bar. 11:13.

h Ebbaluwa Pawulo gye yawandiikira Abaggalatiya yagiwandiika wayiseewo emyaka egiwera. Mu bbaluwa eyo yagamba nti: “Olw’obulwadde bwange, nnafuna akakisa okubabuulira amawulire amalungi omulundi ogwasooka.”​—Bag. 4:13.