Ebirina Okumanyibwa Abo Abazze ku Lukuŋŋaana
ABAANIRIZA Abaaniriza baliwo kukuyamba. Osabibwa okugoberera obulagirizi bwe bakuwa obukwata ku w’olina okusimba ekidduka kyo, aw’okutuula, ne ku nsonga endala.
AW’OKUTUULA Osabibwa okufaayo ku balala. Ab’omu maka go, b’otambudde nabo mu kidduka kyo, n’abayizi bo aba Bayibuli, be bokka b’oyinza okukwatira ebifo. Osabibwa obutateeka kintu kyonna mu kifo omuntu omulala w’asobola okutuula.
EBIBUZE N’EBIZUULIDDWA Bwe wabaawo ekintu kyonna ky’olonze, kitwale mu kitongole kino. Ate era bwe wabaawo ekintu kyonna ekikubuzeeko, genda mu kitongole kino. Abaana ababuze ku bazadde baabwe basaanidde okutwalibwa mu kitongole kino. Kyokka, olw’okwewala okutaataaganya abalala, abazadde basaanidde okulabirira abaana baabwe n’okubakuumira we bali.
OBUJJANJABI OBUSOOKERWAKO Kijjukire nti ekitongole kino kikola ku BUJJANJABI OBUSOOKERWAKO BWOKKA.
OKUBATIZIBWA Ebifo bye bategekedde abanaabatizibwa bijja kubeera mu maaso. Basaanidde okutuula mu bifo byabwe ku Lwomukaaga ku makya ng’okwogera okukwata ku kubatizibwa tekunnatandika. Buli omu asaanidde okuleeta ttawulo ye n’eby’okwambala ebisaanira eby’okubatirizibwamu.
OKUWAAYO Ssente eziwerako zisaasaanyiziddwa mu kuteekateeka aw’okutuula, ebyuma by’amaloboozi, n’ebirala bingi ebisobozesa olukuŋŋaana okutambula obulungi n’okutuyamba okusemberera Yakuwa. Ssente ze muwaayo kyeyagalire ze zikola ku byetaago ebyo era n’okuwagira omulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna. Obusanduuko omuteekebwa ssente buteekeddwa mu bifo ebitali bimu. Kyonna kye muwaayo kisiimibwa nnyo, era Akakiiko Akafuzi kabeebaza nnyo olw’okuwagira emirimu gy’Obwakabaka.
OKUWEEREZA NGA NNAKYEWA Bw’oba nga wandyagadde okwenyigira mu mirimu egisobozesa olukuŋŋaana luno okutambula obulungi, osabibwa okugenda mu kitongole kya bannakyewa era ojja kutegeezebwa obuyambi we bwetaagibwa.
OLUKUŊŊAANA OLW’ENJAWULO
ESSOMERO LY’ABABUULIZI B’ENJIRI Y’OBWAKABAKA Bapayoniya abali wakati w’emyaka 23 ne 65 abandyagadde okugaziya ku buweereza bwabwe, bakubirizibwa okubaawo ku lukuŋŋaana lw’abo abandyagadde okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka olunaabaawo ku Ssande olweggulo. Ekiseera n’ekifo olukuŋŋaana luno we lunaabeera bijja kututegeezebwa.
Lutegekeddwa Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa