ESSUULA 2
“Mujja Kuba Bajulirwa Bange”
Engeri Yesu gye yateekateekamu abatume be okuwoma omutwe mu mulimu gw’okubuulira
Byesigamiziddwa ku Ebikolwa 1:1-26
1-3. Kiki ekyaliwo nga Yesu addayo mu ggulu, era bibuuzo ki ebijjawo?
ABATUME bakwatiddwako nnyo olw’ebyo ebibaddewo mu wiiki nga ttaano eziyise, era bawulira nti tebandyagadde bikome! Okuzuukira kwa Yesu kwabamalako ennaku ey’amaanyi gye baalina, era kati basanyufu nnyo. Okumala ennaku nga 40, Yesu abadde alabikira abagoberezi be enfunda n’enfunda, ne yeeyongera okubayigiriza n’okubazzaamu amaanyi. Kyokka leero alabikidde abatume omulundi ogusembayo.
2 Abatume bali wamu ku Lusozi olw’Emizeyituuni, era bassaayo omwoyo ku buli kigambo Yesu ky’ayogera. Bw’amaliriza okwogera, ayimusa emikono gye n’abawa omukisa. Awo ebigere bye bisituka ku ttaka n’atandika okwambuka! Abatume be bamutunuulira ng’agenda waggulu mu bbanga. Oluvannyuma ebire bimusiikiriza ne baba nga tebakyamulaba. Wadde ng’abuliddeyo, basigadde bakyatunudde waggulu.—Luk. 24:50; Bik. 1:9, 10.
3 Ekyo ekibaddewo kireeseewo enkyukakyuka ey’amaanyi mu bulamu bw’abatume ba Yesu. Kati kiki kye bagenda okukola nga Mukama waabwe Yesu Kristo azzeeyo mu ggulu? Ekituufu kiri nti Mukama waabwe yali yabateekateeka okutwala mu maaso omulimu gwe yatandika. Yabateekateeka atya okukola omulimu ogwo omukulu? Omulimu ogwo baasobola okugutuukiriza? Era Abakristaayo ab’omu kiseera kino bakwatibwako batya? Eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo bisangibwa mu ssuula esooka ey’ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume.
‘Engeri Nnyingi Ezaabakakasa’ (Bik. 1:1-5)
4. Lukka atandika na bigambo ki ng’awandiika ekitabo ky’Ebikolwa by‘Abatume?
4 Ebigambo ebisooka mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume biraga nti Lukka yali awandiikira omusajja ayitibwa Tewofiro, era nga y’omu gwe yawandiikira ebiri mu kitabo ky’Enjiri. a Ekyongera okulaga nti ebyo bye yawandiika mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume yali abyongereza ku ebyo bye yawandiika mu kitabo ky’Enjiri, Lukka yaddamu okwogera ku bintu byennyini bye yasembayo okuwandiikako mu kitabo ky’Enjiri. Naye ku luno yalambulula ekisingawo.
5, 6. (a) Kiki ekisobola okuyamba abagoberezi ba Yesu okuba n’okukkiriza okunywevu? (b) Mu ngeri ki okukkiriza kw’Abakristaayo leero gye kwesigamiziddwa ku bintu ebyesigika?
5 Kiki ekyandiyambye abagoberezi ba Yesu okusigala nga balina okukkiriza okunywevu? Ebikolwa 1:3, wagamba nti: Yesu “yeeraga gye bali mu ngeri nnyingi ezaabakakasa nti mulamu.” Mu Bayibuli, Lukka “omusawo omwagalwa” yekka y’akozesa ekigambo ekyavvuunulwa, “mu ngeri nnyingi ezaabakakasa.” (Bak. 4:14) Ekigambo ekyo kyakozesebwanga mu biwandiiko eby’ekisawo, era nga kitegeeza obukakafu obw’enkukunala era obutasobola kubuusibwabuusibwa. Yesu yawa abagoberezi be obukakafu ng’obwo. Yabalabikira emirundi mingi. Emirundi egimu yalabikirangako omu ku bo oba babiri ku bo, ate emirundi emirala yalabikiranga abatume bonna. Ate lumu yalabikira abagoberezi be abasukka mu 500. (1 Kol. 15:3-6) Mazima ddala obwo bwali bukakafu bwa nkukunala!
