Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA EY’OKUTAANO

Ekinunulo—Ekirabo eky’Omuwendo Ennyo Katonda Kye Yatuwa

Ekinunulo—Ekirabo eky’Omuwendo Ennyo Katonda Kye Yatuwa

1, 2. (a) Kiki ekifuula ekirabo okuba eky’omuwendo? (b) Lwaki ekinunulo kye kirabo ekisingayo okuba eky’omuwendo ku birabo Katonda bye yatuwa?

KIRABO ki ekisingayo obulungi kye wali ofunye? Ekirabo tekirina kuba kya bbeeyi okusobola okuba eky’omuwendo gy’oli. Ekirabo ekiba kikuweereddwa bwe kikusanyusa oba bwe kiba nga kye kintu kyennyini ky’obadde weetaaga, okisiima nnyo.

2 Ku birabo ebingi ennyo Katonda by’atuwadde, kuliko kimu kye twetaaga ennyo okusinga ebirala byonna. Kye kirabo ekisingayo okuba eky’omuwendo Katonda kye yawa abantu. Mu ssuula eno, tugenda kuyiga nti Yakuwa yatuma Omwana we, Yesu Kristo, tusobole okufuna obulamu obutaggwaawo. (Soma Matayo 20:28.) Eky’okuba nti Yakuwa yatuma Yesu ku nsi aweeyo obulamu bwe ng’ekinunulo, kiraga nti atwagala nnyo.

EKINUNULO KYE KI?

3. Lwaki abantu bafa?

3 Ekinunulo ye nteekateeka Yakuwa gye yakola okusobola okununula abantu okuva mu kibi n’okufa. (Abeefeso 1:7) Okusobola okutegeera ensonga lwaki twali twetaaga ekinunulo, twetaaga okutegeera ebyaliwo mu lusuku Edeni emyaka nkumi na nkumi emabega. Bazadde baffe abaasooka, Adamu ne Kaawa, baayonoona, era ekyo kyabaviirako okufa. Naffe tufa olw’okuba twasikira ekibi okuva ku Adamu ne Kaawa.—Laba Ekyongerezeddwako Na. 9.

4. Adamu ye yali ani, era kintu ki eky’omuwendo Katonda kye yamuwa?

4 Yakuwa bwe yatonda omuntu eyasooka, Adamu, yamuwa ekintu eky’omuwendo ennyo. Yawa Adamu obulamu obutuukiridde. Adamu yali atuukiridde mu mubiri ne mu birowoozo. Yali tayinza kulwala, kukaddiwa, wadde okufa. Olw’okuba Yakuwa ye yatonda Adamu, ye yali kitaawe. (Lukka 3:38) Yakuwa yayogeranga ne Adamu. Katonda yannyonnyola Adamu ekyo kye yali amwetaaza era yamuwa omulimu ogwandimuletedde essanyu.—Olubereberye 1:28-30; 2:16, 17.

5. Bayibuli eba etegeeza ki bw’egamba nti Adamu yatondebwa “mu kifaananyi kya Katonda”?

5 Adamu yatondebwa “mu kifaananyi kya Katonda.” (Olubereberye 1:27) Kino kitegeeza nti Yakuwa yamutonda ng’alina engeri eziringa ezize, era ezimu ku ngeri ezo kwe kwagala, amagezi, obwenkanya, n’amaanyi. Ate era Yakuwa yawa Adamu eddembe ery’okwesalirawo. Adamu teyali nga kyuma ekikolera ku programu eyakikolerwamu. Katonda yamutonda ng’alina eddembe ery’okusalawo okukola ekirungi oba ekibi. Singa Adamu yasalawo okugondera Katonda, yandibadde mulamu emirembe gyonna mu Lusuku lwa Katonda.

