Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 124

Kristo Aliibwamu Olukwe era Akwatibwa

Kristo Aliibwamu Olukwe era Akwatibwa

MATAYO 26:47-56 MAKKO 14:43-52 LUKKA 22:47-53 YOKAANA 18:2-12

  • YUDA ALYAMU YESU OLUKWE MU NNIMIRO

  • PETEERO ATEMAKO OKUTU KW’OMUSAJJA

  • YESU AKWATIBWA

Kiseera kya matumbi budde. Bakabona bakkirizza okuwa Yuda ebitundu bya ffeeza 30, alye mu Yesu olukwe. N’olwekyo, Yuda akulemberamu ekibinja ekitumiddwa bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne batandika okunoonya Yesu. Bawerekeddwako abasirikale Abaruumi abalina eby’okulwanyisa nga bali wamu n’omuduumizi waabwe.

Kirabika Yesu bwe yagambye Yuda okuvaawo nga bali ku kijjulo eky’embaga ey’Okuyitako, Yuda yagenze butereevu eri bakabona abakulu. (Yokaana 13:27) Bakabona abo bakuŋŋaanyizza abantu bangi ne babawa n’ekibinja ky’abasirikale. Kirabika Yuda asoose kubatwala mu kisenge Yesu n’abatume be gye bakwatidde embaga ey’Okuyitako. Naye kati ekibinja ky’abantu abo abanoonya Yesu basomose Ekiwonvu Kidulooni era boolekedde ennimiro. Ng’oggyeeko okuba nti balina eby’okulwanyisa, bakutte emimuli n’ettaala ekiraga nti bamaliridde okukwata Yesu.

Yuda abakulembeddemu okugenda ku Lusozi olw’Emizeyituuni, era mukakafu nti amanyi we bagenda okusanga Yesu. Wiiki ewedde, Yesu n’abatume be bwe baavanga e Bessaniya okugenda e Yerusaalemi, baawuummulirangako mu nnimiro y’e Gesusemane. Naye kati obudde bwa kiro, ate ennimiro erimu emiti gy’emizeyituuni mingi. Kati olwo abasirikale abo oboolyawo abatalabangako ku Yesu, banaamutegeera batya? Yuda abawa akabonero kwe bajja okumutegeerera. Abagamba nti: “Gwe nnaanywegera nga y’oyo; mumukwate, mumutwale.”​—Makko 14:44.

Bwe batuuka mu nnimiro, Yuda alaba Yesu n’abatume be era agenda butereevu w’ali. Yuda agamba nti: “Labbi, emirembe gibe naawe!” era amunywegera. Naye Yesu amugamba nti: “Kiki ekikuleese?” (Matayo 26:49, 50) Yesu kennyini addamu ekibuuzo ekyo ng’agamba nti: “Yuda, Omwana w’omuntu omulyamu olukwe ng’omunywegera?”​—Lukka 22:48.

Oluvannyuma Yesu yeesowolayo n’ayimirira mu kitangaala ky’emimuli n’ettaala era n’ababuuza nti: “Munoonya ani?” Bamuddamu nti: “Yesu Omunazaaleesi.” Yesu abaddamu n’obuvumu nti: “Ye nze.” (Yokaaana 18:4, 5) Olw’okuba tebamanyi kiyinza kuddirira, batya ne bagwa wansi.

Mu kifo ky’okukozesa akakisa ako okubaddukako, Yesu addamu n’ababuuza gwe banoonya. Bwe baddamu okugamba nti, “Yesu Omunazaaleesi,” nga mukkakkamu abagamba nti: “Mbagambye nti ye nze. Kale bwe muba munoonya nze, bano mubaleke bagende.” Ne mu kaseera kano akazibu, Yesu ajjukira kye yayogedde emabegako nti tajja kubuzaako n’omu ku bo. (Yokaana 6:39; 17:12) Yesu akuumye abatume be abeesigwa era tabuzizzaako n’omu “okuggyako omwana w’okuzikirira”​—Yuda. (Yokaana 18:7-9) Eyo ye nsonga lwaki agamba ekibinja ky’abantu kireke abagoberezi be abeesigwa bagende.

Abasirikale bwe basembera Yesu, abatume bamanya ekigenda okuddirira. Babuuza Yesu nti “Mukama waffe, tukozese ebitala byaffe?” (Lukka 22:49) Yesu aba tannabaddamu, Peetero n’asikayo ekimu ku bitala ebibiri abatume bye balina. Alumba Maluko, omuddu wa kabona asinga obukulu, n’amutemako okutu okwa ddyo.

Yesu akwata ku kutu kwa Maluko n’awonya ekiwundu kye. Yesu ayigiriza ekintu ekikulu ennyo ng’agamba Peetero nti: “Zzaayo ekitala kyo mu kifo kyakyo kubanga abo bonna abakwata ekitala balittibwa na kitala.” Yesu mwetegefu okukwatibwa era agamba nti: “Ebyawandiikibwa binaatuukirira bitya ebigamba nti kino kirina okuba bwe kityo?” (Matayo 26:52, 54) Agattako nti: “Ekikopo Kitange ky’ampadde siikinywe?” (Yokaana 18:11) Yesu mwetegefu okukola ekyo Katonda ky’ayagala ne bwe kiba nga kyetaagisa kufa.

Yesu abuuza ekibiina ky’abantu nti: “Muzze n’ebitala n’emiggo okunkwata ng’abakwata omubbi? Buli lunaku mbaddenga ntuula mu yeekaalu nga njigiriza naye ne mutankwata. Bino byonna biri bwe biti ebyawandiikibwa bannabbi bisobole okutuukirizibwa?”​—Matayo 26:55, 56.

Ekibinja ky’abasirikale, omuduumizi waakyo, n’abo be bazze nabo bakwata Yesu era ne bamusiba. Abatume bwe balaba nga Yesu akwatiddwa, badduka. Naye wabaawo “omuvubuka,” oboolyawo ng’ono ye muyigirizwa Makko, asigala mu kibiina ky’abantu asobole okugoberera Yesu. (Makko 14:51) Abantu bwe bategeera omuvubuka ono era ne bagezaako okumukwata, abeesimattulako n’aleka olugoye lwe.