Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Tekisoboka!”

“Tekisoboka!”

OMUSAJJA omu abeera mu New York eky’omu Amerika yayogera ebigambo bino: “Mutabani wange Jonathan yali agenze okukyalira mikwano gye egyali gibeera mu kitundu ekitali wala okuva awaka waffe. Mukyala wange Valentina teyayagalanga agendeyo olw’okweraliikirira ebidduka ebingi ebibeera ku luguudo. Naye, Jonathan yali ayagala nnyo eby’okukanika, era nga mikwano gye egyo gyali girina ekifo we yali ayinza okweyongera okuyigira okukanika. Ku olwo nnali waka era nga mukyala wange agenze Puerto Rico okulaba ku b’ewaabwe. Mu kiseera we nnalowolereza nti Jonathan anaatera okudda, ne wabaawo akonkona ku luggi. Muli nnalowooza nti, ‘ateekwa okuba nga y’oyo akomyewo.’ Naye si bwe kyali. Baali baserikale ba poliisi awamu n’abasawo. Omu ku bapoliisi yambuuza: ‘Nnyini layisinsi eno omumanyi?’ Nnamuddamu nti: ‘Ya mutabani wange Jonathan.’ N’alyoka aŋŋamba nti, ‘Tukuleetedde amawulire amabi. Waguddewo akabenje era . . . mutabani wo . . . afiiriddemu.’ Muli nnalowooza, ‘tekisoboka!’ Ekikangabwa ekyo kyatukuba wala nnyo era wadde nga kati wayiseewo emyaka mingi tukyalina obulumi.”

‘Tukuleetedde amawulire amabi. Waguddewo akabenje era . . . mutabani wo, . . . afiiriddemu.’

Taata omu ow’omu Barcelona eky’omu Spain yawandiika bw’ati: “Mu myaka gya 1960, amaka gaffe gaali masanyufu. Gaalimu mukyala wange Maria, n’abaana baffe basatu, ng’omu ye David eyalina emyaka 13, omulala Paquito eyalina 11, ne Isabel eyalina 9.

“Lumu, mu mwezi gwa Maaki 1963, Paquito yakomawo okuva ku ssomero ng’omutwe gumuluma nnyo. Tetwasooka kumanya kyali kiviiriddeko omutwe okumuluma naye oluvannyuma twakizuula. Waayitawo essaawa ssatu zokka n’afa. Omusaayi ogwagenda mu bwongo gwe gwamuviirako okufa.

“Kati emyaka egyakayitawo bukya Paquito afa gisukka mu 30. Wadde kiri kityo, tukyalina obulumi bwa maanyi. Abazadde bwe bafiirwa omwana bawulira nga balina ekibabulako ka kibe nga wayiseewo ekiseera kyenkana wa, oba nga basigazzaawo abaana bameka.”

Ebyokulabirako ebyo ebibiri biraga obulumi omuzadde bw’afuna ng’afiiriddwa omwana. Era ekyo kiraga obutuufu bw’ebigambo omusawo omu bye yayogera: “Obulumi bw’okufiirwa omwana buba bwa maanyi nnyo n’okusinga obw’okufiirwa omuntu omukulu, olw’okuba omwana aba tasuubirwa kufa. . . . Omwana bw’afa by’oba omusuubiramu mu biseera eby’omu maaso biba bikomye awo. Era ofiirwa n’enkolagana gye wandibadde olina n’omwana oyo, ne muka mwana wo, n’abazzukulu awamu n’ebirala byonna bye bandikoze.” N’omukazi avuddemu olubuto ayinza okufuna obulumi obw’engeri eyo.

Omukyala omu eyali afiiriddwa bbaawe yagamba bw’ati: “Mwami wange Russell, yali musawo mu ddwaliro ly’omu bitundu bya Pacific mu kiseera kya Ssematalo II. Yalaba entalo ez’amaanyi nnyingi era n’aziyitamu mirembe. Yakomawo mu Amerika awali emirembe. Oluvannyuma, yatandika okubuulira obubaka obuva mu Kigambo kya Katonda. Kyokka, bwe yali yaakayingira mu myaka gye egy’enkaaga, yatandika okufuna obubonero obulaga nti mulwadde wa mutima. Wadde kyali kityo, yafuba okukola emirimu gye. Mu Jjulaayi wa 1988 obulwadde bwe obw’omutima bwannyinnyiitira era n’afa. Okufa kwe kwankuba wala nnyo. Saasobola na kumusiibula. Rusell teyali baze kyokka, naye era yali mukwano gwange nfiira bulago. Twali tumaze myaka 40 nga tuli wamu. Kyokka kati nnali ŋŋenda kubeera mu kiwuubaalo ekitagambika.”

Ebyo bye bimu ku bizibu enkumi n’enkumi ebituuka ku maka mangi mu nsi yonna. Abasinga obungi ku abo abakungubaga bagamba nti bw’ofiirwa omwana, omwami, omukyala, omuzadde, oba ow’omukwano, okirabira ddala nti okufa ye ‘mulabe ow’enkomerero,’ ng’omutume Pawulo bwe yayogera. Ky’osooka okulowooza nga bakubikidde kiri nti, “Tekisoboka! Sikikkiriza.” Waliwo n’engeri endala gye tutera okwewuliramu nga bwe tujja okulaba.​—1 Abakkolinso 15:25, 26.

Kyokka, nga tetunnalaba ngeri gye twewuliramu nga tuli mu nnaku ey’amaanyi, ka tusooke tuddemu ebimu ku bibuuzo ebikulu. Okufa y’ebeera enkomerero y’omuntu? Waliwo essuubi ery’okuddamu okulaba abaagalwa baffe abaafa?

