Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Essuubi Ekkakafu ery’Okuddamu Okulaba Abaafa

Essuubi Ekkakafu ery’Okuddamu Okulaba Abaafa

Omukyala omu ow’emyaka 25 yawandiika bw’ati: “Maama wange eyankuza yafa kookolo mu 1981. Nze ne mwannyinaze bwe yatukuza twalumwa nnyo. Nnalina emyaka 17 ng’ate ye mwannyinaze alina 11. Nnamusaalirwa nnyo. Olw’okuba baŋŋamba nti yali agenze mu ggulu, nnayagala okwetta nsobole okugenda mbeere wamu naye. Yali mukwano gwange nfiira bulago.”

Kirabika nga si kya bwenkanya okufa okukutwalako omuntu gw’oyagala ennyo. Ekisinga okuluma ennyo kwe kuba nti, omwagalwa wo bw’afa oba togenda kuddamu kwogerako naye, kuseka naye, oba okumukwatako. Obulumi obwo tebuggwaawo ne bwe bakugamba nti agenze mu ggulu.

Kyokka, Baibuli ewa essuubi ery’enjawulo. Nga bwe tulabye emabegako, Ebyawandiikibwa biraga nti mu kiseera ekitali kya wala abantu bajja kuddamu okubeera n’abaagalwa baabwe abaafa, si mu ggulu naye wano ku nsi nga bali mu mirembe ne mu mbeera ennungi ennyo. Ate era mu kiseera ekyo abantu bajja kuba balamu bulungi era tebajja kuddamu kufa. Naye abamu bayinza okugamba nti, ‘Ekyo tekisoboka!’

Kiki ekiyinza okukukakasa nti essuubi eryo lya ddala? Okusobola okukkiririza mu kisuubizo, olina okuba omukakafu nti oyo akisuubizza ayagala era asobola okukituukiriza. Kati olwo ani asuubizza nti abafu bajja kuddamu okuba abalamu?

Mu mwaka 31 C.E., Yesu Kristo yasuubiza nti: “[Nga] Kitange bw’azuukiza abafu n’abawa obulamu, bw’atyo n’Omwana abawa obulamu bonna b’ayagala okuwa. Temwewuunya ekyo: kubanga ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye [Yesu], ne bavaamu.” (Yokaana 5:21, 28, 29) Mazima ddala, Yesu Kristo yasuubiza nti abantu bukadde na bukadde abaafa bajja kuddamu okuba abalamu ku nsi era bagibeereko emirembe gyonna nga bali mu mbeera ennungi era ez’emirembe. (Lukka 23:43; Yokaana 3:16; 17:3; geraageranya Zabbuli 37:29 ne Matayo 5:5.) Okuva bwe kiri nti Yesu ye yawa ekisuubizo kino, tuli bakakafu nti ayagala okukituukiriza. Naye ddala alina obusobozi bw’okukikola?

Nga tewannayita na myaka ebiri bukya awa ekisuubizo kino, Yesu yalaga nti ayagala era asobola okuzuukiza abafu.

“Lazaalo, Fuluma Ojje”

Yali mbeera ya nnaku nnyo. Lazaalo yali mulwadde nnyo. Malyamu ne Maliza bannyina ba Lazaalo, baaweereza Yesu obubaka ng’ali emitala w’Omugga Yoludaani. Baamugamba nti: “Mukama waffe, laba, gw’oyagala alwadde.” (Yokaana 11:3) Baali bakimanyi nti Yesu ayagala nnyo Lazaalo. Ddala Yesu teyandyagadde kulaba ku mukwano gwe omulwadde? Ekyewuunyisa, mu kifo ky’okugenda e Bessaniya amangu ago, Yesu yasigala gye yali ennaku eddala bbiri.​—Yokaana 11:5, 6.

Lazaalo yafa oluvannyuma nga bamaze okuweereza Yesu obubaka obukwata ku bulwadde bwe. Yesu yamanya ekiseera Lazaalo we yafiira, era yateekateeka okubaako ky’akolawo. We yatuukira e Bessaniya, mukwano gwe yali amaze ennaku nnya ng’afudde. (Yokaana 11:17, 39) Yesu yandisobodde okuzuukiza omuntu amaze ebbanga eryo lyonna ng’afudde?

Olw’okuba Maliza, yali mukazi mwangu, bwe yawulira nti Yesu ajja, yadduka mangu okumusisinkana. (Geraageranya Lukka 10:38-42.) Nga Yesu akwatiddwako nnyo olw’ennaku Maliza gye yalimu, yamugamba nti: “Mwannyoko ajja kuzuukira.” Maliza bwe yalaga nti akkiririza mu kuzuukira okw’omu biseera eby’omu maaso, Yesu yamugamba kaati nti: “Nze kuzuukira, n’obulamu: akkiriza nze, newakubadde ng’afudde, aliba mulamu.”​—Yokaana 11:20-25.

