Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 3

“Bajjula Omwoyo Omutukuvu”

“Bajjula Omwoyo Omutukuvu”

Ebyavaamu ng’Abayigirizwa bafukiddwako omwoyo omutukuvu ku lunaku lwa Pentekooti

Byesigamiziddwa ku Ebikolwa 2:1-47

1. Nnyonnyola embeera ebaawo mu kiseera ky’Embaga ya Pentekooti.

 ABANTU mu kibuga Yerusaalemi bali mu keetalo. a Ku yeekaalu omukka gunyooka okuva ku kyoto, era Abaleevi bayimba zabbuli ez’okutendereza (Zabbuli 113 okutuuka ku 118). Enguudo zijjudde abantu abavudde mu bitundu ebitali bimu, gamba nga Eramu, Mesopotamiya, Kapadokiya, Ponto, Misiri, ne Rooma. b Kiki ekibaleese? Bazze kukwata Mbaga ya Pentekooti, era eyitibwa ‘olunaku olw’ebibala ebibereberye.’ (Kubal. 28:26) Embaga eno eya buli mwaka ebaawo ku nkomerero y’amakungula ga ssayiri, ng’amakungula g’eŋŋaano gagenda kutandika. Kiseera kya ssanyu nnyo.

2. Bintu ki ebyewuunyisa ebibaawo ku lunaku lwa Pentekooti 33 E.E.?

2 Ku ssaawa nga ssatu ez’oku makya, ku lunaku olwo olwa Ssande mu mwaka gwa 33 E.E., waliwo ekintu ekyewuunyisa ennyo ekibaawo. Wabaawo ‘okuwuuma okulinga okw’embuyaga ey’amaanyi’ okuva mu ggulu. (Bik. 2:2) Okuwuuma okwo kujjula enju omukuŋŋaanidde abayigirizwa ba Yesu nga 120. Ate era wabaawo ekintu ekirala ekyewuunyisa ennyo. Ennimi eziringa ez’omuliro zirabika, era buli omu ku bayigirizwa abo atuulibwako olulimi lumu. c Abayigirizwa “bajjula omwoyo omutukuvu” ne batandika okwogera mu nnimi endala! Abayigirizwa abo bwe bafuluma mu nnyumba, abantu abatali ba mu kitundu ekyo be basanga ku nguudo beewuunya nnyo kubanga basobola okwogera nabo mu nnimi zaabwe! Mu butuufu buli omu ku bantu abo abawulira nga “boogera olulimi lwe.”​—Bik. 2:1-6.

3. (a) Lwaki olunaku lwa Pentekooti olw’omwaka gwa 33 E.E. lukulu nnyo mu byafaayo by’okusinza okw’amazima? (b) Okwogera kwa Peetero kwalina kakwate ki n’okukozesa “ebisumuluzo by’Obwakabaka”?

3 Ebyo ebyaliwo biraga ekintu ekikulu ennyo ekyaliwo mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda, kwe kugamba, okutandikibwawo kw’eggwanga lya Isirayiri ow’omwoyo, oba ekibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta. (Bag. 6:16) Naye era waaliwo n’ekintu ekirala ekikulu. Peetero bwe yayogera eri ekibiina ky’abantu ku lunaku olwo, yakozesa ekisumuluzo ekisooka ku ‘bisumuluzo ebisatu eby’Obwakabaka.’ Buli kimu ku bisumuluzo ebyo kyali kya kubaako ekiti ky’abantu be kiggulirawo enkizo ey’enjawulo. (Mat. 16:18, 19) Ekisumuluzo kino ekyasooka kyasobozesa Abayudaaya n’abo abaali bakyuse okudda mu ddiini y’Ekiyudaaya okukkiriza amawulire amalungi ne bafukibwako omwoyo gwa Katonda omutukuvu. d N’olwekyo, baali bagenda kuba bamu ku abo abali mu Isirayiri ow’omwoyo, abandibadde n’enkizo ey’okufuga nga bakabaka n’okuweereza nga bakabona mu Bwakabaka bwa Masiya. (Kub. 5:9, 10) Oluvannyuma enkizo eyo yandiweereddwa n’Abasamaliya era n’Abamawanga. Kiki Abakristaayo leero kye bayinza okuyigira ku ebyo ebyaliwo ku Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E.?

