ESSUULA EY’OKUBIRI
Bayibuli—Ekitabo Ekiva Eri Katonda
1, 2. Lwaki Bayibuli kirabo kya muwendo nnyo?
OWULIRA otya mukwano gwo bw’akuwa ekirabo? Awatali kubuusabuusa osanyuka nnyo era oba weesunga okukisumulula. Mukwano gwo oyo omusiima nnyo olw’okukulowoozaako era omwebaza olw’okukuwa ekirabo ekyo.
2 Bayibuli kirabo ekyava eri Katonda. Etubuulira ebintu bye tutayinza kusanga walala wonna. Ng’ekyokulabirako, etutegeeza nti Katonda yatonda eggulu, ensi, n’abantu ababiri abaasooka. Erimu emisingi egisobola okutuyamba okwaŋŋanga ebizibu. Bayibuli etutegeeza engeri Katonda gy’ajja okutuukirizaamu ekigendererwa kye eky’okuleetawo embeera ennungi ku nsi. Mazima ddala, Bayibuli kirabo kya muwendo nnyo!
3. Bw’oneeyongera okuyiga Bayibuli, kiki ky’ojja okumanya?
3 Bw’oneeyongera okuyiga Bayibuli, ojja kukimanya nti Katonda ayagala obeere mukwano gwe. Gy’onookoma okuyiga ebimukwatako, enkolagana yo naye gy’eneekoma okunywera.
4. Kiki ekikwewuunyisa ku Bayibuli?
4 Bayibuli evvuunuddwa mu nnimi nga 2,600, era Bayibuli buwumbi na buwumbi zikubiddwa mu kyapa. Abantu abasukka mu 90 ku buli kikumi mu nsi yonna basobola okusoma Bayibuli mu nnimi zaabwe. Ate era buli wiiki abantu abasukka mu kakadde bafuna Bayibuli! Mu butuufu, tewali kitabo kirala kiringa Bayibuli.
5. Lwaki tukkiriza nti Bayibuli ‘yaluŋŋamizibwa Katonda’?
5 Bayibuli kitabo ‘ekyaluŋŋamizibwa Katonda.’ (Soma 2 Timoseewo 3:16.) Naye abamu bayinza okugamba nti, ‘Bayibuli yawandiikibwa bantu, kati olwo eyinza etya okuba nga yava eri Katonda?’ Bayibuli egamba nti: “Abantu baayogeranga ebyava eri Katonda nga balina obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu.” (2 Peetero 1:21) Kino tuyinza okukigeraageranya ku maneja wa kampuni agamba omuwandiisi we okuwandiika ebbaluwa. Ani aba atwalibwa nti y’awandiise ebbaluwa eyo? Aba maneja wa kampuni so si muwandiisi we. Mu ngeri y’emu, ebyo ebiri mu Bayibuli byava eri Katonda, so si bantu be yakozesa okugiwandiika. Katonda ye yabaluŋŋamya okuwandiika ebirowoozo bye. N’olwekyo, Bayibuli ‘kigambo kya Katonda.’—1 Abassessalonika 2:13; laba Ekyongerezeddwako Na. 2.
EBIRI MU BAYIBULI BITUUFU
6, 7. Lwaki kyewuunyisa nti ebyo ebiri mu Bayibuli bikwatagana?
6 Bayibuli yawandiikibwa mu bbanga erisukka mu myaka 1,600. Abo abaagiwandiika baaliwo mu biseera bya njawulo. Abamu baali bayivu nnyo ate ng’abalala tebaasoma nnyo. Ng’ekyokulabirako, omu ku bo yali musawo. Abalala baali balimi, bavubi, basumba, bannabbi, balamuzi, n’abalala bakabaka. Wadde nga Bayibuli yawandiikibwa abantu ab’enjawulo, ebigirimu bikwatagana. Tekontana. *
7 Essuula ezisooka mu Bayibuli zitutegeeza engeri ebizibu ebiri mu nsi gye byatandikamu, ate zo essuula ezisembayo zitutegeeza engeri Katonda gy’ajja okugonjoolamu ebizibu ebyo afuule ensi ekifo ekirabika obulungi ennyo. Bayibuli eyogera ku bintu ebyaliwo emyaka nkumi na nkumi emabega era eraga nti Katonda atuukiriza ekigendererwa kye.
8. Waayo ebyokulabirako ebiraga nti Bayibuli eba ntuufu ne bw’eba eyogera ku bya sayansi.
8 Bayibuli teyawandiikibwa kutuyigiriza bya sayansi, naye byonna by’eyogera ku sayansi bituufu. Ekyo kye twandisuubidde mu kitabo ekiva eri Katonda. Ng’ekyokulabirako, mu kitabo ky’Eby’Abaleevi mulimu obulagirizi Yakuwa bwe yawa Abayisirayiri okubayamba okwewala okusaasaanya endwadde. Ekitabo ekyo kyawandiikibwa dda nnyo ng’abantu tebannaba na kumanya ngeri buwuka gye busaasaanyaamu ndwadde. Bayibuli era eraga nti ensi eri mu bbanga, tewali kigiwaniridde. (Yobu 26:7) Ate era mu kiseera abantu we baabeerera n’endowooza egamba nti ensi ya museetwe, yo Bayibuli yali yalaga dda nti nneekulungirivu.—Isaaya 40:22.
