Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU 11

Yakuwa Atuwuliriza?

Yakuwa Atuwuliriza?

Katonda awulira okusaba kwaffe. 1 Peetero 3:12

Yakuwa “awulira okusaba.” (Zabbuli 65:2) Ayagala twogere naye nga tumubuulira ekyo ekiri ku mitima gyaffe.

Sabanga Yakuwa so si muntu mulala yenna.

Tuyinza okwogera ku bintu bingi nga tusaba. 1 Yokaana 5:14

Saba Katonda by’ayagala bikolebwe mu ggulu ne ku nsi.

Saba ng’oyitira mu linnya lya Yesu okulaga nti osiima kye yakukolera.

Saba Yakuwa akuyambe okukola ebintu ebirungi. Ate era osobola okumusaba akuyambe okufuna eby’okulya, omulimu, aw’okusula, eby’okwambala, n’ebirala.