Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 33

Atuukiriza Obunnabbi bwa Isaaya

Atuukiriza Obunnabbi bwa Isaaya

MATAYO 12:15-21 MAKKO 3:7-12

  • EKIBIINA KY’ABANTU KINYIGIRIZA YESU

  • ATUUKIRIZA OBUNNABBI BWA ISAAYA

Yesu bw’akitegeerako nti Abafalisaayo n’abawagizi ba Kerode baagala kumutta, ye n’abayigirizwa be basalawo okugenda ku nnyanja y’e Ggaliraaya. Abantu bangi okuva mu Ggaliraaya, mu Ttuulo ne Sidoni, ebuvanjuba w’Omugga Yoludaani, mu Yerusaalemi, ne mu Idumaya ekiri ebukiikaddyo bajja gy’ali, era Yesu awonya bangi. N’ekivaamu, abo abalina endwadde ez’amaanyi tebalinda abakwateko wabula beenyigiriza basobole okumukwatako.​—Makko 3:9, 10.

Olw’okuba abantu bangi nnyo, Yesu agamba abayigirizwa be bamufunire eryato ettono ave ku lubalama abantu baleme kumwenyigirizaako. Ate era, asobola okubayigiriza ng’atudde mu lyato oba okugenda mu kitundu ekirala okumpi n’olubalama asobole okuyamba abantu abalala.

Omuyigirizwa Matayo akiraba nti ebyo Yesu by’akola bituukiriza “ebyo ebyayogerwa okuyitira mu nnabbi Isaaya.” (Matayo 12:17) Bunnabbi ki obwo Yesu bw’atuukiriza?

Atuukiriza obunnabbi obugamba nti: “Laba! Omuweereza wange gwe nnalonda, gwe njagala ennyo era gwe nsanyukira! Ndimuteekako omwoyo gwange, era alimanyisa amawanga obwenkanya. Taliyomba, era talireekaana, era tewaliba awulira ddoboozi lye mu nguudo ennene. Olumuli olumenyese talirubetenta, era n’olutambi oluzimeera taliruzikiza okutuusa lw’alireetawo obwenkanya. Mu linnya lye amawanga mwe galisuubirira.”​—Matayo 12:18-21; Isaaya 42:1-4.

Awatali kubuusabuusa, Yesu ye muweereza omwagalwa Katonda gw’asanyukira. Yesu alaga abantu obwenkanya obwa nnamaddala, abakulembeze b’eddiini bwe balemereddwa okwoleka olw’obulombolombo bwabwe. Olw’okuba Abafalisaayo banyoolanyoola Amateeka ga Katonda, omuntu ne bw’aba mulwadde tebasobola kumuyamba ku Ssabbiiti! Olw’okuba aliko omwoyo omutukuvu, Yesu amanyisa abantu obwenkanya bwa Katonda era abatikkula omugugu ogw’obulombolombo obutasanyusa Katonda. Eyo ye nsonga lwaki abakulembeze b’eddiini baagala kumutta. Nga tebaswala!

Ebigambo “taliyomba, era talireekaana, era tewaliba awulira ddoboozi lye mu nguudo ennene,” bitegeeza ki? Yesu bw’awonya abantu tabakkiriza ‘kumumanyisa,’ era ne dayimooni tazikkiriza kumumanyisa. (Makko 3:12) Tayagala bantu bamukkiririzeemu olw’ebyo bye bawulira ku abo abalekaanira ku nguudo oba abo abamwogerako nga basavuwaza.

Ate era, Yesu obubaka bwe abubuulira abo abalinga emmuli ezimenyesemenyese era ezisuuliddwa wansi. Balinga olutambi oluzimeera oba olunaatera okuzikira. Yesu tazikiza lutambi olwo era tabetenta lumuli lumenyese. Mu kifo ky’ekyo, abantu ng’abo abawombeefu abazzaamu amaanyi mu ngeri ey’ekisa era ey’okwagala. Mazima ddala, Yesu amawanga gwe gasaanidde okusuubiriramu!