9. Obwesimbu bw’abawandiisi ba Bayibuli butukakasa ki?
Okubala 20:2-12) Obwesimbu bw’abawandiisi ba Bayibuli butukakasa nti Bayibuli yava eri Katonda. N’olwekyo, tusobola okugyesiga.
9 Ebyafaayo byonna ebiri mu Bayibuli bituufu. Naye ebitabo bingi eby’ebyafaayo birimu ebintu ebitali bituufu olw’okuba abaabiwandiika tebaali beesimbu. Ng’ekyokulabirako, bannabyafaayo abamu tebaawandiikanga ku kuwangulwa kw’amawanga gaabwe. Okwawukana ku bawandiisi abo, abawandiisi ba Bayibuli baali beesimbu era baawandiikanga ne kuwangulwa kw’eggwanga lyabwe, Isirayiri. Ate era baawandiika ne ku nsobi zaabwe. Ng’ekyokulabirako, mu kitabo ky’Okubala, Musa yayogera ku nsobi ey’amaanyi gye yakola, n’ekibonerezo Katonda kye yamuwa. (EKITABO EKIRIMU AMAGEZI AMALUNGI
10. Lwaki amagezi agali mu Bayibuli ga muganyulo nnyo gye tuli?
10 Bayibuli ‘yaluŋŋamizibwa Katonda, era egasa mu kuyigiriza, mu kunenya, ne mu kutereeza ebintu.’ (2 Timoseewo 3:16) N’olwekyo, amagezi agali mu Bayibuli ga muganyulo nnyo gye tuli. Yakuwa amanyi engeri gye twakolebwamu, n’olwekyo ategeera bulungi bye tulowooza n’engeri gye twewuliramu. Atumanyi okusinga bwe twemanyi, era ayagala tubeere basanyufu. Amanyi ebintu ebiyinza okutuganyula n’ebyo ebiyinza okuba eby’akabi gye tuli.
11, 12. (a) Magezi ki amalungi Yesu ge yawa agali mu Matayo essuula 5 okutuuka ku 7? (b) Bintu ki ebirala eby’omuganyulo ebiri mu Bayibuli?
11 Mu Matayo essuula 5 okutuuka ku 7, mulimu amagezi amalungi ennyo Yesu ge yawa agakwata ku ngeri gye tuyinza okuba abasanyufu, engeri gye tuyinza okuba n’enkolagana ennungi n’abalala, engeri y’okusabamu, n’endowooza gye tusaanidde okuba nayo ku ssente. Wadde ng’amagezi ago yagawa emyaka nga 2,000 emabega, ne leero gakyali ga muganyulo nnyo.
12 Ate era okuyitira mu Bayibuli Yakuwa atuwadde emisingi egisobola okutuyamba okuba n’amaka amalungi, okuba abakozi abalungi, era n’okukolagana obulungi n’abantu abalala. Emisingi egyo egiri mu Bayibuli gisobola okutuganyula ffenna, ka tube nga tubeera wa, oba nga tulina bizibu bya ngeri ki.—Soma Isaaya 48:17; laba Ekyongerezeddwako Na. 3.
OSOBOLA OKWESIGA OBUNNABBI OBULI MU BAYIBULI
13. Kiki Isaaya kye yalagula ekyandituuse ku kibuga Babulooni?
13 Obunnabbi bungi obuli mu Bayibuli butuukiriziddwa. Ng’ekyokulabirako, Isaaya yalagula nti ekibuga Babulooni kyandizikiriziddwa. (Isaaya 13:19) Yayogera ku ngeri gye kyandiwambiddwamu. Ekibuga ekyo kyali kyetooloddwa bbugwe eyaliko enzigi ennene ennyo, era kyali kyetooloddwa omugga. Naye Isaaya yalagula nti omugga gwandikalidde, era nti n’enzigi zandirekeddwa nga nzigule. Abalabe bandiwambye ekibuga ekyo nga tebalwanye na kulwana. Ate era Isaaya yali yalagula nti omusajja eyandikiwambye yandibadde ayitibwa Kuulo.—Soma Isaaya 44:27–45:2; laba Ekyongerezeddwako Na. 4.
14, 15. Obunnabbi bwa Isaaya bwatuukirizibwa butya?
14 Nga wayiseewo emyaka bibiri oluvannyuma lw’obunnabbi obwo okuwandiikibwa, waliwo eggye eryalumba Babulooni. Ani yali omudduumizi waalyo? Ng’obunnabbi bwe bwalaga, yali Kuulo kabaka wa Buperusi. Ekiseera kyali kituuse ebintu ebirala ebyali mu bunnabbi obwo nabyo bituukirire.
