Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU 10

Mikisa Ki Abo Abawuliriza Katonda Gye Banaafuna?

Mikisa Ki Abo Abawuliriza Katonda Gye Banaafuna?

Abantu abasinga obungi abaafa bajja kuzuukizibwa baddemu okubeera ku nsi. Ebikolwa 24:15

Lowooza ku mikisa gy’onoofuna mu biseera eby’omu maaso singa owuliriza Katonda! Ojja kuba n’obulamu obutuukiridde; nga tewali muntu n’omu mulwadde oba alina obulemu. Tewajja kubaawo bantu babi era ojja kuba osobola okwesiga buli muntu.

Tewalibaawo kulumwa, nnaku, oba okukaaba. Tewali n’omu ajja kukaddiwa wadde okufa.

Ojja kuba weetooloddwa ab’emikwano n’ab’eŋŋanda zo. Obulamu bujja kuba bwa ssanyu jjereere mu Lusuku lwa Katonda.

Tewajja kubaawo kutya kwonna. Abantu bajja kuba basanyufu nnyo.

Obwakabaka bwa Katonda bujja kuggyawo okubonaabona kwonna. Okubikkulirwa 21:3, 4