Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 5

“Tuteekwa Kugondera Katonda”

“Tuteekwa Kugondera Katonda”

Abatume bateerawo Abakristaayo bonna ab’amazima ekyokulabirako

Byesigamiziddwa ku Ebikolwa 5:12–6:7

1-3. (a) Lwaki abatume baleeteddwa mu maaso g’Olukiiko Olukulu, era boolekaganye na kusalawo ki? (b) Lwaki twagala okumanya ekyo abatume kye baasalawo?

 Abalamuzi b’Olukiiko lw’Abayudaaya Olukulu basunguwavu nnyo! Abatume ba Yesu bayimiridde mu maaso g’abalamuzi abo ab’ekkooti y’Abayudaaya enkulu. Bazzizza musango ki? Yusufu Kayaafa, kabona asinga obukulu era akulira kkooti eyo abagamba nti: “Twabalagira obutayigiriza mu linnya lino.” Kabona oyo omusunguwavu tayagala na kwatula linnya Yesu. Era agamba abatume abo nti: “Laba! mujjuzizza Yerusaalemi okuyigiriza kwammwe era mwagala tunenyezebwe olw’okufa kw’omusajja oyo.” (Bik. 5:28) Ebigambo ebyo bikyoleka bulungi nti abatume bwe banaagenda mu maaso n’okubuulira, mu buli ngeri bajja kubonerezebwa!

2 Kiki abatume kye banaakola? Yesu ye yabawa omulimu gw’okubuulira, era obuyinza bw’alina Katonda ye yabumuwa. (Mat. 28:18-20) Abatume banaatya abantu ne balekera awo okubuulira? Oba banaaba bavumu ne beeyongera okubuulira? Mu butuufu, boolekaganye n’okusalawo kuno okukulu: Okugondera Katonda, oba okugondera abantu. Awatali kulonzalonza, omutume Peetero abaako by’ayogera ku lw’abatume bonna. By’ayogera bitegeerekeka bulungi era abyogera taliimu kutya kwonna.

3 Ffe Abakristaayo ab’amazima twagala nnyo okumanya ekyo abatume kye baakolawo ng’abalamuzi b’Olukiiko Olukulu babalagidde okulekera awo okubuulira. Naffe twaweebwa omulimu gw’okubuulira, era bwe tuba tugukola oluusi tuziyizibwa. (Mat. 10:22) Abo abatuziyiza bayinza okugezaako okukugira omulimu gwaffe oba okuguwera. Ekyo bwe kibaawo, kiki kye tusaanidde okukola? Tugenda kuganyulwa nnyo mu kwekenneenya ekyo abatume kye baasalawo n’ebyo ebyaliwo nga tebannatwalibwa mu maaso g’Olukiiko Olukulu. a

‘Malayika wa Yakuwa Yaggulawo Enzigi’ (Bik. 5:12-21a)

4, 5. Lwaki Kayaafa n’Abasaddukaayo abalala ‘baakwatibwa obuggya’?

4 Kijjukire nti ku mulundi Peetero ne Yokaana lwe baasooka okulagirwa okulekera awo okubuulira, baagamba nti: “Ffe tetuyinza kulekera awo kwogera ku bintu bye twalaba ne bye twawulira.” (Bik. 4:20) Oluvannyuma lw’ekyo, Peetero ne Yokaana awamu n’abatume abalala beeyongera okubuulira mu yeekaalu. Abatume baakolanga ebyamagero, gamba ng’okuwonya endwadde n’okugoba dayimooni. Baabikoleranga mu “Lukuubo lwa Sulemaani,” ku ludda lwa yeekaalu olw’ebuvanjuba, Abayudaaya bangi we baakuŋŋaaniranga. N’ekisiikirize obusiikirize ekya Peetero bwe kyayitanga ku muntu yawonanga! Bangi ku abo abaawonyezebwa baawuliriza obubaka obwababuulirwa. N’ekyavaamu, “omuwendo munene ogw’abakazi n’abasajja abakkiriza Mukama waffe gwagenda gubeegattako.”​—Bik. 5:12-15.