“Bonna Baali Wamu mu Kifo Kimu” (Bik. 2:1-4)

4. Ekibiina Ekikristaayo kyatandika kitya, era ddi?

4 Ekibiina Ekikristaayo kyatandika nga kirimu abayigirizwa nga 120, ‘bonna abaali awamu mu kifo kimu,’ mu kisenge ekya waggulu, era abaafukibwako omwoyo omutukuvu. (Bik. 2:1) Olunaku olwo we lwaggweerako, abantu abalala nga 3,000 be baabatizibwa ne beegatta ku kibiina ekyo. Eyo yali ntandikwa butandikwa ey’ekibiina ekikyeyongera okugaziwa n’okutuusa leero! Okuyitira mu kibiina kino Ekikristaayo, omuli abasajja n’abakazi abatya Katonda, ‘amawulire amalungi ag’Obwakabaka gabuulirwa mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna’ ng’enkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno tennatuuka.​—Mat. 24:14.

5. Mu ngeri ki ekibiina Ekikristaayo gye kyali eky’omuganyulo eri Abakristaayo mu kyasa ekyasooka, era mu ngeri ki gye kiri eky’omuganyulo eri Abakristaayo leero?

5 Ekibiina Ekikristaayo era kyandibadde kinyweza mu by’omwoyo bonna abakirimu, kwe kugamba, abaafukibwako amafuta, n’oluvannyuma ‘ab’endiga endala.’ (Yok. 10:16) Pawulo yasiima nnyo eky’okuba nti mu kibiina Ekikristaayo buli omu azzaamu munne amaanyi. Yagamba Abakristaayo abaali mu kibiina ky’omu Rooma nti: “Njagala nnyo okubalaba, nsobole okubawa ekirabo eky’eby’omwoyo munywezebwe; oba, musobole okunzizaamu amaanyi okuyitira mu kukkiriza kwammwe nange nsobole okubazzaamu amaanyi okuyitira mu kukkiriza kwange.”​—Bar. 1:11, 12.

6, 7. Ekibiina Ekikristaayo leero kituukiriza kitya omulimu Yesu gwe yawa abagoberezi be ogw’okubuulira mu mawanga gonna?

6 Leero ekibiina Ekikristaayo kirina ebigendererwa bye bimu n’ebyo bye kyalina mu kyasa ekyasooka. Yesu yawa abayigirizwa be omulimu oguleeta essanyu, wadde nga gulimu okusoomooza. Yabagamba nti: “Mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, n’ery’Omwana, n’ery’omwoyo omutukuvu, nga mubayigiriza okukwata ebintu byonna bye nnabalagira.”​—Mat. 28:19, 20.

7 Leero Yakuwa akozesa ekibiina Ekikristaayo eky’Abajulirwa ba Yakuwa okukola omulimu ogwo. Kya lwatu nti si kyangu okubuulira abantu aboogera ennimi ez’enjawulo. Wadde kiri kityo, Abajulirwa ba Yakuwa bakubye ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli mu nnimi ezisukka mu 1,000. Bw’oba ng’oli mu kibiina Ekikristaayo era nga weenyigira mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka awamu n’okufuula abantu abayigirizwa, awatali kubuusabuusa oli musanyufu nnyo. Oli omu ku bantu abatono ennyo ku nsi abalina enkizo ey’okuwa obujulirwa ku linnya lya Yakuwa!

8. Buyambi ki bwe tufuna okuyitira mu kibiina Ekikristaayo?

8 Okusobola okukuyamba okugumiikiriza n’essanyu mu biseera bino ebizibu ennyo, Yakuwa Katonda akuwadde baganda bo ne bannyoko bangi nnyo okwetooloola ensi. Pawulo yawandiikira Abakristaayo Abebbulaniya n’abagamba nti: “Ka buli omu ku ffe alowoozenga ku munne, okumukubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi, nga tetulekaayo kukuŋŋaananga wamu ng’abamu bwe bakola, naye nga tuzziŋŋanamu amaanyi, naddala nga bwe mulaba nti olunaku lusembedde.” (Beb. 10:24, 25) Ekibiina Ekikristaayo kirabo okuva eri Yakuwa, kubanga kikusobozesa okuzzaamu abalala amaanyi era nabo ne bakuzzaamu amaanyi. N’olwekyo tolekangayo kukuŋŋaananga wamu ne bakkiriza banno.