6 N’okukkiriza kw’Abakristaayo ab’amazima leero kwesigamizidwa ku bintu ebyesigika. Waliwo obukakafu obulaga nti Yesu yabeerako ku nsi, yafa olw’ebibi byaffe, era nti yazuukizibwa? Awatali kubuusabuusa weebuli! Ebintu ebyo bye tusomako mu Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa, ebyawandiikibwa abantu abaabirabirako ddala, bituwa obukakafu obwesigika. Bwe tusoma ebintu ebyo era ne tusaba Yakuwa atuyambe okukolera ku ebyo bye tuba tuyize, kinyweza okukkiriza kwaffe. Tusaanidde okukijjukira nti okukkiriza okwa nnamaddala kulina okuba nga kwesigamiziddwa ku bintu ebikakafu ddala. Ate okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo, tulina okuba n’okukkiriza okwa nnamaddala.—Yok. 3:16.
7. Kyakulabirako ki Yesu kye yateerawo abagoberezi be mu kuyigiriza n’okubuulira?
7 Yesu era ‘yabuuliranga ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda.’ Ng’ekyokulabirako, yannyonnyola abagoberezi be obunnabbi obulaga nti Masiya yalina okubonyaabonyezebwa n’okufa. (Luk. 24:13-32, 46, 47) Yesu bwe yayamba abagoberezi be okutegeera obulungi ekifo kye nga Masiya, yali abayigiriza ku Bwakabaka bwa Katonda, kubanga ye yalondebwa okuba Kabaka w’Obwakabaka obwo. Obwakabaka bwa Katonda bwe bubaka obukulu Yesu bwe yabuuliranga, era n’abagoberezi be leero bakola kye kimu.—Mat. 24:14; Luk. 4:43.
“Okutuuka mu Bitundu by’Ensi Ebisingayo Okuba eby’Ewala” (Bik. 1:6-12)
8, 9. (a) Ndowooza ki ebbiri enkyamu abatume ba Yesu ze baalina? (b) Yesu yabayamba atya okutereeza endowooza yaabwe, era ekyo Abakristaayo bakiyigirako ki leero?
8 Abatume bwe baakuŋŋaanira ku Lusozi olw’Emizeyituuni, ogwo gwe mulundi gwe baasembayo okubeerako awamu ne Yesu ku nsi. Baamubuuza nti: “Mukama waffe, ogenda kuzzaawo obwakabaka bwa Isirayiri mu kiseera kino?” (Bik. 1:6) Ekibuuzo ekyo abatume kye baamubuuza kyayoleka endowooza bbiri enkyamu ze baalina. Esooka, baali balowooza nti Obwakabaka bwa Katonda bwandizziddwawo eri Isirayiri ow’omubiri. Ey’okubiri, baali balowooza nti Obwakabaka bwa Katonda bwanditandise okufuga ‘mu kiseera ekyo.’ Yesu yatereeza atya endowooza yaabwe?
9 Yesu yali akimanyi nti endowooza esooka enkyamu abatume be gye baalina mangu ddala yali egenda kutereezebwa. Mu butuufu, oluvannyuma lw’ennaku kkumi zokka, abagoberezi be baali bagenda kulaba okutandikibwawo kw’eggwanga eppya, kwe kugamba, Isirayiri ow’omwoyo! Enkolagana ey’enjawulo Katonda gye yalina ne Isirayiri ow’omubiri yali eneetera okukoma. Ate ku bikwata ku ndowooza ey’okubiri gye baalina, Yesu yabagamba nti: “Si kwammwe okumanya ebiseera oba ebiro Kitange by’atadde mu buyinza bwe.” (Bik. 1:7) Yakuwa ye Mukuumi w’ebiseera asingiridde. Yesu bwe yali tannafa yagamba nti mu kiseera ekyo naye kennyini yali tamanyi ‘lunaku na kiseera’ enkomerero lwe yandizze, okuggyako ‘Kitaawe yekka.’ (Mat. 24:36) Ne leero singa Abakristaayo bamalira ebirowoozo byabwe ku kiseera enkomerero lw’enejja, baba beetadde ku kintu kye batalinaako buyinza.