5 Kayaafa, eyali mu kabiina k’eddiini ak’Abasaddukaayo, awamu ne banne abalala abaali mu kabiina ako ‘baakwatibwa obuggya’ ne bakwata abatume abo ne babassa mu kkomera. (Bik. 5:17, 18) Lwaki Abasaddukaayo abo baali basunguwavu nnyo? Abatume baali bayigiriza abantu nti Yesu yazuukira, ate ng’Abasaddukaayo baali tebakkiririza mu kuzuukira. Abatume era baali bagamba nti abantu baalina okukkiririza mu Yesu okusobola okulokolebwa, ate ng’Abasaddukaayo batya okubonerezebwa Abaruumi, abantu bwe banditutte Yesu ng’Omukulembeze waabwe. (Yok. 11:48) Tekyewuunyisa nti Abasaddukaayo baali bamalirivu okulemesa abatume okubuulira!

6. Okusingira ddala baani leero abali emabega w’okuyigganya Abajulirwa ba Yakuwa, era lwaki ekyo tekyanditwewuunyisizza?

6 Ne leero, okusingira ddala abakulembeza b’amadiini be bali emabega w’okuyigganya abaweereza ba Yakuwa. Batera okukozesa ab’obuyinza mu gavumenti n’emikutu gy’empuliziganya okugezaako okutulemesa okukola omulimu gwaffe ogw’okubuulira. Ekyo kyanditwewuunyisizza? Nedda. Obubaka bwe tubuulira bwanika obulimba bw’amadiini. Abantu abeesimbu bwe bakkiriza amazima agali mu Bayibuli, basumululwa okuva mu buddu bw’enjigiriza n’obulombolombo ebikontana n’Ebyawandiikibwa. (Yok. 8:32) N’olwekyo, tekyewuunyisa nti emirundi mingi obubaka bwaffe buleetera abakulembeze b’amadiini okukwatibwa obuggya.

7, 8. Ekiragiro kya malayika kyakwata kitya ku batume, era kibuuzo ki kye tusaanidde okwebuuza?

7 Abatume abo bwe baali mu kkomera, bayinza okuba nga baali balowooza nti abalabe baabwe baali bagenda kubatta. (Mat. 24:9) Naye ekiro waabaawo ekintu ekyali kitasuubirwa. ‘Malayika wa Yakuwa yaggulawo enzigi z’ekkomera.’ b (Bik. 5:19) Malayika oyo yabagamba nti: “Mugende mu yeekaalu mweyongere okubuulira.” (Bik. 5:20) Ebigambo ebyo biteekwa okuba nga byayamba abatume obutabaamu kubuusabuusa kwonna nti kye baali bakola kyali kituufu. Ate era biyinza okuba nga byabayamba okuba abamalirivu okusigala nga banywevu ka kibe ki ekyandibaddewo. Nga balina okukkiriza okw’amaanyi era nga bavumu, abatume ‘baayingira mu yeekaalu nga bukya ne batandika okuyigiriza.’​—Bik. 5:21.

8 Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, ‘Singa njolekagana n’embeera ng’eyo, nnaaba n’okukkiriza era n’obuvumu ne nneeyongera okubuulira?’ Bulijjo bwe tukijjukira nti bamalayika batuyamba era batuwa obulagirizi nga tukola omulimu ogw’okuwa “obujulirwa obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda,” kituyamba okusigala nga tuli banywevu.​—Bik. 28:23; Kub. 14:6, 7.

“Tuteekwa Kugondera Katonda So Si Bantu” (Bik. 5:21b-33)

“Ne babaleeta ne babayimiriza mu maaso g’Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya.”​—Ebikolwa 5:27

9-11. Abalamuzi b’Olukiiko Olukulu bwe baalagira abatume okulekera awo okubuulira, kiki abatume kye baakola? Kyakulabirako ki kye baateerawo Abakristaayo ab’amazima?