‘Buli Omu Yawulira mu Lulimi Lwe’ (Bik. 2:5-13)

“Tubawulira nga boogera mu nnimi zaffe ku bintu bya Katonda eby’ekitalo.”​—Ebikolwa 2:11

9, 10. Kiki abamu kye bakoze okusobola okubuulira abantu aboogera ennimi endala?

9 Lowooza ku ssanyu Abayudaaya n’abo abaali bakyuse okudda mu ddiini y’Ekiyudaaya lye baalina ku lunaku lwa Pentekooti 33 E.E. Abasinga obungi ku abo abaaliwo bayinza okuba nga baali boogera olulimi olwali lwogerwa abantu abasinga obungi, oboolyawo Oluyonaani oba Olwebbulaniya. Naye kati ‘buli omu yali awulira abayigirizwa nga boogera olulimi lwe.’ (Bik. 2:6) Mazima ddala abantu abo bateekwa okuba nga baakwatibwako nnyo okuwulira amawulire amalungi mu lulimi lwabwe. Kya lwatu nti Abakristaayo leero tebalina kirabo kya kwogera nnimi ndala mu ngeri ey’ekyamagero. Kyokka bangi beewaddeyo okutuusa amawulire ag’Obwakabaka ku bantu ab’omu mawanga gonna. Ekyo bakikoze batya? Abamu bayize olulimi olulala basobole okuweereza mu kibiina ekyogera olulimi olulala ekiri okumpi ne we babeera, ate abamu bagenze mu nsi endala. Bangi bakirabye nti abantu be babuulira kibasanyusa nnyo okulaba nti baafuba okuyiga olulimi lwabwe.

10 Lowooza ku Christine. Ye awamu n’Abajulirwa ba Yakuwa abalala musanvu baasalawo okuyiga Olugujalati. Ku mulimu Christine gye yali akolera waaliyo omukyala eyali ayogera Olugujalati, era lumu yamubuuza mu lulimi olwo. Omukyala oyo yeewuunya nnyo, era yabuuza Christine ensonga lwaki yali afuba okuyiga olulimi oluzibu ennyo bwe lutyo. Christine yawa omukyala oyo obujulirwa. Era omukyala oyo yagamba nti: “Wateekwa okuba nga waliwo ekintu ekikulu ennyo ky’oyagala ntegeere.”

11. Tuyinza tutya okuba abeetegefu okubuulira abantu aboogera ennimi endala amawulire g’Obwakabaka?

11 Kya lwatu nti abamu ku ffe tetusobola kuyiga lulimi lulala. Wadde kiri kityo, tusobola okubuulira abantu aboogera ennimi endala amawulire g’Obwakabaka. Ekyo tuyinza kukikola tutya? Engeri emu gye tuyinza okukikolamu, kwe kukozesa programu ya JW Language® tusobole okuyiga engeri gye babuuzaamu mu lulimi olulala olwogerwa ennyo mu kitundu kyaffe. Tuyinza n’okuyigayo ebigambo ebitonotono mu lulimi olwo ebiyinza okukwata ennyo ku abo abalwogera. Tusobola n’okubalagirira ku mukutu gwaffe ogwa jw.org era tuyinza n’okubalaga vidiyo n’ebitabo ebiri mu lulimi lwabwe. Bwe tukola bwe tutyo, naffe tuyinza okufuna essanyu ng’eryo bakkiriza bannaffe ab’omu kyasa ekyasooka lye baafuna, abantu bwe baakwatibwako ennyo nga bababuulidde amawulire amalungi mu nnimi zaabwe.

“Peetero n’Ayimuka” (Bik. 2:14-37)

12. (a) Ebyo nnabbi Yoweeri bye yayogera birina kakwate ki n’ekyamagero ekyaliwo ku lunaku lwa Pentekooti 33 E.E.? (b) Lwaki obunnabbi bwa Yoweeri bwali busuubirwa okutuukirira mu kyasa ekyasooka?