10. Kyakulabirako ki abatume kye baatuteerawo kye tusaanidde okukoppa, era lwaki?
10 Wadde kyali bwe kityo, abatume abo baalina okukkiriza okw’amaanyi era tetusaanidde kubanyooma. Bakkiriza okutereezebwa. Ate era wadde ng’ekibuuzo kye baabuuza kyalaga nti endowooza yaabwe teyali ntuufu, naye era kyalaga nti baali bulindaala. Enfunda eziwerako Yesu yali agambye abagoberezi be nti: “Mubeere bulindaala.” (Mat. 24:42; 25:13; 26:41) Baali bulindaala mu by’omwoyo nga beetegereza obukakafu obwandiraze nti Yakuwa anaatera okubaako ky’akolawo. Naffe bwe tutyo bwe tusaanidde okuba. Mu butuufu, olw’okuba tuli mu ‘nnaku ezisembayo ez’ennaku ez’enkomerero,’ tusaanidde okubeera obulindaala okusinga ne bwe kyali kibadde.—2 Tim. 3:1-5.
11, 12. (a) Mulimu ki Yesu gwe yawa abagoberezi be? (b) Lwaki kyali kituukirawo okuba nti Yesu bwe yawa abagoberezi be omulimu gw’okubuulira yabasuubiza okubawa omwoyo omutukuvu?
11 Yesu yabuulira abatume be kye baali basaanidde okussaako ebirowoozo bwe yabagamba nti: “Mujja kufuna amaanyi, omwoyo omutukuvu bwe gunaabakkako, era mujja kuba bajulirwa bange mu Yerusaalemi, mu Buyudaaya mwonna, mu Samaliya, n’okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.” (Bik. 1:8) Mu Yerusaalemi gye baali battidde Yesu, amawulire agakwata ku kuzuukira kwe gye gaali galina okusooka okubuulirwa. Oluvannyuma gandibadde gabuulirwa ne mu Buyudaaya mwonna, mu Samaliya, ne mu bitundu ebirala.
12 Kyali kituukirawo okuba nti Yesu yasooka kuddamu kubasuubiza nti yali agenda kubasindikira omwoyo omutukuvu gubayambe, n’alyoka ayogera ku mulimu gw’okubuulira. Ogwo gwe gumu ku mirundi egisukka mu 40 ebigambo “omwoyo omutukuvu” gye birabikira mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume. Enfunda n’enfunda, ekitabo kya Bayibuli ekyo kikyoleka bulungi nti tetusobola kutuukiriza Yakuwa by’ayagala awatali buyambi bwa mwoyo mutukuvu. N’olwekyo kikulu nnyo okusabanga Yakuwa obutayosa atuwe omwoyo gwe omutukuvu! (Luk. 11:13) Tugwetaaga nnyo naddala mu kiseera kino.
13. Kitundu kyenkana wa abantu ba Katonda kye babuuliramu leero, era lwaki tusaanidde okubuulira n’obunyiikivu?
13 Eri abatume, ebigambo ‘ebitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala,’ byali bitegeeza bitundu bimu eby’ensi. Naye mu kiseera kino tubuulira mu nsi yonna. Nga bwe twalaba mu ssuula eyaggwa, Abajulirwa ba Yakuwa bakola omulimu gw’okubuulira n’omutima gwabwe gwonna nga bakimanyi nti Katonda ayagala abantu aba buli ngeri okuwulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwe. (1 Tim. 2:3, 4) Okola n’obunyiikivu omulimu guno? Guno gwe mulimu ogusingayo okuleeta essanyu! Yakuwa ajja kukuwa amaanyi ge weetaaga okugukola. Ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume kijja kukuyamba okumanya engeri ez’enjawulo ez’okukolamu omulimu guno era n’endowooza gy’osaanidde okuba nayo okusobola okugukola obulungi.
