Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA EY’EKKUMI N’OMUNAANA

Kinneetaagisa Okwewaayo eri Katonda n’Okubatizibwa?

Kinneetaagisa Okwewaayo eri Katonda n’Okubatizibwa?

1. Kiki ky’oyinza okuba ng’olowoozaako oluvannyuma lw’okusoma akatabo kano?

AKATABO kano kakuyambye okumanya ebintu bingi, gamba nga, ekisuubizo kya Katonda eky’obulamu obutaggwaawo, ekyo ekituuka ku muntu ng’afudde, n’essuubi ery’okuzuukira. (Omubuulizi 9:5; Lukka 23:43; Yokaana 5:28, 29; Okubikkulirwa 21:3, 4) Oyinza okuba nga kati ogenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa era ng’okkiriza nti basinza Katonda mu ngeri entuufu. (Yokaana 13:35) Ate era oyinza okuba nga kati ofunye enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, era ng’oyagala okumuweereza. Kati oyinza okuba nga weebuuza nti, ‘Kiki kye nsaanidde okukola okusobola okuweereza Katonda?’

2. Lwaki omusajja Omwesiyopiya yali ayagala okubatizibwa?

2 Ekyo kye kintu omusajja Omwesiyopiya eyaliwo mu kyasa ekyasooka kye yali alowoozaako. Nga wayiseewo ekiseera oluvannyuma lwa Yesu okuzuukizibwa, omuyigirizwa wa Yesu ayitibwa Firipo yabuulira omusajja oyo. Firipo yamuyamba okukitegeera nti Yesu ye yali Masiya. Ebyo omusajja oyo Omwesiyopiya bye yayiga byamukwatako nnyo era amangu ago n’agamba nti: “Laba! Amazzi gaago; kiki ekiŋŋaana okubatizibwa?”—Ebikolwa 8:26-36.

3. (a) Kiragiro ki Yesu kye yawa abagoberezi be? (b) Omuntu asaanidde kubatizibwa atya?

3 Bayibuli ekiraga bulungi nti bw’oba oyagala okuweereza Yakuwa, oba olina okubatizibwa. Yesu yagamba abagoberezi be nti: “Mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza.” (Matayo 28:19) Yesu kennyini yatuteerawo ekyokulabirako ng’abatizibwa. Yesu tebaamuyiwaako buyiyi mazzi ku mutwe, wabula yannyikibwa yenna mu mazzi. (Matayo 3:16) Ne leero, Omukristaayo bw’aba abatizibwa, ateekeddwa okunnyikibwa yenna mu mazzi.

4. Bw’obatizibwa kiba kiraga ki?

4 Bw’obatizibwa, kiraga abalala nti oyagala okubeera mukwano gwa Katonda era nti oyagala okumuweereza. (Zabbuli 40:7, 8) N’olwekyo, oyinza okuba nga weebuuza nti, ‘Kiki kye nsaanidde okukola okusobola okubatizibwa?’

OKUMANYA N’OKUKKIRIZA

5. (a) Kiki ky’olina okukola nga tonnaba kubatizibwa? (b) Lwaki kikulu nnyo okubaawo mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa?

5 Nga tonnaba kubatizibwa, olina okusooka okumanya Yakuwa ne Yesu. Kino watandika okukikola bwe watandika okuyiga Bayibuli. (Soma Yokaana 17:3.) Naye tolina kukoma ku ekyo. Bayibuli egamba nti olina “okujjuzibwa okumanya okutuufu” okukwata ku ebyo Yakuwa by’ayagala. (Abakkolosaayi 1:9) Enkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa zijja kukuyamba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Eyo y’emu ku nsonga enkulu eyandikuleetedde okubaawo mu nkuŋŋaana ezo obutayosa.—Abebbulaniya 10:24, 25.

Nga tonnaba kubatizibwa, olina okusooka okuyiga Bayibuli

6. Olina kuba ng’omanyi ebintu byenkana wa mu Bayibuli nga tonnaba kubatizibwa?

6 Kya lwatu nti Yakuwa takusuubira kuba ng’omanyi ebintu byonna ebiri mu Bayibuli nga tonnaba kubatizibwa, era nga bwe yali tasuubira musajja Omwesiyopiya okuba ng’amanyi ebintu byonna nga tannaba kubatizibwa. (Ebikolwa 8:30, 31) Tujja kweyongera okuyiga ebikwata ku Katonda emirembe gyonna. (Omubuulizi 3:11) Naye nga tonnaba kubatizibwa, olina okuba ng’omanyi enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako era ng’ozikkiririzaamu.—Abebbulaniya 5:12.

