Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 59

Omwana w’Omuntu y’Ani?

Omwana w’Omuntu y’Ani?

MATAYO 16:13-27 MAKKO 8:22-38 LUKKA 9:18-26

  • YESU AWONYA OMUSAJJA OMUZIBE W’AMAASO

  • PEETERO WA KUFUNA EBISUMULUZO BY’OBWAKABAKA

  • YESU AYOGERA KU KUFA KWE N’OKUZUUKIRA KWE

Yesu n’abayigirizwa be batuuka e Besusayida. Abantu bamuleetera omusajja omuzibe w’amaaso era ne bamwegayirira okumukwatako amuwonye.

Yesu akwata omusajja oyo ku mukono era n’amufulumya ebweru w’akabuga ako. Oluvannyuma lw’okuwandula amalusu ku maaso g’omusajja oyo, Yesu amubuuza nti: “Olina ekintu kyonna ky’olaba?” Omusajja oyo amuddamu nti: “Ndaba abantu, naye balinga emiti egitambula.” (Makko 8:23, 24) Yesu ateeka emikono gye ku maaso g’omusajja, era omusajja oyo n’atandika okulaba obulungi. Oluvannyuma amusiibula okugenda ewaka naye n’amugaana okuyingira mu kabuga gye babadde.

Kati awo, Yesu n’abayigirizwa be batambula nga boolekera oluuyi olw’ebukiikakkono ne bagenda mu bitundu by’e Kayisaliya ekya Firipo. Batambula olugendo lwa mayiro 25 okutuukayo. Kayisaliya ekya Firipo kiri ku kasozi akalina obuwanvu bwa ffuuti 1,150, era ku luuyi olw’ebukiikakkono waliyo Olusozi Kerumooni. Mu butuufu bamala ennaku eziwerako nga batambula olugendo olwo.

Bwe baba bali ku lugendo olwo, ekiseera kituuka, Yesu n’agenda okusaba ng’ali yekka. Emyezi nga mwenda oba kkumi gye gibulayo Yesu alyoke attibwe, era kati alowooza nnyo ku ekyo ky’ayinza okukolera abayigirizwa be. Gye buvuddeko awo, waliwo bangi abaalekera awo okumugoberera, era n’abalala bayinza okuba nga basobeddwa oba nga baweddemu amaanyi. Bayinza okuba nga beebuuza ensonga lwaki Yesu yagaanye abantu okumufuula kabaka era n’ensonga lwaki yagaanye okulaga abantu akabonero akalaga ekyo kyennyini ky’ali.

Abayigirizwa be bwe bagenda mu kifo gy’agenze okusabira, Yesu ababuuza nti: “Omwana w’omuntu abantu bagamba nti y’ani?” Bamuddamu nti: “Abamu bagamba nti ye Yokaana Omubatiza, abalala nti ye Eriya, ate abalala nti ye Yeremiya oba omu ku bannabbi.” Mu butuufu, abantu balowooza nti Yesu ayinza okuba omu ku basajja abo ng’azuukidde. Okusobola okumanya bo kye balowooza, Yesu ababuuza nti: “Ate mmwe mugamba nti nze ani?” Amangu ago Peetero amuddamu nti: “Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu.”​—Matayo 16:13-16.

Yesu agamba Peetero okuba omusanyufu kubanga ekyo Katonda y’akimubikkulidde. Era amugamba nti: “Ggwe Peetero, era ku lwazi luno kwe ndizimba ekibiina kyange, n’enzigi z’Emagombe tezirikiwangula.” Yesu akiraga nti ajja kuzimba ekibiina, ne kiba nti n’Amagombe tegajja kusobola kuwangula bantu abali mu kibiina ekyo singa basigala nga beesigwa okutuukira ddala ku nkomerero. Ate era asuubiza Peetero nti: “Nja kukuwa ebisumuluzo by’Obwakabaka obw’omu ggulu.”​—Matayo 16:18, 19.

Yesu talaga nti Peetero y’asinga abatume abalala, ate era talaga nti Peetero y’ajja okuba omusingi ekibiina kwe kinaazimbibwa. Yesu kennyini lwe Lwazi ekibiina kye kwe kijja okuzimbibwa. (1 Abakkolinso 3:11; Abeefeso 2:20) Kyokka, Peetero wa kufuna ebisumuluzo bisatu. Peetero wa kufuna enkizo ey’okuggulirawo ebibinja by’abantu bya mirundi esatu enkizo ey’okuyingira mu Bwakabaka obw’omu ggulu.

Peetero wa kukozesa ekisumuluzo ekisooka ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka 33 E.E., ng’alaga Abayudaaya abeenenyezza n’abakyufu ekyo kye balina okukola okusobola okulokolebwa. Era wa kukozesa ekisumuluzo eky’okubiri okuggulirawo Abasamaliya ab’emitima emirungi enkizo ey’Okuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda. Ate era mu mwaka gwa 36 E.E., Peetero wa kukozesa ekisumuluzo eky’okusatu okuggulirawo Ab’amawanga, kwe kugamba Koluneeriyo n’abalala, enkizo ey’okuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda.​—Ebikolwa 2:37, 38; 8:14-17; 10:44-48.

Mu kiseera kino, abatume ba Yesu basoberwa Yesu bw’agamba nti mu kiseera ekitali kya wala agenda kubonyaabonyezebwa era attibwe mu Yerusaalemi. Olw’okuba takitegeera nti oluvannyuma Yesu yandizuukidde n’agenda mu ggulu, Peetero amuzza ku bbali n’amugamba nti: “Weesaasire Mukama wange; kino tekirikutuukako n’akatono.” Naye Yesu amukuba amabega n’agamba nti: “Dda ennyuma wange Sitaani! Oli nkonge gye ndi, kubanga endowooza yo si ya Katonda wabula ya bantu.”​—Matayo 16:22, 23.

Yesu ayita n’abantu abalala n’abagamba nti tekijja kuba kyangu kumugoberera. Abagamba nti: “Omuntu yenna bw’aba ayagala okungoberera, alekere awo okwetwala yekka, asitule omuti gwe ogw’okubonaabona angobererenga. Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe alibufiirwa; naye buli afiirwa obulamu bwe ku lwange ne ku lw’amawulire amalungi alibulokola.”​—Makko 8:34, 35.

Mu butuufu, okusobola okusanyusa Yesu, abagoberezi be balina okubeera abavumu n’okwoleka omwoyo ogw’okwefiiriza. Yesu agamba nti: “Buli ankwatirwa ensonyi era n’ebigambo byange n’abikwatirwa ensonyi mu mulembe guno omwonoonyi era ogutali mwesigwa eri Katonda, n’Omwana w’omuntu alimukwatirwa ensonyi bw’alijjira mu kitiibwa kya Kitaawe ng’ali wamu ne bamalayika abatukuvu.” (Makko 8:38) Mu butuufu, Yesu bw’alijja, “alisasula buli omu okusinziira ku bikolwa bye.” ​—Matayo 16:27.