14, 15. (a) Kiki bamalayika kye baayogera ku kudda kwa Kristo, era kiki kye baali bategeeza? (Laba n’obugambo obuli wansi.) (b) Kristo yakomawo atya “mu ngeri y’emu” nga bwe yagenda?
14 Nga bwe kiragibwa ku ntandikwa y’essuula eno, Yesu bwe yali ayambuka ng’agenda mu ggulu, ekiseera kyatuuka abatume ne baba nga tebakyamulaba. Wadde kyali kityo, abatume abo 11 baasigala bayimiridde awo nga batunudde waggulu. Oluvannyuma bamalayika babiri baabalabikira ne babagamba nti: “Abasajja b’e Ggaliraaya, lwaki muyimiridde nga mutunudde waggulu? Yesu ono abaggiddwako n’atwalibwa waggulu alidda mu ngeri y’emu nga bwe mumulabye ng’agenda waggulu.” (Bik. 1:11) Bamalayika baali bategeeza nti Yesu alikomawo ng’ali mu mubiri gwe gumu ng’amadiini agamu bwe gayigiriza? Nedda. Ekyo si kye baali bategeeza. Tukimanya tutya?
15 Bamalayika tebaagamba nti Yesu yandikomyewo ng’ali mu mubiri gwe gumu, wabula baagamba nti yandikomyewo “mu ngeri y’emu.” b Yagenda mu ngeri ki? Bamalayika we baayogerera ebigambo ebyo yali takyalabika. Abantu batono nnyo, kwe kugamba, abatume, be baakitegeera nti Yesu yali avudde ku nsi era nti yali azzeeyo ewa Kitaawe mu ggulu. Kristo yandikomyewo mu ngeri y’emu eyo. Era bwe kityo bwe kyali. Leero abo bokka abategeera Ebyawandiikibwa era abamanyi obukulu bw’ebiseera bye tulimu, be bakimanyi nti Yesu yatandika okufuga nga Kabaka. (Luk. 17:20) Tusaanidde okuba nga tutegeera obukakafu obulaga nti kati afuga nga Kabaka era ne tuyamba n’abalala okubutegeera basobole okumanya obukulu bw’ebiseera bye tulimu.
“Tulage . . . gw’Olonze” (Bik. 1:13-26)
16-18. (a) Ebikolwa 1:13, 14, watuyamba kumanya ki ku nkuŋŋaana z’Abakristaayo? (b) Kiki kye tuyigira ku kyokulabirako Maliyamu maama wa Yesu kye yassaawo? (c) Lwaki kikulu nnyo leero Abakristaayo okukuŋŋaananga awamu?
16 Tekyewuunyisa nti abatume “baddayo e Yerusaalemi nga basanyufu nnyo.” (Luk. 24:52) Naye bandikoledde batya ku bulagirizi bwa Kristo ne ku kiragiro kye yabawa? Ebikolwa by’Abatume essuula 1 olunyiriri 13 ne 14, walaga nti baakuŋŋaanira “mu kisenge ekya waggulu.” Ate era waliwo ennyiriri ezo kye zituyamba okutegeera ku nkuŋŋaana ng’ezo. Ennyumba z’omu Palesitayini zaabeerangako ekisenge ekya waggulu era ng’okusobola okutuuka mu kisenge ekyo omuntu yayitanga ku madaala agaabanga ebweru. Kyandiba nti ‘ekisenge kino ekya waggulu’ kyali ku nnyumba eyogerwako mu Ebikolwa 12:12, eyali eya maama wa Makko? Ka kibe nti kyali ku nnyumba eyo oba nedda, kirabika ekisenge ekyo abagoberezi ba Kristo baakikozesanga okukuŋŋaaniramu. Naye baani abaakuŋŋaanirangamu, era kiki kye baakolangayo?
