Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 40

Ayigiriza Ebikwata ku Kusonyiwa

Ayigiriza Ebikwata ku Kusonyiwa

LUKKA 7:36-50

  • OMUKAZI OMWONOONYI AFUKA AMAFUTA KU BIGERE BYA YESU

  • AWA EKYOKULABIRAKO EKY’OMUNTU ALINA EBBANJA

Olw’okuba embeera y’emitima gy’abantu ya njawulo, beeyisa mu ngeri ya njawulo nga bawulidde ebyo Yesu by’ayogera ne by’akola. Ekyo kyeyoleka bulungi e Ggaliraaya. Omufalisaayo ayitibwa Simooni ayita Yesu ku kijjulo, oboolyawo ng’ayagala yeeyongere okutegeera omusajja ono akola ebyamagero. Yesu akkiriza okugenda ewa Simooni, oboolyawo ng’ayagala okukozesa akakisa kano okubuulira abo abanaabaawo, ng’era bw’abadde akola ng’abasolooza omusolo n’aboonoonyi bamuyise okuliirako awamu naye.

Kyokka Yesu bw’atuuka ewa Simooni, tebamukolera bintu bye batera okukolera abagenyi. Mu budde obw’omusana, omuntu bw’atambulira ku nguudo z’ettaka ez’omu Palesitiina, ebigere bye bibuguma era ne bijjula enfuufu. Bwe kityo, bw’atuuka gy’akyadde, ebigere bye babinaaza n’amazzi agannyogoga. Ekyo Yesu tebakimukolera. Era Yesu tebamunywegera ng’empisa y’okwaniriza abagenyi bw’eri. Ate era abagenyi batera okubafukako amafuta ku nviiri zaabwe ng’akabonero akalaga nti baaniriziddwa. Ekyo nakyo Yesu tebakimukolera. Kati olwo ddala Yesu bamwanirizza?

Abagenyi batudde ku lujjuliro, era ekijjulo kitandika. Bwe baba balya, omukazi atayitiddwa ayingira mu kisenge mwe bali. Omukazi oyo “amanyiddwa mu kibuga nti mwonoonyi.” (Lukka 7:37) Abantu bonna abatatuukiridde boonoonyi, naye omukazi ono alabika yeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, oboolyawo ng’akola obwa malaaya. Ayinza okuba nga yali awulidde ku bintu ebimu Yesu bye yayigiriza, nga mw’otwalidde n’eky’okuba nti yayita ‘abo bonna abategana era abazitoowereddwa, okugenda gy’ali abawummuze.’ (Matayo 11:28, 29) Oboolyawo ng’akwatiddwako nnyo ebigambo bya Yesu awamu n’ebintu by’akola, omukazi oyo agenda gy’ali afune obuyambi.

Omukazi oyo agenda Yesu w’atudde n’afukamira ku bigere bye. Akulukusa amaziga nga bwe gatonnya ku bigere bya Yesu, era n’agasangula ng’akozesa enviiri ze. Omukazi oyo anywegera ebigere bya Yesu era n’abifukako amafuta ag’akaloosa g’aleese. Ekyo tekisanyusa Simooni era agamba nti: “Singa omuntu ono ddala abadde nnabbi yandibadde amanya omukazi ky’ali, nti muntu mwonoonyi.”​—Lukka 7:39.

Yesu amanya ekyo Simooni ky’alowooza era n’amugamba nti: “Simooni, nnina kye njagala okukugamba.” Simooni amuddamu nti: “Omuyigiriza, kyogere!” Yesu amugamba nti: “Waliwo omuntu eyali abanja abantu babiri; omu yali amubanja eddinaali 500 ate ng’omulala amubanja 50. Bwe baalemererwa okumusasula n’abasonyiwa bombi. Kale, ani ku bombi anaasinga okumwagala?” Oboolyawo nga si musanyufu, Simooni amuddamu nti: “Ndowooza oyo gwe yasonyiwa ekisinga obunene.”​—Lukka 7:40-43.

Yesu akkiriziganya naye. Awo Yesu atunuulira omukazi n’agamba Simooni nti: “Omukazi ono omulaba? Nnayingidde mu nnyumba yo naye tewampadde mazzi ga kunaaba bigere. Naye omukazi ono anaazizza ebigere byange n’amaziga ge era n’agasiimulako ng’akozesa enviiri ze. Tewannywegedde; naye okuva lwe nnayingidde wano, omukazi ono tannalekayo kunywegera bigere byange. Tewanfuseeko mafuta ku mutwe; naye omukazi ono afuse ku bigere byange amafuta ag’akaloosa.” Yesu akiraba nti omukazi oyo yeenenyeza mu bwesimbu ebikolwa eby’obugwenyufu by’abadde yeenyigiramu. Akomekkereza n’ebigambo bino: “Nkugamba nti, ebibi bye bimusonyiyiddwa wadde nga bingi, kubanga alaze okwagala kungi. Naye oyo asonyiyibwa ebitono alaga okwagala kutono.”​—Lukka 7:44-47.

Yesu tawagira bikolwa bya bugwenyufu. Mu kifo ky’ekyo, ayoleka obusaasizi eri abantu ababa bakoze ebibi eby’amaanyi naye ne bakiraga nti beenenyezza mu bwesimbu ne badda eri Kristo okubayamba okufuna ekiwummulo. Lowooza ku ngeri omukazi oyo gy’awuliramu Yesu bw’amugamba nti: “Osonyiyiddwa ebibi byo. . . . Okukkiriza kwo kukuwonyezza; genda mirembe.”​—Lukka 7:48, 50.