Ebirina Okumanyibwa Abo Abazze ku Lukuŋŋaana
ABAANIRIZA Abaaniriza baliwo kukuyamba. Osabibwa okugoberera obulagirizi bwe bakuwa obukwata ku w’olina okusimba ekidduka kyo, aw’okutuula, ne ku nsonga endala.
OKUBATIZIBWA Ebifo bye bategekedde abanaabatizibwa bijja kubeera mu maaso okuggyako nga kiragiddwa mu ngeri endala. Basaanidde okutuula mu bifo byabwe ku Lwomukaaga ku makya ng’okwogera okukwata ku kubatizibwa tekunnatandika. Buli omu asaanidde okuleeta ttawulo ye n’eby’okwambala ebisaanira eby’okubatirizibwamu.
OKUWAAYO Ssente eziwerako zisaasaanyiziddwa mu kuteekateeka aw’okutuula, ebyuma by’amaloboozi, n’ebirala bingi ebisobozesa olukuŋŋaana okutambula obulungi n’okutuyamba okwongera okusemberera Yakuwa. Ssente ze muwaayo kyeyagalire ze zikola ku byetaago ebyo era n’okuwagira omulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna. Obusanduuko omuteekebwa ssente buteekeddwa mu bifo ebitali bimu. Osobola n’okuwaayo ng’oyitira ku donate.pr418.com. Kyonna kye muwaayo kisiimibwa nnyo, era Akakiiko Akafuzi kabeebaza nnyo olw’okuwagira emirimu gy’Obwakabaka.
OBUJJANJABI OBUSOOKERWAKO Kijjukire nti ekitongole kino kikola ku bujjanjabi obusookerwako bwokka.
EBIBUZE N’EBIZUULIDDWA Bwe wabaawo ekintu kyonna ky’olonze, kitwale mu kitongole kino. Ate era bwe wabaawo ekintu kyonna ekikubuzeeko, genda mu kitongole kino. Abaana ababuze ku bazadde baabwe basaanidde okutwalibwa mu kitongole kino. Kyokka, olw’okwewala okutaataaganya abalala, abazadde basaanidde okulabirira abaana baabwe n’okubakuumira we bali.
AW’OKUTUULA Osabibwa okufaayo ku balala. Ab’omu maka go, b’otambudde nabo mu kidduka kyo, n’abayizi bo aba Bayibuli, be bokka b’oyinza okukwatira ebifo. Osabibwa obutateeka kintu kyonna mu kifo ky’otakwatidde muntu.
OKUWEEREZA NGA NNAKYEWA Bw’oba nga wandyagadde okwenyigira mu mirimu egisobozesa olukuŋŋaana luno okutambula obulungi, osabibwa okugenda mu kitongole kya bannakyewa.
Lutegekeddwa Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa
© 2024 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania