ESSUULA 123
Asaba nga Munakuwavu Nnyo
MATAYO 26:30, 36-46 MAKKO 14:26, 32-42 LUKKA 22:39-46 YOKAANA 18:1
-
YESU MU NNIMIRO EY’E GESUSEMANE
-
ENTUUYO ZE ZIRINGA AMATONDO G’OMUSAAYI
Yesu amaze okusaba ng’ali wamu n’abatume be abeesigwa. ‘Bwe bamala okuyimba ennyimba ezitendereza Katonda, bagenda ku Lusozi olw’Emizeyituuni.’ (Makko 14:26) Boolekera oludda olw’ebuvanjuba awali ennimiro eyitibwa Gesusemane, Yesu gy’atera okugendamu.
Bwe batuuka mu kifo ekyo ekirabika obulungi ekirimu emiti gy’emizeyituuni, Yesu agamba abatume munaana okusigala awo. Kirabika basigala kumpi ne we bayingirira ennimiro eyo, kubanga abagamba nti: “Mutuule wano ŋŋende eri nsabe.” Yesu awamu n’abatume basatu—Peetero, Yakobo, ne Yokaana—beeyongerayo munda mu nnimiro. Atandika okuwulira ennaku ey’amaanyi era agamba abatume abo abasatu nti: “Nnina ennaku ya maanyi, ejula okunzita. Musigale wano, mutunule wamu nange.”—Matayo 26:36-38.
Yesu ava we bali ne yeeyongerayoko mu maaso “n’avunnama n’atandika okusaba.” Mu kaseera kano akazibu ennyo, kiki Yesu ky’asaba Katonda? Asaba nti: “Kitange, ebintu byonna biyinzika gy’oli; nzigyaako ekikopo kino. Naye si nga nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw’oyagala.” (Makko 14:35, 36) Yesu ategeeza ki? Atidde okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe ng’Omununuzi? Nedda!
Nga Yesu akyali mu ggulu, yalaba engeri Abaruumi gye baabonyaabonyangamu abantu be baabanga bagenda okutta. Olw’okuba kati Yesu muntu era asobola okuwulira obulumi, teyeesunga n’akamu ebintu ebigenda okumutuukako. N’ekisinga obukulu, munakuwavu nnyo olw’okuba akimanyi nti okuttibwa ng’omumenyi w’amateeka kiyinza okuleeta ekivume ku linnya lya Kitaawe. Mu ssaawa ntono nnyo, ajja kukomererwa ku muti ng’alinga omuntu avvodde Katonda.
Oluvannyuma lw’okumala akaseera ng’asaba, Yesu akomawo abatume abasatu we bali n’abasanga nga beebase. Agamba Peetero nti: “Mulemereddwa okusigala nga mutunula nga nze, wadde okumala essaawa emu bw’eti? Musigale nga mutunula era nga musaba, muleme kugwa nga mukemeddwa.” Yesu akiraba nti abatume bakooye nnyo ate nga n’obudde bugenze. Agattako nti: “Kyo kituufu, omwoyo gwagala naye omubiri munafu.”—Matayo 26:40, 41.
Yesu addayo omulundi ogw’okubiri n’asaba Katonda amuggyeko “ekikopo kino.” Bw’akomawo nate, asanga abatume abo abasatu nga beebase so ng’ate balina okuba nga basaba baleme kugwa nga bakemeddwa. Yesu bw’ayogera nabo, babulwa ‘eky’okumuddamu.’ (Makko 14:40) Yesu addayo omulundi ogw’okusatu, n’afukamira n’asaba.
Yesu munakuwavu nnyo olw’okuba okuttibwa ng’omumenyi w’amateeka kijja kuvumisa nnyo erinnya lya Kitaawe. Yakuwa awulira essaala z’Omwana we, era atuma malayika okumuzzaamu amaanyi. Naye Yesu talekera awo kwegayirira Kitaawe, wabula “yeeyongera okusaba ennyo.” Waliwo ebintu ebikulu ennyo ebimweralikiriza. Obulamu bwe obutaggwaawo n’obw’abantu abakola Lukka 22:44.
Katonda by’ayagala buli mu lusuubo. Mu butuufu, ‘entuuyo ze ziringa amatondo g’omusaayi agatonnya ku ttaka.’—Yesu bw’akomawo eri abatume omulundi ogw’okusatu, era abasanga beebase. Abagamba nti: “Mu kiseera nga kino mwebase era muwummudde! Laba! Essaawa etuuse Omwana w’omuntu aliibwemu olukwe aweebweyo mu mikono gy’aboonoonyi. Musituke tugende. Laba! Andyamu olukwe atuuse.”—Matayo 26:45, 46.