Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 37

Yesu Azuukiza Mutabani wa Nnamwandu

Yesu Azuukiza Mutabani wa Nnamwandu

LUKKA 7:11-17

  • AZUUKIZA OMUNTU E NAYINI

Oluvannyuma lw’okuwonya omuweereza w’omusirikale, Yesu ava e Kaperunawumu n’agenda e Nayini, ekifo ekyesudde mayiro ezisukka mu 20 mu bukiikaddyo bwa Kaperunawumu. Yesu tali yekka. Ali wamu n’abayigirizwa be awamu n’ekibiina ky’abantu ekinene. Oboolyawo bwe baba banaatera okuyingira ekibuga Nayini obudde buba buwungedde. Basanga Abayudaaya bangi nga bagenda okuziika. Basitudde omulambo gw’omuvubuka nga baguggya mu kibuga nga bagutwala okuguziika.

Naye ku bantu bonna abagenda okuziika, asinga okuba omwennyamivu ye maama w’omuvubuka oyo. Omukazi oyo nnamwandu, kyokka kati omwana we omu yekka gw’abadde naye afudde. Omwami we bwe yafa, waakiri yali akyalinawo mutabani we oyo. Lowooza ku nkolagana omukazi oyo gy’abadde nayo ne mutabani we. Mutabani we oyo gw’abadde asuubiriramu buli kimu, naye kati naye afudde. Kati olwo ani agenda okumulabirira n’okumubudaabuda?

Yesu bw’alaba omukazi oyo ng’ali mu nnaku ey’amaanyi, awulira bubi nnyo. Mu ngeri ey’ekisa agamba omukazi oyo nti: “Lekera awo okukaaba.” Naye takoma awo. Asembera n’akwata ku katanda okuli omulambo. (Lukka 7:13, 14) Ekyo kireetera abo bonna abagenda okuziika okuyimirira. Bangi bateekwa okuba nga beebuuza, ‘Kiki ky’ategeeza, era kiki ky’agenda okukola?’

Ate abo abatambula ne Yesu abamulabye ng’akola ebyamagero, ng’awonya abalwadde? Oboolyawo tebalabangako Yesu ng’azuukiza omuntu yenna. Wadde ng’edda ennyo waaliwo abantu abaazuukizibwa, ddala Yesu asobola okuzuukiza omuntu? (1 Bassekabaka 17:17-23; 2 Bassekabaka 4:32-37) Yesu agamba nti: “Muvubuka, nkugamba nti, situka!” (Lukka 7:14) Ekyo kyennyini kye kibaawo. Omuvubuka atuula n’atandika okwogera! Yesu amukwasa maama we attidde ennyo kyokka ng’ate musanyufu nnyo. Kati omwana we mulamu.

Abantu bwe balaba ng’omuvubuka oyo azuukidde, batendereza Oyo awa obulamu, Yakuwa, nga bagamba nti: “Nnabbi omukulu alabise mu ffe.” Abalala bategeera ensonga lwaki Yesu akoze ekyamagero ekyo, ne bagamba nti: “Katonda afuddeyo ku bantu be.” (Lukka 7:16) Amawulire agakwata ku kyamagero ekyo ganguwa okusaasaana mu bitundu ebyetooloddewo, oboolyawo ne gatuuka n’e Nazaaleesi, ekitundu Yesu gye yakulira, ekyesudde mayiro nga mukaaga okuva e Nayini. Amawulire ago gatuuka ne mu Buyudaaya.

Yokaana Omubatiza akyali mu kkomera, era ayagala nnyo okumanya ebyo Yesu by’akola. Abayigirizwa ba Yokaana bamubuulira ku byamagero Yesu by’akola. Ekyo kikwata kitya ku Yokaana?