9 Kayaafa n’abalamuzi abalala ab’Olukiiko Olukulu kati baali beeteeseteese okuwozesa abatume. Nga tebamanyi kyali kibaddewo mu kkomera, baatuma abasirikale okugenda okunona abasibe. Abasirikale abo bateekwa okuba nga beewuunya nnyo bwe baasanga ng’abasibe tebaliiyo mu kkomera wadde ng’enzigi z’ekkomera zaali ‘zisibiddwa bulungi era nga n’abakuumi bayimiridde ku mulyango.’ (Bik. 5:23) Oluvannyuma omukulu w’abakuumi ba yeekaalu yakitegeera nti abatume baali bazzeeyo mu yeekaalu nga bakola ekintu kyennyini ekyali kibasibisizza mu kkomera. Baali bawa obujulirwa ku Yesu Kristo! Omukulu w’abakuumi oyo n’abasirikale abalala baagenda mu yeekaalu ne bakwata abatume ne babatwala eri ab’Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya.

10 Nga bwe kyayogeddwako ku ntandikwa y’essuula eno, abakulembeze b’eddiini abo abaali abanyiivu baali baagala abatume balekere awo okubuulira. Kiki abatume kye baakolawo? Peetero nga muvumu nnyo, yayogera ku lwa banne bonna, n’agamba nti: “Tuteekwa kugondera Katonda so si bantu.” (Bik. 5:29) Mu ngeri eyo, abatume baateerawo Abakristaayo bonna ab’amazima ekyokulabirako. Singa ab’obuyinza batugamba okukola ekintu Katonda ky’atayagala, oba singa batugaana okukola ekintu Katonda ky’ayagala kikolebwe, tuba tetulina kubagondera. N’olwekyo, “ab’obuyinza” bwe bawera omulimu gwaffe ogw’okubuulira amawulire amalungi, tetusobola kulekera awo kugukola kubanga Katonda ye yagutuwa. (Bar. 13:1) Tweyongera bweyongezi okuwa obujulirwa mu bujjuvu ku Bwakabaka bwa Katonda, naye nga tukikola mu ngeri ey’amagezi.

11 Tekyewuunyisa nti ekyo abatume kye baddamu kyaviirako abalamuzi okusunguwala ennyo. Baali bamalirivu ‘okutta’ abatume. (Bik. 5:33) Kyali kirabika nti ababuulizi abo abaali abanyiikivu baali bagenda kuttibwa. Kyokka baali banaatera okufuna obuyambi mu ngeri eyali tesuubirwa!

“Temusobola Kugukomya” (Bik. 5:34-42)

12, 13. (a) Kiki Gamalyeri kye yagamba banne, era kiki kye baakola? (b) Kiki Yakuwa ky’ayinza okukolawo ku lw’abantu be leero, era singa atuleka ‘okubonaabona olw’okukola eby’obutuukirivu’ tuba bakakafu ku ki?

12 Gamalyeri ‘eyali ayigiriza Amateeka, era abantu bonna gwe baali bassaamu ekitiibwa,’ yayimirira n’abaako ky’ayogera. c Munnamateeka ono omugundiivu, ne balamuzi banne baali bamussaamu nnyo ekitiibwa. Yalagira nti “abatume bafulumizibwe ebweru okumala akaseera katono.” (Bik. 5:34) Ng’ajuliza obubiina obwali buyimuseewo emabega naye ne busaanawo oluvannyuma lw’abo abaali babukulira okufa, Gamalyeri yagamba banne okuba abagumiikiriza, n’obutaziyiza batume abo nabo abaali bafiiriddwa Mukama waabwe Yesu ebbanga ttono emabega. Yabagamba nti: “Muve ku basajja bano; bwe kiba nti enteekateeka eno oba omulimu guno gwa bantu, gujja kukoma, naye bwe guba nga gwa Katonda, temusobola kugukomya, kubanga muyinza okwesanga nga mulwanyisa Katonda yennyini.” (Bik. 5:38, 39) Abalamuzi abo baamuwuliriza. Kyokka era baakuba abatume era “ne babalagira obutaddamu kwogera mu linnya lya Yesu.”​—Bik. 5:40.

13 Ne leero Yakuwa ayinza okukozesa abantu ab’ebitiibwa nga Gamalyeri okubaako kye bakola ku lw’abantu be. (Nge. 21:1) Yakuwa ayinza okukozesa omwoyo gwe omutukuvu okuleetera abafuzi ab’amaanyi, abalamuzi, oba abo ababaga amateeka, okusalawo mu ngeri etuukagana n’ekyo ky’aba ayagala kikolebwe. (Nek. 2:4-8) Naye singa atuleka ‘okubonaabona olw’okukola eby’obutuukirivu,’ tusobola okuba abakakafu ku bintu bibiri. (1 Peet. 3:14) Ekisooka, Katonda asobola okutuwa amaanyi okugumira ekigezo ekibaawo. (1 Kol. 10:13) Eky’okubiri, abo abatuziyiza tebasobola kulemesa mulimu gwa Katonda kugenda mu maaso.​—Is. 54:17.

14, 15. (a) Abatume baakola ki nga bakubiddwa, era lwaki? (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga nti abantu ba Yakuwa bagumiikiriza n’essanyu.

14 Abatume baggwaamu amaanyi olw’okukubibwa? Nedda! Bayibuli egamba nti baava “mu maaso g’Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya nga basanyufu.” (Bik. 5:41) Lwaki baali “basanyufu?” Kya lwatu nti obulumi bwe baafuna olw’okukubibwa emiggo si bwe bwabaviirako okuba abasanyufu. Baali basanyufu olw’okuba baali bakimanyi nti baali bayigganyizibwa olw’okusigala nga beesigwa eri Yakuwa n’olw’okutambulira mu bigere bya Yesu.​—Mat. 5:11, 12.

15 Okufaananako bakkiriza bannaffe abo abaaliwo mu kyasa ekyasooka, naffe bwe tubonyaabonyezebwa olw’okubuulira amawulire amalungi, tugumiikiriza n’essanyu. (1 Peet. 4:12-14) Tetunyumirwa kutiisibwatiisibwa, kuyigganyizibwa, oba okusibibwa. Naye tufuna essanyu lingi mu kusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa. Lowooza ku w’Oluganda Henryk Dornik eyabonyaabonyezebwa ennyo ab’obuyinza okumala emyaka mingi. Yagamba nti mu Agusito 1944, ab’obuyinza baasalawo okumutwala ye ne muganda we mu nkambi y’abasibe. Agamba nti: “Abaali batuyigganya baagamba nti, ‘Tosobola kubaleetera kukola kintu kyonna. Bafuna essanyu mu kubonyaabonyezebwa.’” Dornik era agamba nti: “Wadde nga nnali saagala kubonyaabonyezebwa, okubonaabona olw’okukola Yakuwa by’ayagala kyandeetera essanyu.”​—Yak. 1:2-4.

Okufaananako abatume, naffe tubuulira “nnyumba ku nnyumba”

16. Abatume baakiraga batya nti baali bamalirivu okuwa obujulirwa mu bujjuvu, era tukoppye tutya ekyokulabirako kyabwe?

16 Mangu ddala abatume baddamu okukola omulimu gw’okubuulira. Nga tebalina kintu kyonna kye batya, “buli lunaku beeyongera okuyigiriza n’okubuulira amawulire amalungi agakwata ku Kristo Yesu mu yeekaalu ne nnyumba ku nnyumba awatali kuddirira.” d (Bik. 5:42) Ababuulizi abo abaali abanyiikivu baali bamalirivu okuwa obujulirwa mu bujjuvu. Baabuuliranga mu maka g’abantu, nga Yesu bwe yali abalagidde. (Mat. 10:7, 11-14) Bwe batyo bwe baasobola okujjuza Yerusaalemi okuyigiriza kwabwe. Leero Abajulirwa ba Yakuwa bakozesa enkola eyo y’emu ey’okubuulira. Bwe tufuba okubuulira ku buli nnyumba eri mu kitundu kye tubuuliramu, naffe tuba tukiraga nti twagala okuwa obujulirwa mu bujjuvu, kwe kugamba, nti twagala okuwa buli muntu akakisa okuwulira amawulire gw’Obwakabaka. Omulimu gwaffe ogw’okubuulira nnyumba ku nnyumba Yakuwa aguwadde omukisa? Yee. Abantu bukadde na bukadde bawulirizza obubaka bw’Obwakabaka mu kiseera kino eky’enkomerero, era bangi obubaka obwo baasooka kubuwulira ng’Abajulirwa ba Yakuwa bazze ewaabwe okubabuulira.

