Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 107

Kabaka Ayita Abo Abayitiddwa ku Kijjulo ky’Embaga ey’Obugole

Kabaka Ayita Abo Abayitiddwa ku Kijjulo ky’Embaga ey’Obugole

MATAYO 22:1-14

  • OLUGERO OLUKWATA KU KIJJULO KY’EMBAGA EY’OBUGOLE

Yesu bw’aba anaatera okumaliriza obuweereza bwe ku nsi, yeeyongera okukozesa engero okwanika ebikolwa by’abawandiisi ne bakabona abakulu. Bwe kityo, baagala okumutta. (Lukka 20:19) Naye Yesu tannamaliriza kubaanika. Agera olugero olulala ng’agamba nti:

“Obwakabaka obw’omu ggulu buyinza okugeraageranyizibwa ku kabaka eyategekera omwana we ekijjulo ky’embaga ey’obugole. N’atuma abaddu be okuyita abo abaali bayitiddwa ku kijjulo ky’embaga ey’obugole, naye ne batayagala kujja.” (Matayo 22:2, 3) Yesu atandika olugero olwo ng’ayogera ku ‘Bwakabaka obw’omu ggulu.’ Kyeyoleka lwatu nti “kabaka” ye Yakuwa Katonda. Ate omwana wa kabaka n’abo abayitiddwa ku kijjulo eky’embaga ey’obugole be baani? Kyangu okulaba nti omwana wa kabaka ye Mwana wa Yakuwa, agera olugero olwo, era nti abo abayitiddwa beebo abajja okuba n’Omwana wa Katonda mu Bwakabaka obw’omu ggulu.

Baani abasooka okuyitibwa? Lowooza ku kino: Baani Yesu n’abatume be babadde babuulira ebikwata ku Bwakabaka? Babadde babuulira Bayudaaya. (Matayo 10:6, 7; 15:24) Eggwanga eryo lyakkiriza endagaano y’Amateeka mu 1513 E.E.T., bwe lityo ne liba eggwanga eryasooka okuweebwa enkizo okuvaamu abo abandibadde mu ‘bwakabaka bwa bakabona.’ (Okuva 19:5-8) Naye bayitibwa ddi ku “kijjulo ky’embaga ey’obugole”? Kyeyoleka lwatu nti baayitibwa mu mwaka gwa 29 E.E., Yesu bwe yatandika okubuulira ebikwata ku Bwakabaka obw’omu ggulu.

Abayisirayiri beeyisa batya nga bayitiddwa? Nga Yesu bw’agambye, ‘tebaayagala kujja.’ Abakulembeze b’eddiini abasinga obungi n’Abayudaaya abalala baagaana okukkiriza nti Yesu ye Masiya era nti ye Kabaka Katonda gwe yalonda.

Kyokka Yesu akiraga nti Abayudaaya bandiweereddwa omukisa omulala. Agamba nti: “[Kabaka] n’atuma nate abaddu abalala, n’abagamba nti, ‘Mugambe abo abayitiddwa nti: “Laba! ntegese eky’emisana, nzise ente ennume n’ensolo eza ssava era ebintu byonna biwedde okuteekateeka. Mujje ku kijjulo.”’ Naye ne batafaayo, omu n’agenda mu nnimiro ye, n’omulala n’agenda okusuubula; ate abalala ne bakwata abaddu be, ne babayisa bubi era ne babatta.” (Matayo 22:4-6) Ekyo kiraga bulungi ekyandibaddewo ng’ekibiina Ekikristaayo kitandikiddwawo. Mu kiseera ekyo, Abayudaaya bandibadde bakyalina akakisa okuba mu Bwakabaka. Wadde kiri kityo, abasinga obungi ku bo baagaana okukkiriza okuyitibwa okwo, ne batuuka n’okuyisa obubi ‘abaddu ba kabaka.’​—Ebikolwa 4:13-18; 7:54, 58.

Biki ebyandituuse ku ggwanga eryo? Yesu agamba nti: “Kabaka n’asunguwala, n’atuma amagye ge ne gatta abatemu abo era ne gookya ekibuga kyabwe.” (Matayo 22:7) Ekyo kye kyatuuka ku Bayudaaya mu mwaka gwa 70 E.E., Abaruumi bwe baazikiriza “ekibuga kyabwe,” Yerusaalemi.

Abayudaaya okugaana okugenda ku kijjulo kitegeeza nti tewali balala bandiyitiddwa? Nedda. Mu lugero lwe, Yesu agamba nti: “[Kabaka] n’agamba abaddu be nti, ‘Ekijjulo ky’embaga ey’obugole kiwedde okuteekaateeka naye abo abayitiddwa tebagwanira kukibaako. N’olwekyo, mugende mu nguudo eziva mu kibuga era omuntu yenna gwe munaasanga mumuyite ajje ku kijjulo.’ Awo abaddu ne bagenda mu nguudo ne bayita abo bonna be baasanga, abalungi n’ababi; ekisenge omwali embaga ne kijjula abagenyi.”​—Matayo 22:8-10.

Mu butuufu, ekiseera kyali kigenda kutuuka Peetero atandike okuyamba Ab’amawanga, kwe kugamba abantu abatali Bayudaaya mu buzaale oba abatali bakyufu, okufuuka Abakristaayo ab’amazima. Mu mwaka gwa 36 E.E., Koluneeriyo, omukulu mu ggye lya Rooma awamu n’ab’omu maka ge baafuna omwoyo gwa Katonda, bwe batyo ne bafuna essuubi ery’okuba mu Bwakabaka obw’omu ggulu Yesu bwe yayogerako.​—Ebikolwa 10:1, 34-48.

Yesu akiraga nti si bonna abajja ku kijjulo nti bajja kusiimibwa mu maaso ga “kabaka.” Agamba nti: “Kabaka bwe yayingira okulaba abagenyi, n’alaba omusajja eyali tayambadde kyambalo kya mbaga ya bugole. N’amugamba nti, ‘Ssebo, wayingidde otya wano nga toyambadde kyambalo kya mbaga?’ N’abulwa eky’okuddamu. Kabaka n’agamba abaweereza be nti, ‘Mumusibe emikono n’amagulu, mumusuule ebweru mu kizikiza. Eyo gy’alikaabira era n’aluma obujiji.’ Kubanga bangi abayitibwa naye abalondebwamu be batono.”​—Matayo 22:11-14.

Abakulembeze b’eddiini abawuliriza Yesu bayinza okuba nga tebategeera makulu g’ebyo byonna by’ayogera. Wadde kiri kityo, banyiize nnyo era bamaliridde okutta omusajja ono abaleetera okuswala eky’enkanidde awo.