7. Oganyuddwa otya mu kuyiga Bayibuli?

7 Bayibuli egamba nti: “Awatali kukkiriza tekisoboka kusanyusa Katonda.” (Abebbulaniya 11:6) N’olwekyo, olina okuba n’okukkiriza nga tonnaba kubatizibwa. Bayibuli etutegeeza nti abamu ku bantu abaali mu kibuga ky’e Kkolinso bwe baawulira ebyo abagoberezi ba Yesu bye baali bayigiriza, ‘bakkiriza era ne babatizibwa.’ (Ebikolwa 18:8) Mu ngeri y’emu, okuyiga Bayibuli kikuyambye okukkiririza mu ebyo Katonda by’asuubizza okutukolera mu biseera eby’omu maaso ne mu ssaddaaka ya Yesu etusobozesa okulokolebwa okuva mu kibi n’okufa.—Yoswa 23:14; Ebikolwa 4:12; 2 Timoseewo 3:16, 17.

BUULIRA ABALALA AMAZIMA AGALI MU BAYIBULI

8. Kiki ekinaakukubiriza okubuulira abalala ku ebyo by’oyize?

8 Bw’oneeyongera okuyiga Bayibuli, era n’olaba engeri by’oyiga gye bikuganyulamu, okukkiriza kwo kujja kweyongera okunywera. Ojja kwagala okubuulira abalala ku ebyo by’oyiga. (Yeremiya 20:9; 2 Abakkolinso 4:13) Naye baani b’onoobulira?

Okukkiriza kujja kukuleetera okubuulirako abalala ku ebyo by’oyize

9, 10. (a) Baani b’oyinza okubuulirako by’oyize? (b) Kiki ky’osaanidde okukola bw’oba oyagala okutandika okubuulira awamu n’ekibiina?

9 Ebyo by’oyiga oyinza okubibuulirako abo b’obeera nabo, mikwano gyo, baliraanwa bo, oba b’okola nabo, naye osaanidde okukikola mu ngeri ey’ekisa era ey’okwagala. Oluvannyuma lw’ekiseera, ojja kuba osobola okutandika okubuulira awamu n’ekibiina. Bw’onooba oyagala okutandika okubuulira n’ekibiina, ojja kutegeeza oyo akuyigiriza Bayibuli. Oyo akuyigiriza Bayibuli bw’anaaba akiraba nti otuukiriza ebisaanyizo, kwe kugamba, ng’obulamu bwo obutambuliza ku misingi gya Bayibuli, ajja kutegeeza abakadde, era abakadde babiri ab’omu kibiina kyo bajja kwogerako naawe ng’oli wamu naye.

10 Biki ebinaayogerwako nga musisinkanye abakadde? Abakadde bajja kwogera naawe balabe obanga otegeera bulungi enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako era obanga ozikkiririzaamu. Bajja kulaba obanga weeyisa mu ngeri etuukagana n’ebyo Bayibuli by’egamba, era obanga ddala oyagala okubeera omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Kijjukire nti abakadde bafaayo nnyo ku bonna abali mu kibiina, era naawe bakufaako, n’olwekyo totya kwogera nabo. (Ebikolwa 20:28; 1 Peetero 5:2, 3) Abakadde bwe banaamala okwogera naawe, bajja kukutegeeza obanga otuukiriza ebisaanyizo by’okubuulira awamu n’ekibiina.

11. Lwaki kikulu nnyo okukola enkyukakyuka ezeetaagisa nga tonnaba kutandika kubuulira awamu n’ekibiina?

11 Abakadde bayinza okukutegeeza nti okyalina enkyukakyuka ze weetaaga okukola okusobola okutandika okubuulira awamu n’ekibiina. Lwaki kiba kikulu nnyo okukola enkyukakyuka ezo? Kubanga bwe tuba tubuulira abalala ebikwata ku Katonda, tuba tukiikirira Yakuwa. N’olwekyo, tulina okuba nga tweyisa mu ngeri emuweesa ekitiibwa.—1 Abakkolinso 6:9, 10; Abaggalatiya 5:19-21.

OKWENENYA N’OKUKYUKA

12. Lwaki abantu bonna beetaaga okwenenya?

12 Waliwo ekintu ekirala ky’oteekwa okukola nga tonnaba kubatizibwa. Omutume Peetero yagamba nti: “N’olwekyo, mwenenye, mukyuke, ebibi byammwe bisangulwe.” (Ebikolwa 3:19) Okwenenya kitegeeza ki? Kitegeeza okunakuwalira ekibi kyonna kye tuba tukoze. Ng’ekyokulabirako, singa obadde weenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, oba olina okwenenya. Kyokka ne bw’oba ng’obadde ofuba okukola ekituufu, era kikwetaagisa okwenenya, kubanga ffenna tuli boonoonyi era tusaanidde okusaba Katonda atusonyiwe.—Abaruumi 3:23; 5:12.

13. ‘Okukyuka’ kitegeeza ki?

13 Okunakuwalira ebibi bye wakola kimala? Nedda. Omutume Peetero yagamba nti olina ‘n’okukyuka.’ Kino kitegeeza nti olina okuleka ebintu byonna ebibi by’obadde okola n’otandika okukola Katonda by’ayagala. Ng’ekyokulabirako, kuba akafaananyi ng’oli ku lugendo ogenda mu kifo ekimu ky’otatuukangamu. Kyokka oluvannyuma lw’ekiseera, okizuula nti ekkubo ly’okutte kkyamu. Kiki ky’okola? Awatali kubuusabuusa okyuka n’okwata ekkubo ettuufu. Mu ngeri y’emu, bw’oneeyongera okuyiga Bayibuli, ojja kukiraba nti waliwo emize egimu gye weetaaga okuleka. Beera mwetegefu ‘okukyuka,’ kwe kugamba, okukola enkyukakyuka ezeetaagisa, otandike okukola Katonda by’ayagala.

WEEWEEYO ERI KATONDA

Omaze okwewaayo eri Yakuwa?

14. Weewaayo otya eri Katonda?

14 Ekintu ekirala ekikulu ky’olina okukola nga tonnabatizibwa kwe kwewaayo eri Yakuwa. Weewaayo eri Yakuwa okuyitira mu kusaba. Bw’oba osaba Yakuwa weeyama nti ojja kusinza ye yekka era nti okukola by’ayagala ky’ojja okutwala ng’ekintu ekisingirayo ddala obukulu mu bulamu bwo.—Ekyamateeka 6:15.

15, 16. Kiki ekikubiriza omuntu okwewaayo eri Katonda?

15 Okweyama okuweereza Yakuwa yekka kiringa omuntu bwe yeeyama nti ajja kubeera n’omuntu gw’ayagala obulamu bwe bwonna. Lowooza ku musajja n’omukazi aboogerezeganya. Omusajja bwe yeeyongera okumanya ebikwata ku mukazi, yeeyongera okumwagala era n’asalawo okumuwasa. Wadde ng’okuwasa buba buvunaanyizibwa bwa maanyi, omusajja oyo asalawo okuwasa omukazi oyo olw’okuba amwagala.

16 Bwe weeyongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa, weeyongera okumwagala era n’okuba omumalirivu okukola kyonna ekisoboka okumuweereza. Kino kijja kukuleetera okumutuukirira mu kusaba weeyame okumuweereza. Bayibuli egamba nti buli ayagala okuba omugoberezi wa Yesu alina ‘okulekera awo okwetwala yekka.’ (Makko 8:34) Ekyo kitegeeza ki? Kitegeeza nti olina okukulembeza Katonda by’ayagala mu bulamu bwo. Ebyo Yakuwa by’ayagala bikulu nnyo okusinga ebyo ggwe by’oyagala n’ebiruubirirwa byo.—Soma 1 Peetero 4:2.

TOTYA NTI OJJA KULEMERERWA

17. Lwaki abantu abamu tebeewaayo eri Yakuwa?

17 Abantu abamu tebaagala kwewaayo eri Yakuwa, olw’okuba batya nti bajja kulemererwa okutuukiriza obweyamo obwo. Batya nti bajja kulemererwa okukola Yakuwa by’ayagala, oba bayinza okuba nga balowooza nti bwe baba tebeewaddeeyo eri Yakuwa, Yakuwa tajja kubavunaana olw’ebyo bye bakola.

18. Kiki ekinaakuyamba obutatya kwewaayo eri Yakuwa?

18 Okwagala Yakuwa kujja kukuyamba obutatya kwewaayo gy’ali. Olw’okuba omwagala, ojja kukola kyonna ekisoboka okutuukiriza obweyamo bwo. (Omubuulizi 5:4; Abakkolosaayi 1:10) Tojja kulowooza nti kizibu nnyo okukola Yakuwa by’ayagala. Omutume Yokaana yagamba nti: “Okwagala Katonda kitegeeza okukwata ebiragiro bye; era ebiragiro bye tebizitowa.”—1 Yokaana 5:3.