17 Weetegereze nti mu kisenge ekyo temwalimu batume bokka, oba basajja bokka. ‘N’abakazi abamu’ baalimu, nga mw’otwalidde ne Maliyamu maama wa Yesu. Guno gwe mulundi Maliyamu gw’asemba okwogerwako obutereevu mu Bayibuli. Kya lwatu nti mu kubeerawo mu lukuŋŋaana oIwo yali tazze kwenoonyeza bitiibwa, wabula yali azze kusinziza wamu ne baganda be ne bannyina ab’eby’omwoyo. Okuba nti batabani be abana abaali batakkiririza mu Yesu ng’akyali ku nsi nabo baaliwo mu lukuŋŋaana luno, kiteekwa okuba nga kyamuzzaamu nnyo amaanyi. (Mat. 13:55; Yok. 7:5) Endowooza yaabwe yali ekyuse okuva Yesu lwe yafa era n’azuukira.—1 Kol. 15:7.
18 Ate era weetegereze ensonga lwaki abayigirizwa ba Yesu baakuŋŋaana wamu. Bayibuli egamba nti: “Nga balina ekigendererwa kimu, bonna baanyiikirira okusaba.” (Bik. 1:14) Bulijjo enkuŋŋaana zibaddenga kitundu kikulu nnyo mu kusinza kw’Abakristaayo. Tukuŋŋaana wamu okuzziŋŋanamu amaanyi, okuweebwa obulagirizi, okuwabulwa, n’okusingira ddala okusinziza awamu Yakuwa Kitaffe ow’omu ggulu. Essaala ze tusaba nga tukuŋŋaanye wamu n’ennyimba ze tuyimba, zisanyusa nnyo Yakuwa era naffe zituganyula nnyo. Ka tulemenga kulekayo kukuŋŋaananga wamu!—Beb. 10:24, 25.
19-21. (a) Kiki kye tuyigira ku ky’okuba nti Peetero yaweebwa obuvunaanyizibwa mu kibiina Ekikristaayo? (b) Lwaki kyali kyetaagisa omuntu omulala okulondebwa okudda mu kifo kya Yuda, era kiki kye tuyigira ku ngeri ensonga eyo gye yakwatibwamu?
19 Waliwo ensonga enkulu ennyo abagoberezi ba Kristo gye baali beetaaga okukolako, era omutume Peetero yawoma omutwe mu kukola ku nsonga eyo. (Ennyiriri 15-26) Wiiki ntono emabega, Peetero yali yeegaanye Yesu emirundi esatu. Kyokka kati kizzaamu nnyo amaanyi okukiraba nti yali azzeemu okuba omunywevu mu by’omwoyo. (Mak. 14:72) Ffenna tusobya, era kikulu okukijjukiranga nti Yakuwa ‘mulungi era mwetegefu okusonyiwa.’—Zab. 86:5.
20 Peetero yakitegeera nti kyali kyetaagisa okuzzaawo omuntu omulala mu kifo kya Yuda, omutume eyalyamu Yesu olukwe. Naye ani yandizze mu kifo ekyo? Omutume oyo omupya yali ateekwa okuba nga yali omu ku bagoberezi ba Yesu abaaliwo mu kiseera kyonna eky’obuweereza bwe ku nsi, era nga yali alabye n’okuzuukira kwe. (Bik. 1:21, 22) Ekyo kyali kituukagana n’ebigambo Yesu bye yagamba abatume nti: “Mmwe abangoberedde mulituula ku ntebe 12 ne mulamula ebika bya Isirayiri ekkumi n’ebibiri.” (Mat. 19:28) Kirabika Yakuwa yali ayagala abatume 12 abaali awamu ne Yesu mu buweereza bwe ku nsi, babe “amayinja g’omusingi 12” aga Yerusaalemi Ekiggya mu biseera eby’omu maaso. (Kub. 21:2, 14) N’olwekyo Katonda yasobozesa Peetero okukitegeera nti obunnabbi obugamba nti, “omulimu gwe ogw’obulabirizi omulala k’agutwale,” bwali bukwata ku Yuda.—Zab. 109:8.
21 Omutume eyadda mu kifo kya Yuda yalondebwa atya? Baamulonda bakuba kalulu, era nga kino kyakolebwanga nnyo mu biseera eby’edda. (Nge. 16:33) Kyokka ogwo gwe mulundi Bayibuli gw’esemba okwogera ku kukuba obululu mu ngeri ng’eyo. Kirabika oluvannyuma lw’abagoberezi ba Yesu okufukibwako omwoyo omutukuvu, enkola ey’okukuba obululu yali tekyetaagisa. Naye weetegereze ensonga lwaki akalulu kaakubibwa. Abatume baasaba nti: “Ai Yakuwa, ggwe amanyi emitima gya bonna, tulage ku bano ababiri gw’olonze.” (Bik. 1:23, 24) Baali baagala Yakuwa y’aba alonda. Matiya, kirabika eyali omu ku bayigirizwa 70 Yesu be yali yatuma okugenda okubuulira, ye yalondebwa. N’olwekyo Matiya yafuuka omu ku batume “ekkumi n’ababiri.” c—Bik. 6:2.
22, 23. Lwaki tusaanidde okugondera abo abatwala obukulembeze mu kibiina?
22 Ekyo ekyaliwo kiraga bwe kiri ekikulu ennyo abantu ba Katonda okukola ebintu mu ngeri entegeke obulungi. Ne leero abasajja abatuukiriza ebisaanyizo balondebwa okuweereza ng’abalabirizi mu kibiina. Okusobola okulonda abalabirizi abo, abakadde beekenneenya n’obwegendereza ebisaanyizo ebiri mu Byawandiikibwa era ne basaba Yakuwa abawe omwoyo omutukuvu okubawa obulagirizi. N’olwekyo abo ababa balondeddwa, ekibiina kibatwala ng’ababa balondeddwa omwoyo omutukuvu. Tugondera abo abatwala obukulembeze era ekyo kyongera okunyweza obumu mu kibiina.—Beb. 13:17.
23 Okuva bwe kiri nti kati abayigirizwa ba Yesu baali beeyongedde okunywera oluvannyuma lwa Yesu okubalabikira ng’amaze okuzuukira, n’okwongera okutereeza mu ngeri ekibiina gye kyalina okulabirirwamu, baali beetegekedde ekijja mu maaso. Ekyo essuula eddako ky’egenda okwogerako.
a Mu kitabo ky’Enjiri, omwami Lukka gw’awandiikira amuyita “ow’ekitiibwa Tewofiro.” Abamu bagamba nti ekyo kiraga nti Tewofiro yali muntu wa kitiibwa eyali tannafuuka mugoberezi wa Kristo. (Luk. 1:3) Kyokka mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume, Lukka amuyita “munnange Tewofiro.” Abamu ku abo abeekenneenya ebyo ebiri mu Bayibuli bagamba nti Tewofiro yafuuka Omukristaayo oluvannyuma lw’okusoma Enjiri ya Lukka. Era bagamba nti eyo ye nsonga lwaki Lukka bw’aba amuwandiikira ebyo ebiri mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume tamuyita “ow’ekitiibwa,” wabula amuyita munne, kwe kugamba, muganda we ow’eby’omwoyo.
b Mu lunyiriri luno Bayibuli ekozesa ekigambo ky’Oluyonaani troʹpos, ekitegeeza “engeri,” so si mor·pheʹ, ekitegeeza “omubiri.”
c Oluvannyuma Pawulo yalondebwa okuba “omutume eri amawanga,” naye teyali omu ku batume ekkumi n’ababiri. (Bar. 11:13; 1 Kol. 15:4-8) Yali talina bisaanyizo kufuna nkizo eyo, olw’okuba teyali na Yesu mu buweereza bwe obw’oku nsi.