Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU 3

Obulamu Bwali Butya mu Lusuku lwa Katonda?

Obulamu Bwali Butya mu Lusuku lwa Katonda?

Yakuwa yawa Adamu ne Kaawa ebirungi bingi. Olubereberye 1:28

Yakuwa yatonda omukazi eyasooka, Kaawa, era gwe yawa Adamu okuba mukyala we.​—Olubereberye 2:21, 22.

Yakuwa yabatonda nga balina emibiri egituukiridde, nga tebaliiko kakyamu konna.

Baali babeera mu lusuku Edeni​—ekifo ekyali kirabika obulungi ennyo nga mulimu omugga, emiti egiriko ebibala, n’ebisolo.

Yakuwa yayogeranga nabo; yabayigirizanga. Singa baamuwuliriza, bandibaddewo emirembe gyonna mu Lusuku lwa Katonda wano ku nsi.

Waliwo omuti Katonda gwe yabagaana okulyako. Olubereberye 2:16, 17

Mu lusuku mwalimu omuti Yakuwa gwe yalaga Adamu ne Kaawa n’abagamba nti singa balya ku bibala byago, bandifudde.

Omu ku bamalayika yajeemera Katonda. Malayika oyo omubi ye Sitaani Omulyolyomi.

Sitaani yali tayagala Adamu ne Kaawa bagondere Yakuwa. Bwe kityo, yayitira mu musota n’agamba Kaawa nti singa alya ku bibala by’omuti ogwo, teyandifudde wabula yandibadde nga Katonda. Ekyo kyali kya bulimba.​—Olubereberye 3:1-5.