ESSUULA 36
Omukulu w’Ekibinja ky’Abasirikale Ayoleka Okukkiriza okw’Amaanyi
-
OMUDDU W’OMUSIRIKALE AWONYEZEBWA
-
ABO ABALINA OKUKKIRIZA BAJJA KUWEEBWA EMIKISA
Oluvannyuma lw’okuyigiriza ku Lusozi, Yesu agenda mu kibuga ky’e Kaperunawumu. Ng’ali eyo, abamu ku bakadde b’Abayudaaya bamutuukirira. Batumiddwa omusajja atali Muyudaaya, omusirikale Omuruumi, omukulu w’ekibinja ky’abasirikale.
Omusirikale oyo alina omuweereza we gw’ayagala ennyo omulwadde ennyo era ng’anaatera okufa. Wadde ng’omusirikale oyo Munnaggwanga, ayagala Yesu amuyambe. Abayudaaya bagamba Yesu nti omuddu w’omusajja oyo “ali mu nnyumba, yasannyalala, era abonaabona nnyo,” oboolyawo ng’ali mu bulumi bwa maanyi. (Matayo 8:6) Abakadde b’Abayudaaya bagamba Yesu nti omusirikale oyo ‘agwana okumukolera ekyo ky’asabye, kubanga ayagala eggwanga lyabwe era nti yabazimbira n’ekkuŋŋaaniro.’—Lukka 7:4, 5.
Amangu ago, Yesu asalawo okugenda n’abakadde ew’omusirikale oyo. Bwe baba banaatera okutuuka, omusirikale atuma mikwano gye okugamba Yesu nti: “Ssebo, totawaana kujja mu nnyumba yange, kubanga sisaanira kukuyingiza mu nnyumba yange. Eyo ye nsonga lwaki nnalabye nga sisaanira kujja gy’oli.” (Lukka 7:6, 7) Ng’omusajja oyo mwetoowaze nnyo naddala bw’olowooza ku ky’okuba nti emirimu gye gizingiramu okuba nti alagira bulagizi abalala okukola ky’ayagala! Ate era omusajja oyo wa njawulo nnyo ku Baruumi abalala abayisa obubi abaddu baabwe.—Matayo 8:9.
Kya lwatu nti omusirikale oyo akimanyi nti Abayudaaya tebakolagana na batali Bayudaaya. (Ebikolwa 10:28) Oboolyawo eyo ye nsonga lwaki asindika mikwano gye okugamba Yesu nti: “Yogera bwogezi kigambo omuddu wange awone.”—Lukka 7:7.
Yesu yeewuunya nnyo okuwulira ebigambo ebyo era n’agamba nti: “Mbagamba nti, ne mu Isirayiri sirabangako kukkiriza kwa maanyi nga kuno.” (Lukka 7:9) Mikwano gy’omusirikale bwe baddayo ew’omusirikale oyo, basanga omuddu we abadde omulwadde ennyo ng’awonye.
Oluvannyuma lw’okuwonya omuddu w’omusirikale, Yesu akozesa akakisa ako okukiraga nti abantu abatali Bayudaaya abalina okukkiriza bajja kuweebwa emikisa. Agamba nti: “Bangi baliva mu bitundu eby’ebuvanjuba n’eby’ebugwanjuba ne batuula wamu ne Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo mu Bwakabaka obw’omu ggulu.” Ate Abayudaaya abatalina kukkiriza? Yesu agamba nti “balisuulibwa ebweru mu kizikiza. Eyo gye balikaabira era ne baluma obujiji.”—Matayo 8:11, 12.
N’olwekyo, Abayudaaya abagaana okukkiriza enkizo ey’okufugira awamu ne Kristo mu Bwakabaka, eyasooka okuweebwa bo, bajja kusuulibwa ebweru. Naye Ab’amawanga bajja kukkirizibwa okuyingira “mu Bwakabaka obw’omu ggulu.”