Yesu bwe yatuuka ku ntaana n’abagamba baggyewo ejjinja eryali libisse ku mulyango gwayo. Oluvannyuma lw’okusaba mu ddoboozi ery’omwanguka, yagamba nti: “Lazaalo, fuluma ojje.”​—Yokaana 11:38-43.

Abantu bonna baali batunuulidde entaana. Oluvannyuma baalaba omuntu ng’ava mu ntaana. Ebigere bye n’engalo byali bizingiddwa mu ngoye, era nga n’ekiremba kisibiddwa mu maaso ge. Awo Yesu n’abagamba nti: “Mumusumulule mumuleke agende.” Bwe baamusumululako olugoye olusembayo, baalabira ddala, nga ye Lazaalo, omusajja eyali amaze ennaku nnya ng’afudde!​—Yokaana 11: 44.

Ddala Ekintu Ekyo Kyaliwo?

Ebikwata ku kuzuukiza Lazaalo ebyogerwako mu Njiri ya Yokaana byaliwo ddala. Engeri gye binnyonnyolwamu eraga nti bituufu ddala, so si lugero bugero. Omuntu bw’abuusabuusa obutuufu bwabyo aba abuusabuusa obutuufu bw’eby’amagero byonna ebiri mu Baibuli, nga mw’otwalidde n’okuzuukira kwa Yesu Kristo. Ate okugamba nti Yesu teyazuukira kiba ng’okwegaana Obukristaayo.​—1 Abakkolinso 15:13-15.

Mu butuufu, bw’oba okkiriza nti Katonda gyali, tekyandikuzibuwalidde kukkiririza mu kuzuukira. Ng’ekyokulabirako: Omuntu ayinza okukwatibwa ku vidiyo ng’akola ekiraamo kye, era bw’afa, ab’eŋŋanda ze n’ab’emikwano bayinza okumulaba era n’okuwulira ebigambo bye yayogera ng’annyonnyola engeri y’okugabanyamu ebintu bye. Emyaka nga kikumi emabega ekintu ng’ekyo kyali tekiyinza na kuteeberezebwa. Era ne leero, abantu bangi abali mu bitundu ebitannakulaakulana bayinza obutategeera tekinologiya ng’oyo era bayinza okumutunuulira ng’ekyamagero. Bwe kiba nti abantu basobola okukozesa amateeka ga sayansi okukwata ku vidiyo omuntu eyafa, Omutonzi eyassaawo amateeka ago tayinza kukola kintu ekisinga n’awo? Kati olwo tekyandibadde ky’amagezi okukkiriza nti Oyo eyatonda obulamu asobola okubuzzaawo nate?

Eky’amagero kino eky’okuzuukiza Lazaalo kyayamba abantu okweyongera okukkiririza mu Yesu ne mu kuzuukira. (Yokaana 11:41, 42; 12:9-11, 17-19) Ate era, kyayoleka nti Yakuwa n’Omwana we baagala nnyo era beetegefu okuzuukiza abantu.

‘Katonda Ayagala Nnyo’

Ebyo Yesu bye yakola nga Lazaalo afudde byalaga nti alumirirwa nnyo abantu. Engeri gye yakwatibwako ku lunaku olwo, yayoleka nti ayagala nnyo okuzuukiza abafu. Tusoma bwe tuti: “Awo Malyamu bwe yatuuka Yesu gy’ali n’amulaba, n’agwa ku bigere bye, n’amugamba nti Mukama wange, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde. Awo Yesu bwe yamulaba ng’akaaba, n’Abayudaaya abazze naye nga bakaaba, n’asinda mu mwoyo, ne yeeraliikirira, n’agamba nti Mwamuteeka wa? Ne bamugamba nti Mukama waffe jjangu olabe. Yesu n’akaaba amaziga. Awo Abayudaaya ne boogera nti Laba bw’abadde amwagala.”​—Yokaana 11:32-36.

Wano obusaasizi bwa Yesu bweyolekera mu ngeri ssatu: ‘okusinda,’ ‘okweraliikirira,’ ne ‘okukaaba amaziga.’ Ebigambo ebyakozesebwa mu kuwandiika ebintu bino ebyaliwo, biraga nti, okufa kwa Lazaalo mukwano gwa Yesu n’okukaaba kwa mwannyina, byakwata nnyo ku Yesu ne bimuviirako okukulukusa amaziga. *

Ekyewuunyisa kiri nti, Yesu yali azuukizza abantu babiri emabegako. Era yalina ekigendererwa eky’okukola ekintu kye kimu ku Lazaalo. (Yokaana 11:11, 23, 25) Kyokka, ‘yakaaba amaziga.’ Bwe kityo, okuzuukiza abantu si kintu Yesu kye yakola okutuukiriza obutuukiriza omukolo. Enneewulira gye yayoleka mu kiseera ekyo yalaga nti ayagala nnyo okuggyawo okufa.

