Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU 13

Kiki Kye Tulina Okukola Okusanyusa Katonda?

Kiki Kye Tulina Okukola Okusanyusa Katonda?

Weewale ebintu ebibi. 1 Abakkolinso 6:9, 10

Bwe tuba twagala Yakuwa, tetujja kukola bintu by’akyawa.

Yakuwa tayagala tubbe, tutamiire, oba tukozese ebiragalalagala.

Katonda akyayira ddala obutemu, okuggyamu embuto, n’obulyi bw’ebisiyaga. Tayagala tube ba mululu oba tulwane n’abalala.

Tetulina kusinza bifaananyi oba okwenyigira mu by’obusamize.

Abantu abakola ebintu ebibi, tebajja kubeera mu Lusuku lwa Katonda.

Kola ebirungi. Matayo 7:12

Okusobola okusanyusa Katonda, tulina okufuba okumukoppa.

Laga abalala okwagala ng’obeera wa kisa era mugabi.

Beera wa mazima.

Beera muntu musaasizi era asonyiwa.

Buulira abalala ebikwata ku Yakuwa n’amakubo ge.​—Isaaya 43:10.