6. Adamu bwe yajeemera Katonda, biki bye yafiirwa, era kino kyatuviiramu ki?

6 Adamu bwe yajeemera Katonda n’asalirwa ogw’okufa, yafiirwa ebintu bingi. Yafiirwa enkolagana ennungi ennyo gye yalina ne Yakuwa, obulamu obutuukiridde, n’olusuku olwali lulabika obulungi Katonda mwe yali amutadde. (Olubereberye 3:17-19) Adamu ne Kaawa bwe baasalawo okujeemera Katonda, baafiirwa obulamu obutuukiridde era ne babufiiriza n’abaana be bandizadde. Olw’ekyo Adamu kye yakola, “ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi, okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.” (Abaruumi 5:12) Adamu bwe yayonoona, ‘yeetunda’ mu buddu bw’ekibi n’okufa era naffe n’atutundiramu. (Abaruumi 7:14) Waliwo essuubi lyonna nti tusobola okununulibwa okuva mu buddu obwo? Yee, weeriri.

7, 8. Ekigambo ekinunulo kitegeeza ki?

7 Ekinunulo kye ki? Ekigambo “ekinunulo” kirina amakulu ga mirundi ebiri. Agasooka, ky’ekyo ekiweebwayo okusobola okununula omuntu oba ekintu. Ag’okubiri, ky’ekyo ekiweebwayo okusasulira ekintu.

8 Tewali muntu yali ayinza kusasulira ekyo Adamu kye yatufiiriza bwe yayonoona n’atuleetera okufa. Naye Yakuwa yakola enteekateeka okutununula okuva mu kibi n’okufa. Ka tulabe engeri ekinunulo gye kyaweebwayo era n’engeri gye kituganyulamu.

ENTEEKATEEKA YAKUWA GYE YAKOLA EKINUNULO KIWEEBWEYO

9. Kiki ekyali kirina okuweebwayo ng’ekinunulo?

9 Tewali n’omu ku ffe yali ayinza kuwaayo kinunulo okusasulira obulamu obutuukiridde Adamu bwe yatufiiriza. Lwaki? Olw’okuba ffenna tetutuukiridde. (Zabbuli 49:7, 8) Ekinunulo ekyalina okuweebwayo bwali bulina kuba bulamu bwa muntu atuukiridde. Bayibuli egamba nti Yesu ‘yeewaayo okuba ekinunulo ku lwa bonna.’ (1 Timoseewo 2:6) Obulamu obutuukiridde Yesu bwe yawaayo bwali bwenkanankanira ddala n’obwo Adamu bwe yatufiiriza.

10. Yakuwa yakola nteekateeka ki ekinunulo kisobole okuweebwayo?

10 Yakuwa yakola nteekateeka ki ekinunulo kisobole okuweebwayo? Yakuwa yatuma ku nsi Omwana we gw’asinga okwagala. Omwana oyo ye Yesu, era Yakuwa gwe yasooka okutonda. (1 Yokaana 4:9, 10) Yesu yakkiriza okuva mu ggulu awaali Kitaawe. (Abafiripi 2:7) Yakuwa yateeka obulamu bwa Yesu mu lubuto lwa Maliyamu, bw’atyo Yesu n’azaalibwa ku nsi ng’omuntu eyali atuukiridde, ataalina kibi.—Lukka 1:35.

Yakuwa yawaayo Omwana we gw’ayagala ennyo ng’ekinunulo ku lwaffe

11. Omuntu omu yasobola atya okuba ekinunulo eky’abantu bonna?

11 Adamu, omuntu eyasooka, bwe yajeemera Katonda, yafiiriza abantu bonna obulamu obutuukiridde. Waliwo omuntu eyali asobola okuggyawo okufa Adamu kwe yaleetera abantu bonna? Yee. (Soma Abaruumi 5:19.) Yesu, omuntu ataayonoona, yawaayo obulamu bwe obutuukiridde okuba ekinunulo. (1 Abakkolinso 15:45) Obulamu obwo obutuukiridde Yesu bwe yawaayo Katonda bw’ajja okusinziirako okuggyawo okufa Adamu kwe yaleetera abantu bonna.—1 Abakkolinso 15:21, 22.