12 ‘Peetero yayimuka’ n’ayogera eri ekibiina ekyalimu abantu ab’amawanga ag’enjawulo. (Bik. 2:14) Yannyonnyola abo bonna abaali bamutegedde amatu nti Katonda ye yali asobozesezza abayigirizwa okwogera ennimi ez’enjawulo era nti ekyo kyali kituukiriza obunnabbi bwa Yoweeri obugamba nti: “Ndifuka omwoyo gwange ku bantu aba buli ngeri.” (Yow. 2:28) Yesu bwe yali tannaddayo mu ggulu, yagamba abayigirizwa be nti: “Nja kusaba Kitange era ajja kubawa omuyambi omulala,” era n’akiraga nti omuyambi oyo gwe ‘mwoyo omutukuvu.’​—Yok. 14:16, 17.

13, 14. Peetero yafuba atya okutuuka ku mitima gy’abaali bamuwuliriza, era tuyinza tutya okumukoppa?

13 Peetero bwe yali afundikira, yagamba abaali bamuwuliriza nti: “Ennyumba ya Isirayiri yonna k’ekimanyire ddala nti Yesu oyo gwe mwakomerera ku muti, Katonda yamufuula Mukama waffe era Kristo.” (Bik. 2:36) Kya lwatu nti abasinga obungi ku abo abaali bawuliriza Peetero, tebaaliwo nga Yesu attibwa ku muti ogw’okubonaabona. Kyokka bonna awamu ng’eggwanga baaliko omusango ogw’okutta Yesu. Naye weetegereze nti Peetero yayogera eri Bayudaaya banne mu ngeri eraga nti yali abassaamu ekitiibwa, era yatuuka ku mitima gyabwe. Ekigendererwa kya Peetero kyali kya kuyamba abamuwuliriza okwenenya so si okubasalira omusango. Abo abaali bawuliriza Peetero baanyiiga olw’ebigambo bye yayogera? Nedda. Mu kifo ky’ekyo, ‘baalumwa nnyo mu mitima gyabwe’ era ne babuuza nti: “Tukole ki?” Kirabika engeri ennungi Peetero gye yayogera nabo yaviirako ebyo bye yayogera okubatuuka ku mutima ne beenenya.​—Bik. 2:37.

14 Naffe tusobola okukoppa engeri Peetero gye yayogeramu n’asobola okutuuka abantu ku mutima. Bwe tuba tubuulira abantu, tetusaanidde kubatereeza mu buli kye baba boogedde ekikontana n’Ebyawandiikibwa. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okuzimbira ku ebyo bye baba boogedde bye tukkiriziganyaako nabo. Bwe tutandikira ku ekyo kye tukkiriziganyaako nabo, mpolampola tusobola okubayamba okutegeera ekituufu nga tukozesa Ekigambo kya Katonda. Emirundi mingi bwe tubuulira abantu amazima agali mu Bayibuli nga tutandikira ku bintu bye tukkiriziganyaako nabo, abo ab’emitima emirungi bakwatibwako nnyo ebyo bye bawulira.

“Buli Omu ku Mmwe Abatizibwe” (Bik. 2:38-47)

15. (a) Kiki Peetero kye yakubiriza abaali bamuwuliriza okukola, era baakolawo ki? (b) Kyasoboka kitya okuba nti abantu abo bonna abaawuliriza amawulire amalungi ku Pentekooti baali batuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa?