Abasajja Abaalina Ebisaanyizo Baalondebwa Okukola “Omulimu” (Bik. 6:1-6)

17-19. Kizibu ki ekyajjawo ekyali kiyinza okuleetawo enjawukana mu kibiina, era bulagirizi ki abatume bwe baawa okusobola okukigonjoola?

17 Waliwo obuzibu obulala obwajjawo mu kibiina Ekikristaayo ekyali kyakatandikibwawo, era nga bwava munda mu kyo. Buzibu ki obwo? Bangi ku bayigirizwa abaali babatizibwa baali bagenyi mu Yerusaalemi, era baali baagala okusooka okuyiga ebisingawo nga tebannaddayo waabwe. Abayigirizwa abaali babeera mu Yerusaalemi kyeyagalire baawangayo ssente ezaakozesebwanga okugula emmere n’ebintu ebirala ebyabanga byetaagisa. (Bik. 2:44-46; 4:34-37) Mu kiseera ekyo wajjawo embeera etaali nnyangu. Bannamwandu abaali boogera Oluyonaani “tebaaweebwanga mmere eyagabibwanga buli lunaku.” (Bik. 6:1) Kyokka bo bannamwandu abaali boogera Olwebbulaniya baaweebwanga emmere. Kirabika waali wazzeewo ekizibu ky’obusosoze. Obusosoze kye kimu ku bintu ebireetawo enjawukana ez’amaanyi.

18 Abatume, abaali bakola ng’akakiiko akafuzi ak’ekibiina ekyo ekyali kyeyongera okugejja, baakiraba nti tekyali kya magezi bo “okuleka omulimu gw’okuyigiriza ekigambo kya Katonda [bakole] ogw’okugaba emmere.” (Bik. 6:2) Okusobola okugonjoola ekizibu ekyo, baalagira abayigirizwa banoonye abasajja musanvu abaali ‘bajjudde omwoyo omutukuvu n’amagezi,’ baweebwe “omulimu ogwo.” (Bik. 6:3) Abasajja abaalina ebisaanyizo baali beetaagisa, kubanga omulimu ogwo kirabika gwali teguzingiramu kugaba mmere yokka, wabula gwali guzingiramu n’okukola ku bya ssente, okugula ebintu, n’okuteeka ebintu mu buwandiike. Abasajja bonna abaalondebwa, amannya gaabwe gaali ga Kiyonaani, era ng’ekyo kiyinza okuba nga kyakifuula kyangu eri bannamwandu abaali bayisiddwa obubi okubeesiga. Oluvannyuma lw’okusaba n’okwekenneenya ebisaanyizo by’abo abaasembebwa, abatume baalondamu abasajja musanvu okukola “omulimu ogwo.” e

19 Okuba nti abasajja abo omusanvu baalondebwa okugaba emmere, kati kyali kitegeeza nti tekikyabeetaagisa kubuulira mawulire malungi? Kya lwatu nedda! Mu abo abaalondebwa mwe mwali Siteefano oluvannyuma eyakyoleka nti yali mubuulizi munyiikivu era omuvumu. (Bik. 6:8-10) Ne Firipo eyali omu ku basajja omusanvu, ayitibwa “omubuulizi w’enjiri.” (Bik. 21:8) N’olwekyo, abasajja abo omusanvu beeyongera okubuulira amawulire g’Obwakabaka n’obunyiikivu.

