EKITUNDU 1 • EBIKOLWA 1:1–6:7
“Mujjuzizza Yerusaalemi Okuyigiriza Kwammwe”
Okuva mu kiseera abayigirizwa ba Yesu lwe baafukibwako omwoyo omutukuvu ku lunaku lwa Pentekooti 33 E.E., baatandika okukola n’obunyiikivu omulimu gw’okuwa obujulirwa ku Bwakabaka bwa Katonda. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu ebyaliwo ng’ekibiina Ekikristaayo kitandikibwawo, engeri abagoberezi ba Yesu gye beeyongera okukola n’obunyiikivu omulimu gw’okuwa obujulirwa mu Yerusaalemi, n’obuvumu abatume bwe baayoleka nga bayigganyizibwa.