15 Ku lunaku olwo olwa Pentekooti 33 E.E., Peetero yagamba Abayudaaya n’abo abaali bakyuse okudda mu ddiini y’Ekiyudaaya abaali bamuwuliriza nti: “Mwenenye, era buli omu ku mmwe abatizibwe.” (Bik. 2:38) N’ekyavaamu, abantu nga 3,000 be baabatizibwa, oboolyawo mu bidiba ebyali mu Yerusaalemi oba okumpi ne Yerusaalemi. e Abo abaabatizibwa baakwatibwa bukwatibwa kinyegenyege? Ekyo ekyaliwo kyandireetedde abayizi ba Bayibuli n’abaana b’Abajulirwa ba Yakuwa okwanguyiriza okubatizibwa nga tebannatuukiriza bisaanyizo? Nedda. Kijjukire nti Abayudaaya n’abo abaali bakyuse okudda mu ddiini y’Ekiyudaaya abaabatizibwa ku lunaku lwa Pentekooti 33 E.E., baali bantu abaali banyiikirira okusoma Ekigambo kya Katonda era ng’eggwanga lyabwe lyali lyamala dda okwewaayo eri Yakuwa. Ate era baali bakyolese nti baali baagala nnyo Katonda, ng’abamu ku bo batindizze eŋŋendo empanvu okusobola okubaawo ku mbaga eyo eyabangawo buli mwaka. Oluvannyuma lw’okutegeera amazima agakwata ku kifo Yesu Kristo ky’alina mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda, baali bagenda kweyongera bweyongezi mu maaso okuweereza Katonda, naye nga ku luno bamuweereza ng’abagoberezi ba Kristo ababatize.

16. Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baayoleka batya omwoyo ogw’okwefiiriza?

16 Awatali kubuusabuusa Yakuwa yabawa omukisa. Bayibuli egamba nti: “Abo bonna abaafuuka abakkiriza baalinga wamu era baagabananga ebintu byonna bye baalina, era baatundanga ebintu byabwe, ssente ezaavangamu ne bazigabana okusinziira ku bwetaavu bwa buli omu.” f (Bik. 2:44, 45) Abakristaayo bonna ab’amazima basaanidde okwoleka omwoyo ng’ogwo ogw’okwefiiriza awamu n’okwagala.

17. Mitendera ki omuntu gy’ayitamu okusobola okubatizibwa?

17 Okusinziira ku Byawandiikibwa, omuntu okusobola okwewaayo n’okubatizibwa n’afuuka Omukristaayo, alina ebisaanyizo by’alina okusooka okutuukiriza. Alina okusooka okutegeera amazima agali mu Kigambo kya Katonda. (Yok. 17:3) Alina okwoleka okukkiriza era alina okwenenya n’akiraga nti anakuwalira ddala ebibi bye yakola emabega. (Bik. 3:19) Alina okukyuka n’atandika okukola ebyo Yakuwa by’ayagala. (Bar. 12:2; Bef. 4:23, 24) Awo aba asobola okwewaayo eri Katonda ng’ayitira mu kusaba era oluvannyuma n’abatizibwa.​—Mat. 16:24; 1 Peet. 3:21.

18. Nkizo ki abayigirizwa ba Kristo bonna ababatize gye balina?

18 Oli muyigirizwa wa Yesu Kristo eyamala okwewaayo eri Yakuwa n’obatizibwa? Bwe kiba kityo, enkizo eyo gitwale nga ya muwendo nnyo. Okufaananako abayigirizwa ba Yesu ab’omu kyasa ekyasooka abajjuzibwa omwoyo omutukuvu, naawe osobola okukozesebwa mu ngeri ey’ekitalo okuwa obujulirwa mu bujjuvu!

c “Ennimi” ezo tezaali muliro gwennyini wabula ‘zaalinga ez’omuliro,’ ekiraga nti ekyo ekyalabika ku mitwe gy’abayigirizwa kyali kirabika bulabisi ng’omuliro.

d Laba akasanduuko “ Abakyufu Be Baali Baani?

e Nga Agusito 7, 1993, mu kibuga Kiev eky’omu Ukraine, waaliwo olukuŋŋaana olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa olubeerako ab’oluganda okuva mu mawanga ag’enjawulo. Abaabatizibwa baali 7,402 era baabatirizibwa mu bidiba mukaaga. Okubatiza kwatwala essaawa bbiri n’eddakiika kkumi na ttaano.

f Ab’oluganda okuyambagana bwe batyo kyali kituukirawo nnyo kubanga bannaabwe abaali bavudde ewala baasobola okusigala mu Yerusaalemi okumala ekiseera ne basobola okweyongera okuyigirizibwa. Abo abaawaayo ebintu byabwe, baabiwangayo kyeyagalire buli omu nga bwe yabanga asobodde.​—Bik. 5:1-4.