Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 135

Yesu Alabikira Bangi ng’Amaze Okuzuukizibwa

Yesu Alabikira Bangi ng’Amaze Okuzuukizibwa

LUKKA 24:13-49 YOKAANA 20:19-29

  • YESU ALABIBWA KU LUGUUDO OLUGENDA KU KYALO EMAWO

  • ANNYONNYOLA ABAYIGIRIZWA BE EBYAWANDIIKIBWA EMIRUNDI EGIWERA

  • TOMASI ALEKERA AWO OKUBUUSABUUSA

Ku Ssande nga Nisaani 16, abayigirizwa banakuwavu olw’okuba tebamanyi nsonga lwaki entaana nkalu. (Matayo 28:9, 10; Lukka 24:11) Ku lunaku olwo lwennyini, Kulewopasi n’omuyigirizwa omulala bava e Yerusaalemi ne boolekera ekyalo Emawo, ekyesudde mayiro nga musanvu.

Bwe baba batambula, batandika okwogera ku ebyo ebibaddewo. Omusajja gwe batamanyi abeegattako nga batambula. Ababuuza nti: “Biki ebyo bye mwogerako nga mutambula?” Kulewopasi amuddamu nti: “Oli mugenyi mu Yerusaalemi atalina b’obeera nabo olyoke obe nga tomanyi bintu bibaddeyo mu nnaku zino?” Omusajja ababuuza nti: “Bintu ki?”​—Lukka 24:17-19.

Bamuddamu nti: “Ebintu ebikwata ku Yesu Omunnazaaleesi.  . . . Twali tusuubira nti omusajja oyo ye yali agenda okununula Isirayiri.”​—Lukka 24:19-21.

Kulewopasi ne munne boogera ne ku ebyo ebibaddewo ku lunaku olwo lwennyini. Bamugamba nti waliwo abakazi abaagenze ku ntaana ya Yesu naye ne basanga nga nkalu era nti abakazi abo baalabyeyo bamalayika abaabagambye nti Yesu mulamu. Ate era bamugamba nti waliwo abantu abalala abaagenze ku ntaana era ne “basanga nga byonna biri ddala bwe bityo ng’abakazi bwe baagambye.”​—Lukka 24:24.

Abayigirizwa bano basobeddwa olw’ebyo ebyabaddewo. Mu ngeri eraga nti alina obuyinza, omusajja atambula nabo atereeza endowooza enkyamu eri mu mitima gyabwe ng’abagamba nti: “Mmwe abasirusiru era ab’emitima egirwawo okukkiriza ebintu byonna bannabbi bye baayogera! Kristo teyalina kubonyaabonyezebwa alyoke ayingire mu kitiibwa kye?” (Lukka 24:25, 26) Abannyonnyola ebyawandiikibwa bingi ebikwata ku Kristo.

Oluvannyuma, bonsatule batuuka okumpi n’ekyalo Emawo. Abayigirizwa abo ababiri bakyayagala okuwuliriza omusajja oyo, n’olwekyo bamugamba nti: “Sula ewaffe kubanga obudde bunaatera okuwungeera.” Akkiriza, era bateekateeka eky’okulya. Omusajja oyo bw’amala okusaba, amenyamu omugaati n’agubawa. Amangu ago bamutegeera, naye n’ababulako. (Lukka 24:29-31) Kati bakakasizza nti Yesu mulamu!

Ng’abayigirizwa abo ababiri boogera ku kibaddewo, bagamba nti: “Emitima gyaffe tegyakwatiddwako nnyo bwe yabadde ng’ayogera naffe mu kkubo era ng’atunnyonnyola Ebyawandiikibwa?” (Lukka 24:32) Banguwa ne baddayo e Yerusaalemi, era basisinkana abatume n’abayigirizwa abalala. Nga Kulewopasi ne munne tebannaabaako kye boogera, bawulira abalala nga bagamba nti: “Mazima ddala Mukama waffe yazuukidde era yalabikidde Simooni!” (Lukka 24:34) Abayigirizwa bano ababiri nabo battottola engeri Yesu gy’abalabikiddemu. Nabo bajulizi kubanga beerabiddeko n’agaabwe nti Yesu mulamu.