12. Lwaki Yesu yalina okubonaabona ennyo?

12 Bayibuli eraga nti Yesu yabonyaabonyezebwa nnyo nga tannattibwa. Yakubibwa embooko, yakomererwa ku muti, era yafiira mu bulumi obw’amaanyi ennyo. (Yokaana 19:1, 16-18, 30) Lwaki Yesu yalina okubonaabona ennyo bw’atyo? Olw’okuba Sitaani yagamba nti tewali muntu asobola kunywerera ku Katonda singa aba ayolekaganye n’okugezesebwa okw’amaanyi ennyo. Yesu yakiraga nti omuntu atuukiridde asobola okunywerera ku Katonda ne bw’aba ng’ali mu mbeera nzibu nnyo. Yakuwa ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo okulaba nga Yesu asigadde mwesigwa gy’ali!—Engero 27:11; laba Ekyongerezeddwako Na. 15.

13. Ekinunulo kyasasulwa kitya?

13 Ekinunulo kyasasulwa kitya? Kyasasulwa Yesu bwe yawaayo eri Kitaawe omuwendo gw’obulamu bwe. Ku lunaku olw’ekkumi n’ennya, mu mwezi oguyitibwa Nisaani ku kalenda y’Ekiyudaaya, mu mwaka ogwa 33, Yakuwa yaleka abalabe ba Yesu ne bamutta. (Abebbulaniya 10:10) Oluvannyuma lw’ennaku ssatu, Yakuwa yazuukiza Yesu n’omubiri ogw’omwoyo, so si na mubiri gwa nnyama. Oluvannyuma Yesu yaddayo mu ggulu eri Kitaawe, n’awaayo gy’ali omuwendo gw’obulamu bwe obutuukiridde, bw’atyo n’asasula ekinunulo. (Abebbulaniya 9:24) Olw’okuba ekinunulo kyasasulwa, kati tulina essuubi ery’okununulwa okuva mu kibi n’okufa.—Soma Abaruumi 3:23, 24.

OGANYULWA OTYA MU KINUNULO?

14, 15. Kiki kye tulina okukola okusobola okusonyiyibwa ebibi byaffe?

14 Ne mu kiseera kino tuganyulwa mu kinunulo. Ka tulabe engeri gye tuganyulwamu kati n’engeri gye tujja okuganyulwa mu biseera eby’omu maaso.

15 Ebibi byaffe bisonyiyibwa. Si kyangu kukola kituufu buli kiseera. Tusobya mu bigambo ne mu bikolwa. (Abakkolosaayi 1:13, 14) Kiki kye tulina okukola okusobola okusonyiyibwa? Tulina okulaga Yakuwa nti tunakuwalidde ensobi gye tuba tukoze era ne tumwegayirira atusonyiwe. Bwe tukola bwe tutyo, tuba bakakafu nti ebibi byaffe bisonyiyiddwa.—1 Yokaana 1:8, 9.

16. Kiki kye tulina okukola okusobola okuba n’omuntu ow’omunda omulungi?

16 Tusobola okuba n’omuntu ow’omunda omulungi. Omuntu waffe ow’omunda bw’aba atulumiriza olw’ekintu ekibi kye tuba tukoze, tuwulira bubi, era tuyinza okuwulira ng’abatalina mugaso. Naye tetusaanidde kuggwaamu maanyi. Bwe twegayirira Yakuwa atusonyiwe, tuba bakakafu nti ajja kutuwuliriza era nti ajja kutusonyiwa. (Abebbulaniya 9:13, 14) Yakuwa ayagala tumubuulire ebizibu byaffe n’obunafu bwaffe. (Abebbulaniya 4:14-16) Bwe tukola bwe tutyo, tusobola okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda.

17. Kiki kye tujja okufuna olw’okuba Yesu yatufiirira?

17 Tulina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. Bayibuli egamba nti: “Empeera y’ekibi kwe kufa, naye ekirabo Katonda ky’agaba bwe bulamu obutaggwaawo okuyitira mu Kristo Yesu Mukama waffe.” (Abaruumi 6:23) Olw’okuba Yesu yatufiirira, tulina essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna nga tuli balamu bulungi. (Okubikkulirwa 21:3, 4) Naye kiki kye tulina okukola okusobola okufuna obulamu obwo?

OYINZA OTYA OKULAGA NTI OSIIMA EKINUNULO?

18. Tukakasiza ku ki nti Yakuwa atwagala nnyo?

18 Lowooza ku ssanyu ly’owulira nga waliwo akuwadde ekirabo ekirungi ennyo. Ekinunulo kye kirabo ekisingayo okuba eky’omuwendo kye twali tufunye, era tusaanidde okulaga Yakuwa nti tusiima ekirabo ekyo. Yokaana 3:16 wagamba nti, “Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka.” Mazima ddala, Yakuwa okuwaayo Omwana we gw’ayagala ennyo, Yesu, ku lwaffe, kiraga nti atwagala nnyo. Ate era tukimanyi nti ne Yesu atwagala nnyo, kubanga yakkiriza okutufiirira. (Yokaana 15:13) Ekinunulo bukakafu obulaga nti Yakuwa ne Yesu bakwagala nnyo.—Abaggalatiya 2:20.

Bw’oneeyongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa, ojja kufuuka mukwano gwe era ojja kweyongera okumwagala

19, 20. (a) Oyinza otya okufuuka mukwano gwa Yakuwa? (b) Oyinza otya okulaga nti okkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu?

19 Okuva bw’okitegedde nti Katonda atwagala nnyo, kati oyinza otya okufuuka mukwano gwe? Tekiba kyangu kwagala muntu gw’otomanyi. Yokaana 17:3 walaga nti tusobola okumanya Yakuwa. Bw’oneeyongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa, ojja kweyongera okumwagala, ojja kwagala okumusanyusa, era ojja kufuuka mukwano gwe. N’olwekyo, weeyongere okuyiga Bayibuli kikusobozese okweyongera okumanya ebikwata ku Yakuwa.—1 Yokaana 5:3.

20 Kkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu. Bayibuli egamba nti: “Oyo akkiririza mu Mwana alina obulamu obutaggwaawo.” (Yokaana 3:36) Kitegeeza ki okukkiririza mu Yesu? Kitegeeza okukola ebyo Yesu bye yatuyigiriza. (Yokaana 13:15) Tetulina kugamba bugambi nti tukkiririza mu Yesu. Okulaga nti tukkiririza mu kinunulo, tulina okubaako kye tukolawo. Yakobo 2:26 wagamba nti: ‘Okukkiriza okutaliiko bikolwa kuba kufu.’

21, 22. (a) Lwaki twandifubye okubeerangawo ku mukolo gw’okujjukira okufa kwa Kristo buli mwaka? (b) Kiki ekijja okunnyonnyolwa mu Ssuula 6 ne 7?

21 Beerangawo ku mukolo gw’okujjukira okufa kwa Kristo. Yesu bwe yali anaatera okuttibwa, yatugamba tujjukirenga okufa kwe. Ekyo tukikola buli mwaka, era omukolo ogwo tuguyita Ekijjukizo oba ‘Eky’Ekiro kya Mukama Waffe.’ (1 Abakkolinso 11:20; Matayo 26:26-28) Yesu ayagala tujjukire nti yawaayo obulamu bwe obutuukiridde okutununula. Yagamba nti: “Mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga.” (Soma Lukka 22:19.) Bw’obaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo, oba okiraga nti osiima ekinunulo awamu n’okwagala okungi ennyo Yakuwa ne Yesu kwe baatulaga.—Laba Ekyongerezeddwako Na. 16.

22 Ekinunulo kye kirabo ekisingayo okuba eky’omuwendo. (2 Abakkolinso 9:14, 15) Ekirabo ekyo kijja kuganyula n’abantu abaafa. Essuula ey’omukaaga n’omusanvu zijja kunnyonnyola engeri ekyo gye kinaasobokamu.