Ebirina Okumanyibwa Abo Abazze ku Lukuŋŋaana
ENKUŊŊAANA EZ’ENJAWULO
OKUWEEREZA KU BESERI Ababuulizi ababatize abaweza emyaka 35 n’abo abatannagiweza, nga bandyagadde okuweereza ku Beseri, basaanidde okubeerawo mu lukuŋŋaana lw’abo abaagala okuweereza ku Beseri olunaabaawo ku Lwokutaano olweggulo. Ekiseera n’ekifo we lunaabeera bijja kulangirirwa.
ESSOMERO LY’ABABUULIZI B’ENJIRI Y’OBWAKABAKA Bapayoniya abali wakati w’emyaka 23 ne 65 abandyagadde okugaziya ku buweereza bwabwe, bakubirizibwa okubaawo mu lukuŋŋaana lw’abo abandyagadde okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka olunaabaawo ku Ssande olweggulo. Ekiseera n’ekifo olukuŋŋaana luno we lunaabeera bijja kulangirirwa.
EBIRINA OKUMANYIBWA ABO ABAZZE MU LUKUŊŊAANA
ABAANIRIZA Abaaniriza baliwo kukuyamba. Osabibwa okugoberera obulagirizi bwe bakuwa obukwata ku w’olina okusimba ekidduka kyo, aw’okutuula, ne ku nsonga endala.
AW’OKUTUULA Osabibwa okulowooza ku balala. Ab’omu maka go, b’otambudde nabo mu kidduka kyo, n’abayizi bo aba Bayibuli, be bokka b’oyinza okukwatira ebifo. Osabibwa obutateeka kintu kyonna mu kifo omuntu w’asobola okutuula.
EBIBUZE N’EBIZUULIDDWA Bwe wabaawo ekintu kyonna ky’ozudde, kitwale mu kitongole kino. Ate era bwe wabaawo ekintu kyonna ekikubuzeeko, genda mu kitongole kino. Abaana ababuze ku bazadde baabwe basaanidde okutwalibwa mu kitongole kino. Kyokka, ekitongole kino tekirina kutwalibwa ng’ekifo awakuumirwa abaana. Osabibwa okulabirira abaana bo n’okubakuumira w’oli.
OBUJJANJABI OBUSOOKERWAKO Jjukira nti buno BUJJANJABI OBUSOOKERWAKO OBUWEEBWA OMUNTU NG’AFUNYE EKIZIBU.
OKUBATIZIBWA Abagenda okubatizibwa basaanidde okutuula mu bifo byabwe ku Lwomukaaga ku makya ng’okwogera okukwata ku kubatizibwa tekunnatandika. Ebifo bye babategekedde bijja kubeera mu maaso. Buli omu asaanidde okuleeta ttawulo ye n’eby’okwambala ebisaanira eby’okubatirizibwamu.
OKUWAAYO Ssente eziwerako zisaasaanyiziddwa mu kuteekateeka aw’okutuula, ebyuma by’amaloboozi, n’ebirala bingi ebisobozesa olukuŋŋaana okutambula obulungi n’okutuyamba okusemberera Yakuwa. Ssente ze muwaayo kyeyagalire ze zikola ku byetaago ebyo era n’okuwagira omulimu gw’okubuulira mu nsi yonna. Obusanduuko omuteekebwa ssente buteekeddwa mu bifo ebitali bimu. Kyonna kye muwaayo kisiimibwa nnyo, era Akakiiko Akafuzi kabeebaza nnyo olw’okuwagira emirimu gy’Obwakabaka.
OKUWEEREZA NGA NNAKYEWA Bw’oba oyagala okwenyigira mu mirimu egisobozesa olukuŋŋaana luno okutambula obulungi, osabibwa okugenda mu kitongole ekyo era ojja kutegeezebwa obuyambi we bwetaagibwa.
Lutegekeddwa Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa