Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 109

Ayanika Bannaddiini Abamuziyiza

Ayanika Bannaddiini Abamuziyiza

MATAYO 22:41–23:24 MAKKO 12:35-40 LUKKA 20:41-47

  • KRISTO MWANA W’ANI?

  • YESU AYANIKA OBUNNANFUUSI BW’ABO ABAMUZIYIZA

Abakulembeze b’eddiini balemererwa okukwasa Yesu mu by’ayogera basobole okumuwaayo eri Abaruumi. (Lukka 20:20) Kati, ng’akyali ku yeekaalu ku lunaku lwa Nisaani 11, Yesu abakyukira n’alaga ekyo kyennyini ky’ali. Ye kennyini ababuuza nti: “Kiki kye mulowooza ku Kristo? Mwana w’ani?” (Matayo 22:42) Kimanyiddwa bulungi nti Kristo, oba Masiya alina kuba mu lunyiriri lwa Dawudi. Era ekyo kyennyini nabo kye baddamu.​—Matayo 9:27; 12:23; Yokaana 7:42.

Yesu ababuuza nti: “Kati olwo, lwaki Dawudi ng’aluŋŋamizibwa amuyita Mukama we, ng’agamba nti, ‘Yakuwa yagamba Mukama wange nti: “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo okutuusa lwe nditeeka abalabe bo wansi w’ebigere byo”’? Dawudi bw’aba ng’amuyita Mukama we, kati olwo aba atya omwana we?”​—Matayo 22:43-45.

Abafalisaayo tebanyega kigambo, kubanga bo balowooza nti omuntu obuntu ava mu lunyiriri lwa Dawudi y’ajja okubanunula okuva mu bufuzi bw’Abaruumi. Kyokka ng’ajuliza ebigambo bya Dawudi ebiri mu Zabbuli 110:1, 2, Yesu akiraga nti Masiya si muntu buntu. Masiya Mukama wa Dawudi, era oluvannyuma lw’okutuula ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo, Masiya ajja kukozesa obuyinza bwe. Ebyo Yesu by’ayogera bisirisa abalabe be.

Abayigirizwa n’abantu abalala babaddewo nga bawuliriza. Kati Yesu ayogera gye bali, ng’abalabula ku bawandiisi n’Abafalisaayo. Abasajja abo “beetadde mu kifo kya Musa” okuyigiriza Amateeka ga Katonda. Yesu agamba abamuwuliriza nti: “Ebintu byonna bye babagamba mubikole, naye temukola nga bo bwe bakola; boogera naye tebassa mu nkola bye boogera.”​—Matayo 23:2, 3.

Oluvannyuma Yesu awa ebyokulabirako ebiraga obunnanfuusi bwabwe, ng’agamba nti: “Bagaziya obusanduuko omuli ebyawandiikibwa bwe bambala ng’ebintu eby’okubawa obukuumi.” Abayudaaya abamu baabanga n’obusanduuko obutono obwabangamu Amateeka mu bufunze, bwe baasibanga ku byenyi byabwe oba ku mikono gyabwe. Abafalisaayo bagaziya obusanduuko bwabwe nga baagala okweraga nti banyiikirira Amateeka. Era “bawanvuya ebijwenge eby’oku byambalo byabwe.” Abayisirayiri baalinanga okuteeka ebijwenge ku byambalo byabwe, naye Abafalisaayo bafuba okulaba nti ebijwenge byabwe biba biwanvu okusinga eby’abalala. (Okubala 15:38-40) Ebyo byonna babikola olw’okwagala “abantu babalabe.”​—Matayo 23:5.

N’abayigirizwa ba Yesu bayinza okutwalirizibwa omwoyo gw’okwagala ettutumu, bwe kityo Yesu abagamba nti: “Temuyitibwanga Labbi, kubanga Omuyigiriza wammwe ali omu era mmwe mmwenna muli ba luganda. Ate era temuyitanga muntu n’omu kitammwe ku nsi, kubanga Kitammwe ali omu, y’Oyo ali mu ggulu. Era temuyitibwanga ‘bakulembeze’ kubanga Omukulembeze wammwe ali omu, Kristo.” Kati olwo abayigirizwa basaanidde kwetwala batya era basaanidde kweyisa batya? Yesu abagamba nti: “Asinga obukulu mu mmwe ateekwa kuba muweereza wammwe. Buli eyeegulumiza alitoowazibwa na buli eyeetoowaza aligulumizibwa.”​—Matayo 23:8-12.

Oluvannyuma, Yesu akiraga nti zisanze abawandiisi n’Abafalisaayo bannanfuusi. Agamba nti: “Zibasanze, mmwe abawandiisi n’Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga muggalirawo abantu enzigi z’Obwakabaka obw’omu ggulu; mmwe mwennyini ne mutayingira ate ne mulemesa n’abo ababa bayingira.”​—Matayo 23:13.

Yesu anenya Abafalisaayo olw’obutaba na ndowooza ng’eya Katonda mu ngeri gye bakolamu ebintu. Ng’ekyokulabirako, bagamba nti: “Singa omuntu alayira yeekaalu n’atatuukiriza ky’alayidde, taba na musango; naye oyo alayira zzaabu ow’omu yeekaalu ateekwa okutuukiriza by’alayidde.” Bwe kityo abantu abo bassa essira ku zzaabu ow’omu yeekaalu ne babuusa amaaso eky’okuba nti yeekaalu kye kifo mwe balina okusinziza Yakuwa ne basobola okuba n’enkolagana ennungi naye. Ate era tebatuukiriza “bintu ebisinga obukulu mu Mateeka: obwenkanya, obusaasizi, n’obwesigwa.”​—Matayo 23:16, 23; Lukka 11:42.

Yesu agamba nti Abafalisaayo abo ‘bakulembeze abazibe b’amaaso, abasengejja akabu mu bye banywa naye ne bamira eŋŋamira!’ (Matayo 23:24) Basengejja akabu akaba kagudde mu mwenge gwabwe olw’okuba okusinziira ku Mateeka akawuka ako si kalongoofu. Kyokka, eky’okuba nti babuusa amaaso ebintu ebisinga obukulu mu Mateeka, balinga abamira eŋŋamira, ekisolo nakyo ekitali kirongoofu, naye ekisingira ewala akabu obunene.​—Eby’Abaleevi 11:4, 21-24.