Engeri Yesu gye yakwatibwako ng’agenda okuzuukiza Lazaalo yalaga nti ayagala nnyo okuggyawo okufa

Okuva Yesu bw’ali ‘ekifaananyi kya Yakuwa Katonda,’ twandisuubidde nti ne Kitaffe ow’omu ggulu ayagala nnyo okukola ekintu kye kimu. (Abaebbulaniya 1:3) Ng’alaga engeri Yakuwa gy’ali omwetegefu okuzuukiza abafu, omusajja omwesigwa Yobu yagamba: ‘Omuntu bw’afa aliba mulamu nate? Wandimpise nange nandikuyitabye, wandibadde n’okwegomba eri omulimu gw’emikono gyo.’ (Yobu 14:14, 15) Wano ebigambo ebyavvuunulwa nga “wandibadde n’okwegomba” biraga nti Katonda ayagala nnyo era yeesunga nnyo okuzuukiza abantu. (Olubereberye 31:30; Zabbuli 84:2) Mu butuufu Yakuwa yeesunga nnyo okuzuukiza abantu.

Ddala tuyinza okukkiririza mu kisuubizo kino eky’okuzuukira? Yee, awatali kubuusabuusa kwonna Yakuwa n’Omwana we baagala era basobola okukituukiriza. Kino kitegeeza ki gy’oli? Olina essuubi ery’okuddamu okubeera awamu n’abaagalwa bo wano ku nsi, kyokka, mu mbeera ennungi ennyo!

Yakuwa Katonda eyateeka abantu abaasooka mu lusuku olulungi ennyo, asuubiza okuzzaawo Olusuku olwo wano ku nsi. Era mu kiseera ekyo, ensi ejja kuba efugibwa Obwakabaka bwe obw’omu ggulu nga Yesu Kristo ye kabaka waabwo. (Olubereberye 2:7-9; Matayo 6:10; Lukka 23:42, 43) Mu Lusuku lwa Katonda olwo olugenda okuddawo, abantu bajja kunyumirwa obulamu obutaggwaawo nga tebuliimu kulwala kwonna. (Okubikkulirwa 21:1-4; geraageranya Yobu 33:25; Isaaya 35:5-7.) Ate era, tewajja kubaawo bukyayi, busosoze, ttemu wadde obwavu. Mu nsi eyo erongooseddwa, Yakuwa Katonda, ng’ayitira mu Yesu Kristo ajja kuzuukiza abafu.

Okuzuukira okwesigamiziddwa ku kinunulo kya Yesu Kristo kujja kuleetera amawanga gonna essanyu

Eryo kati lye ssuubi omukyala oli Omukristaayo eyayogeddwako ku ntandikwa y’ekitundu kino ly’alina. Oluvannyuma lw’emyaka mingi nga maama we amaze okufa, Abajulirwa ba Yakuwa baamuyamba okuyiga Baibuli. Agamba bw’ati: “Bwe nnamanya essuubi erikwata ku kuzuukira nnakaaba. Kyansanyusa nnyo okukitegeera nti nja kuddamu okulaba maama wange.”

Bwe kiba nti naawe olinayo omuntu gw’oyagala ennyo okuddamu okulaba, Abajulirwa ba Yakuwa beetegefu okukuyamba okuba n’essuubi lino ekkakafu. Lwaki tobakyalirako ku Kizimbe ky’Obwakabaka ekikuli okumpi oba okubawandiikira ng’okozesa emu ku ndagiriro eziri ku lupapula 32.

^ lup. 20 Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa ‘okusinda’ kiva mu kigambo (em·bri·maʹo·mai) ekitegeeza okulumwa ennyo, oba okukwatibwako ennyo. Omwekenneenya omu owa Baibuli yagamba nti: “Kino kiraga nti Yesu yakwatibwako nnyo ne kimuviirako okusinda mu mutima Gwe.” Ekigambo ekivvuunulwa ‘okweraliikirira’ kiva mu kigambo ky’Oluyonaani (ta·rasʹso) ekiyinza okutegeeza okutabulwa. Okusinziira ku muwandiisi omu ow’enkuluze, ekigambo kino kitegeeza “okusoberwa, . . . okufuna obulumi obw’amaanyi oba ennyiike.” Ekigambo ‘okukaaba amaziga’ kiva mu kigambo ky’Oluyonaani (da·kryʹo) ekitegeeza “okukulukusa amaziga oba okukaaba mu kimpoowoze.”