Baba bali awo, Yesu n’abalabikira nga bali mu kisenge era bonna bakubwa encukwe! Ekyo kibeewuunyisa nnyo kubanga enzigi baazisibye olw’okutya Abayudaaya. Kyokka kati, Yesu ayimiridde wakati waabwe. Mu ngeri ey’obukkakkamu abagamba nti: “Emirembe gibe nammwe.” Naye bonna batidde nnyo. Era nga bwe kyali emabegako, ne ku luno ‘balowooza nti balaba kitonde kya mwoyo.’​—Lukka 24:36, 37; Matayo 14:25-27.

Okubakakasa nti ye ye kennyini era nti alina omubiri ogw’ennyama, Yesu abalaga ebibatu bye n’ebigere bye era n’abagamba nti: “Lwaki mweraliikirira, era lwaki mubuusabuusa mu mitima gyammwe? Mulabe ebibatu byange n’ebigere byange mukakase nti ye nze; munkwateko mulabe kubanga ekitonde eky’omwoyo tekiba na nnyama na magumba nga bye mulaba nze bye nnina.” (Lukka 24:36-39) Beewuunya era ne basanyuka nnyo, naye era tebannakkiriza.

Okwongera okubakakasa nti wa ddala, ababuuza nti: “Mulinawo ku ky’okulya?” Bamuwa ekitundutundu ky’ekyennyanja ekikalirire n’akirya. Oluvannyuma abagamba nti: “Bino bye bigambo bye nnabagamba nga nkyali nammwe [nga sinnafa], nti byonna ebyampandiikibwako mu Mateeka ga Musa ne mu biwandiiko bya Bannabbi ne mu Zabbuli biteekwa okutuukirira.”​—Lukka 24:41-44.

Yesu yayambye Kulewopasi ne munne okutegeera Ebyawandiikibwa era mu ngeri y’emu ayamba n’abo abali wano. Abagamba nti: “Bwe kityo bwe kyawandiikibwa nti Kristo wa kubonyaabonyezebwa era azuukizibwe mu bafu ku lunaku olw’okusatu, era nti mu linnya lye, obubaka obw’okwenenya okusobola okusonyiyibwa ebibi bwa kubuulirwa mu mawanga gonna​—okutandikira mu Yerusaalemi. Muli ba kuba bajulirwa ba bintu bino.”​—Lukka 24:46-48.

Olw’ensonga etemanyiddwa, omutume Tomasi taliiwo. Mu nnaku eziddirira, abalala bamugamba nti: “Tulabye Mukama waffe!” Tomasi abagamba nti: “Okuggyako nga ndabye enkovu z’emisumaali mu bibatu bye, ne nteeka olugalo lwange mu nkovu ezo, era ne nteeka ekibatu kyange mu mbiriizi ze, siyinza kukkiriza n’akatono.”​—Yokaana 20:25.

Nga wayiseewo ennaku munaana, abayigirizwa bakuŋŋaanira mu nnyumba ne baggalawo, era ku luno Tomasi naye waali. Yesu abalabikira ng’alina omubiri ogw’ennyama era ayimirira wakati waabwe n’abagamba nti: “Emirembe gibe nammwe.” Yesu agamba Tomasi nti: “Teeka olugalo lwo wano, era laba ebibatu byange. Era teeka ekibatu kyo mu mbiriizi zange olekere awo okubuusabuusa, naye okkirize.” Tomasi agamba nti: “Mukama wange era Katonda wange!” (Yokaana 20:26-28) Kati Tomasi takyabuusabuusa nti Yesu mulamu era nti ye mubaka Yakuwa Katonda gwe yatuma ku nsi.

Yesu agamba Tomasi nti: “Olw’okuba ondabye ky’ova okkiriza? Balina essanyu abo abakkiriza nga tebannalabako”​—Yokaana 20:29.