Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna

Omutonzi ayagala okukuwa obulagirizi, okukukuuma, n’okukuwa emikisa.

Ennyanjula

Olw’okuba Katonda ayagala nnyo abantu, atuyigiriza engeri gye tuyinza okuba mu bulamu obusingayo obulungi.

Katonda Tumuwuliriza Tutya?

Tulina okumanya eky’okukola n’anaatuyamba okukikola.

Katonda ow’Amazima y’Ani?

Tusobola okumanya erinnya lye n’ezimu ku ngeri ze.

Obulamu Bwali Butya mu Lusuku lwa Katonda?

Ebitabo ebisooka mu Bayibuli birunnyonnyola.

Baawuliriza Sitaani​—Biki Ebyavaamu?

Ebintu ebibi byatandika okubaawo.

Kiki kye Tuyigira ku Mataba?

Ebyaliwo mu kiseera kya Nuuwa bitukwatako.

Yesu Yali Ani?

Lwaki kikulu okumanya ebimukwatako?

Okufa kwa Yesu Kukukwatako Kutya?

Kusobozesa abantu okufuna ebirungi.

Ensi Erifuulibwa Ddi Olusuku lwa Katonda?

Bayibuli yayogera ku bintu ebyandibaddewo ng’Olusuku lwa Katonda lunaatera okutuuka.

Yakuwa Atuwuliriza?

Biki by’osobola okwogerako ng’osaba Katonda?

Oyinza Otya Okufuna Essanyu mu Maka?

Eyatandikawo enteekateeka y’amaka atuwa amagezi agasingayo obulungi.

Kiki Kye Tulina Okukola Okusanyusa Katonda?

Waliwo ebintu by’atayagala, ate waliwo by’ayagala.

Oyinza Otya Okulaga nti Onyweredde ku Yakuwa?

Engeri gy’osalawo ejja kulaga nti oyagala okusanyusa Katonda.