19. Lwaki tewanditidde kwewaayo eri Yakuwa?

19 Tolina kubeera ng’otuukiridde okusobola okwewaayo eri Yakuwa. Tatusuubira kukola bye tutasobola. (Zabbuli 103:14) Ajja kukuyamba okukola by’ayagala. (Isaaya 41:10) Weesige Yakuwa n’omutima gwo gwonna, ajja ‘kutereeza amakubo go.’—Engero 3:5, 6.

OKWATULA MU LUJJUDDE OKUKKIRIZA KWO

20. Bw’omala okwewaayo eri Katonda, kiki ky’oddako okukola?

20 Owulira nga kati otuukiriza ebisaanyizo eby’okwewaayo eri Yakuwa? Bw’omala okwewaayo eri Yakuwa, ekiddako kwe kubatizibwa.

21, 22. Oyinza otya ‘okwatula mu lujjudde’ okukkiriza kwo?

21 Bw’oba omaze okwewaayo eri Yakuwa era ng’oyagala kubatizibwa, tegeeza oyo akwanaganya akakiiko k’abakadde mu kibiina ky’olimu. Ajja kukola enteekateeka abakadde babeeko ebibuuzo bye bakubuuza ebikwata ku njigiriza za Bayibuli ezisookerwako. Abakadde abo bwe banaalaba nti otuukiriza ebisaanyizo eby’okubatizibwa, bajja kukutegeeza nti osobola okubatizibwa ku lukuŋŋaana olunene olunaddako. Ku lukuŋŋaana olwo, wajja kubaawo omwogezi annyonnyola amakulu g’okubatizibwa. Oluvannyuma omwogezi oyo ajja kubuuza abo abanaaba bagenda okubatizibwa ebibuuzo bibiri. Bw’onoddamu ebibuuzo ebyo ojja kuba ‘oyatudde mu lujjudde’ okukkiriza kwo.—Abaruumi 10:10.

22 Oluvannyuma ojja kubatizibwa ng’onnyikibwa mu mazzi. Okubatizibwa kwo kujja kulaga abantu abalala nti weewaddeyo eri Yakuwa era nti ofuuse omu ku Bajulirwa ba Yakuwa.

OKUBATIZIBWA KULINA MAKULU KI?

23. Kitegeeza ki okubatizibwa “mu linnya lya Kitaffe, n’ery’Omwana, n’ery’omwoyo omutukuvu”?

23 Yesu yagamba nti abagoberezi be bandibatiziddwa “mu linnya lya Kitaffe, n’ery’Omwana, n’ery’omwoyo omutukuvu.” (Soma Matayo 28:19.) Ebigambo ebyo bitegeeza ki? Bitegeeza nti oyo agenda okubatizibwa aba ategeera bulungi obuyinza bwa Yakuwa n’ekifo Yesu ky’alina mu kutuukiriza ekigendererwa kya Katonda era n’engeri Katonda gy’akozesaamu omwoyo gwe omutukuvu okutuukiriza by’ayagala.—Zabbuli 83:18; Matayo 28:18; Abaggalatiya 5:22, 23; 2 Peetero 1:21.

Bw’obatizibwa kiba kiraga nti oyagala okukola Katonda by’ayagala

24, 25. (a) Okubatizibwa kulina makulu ki? (b) Kiki kye tujja okulaba mu ssuula esembayo?

24 Okubatizibwa kulina makulu ki? Bw’onnyikibwa mu mazzi, kiba kitegeeza nti ofudde ku bikwata ku mpisa zo ez’edda, kwe kugamba, nti ozirese. Bw’ova mu mazzi, oba otandise obulamu obuggya obw’okukola Katonda by’ayagala. Ekyo kiba kiraga nti ogenda kuweereza Yakuwa obulamu bwo bwonna. Kijjukire nti oba teweewaddeeyo eri muntu yenna, eri ekibiina, oba eri omulimu, wabula oba weewaddeyo eri Yakuwa.

25 Bwe weewaayo eri Katonda, kijja kukusobozesa okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye. (Zabbuli 25:14) Naye kino tekitegeeza nti omuntu bw’abatizibwa mu buli ngeri aba ajja kulokolebwa. Omutume Pawulo yagamba nti: “Mweyongere okukolerera obulokozi bwammwe nga mutya era nga mukankana.” (Abafiripi 2:12) Okubatizibwa eba ntandikwa butandikwa. Naye oyinza otya okusigala ng’olina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa? Essuula esembayo mu katabo kano ejja kuddamu ekibuuzo ekyo.