20. Abantu ba Katonda leero bakoppa batya ekyokulabirako ky’abatume?

20 Abaweereza ba Yakuwa leero bakoppa ekyokulabirako ky’abatume. Abasajja abalondebwa okuweebwa obuvunaanyizibwa mu kibiina balina okuba nga booleka amagezi agava eri Katonda n’engeri eziri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu. Abasajja abatuukiriza ebisaanyizo by’omu Byawandiikibwa balondebwa okuweereza ng’abakadde oba abaweereza mu kibiina, era bwe baba babalonda bagoberera obulagirizi okuva eri Akakiiko Akafuzi. f (1 Tim. 3:1-9, 12, 13) Abo abatuukiriza ebisaanyizo batwalibwa okuba nga baba balondeddwa omwoyo omutukuvu. Abasajja abo abakola ennyo batuukiriza obuvunaanyizibwa obutali bumu. Ng’ekyokulabirako, oluusi abakadde bakola enteekateeka okuyamba ab’oluganda abeesigwa abakaddiye ababa mu bwetaavu. (Yak. 1:27) Abakadde abamu beenyigira mu kuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka, mu kuteekateeka enkuŋŋaana ennene, oba bakolera wamu n’Akakiiko Akakwataganya eby’Eddwaliro. Abaweereza mu kibiina baba n’obuvunaanyizibwa obutali bumu obutakwata butereevu ku kulunda ekisibo oba okuyigiriza. Ng’oggyeeko okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe balina mu kibiina, abakadde n’abaweereza balina n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi.​—1 Kol. 9:16.

“Ekigambo kya Katonda . . . Kyeyongera Okubuna” (Bik. 6:7)

21, 22. Kiki ekiraga nti Yakuwa yawa omukisa ekibiina ekyali kyakatandikibwawo?

21 Yakuwa yayamba ekibiina Ekikristaayo ekyali kyakatandikibwawo okusigala nga kinywevu, wadde nga kyayolekagana n’okuyigganyizibwa okw’amaanyi awamu n’ekizibu ekyali kiyinza okukireetera obutaba bumu. Kya lwatu nti Yakuwa yawa ekibiina ekyo omukisa. Bayibuli egamba nti: “Ekigambo kya Katonda ne kyeyongera okubuna, era omuwendo gw’abayigirizwa ne gweyongera nnyo mu Yerusaalemi, era ne bakabona bangi ne bafuuka abakkiriza.” (Bik. 6:7) Kuno kwe kumu ku kweyongerayongera okwaliwo mu kibiina Ekikristaayo okwogerwako mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume. (Bik. 9:31; 12:24; 16:5; 19:20; 28:31) Ne leero tuzzibwamu nnyo amaanyi bwe tuwulira lipoota ezikwata ku ngeri omulimu gw’okubuulira gye gweyongedde mu bitundu by’ensi ebitali bimu.

22 Naye abakulembeze b’eddiini abaali abasunguwavu abaaliwo mu kyasa ekyasooka E.E., baali tebannaweera. Okuyigganyizibwa okw’amaanyi kwali kunaatera okubalukawo. Nga bwe tugenda okulaba mu ssuula eddako, Siteefano yakwatibwa era n’awozesebwa.

b Guno gwe mulundi ogusooka ku mirundi 20 ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume gye kyogera ku bamalayika obutereevu. Emabegako mu Ebikolwa 1:10, bamalayika boogerwako nga “abasajja babiri abaali bambadde engoye enjeru.”

d Laba akasanduuko “ Okubuulira ‘Nnyumba ku Nnyumba.’”

e Abasajja abo bayinza okuba nga baali batuukiriza ebisaanyizo by’okuweereza ng’abakadde, kubanga “omulimu ogwo” gwe baali bagenda okukola tegwali mwangu. Kyokka Ebyawandiikibwa tebiraga ddi abasajja lwe baatandika okulondebwa okuweereza ng’abakadde oba abalabirizi mu kibiina Ekikristaayo.

f Mu kyasa ekyasooka abasajja abaalina ebisaanyizo be baalina obuvunaanyizibwa obw’okulonda abakadde. (Bik. 14:23; 1 Tim. 5:22; Tit. 1:5) Leero Akakiiko Akafuzi kalonda abalabirizi abakyalira ebibiina, era abalabirizi abo be balonda abakadde n’abaweereza mu kibiina.