Waliwo Essuubi Erya Nnamaddala

Omuwandiisi wa Baibuli ayitibwa Pawulo yawa essuubi nti, ‘omulabe ow’enkomerero,’ okufa, aliggibwawo. Yagamba nti: ‘Okufa kujja kuggibwawo.’ “Omulabe alisembayo okuggibwawo kwe kufa.” (1 Abakkolinso 15:26, The New English Bible) Lwaki Pawulo yali mukakafu nnyo bw’atyo? Olw’okuba yayigirizibwa Yesu Kristo, eyali azuukiziddwa mu bafu. (Ebikolwa 9:3-19) Eyo y’ensonga lwaki Pawulo yawandiika nti: “Kubanga okufa bwe kwabaawo ku bw’omuntu [Adamu], era n’okuzuukira kw’abafu kwabaawo ku bwa muntu [Yesu Kristo]. Kuba bonna nga bwe baafiira mu Adamu, era bwe batyo mu Kristo bonna mwe balifuukira abalamu.”​—1 Abakkolinso 15:21, 22.

Yesu yanakuwala nnyo bwe yasanga nnamwandu ow’omu kibuga ky’e Nayini eyali afiiriddwa mutabani we. Baibuli egamba: “Awo [Yesu] bwe yasembera ku wankaaki w’ekibuga [Nayini], laba, omulambo nga gufulumizibwa ebweru, gwa mwana nnyina gwe yazaala omu, ne nnyina oyo nga nnamwandu; n’abantu bangi ab’omu kibuga omwo nga bali naye. Awo Mukama waffe bwe yamulaba n’amusaasira, n’amugamba nti Tokaaba. N’asembera n’akoma ku lunnyo: bali abaali beetisse ne bayimirira. N’agamba nti Omulenzi, nkugamba nti Golokoka. Oyo eyali afudde n’agolokoka, n’atuula n’atanula okwogera. N’amuwa nnyina. Obuti ne bubakwata bonna, ne bagulumiza Katonda; nga bagamba nti, Nnabbi omukulu ayimukidde mu ffe: era Katonda akyalidde abantu be.” Weetegereze engeri Yesu gye yamusaasiramu, ne kimuviirako okuzuukiza mutabani we! Ekyo nga kiwa essuubi ery’ekitalo ery’ebiseera eby’omu maaso!​—Lukka 7:12-16.

Mu maaso g’abantu abangi, Yesu yazuukiza omuntu, ekintu ekyali kitayinza kwerabirwa. Kino kyali kisonga ku kuzuukira kwe yali ayogeddeko okwandibaddewo ku nsi ng’efugibwa ‘eggulu eriggya.’ Yagamba: “Temwewuunya ekyo: kubanga ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye, ne bavaamu.”​—Okubikkulirwa 21:1, 3, 4; Yokaana 5:28, 29; 2 Peetero 3:13.

Abalala abaalabako n’agaabwe ng’omuntu azuukizibwa yali Peetero n’abamu ku batume 12 abaatambulanga ne Yesu. Bano baawulirira ddala nga Yesu eyali azuukiziddwa ayogera ebigambo bino bwe yali okumpi n’olubalama lw’enyanja y’e Ggaliraaya. Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Yesu n’abagamba nti Mujje mulye. So mu bayigirizwa ne mutaba muntu eyayaŋŋanga okumubuuza nti Ggwe ani, nga bamanyi nga ye Mukama waffe. Yesu n’ajja, nnaddira omugaati, n’abawa, n’eby’ennyanja bw’atyo. Guno gwe mulundi ogw’okusatu Yesu bwe yalabika mu bayigirizwa, oluvannyuma ng’amaze okuzuukira mu bafu.”​—Yokaana 21:12-14.

Bwe kityo, Peetero yali asobola okuwandiika n’obukakafu nti: “Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, eyatuzaala omulundi ogw’okubiri, ng’okusaasira kwe okungi bwe kuli, tubeerenga n’essuubi eddamu olw’okuzuukira kwa Yesu Kristo mu bafu.”​—1 Peetero 1:3.

Omutume Pawulo yayoleka essuubi ekkakafu lye yalina bwe yagamba nti: “Nzikiriza byonna ebyawandiikibwa mu mateeka ne mu bya bannabbi. Nga nnina essuubi eri Katonda, era nabo bennyini lye basuubira, nti walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu era n’abatali batuukirivu.”​—Ebikolwa 24:14, 15.

N’olw’ekyo, abantu bukadde na bukadde basobola okuba n’essuubi ekkakafu ery’okuddamu okulaba abantu baabwe nga balamu wano ku nsi mu mbeera ez’enjawulo ennyo ku zino ze tulimu. Embeera ezo ziriba zitya? Ebirala ebikwata ku ssuubi eryesigamiziddwa ku Baibuli ery’okuddamu okulaba abaagalwa baffe bijja kwogerwako mu ssuula y’akatabo kano esembayo erina omutwe ogugamba nti “Essuubi Ekkakafu Erikwata ku Bafu.”

Kati ka tusooke tufune eby’okuddamu mu bibuuzo omuntu omunakuwavu ennyo olw’okufiirwa omuntu we by’ayinza okuba nabyo: Kya bulijjo okunakuwala bwe nti? Nsobola ntya okuguma? Abalala bayinza kunnyamba batya okusobola okuguma? Ate nze nnyinza ntya okuyamba oyo aba akungubaga? Baibuli ewa ssuubi ki ekkakafu erikwata ku bafu? Ndiddamu okulaba ku baagalwa bange abaafa? Ndibalabira wa?