15 Mu kiro eggye lya Kuulo mwe lyalumbira ekibuga ekyo, Abababulooni baalina embaga. Baali tebasuubira
nti bayinza okutuukibwako akabi konna kubanga ekibuga kyabwe kyaliko bbugwe omunene ennyo era nga kyetooloddwa omugga. Kuulo n’amagye ge baasima omukutu ne bawugula amazzi g’omugga ogwali gwetoolodde ekibuga, amazzi ne gakendera. Amazzi bwe gaakendeera, amagye ga Buperusi gaasobola okugayitamu. Naye amagye ago gandisobodde gatya okuyingira mu kibuga ekyaliko bbugwe omunene? Ng’obunnabbi bwe bwali bulaze, enzigi z’ekibuga zaalekebwa nzigule, amagye ago ne gasobola okukiwamba nga tegalwanye na kulwana.16. (a) Kiki Isaaya kye yalagula nti kye kyandituuse ku Babulooni? (b) Tumanya tutya nti obunnabbi bwa Isaaya bwatuukirizibwa?
16 Isaaya yalagula nti Babulooni tekyandizzeemu kubeeramu bantu. Yawandiika nti: “Tekiriddamu kubeeramu bantu, era tekiriba kifo kya kubeeramu emirembe gyonna.” (Isaaya 13:20) Ekyo kyatuukirira? Yee. Mu kifo awaali Babulooni, ekiri mayiro nga 50 ebukiikaddyo wa Baghdad, mu Iraq, waliwo matongo. N’okutuusa leero, tewali muntu yenna akibeeramu. Yakuwa yayera Babulooni “n’olweyo lw’okuzikiriza.”—Isaaya 14:22, 23. *
17. Lwaki tuli bakakafu nti Katonda ajja kutuukiriza byonna bye yasuubiza?
17 Okuva bwe kiri nti waliwo obunnabbi bungi obuli mu Bayibuli obutuukiriziddwa, tuli bakakafu nti ebyo Bayibuli by’eyogera ku biseera eby’omu maaso nabyo Okubala 23:19.) Mazima ddala, tulina essuubi ery’okufuna “obulamu obutaggwaawo, Katonda atayinza kulimba bwe yasuubiza edda ennyo.”—Tito 1:2. *
bijja kutuukirira. Ate era tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuukiriza ekisuubizo kye eky’okufuula ensi yonna olusuku lwe. (SomaBAYIBULI ESOBOLA OKUKYUSA OBULAMU BWO
18. Omutume Pawulo yayogera ki ku ‘kigambo kya Katonda’?
18 Tulabye nti tewali kitabo kirala kiringa Bayibuli. Ebiri mu Bayibuli bikwatagana, era ne bw’eba eyogera ku bya sayansi oba ku byafaayo, by’eyogera byonna biba bituufu. Ate era erimu obunnabbi bungi obumaze okutuukirira era etuwa n’amagezi amalungi. Naye Bayibuli ekola ekisingawo ne ku ekyo. Omutume Pawulo yagamba nti: ‘Ekigambo kya Katonda kiramu era kya maanyi.’ Ebigambo ebyo birina makulu ki?—Soma Abebbulaniya 4:12.
19, 20. (a) Bayibuli eyinza etya okukuyamba okumanya ekyo ky’oli? (b) Oyinza otya okulaga nti osiima Bayibuli?
19 Bayibuli esobola okukyusa obulamu bwo. Esobola okukuyamba okumanya ekyo kyennyini ky’oli era esobola okukuyamba okutegeera endowooza yo n’enneewulira zo. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okuba nga tulowooza nti twagala Katonda. Naye ekiraga nti ddala tumwagala, kwe kukolera ku ebyo Bayibuli by’egamba.
20 Mazima ddala Bayibuli kitabo ekyava eri Katonda. Ayagala okisome, okyekenneenye, era okyagale. Laga nti osiima ekirabo kino nga weeyongera okuyiga ebikirimu. Ekyo kijja kukuyamba okutegeera ekigendererwa Katonda kye yalina okutonda abantu. Tujja kuyiga ebisingawo ku nsonga eyo mu ssuula eddako.
^ lup. 6 Abantu abamu bagamba nti ebiri mu Bayibuli tebikwatagana, naye ekyo si kituufu. Laba akatabo The Bible—God’s Word or Man’s?, essuula ey’omusanvu. Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
^ lup. 16 Okumanya ebisingawo ebikwata ku bunnabbi obuli mu Bayibuli, laba akatabo A Book for All People, olupapula 27-29. Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
^ lup. 17 Okuzikirizibwa kwa Babulooni kyakulabirako kimu kyokka eky’obunnabbi obuli mu Bayibuli obwatuukirizibwa. Okumanya ebisingawo ku bunnabbi obukwata ku Yesu Kristo laba Ekyongerezeddwako Na. 5.